Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 45

Engeri Omwoyo Omutukuvu Gye Gutuyambamu

Engeri Omwoyo Omutukuvu Gye Gutuyambamu

“Nnyinza byonna olw’oyo ampa amaanyi.”​—BAF. 4:13.

OLUYIMBA 104 Omwoyo Omutukuvu Kirabo Katonda Ky’Atuwa

OMULAMWA *

1-2. (a) Kiki ekituyamba okugumira embeera enzibu ze twolekagana nazo? Nnyonnyola. (b) Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

“BWE ndowooza ku bizibu bye mpiseemu, nkiraba nti sibiyiseemu ku lwange.” Wali oyogeddeko bw’otyo? Bangi ku ffe twali twogeddeko bwe tutyo. Oboolyawo wayogera ebigambo ebyo ng’olowooza ku ngeri gye wasobola okugumira obulwadde obw’amaanyi oba okugumira obulumi bw’okufiirwa omuntu wo. Bw’olowooza ku kiseera ekyo, okiraba nti ekyakusobozesa okugumira embeera eyo kwe kuba nti omwoyo gwa Yakuwa gwakuwa “amaanyi agasinga ku ga bulijjo.”​—2 Kol. 4:7-9.

2 Omwoyo omutukuvu era gutuyamba obutatwalirizibwa nsi ya Sitaani. (1 Yok. 5:19) Ate era twetaaga amaanyi okumeggana “n’emyoyo emibi.” (Bef. 6:12) Mu kitundu kino tugenda kulaba engeri za mirundi ebiri omwoyo omutukuvu gye gutuyambamu okwaŋŋanga ebizibu. Ate era tugenda kulaba bye tuyinza okukola okuguganyulwamu mu bujjuvu.

OMWOYO OMUTUKUVU GUTUWA AMAANYI

3. Engeri emu Yakuwa gy’atuyambamu okugumira ebizibu y’eruwa?

3 Omwoyo gwa Yakuwa gutuyamba nga gutuwa amaanyi okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwaffe wadde nga tuba twolekagana n’ebizibu. Omutume Pawulo yakiraba nti wadde nga yali ayolekagana n’ebizibu, yeeyongera okuweereza Yakuwa olw’okuba “amaanyi ga Kristo” gaamuyamba. (2 Kol. 12:9) Mu lugendo lwe olw’okubiri olw’obuminsani, yabuulira n’obunyiikivu ate mu kiseera kye kimu ng’akola n’omulimu ogwamuyamba okweyimirizaawo. Yali abeera mu Kkolinso mu maka ga Akula ne Pulisikira abaali abakozi ba weema. Olw’okuba Pawulo naye yali mukozi wa weema, ennaku ezimu yakoleranga wamu nabo. (Bik. 18:1-4) Omwoyo omutukuvu gwawa Pawulo amaanyi okukola omulimu ogw’okweyimirizaawo n’okutuukiriza obuweereza bwe.

4. Okusinziira ku 2 Abakkolinso 12:7b-9, Pawulo yalina kizibu ki?

4 Soma 2 Abakkolinso 12:7b-9. Mu nnyiriri zino, kiki Pawulo kye yali ategeeza bwe yagamba nti yalina “eriggwa mu mubiri”? Singa eriggwa likumenyekera mu mubiri, oba n’obulumi bwa maanyi. N’olwekyo Pawulo yali ategeeza nti yalina ekigezo ekyali kimuleetera obulumi obw’amaanyi. Ekigezo ekyo yakiyita “malayika wa Sitaani” eyamukubanga. Sitaani oba badayimooni bayinza okuba nga si be baaleetera Pawulo ekizibu ekyo, kwe kugamba, si be baayingiza eriggwa mu mubiri gwa Pawulo. Naye emyoyo egyo emibi giyinza okuba nga bwe gyalaba “eriggwa” eryo eryali mu Pawulo, gyalisindikira ddala munda, okusobola okwongera ku bulumi bwe yalina. Kiki Pawulo kye yakola?

5. Yakuwa yaddamu atya okusaba kwa Pawulo?

5 Mu kusooka Pawulo yali ayagala “eriggwa” eryo limuggibwemu. Yagamba nti: “Emirundi esatu nneegayirira Mukama waffe [Yakuwa] . . . linveemu.” Wadde nga Pawulo yasaba, eriggwa teryamuvaamu. Ekyo kitegeeza nti Yakuwa teyaddamu kusaba kwe? Nedda. Yakuddamu. Yakuwa teyaggyawo kizibu kya Pawulo naye yamuwa amaanyi okukigumira. Yakuwa yamugamba nti: “Amaanyi gange gatuukirira mu bunafu.” (2 Kol. 12:8, 9) Katonda yayamba Pawulo okusigala nga musanyufu n’okuba n’emirembe ku mutima.​—Baf. 4:4-7.

6. (a) Yakuwa ayinza kuddamu atya essaala zaffe? (b) Bisuubizo ki ebiri mu byawandiikibwa ebiri mu katundu ebikuzzaamu amaanyi?

6 Naawe wali osabyeko Yakuwa okukuyamba okuggyawo ekizibu ekimu? Bwe kiba nti wadde nga wasaba nnyo, ekizibu kyasigalawo oba kyeyongera na kuba kya maanyi, weeraliikirira nti oboolyawo olina kye wakola ekyanyiiza Yakuwa? Bwe kiba kityo, jjukiranga ekyokulabirako kya Pawulo. Nga Yakuwa bwe yaddamu essaala za Pawulo, nawe ajja kuddamu essaala zo. Ayinza obutaggyaawo kizibu ekyo. Naye ajja kukozesa omwoyo gwe omutukuvu okukuwa amaanyi okugumira ekizibu ekyo. (Zab 61:3, 4) Oyinza ‘okusuulibwa wansi’ naye Yakuwa tajja kukwabulira.​—2 Kol. 4:8, 9; Baf. 4:13.

OMWOYO OMUTUKUVU GUTUYAMBA OKWEYONGERA OKUWEEREZA YAKUWA

7-8. (a) Mu ngeri ki omwoyo omutukuvu gye guli ng’empewo? (b) Peetero yannyonnyola atya engeri omwoyo omutukuvu gye gukolamu?

7 Ngeri ki endala omwoyo omutukuvu gye gutuyambamu? Omwoyo omutukuvu tuyinza okugugeraageranya ku mpewo. Emmeeri esobola okweyambisa empewo ekunta ng’edda ku ludda gy’eba egenda, empewo eyo n’egiyamba okutuuka obulungi gy’eba eraga wadde ng’ennyanja eba efuukuuse. Mu ngeri y’emu, omwoyo omutukuvu gutuyamba okusigala nga tuweereza Yakuwa okutuusa lwe tulituuka mu nsi empya, wadde nga twolekagana n’ebizibu.

8 Olw’okuba Peetero yaliko omuvubi, yali amanyi ebikwata ku kuseeyeeya kw’amaato. N’olwekyo, tekyewuunyisa nti bwe yali ayogera ku ngeri omwoyo omutukuvu gye gukolamu, yakozesa ekigambo ekirina akakwate n’okuseeyeeya. Yawandiika nti: “Tewali mulundi na gumu obunnabbi lwe bwali buleeteddwa olw’okwagala kw’abantu, naye abantu baayogeranga ebyava eri Katonda nga balina obulagirizi bw’omwoyo omutukuvu.” Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “nga balina obulagirizi” obutereevu kitegeeza “okutwalibwa.”​—2 Peet. 1:21.

9. Kiki Peetero kye yali ayagala abantu balowoozeeko bwe yagamba nti abawandiisi ‘baalina obulagirizi’ bw’omwoyo omutukuvu?

9 Kiki Peetero kye yali ategeeza mu kukozesa ekigambo ekyo? Lukka, omuwandiisi w’ekitabo ky’Ebikolwa by’Abatume yakozesa ekigambo ky’Oluyonaani ekifaananako bwe kityo ng’ayogera ku lyato ‘eritwalibwa’ omuyaga. (Bik. 27:15) Omwekenneenya wa Bayibuli omu yagamba nti Peetero bwe yagamba nti abawandiisi ba Bayibuli ‘baalina obulagirizi’ oba ‘baatwalibwa,’ yakozesa ekigambo ekyali kireetera abantu okulowooza ku kuseeyeeya kw’emmeeri. Mu ngeri endala, Peetero yali agamba nti ng’empewo bw’eyamba emmeeri okuseeyeeya n’etuuka gy’egenda, omwoyo omutukuvu nagwo gwayamba abawandiisi ba Bayibuli okutuukiriza omulimu gwabwe. Omwekenneenya oyo era yagamba nti: “Bannabbi baali ng’abawanise amatanga gaabwe.” Yakuwa yakola ogugwe. Yabawa “empewo,” oba omwoyo omutukuvu. N’abawandiisi ba Bayibuli nabo baakola ogwabwe. Baakolera ku bulagirizi bw’omwoyo omutukuvu.

EKISOOKA: Weenyigire mu bintu eby’omwoyo obutayosa

EKY’OKUBIRI: Weenyigire mu bujjuvu mu bintu ebyo eby’omwoyo (Laba akatundu 11) *

10-11. Bintu ki ebibiri bye tusaanidde okukola okusobola okufuna obulagirizi bw’omwoyo omutukuvu? Waayo ekyokulabirako.

10 Kya lwatu nti Yakuwa yalekera awo okukozesa omwoyo omutukuvu okuleetera abantu okuwandiika ebitabo bya Bayibuli. Naye akyakozesa omwoyo gwe omutukuvu okuwa abantu be obulagirizi. Yakuwa akyakola ogugwe. Tuyinza tutya okuganyulwa mu bulagirizi bw’omwoyo omutukuvu? Tulina okukakasa nti bulijjo tweyongera okukola ogwaffe. Ekyo tukikola tutya?

11 Lowooza ku kyokulabirako kino. Okusobola okuganyulwa mu mpewo ekunta, omugoba w’eryato alina okukola ebintu bibiri. Ekisooka, alina okussa eryato lye mu kkubo ly’empewo. Singa alireka ku mwalo ewala ennyo okuva empewo eyo w’ekuntira, eryato terijja kutambula. Eky’okubiri, aba yeetaaga okuwanika n’okwanjuluza obulungi amatanga. Kya lwatu nti, empewo ne bw’eba ng’ekunta, eryato terisobola kutambula ng’amatanga tegafuuyibwa mpewo. Mu ngeri y’emu, naffe bwe tuba ab’okweyongera okuweereza Yakuwa, tulina okuyambibwako omwoyo omutukuvu. Okusobola okuganyulwa mu mwoyo omutukuvu, tulina okukola ebintu bibiri. Ekisooka, tulina okwessa mu kkubo ly’omwoyo omutukuvu nga tukola ebintu ebitusobozesa okufuna obulagirizi bwagwo. Eky’okubiri, tulina “okuwanika n’okwanjuluza obulungi” amatanga gaffe nga twenyigira mu bujjuvu mu bintu ebyo. (Zab. 119:32) Bwe tukola ebintu ebyo, omwoyo omutukuvu gujja kutuyamba okuyita mu kuyigganyizibwa n’ebigezo ebirala era gujja kutuyamba okugumiikiriza okutuusa lwe tulituuka mu nsi empya.

12. Kiki kati kye tugenda okulaba?

12 We tutuukidde wano, tulabye engeri bbiri omwoyo omutukuvu gye gutuyambamu. Omwoyo omutukuvu gutuwa amaanyi ne tusobola okusigala nga tuli beesigwa ne bwe tuba nga twolekagana n’ebizibu. Era omwoyo omutukuvu gutuyamba okusigala nga tuweereza Yakuwa okutuusa lwe tulituuka mu nsi empya. Kati tugenda kulaba ebintu bina bye tulina okukola okusobola okuganyulwa mu bujjuvu mu mwoyo omutukuvu.

ENGERI Y’OKUGANYULWA MU BUJJUVU MU MWOYO OMUTUKUVU

13. Okusinziira ku 2 Timoseewo 3:16, 17, Ebyawandiikibwa bituganyula bitya, naye kiki kye tulina okukola?

13 Ekisooka, soma Ekigambo kya Katonda. (Soma 2 Timoseewo 3:16, 17.) Katonda yakozesa omwoyo gwe omutukuvu okussa endowooza ye mu birowoozo by’abo abaawandiika Bayibuli. Bwe tusoma Bayibuli era ne tufumiitiriza ku ebyo bye tusoma, obulagirizi bwa Katonda buyingira mu birowoozo byaffe ne mu mutima gwaffe. Ekyo kituyamba okukola enkyukakyuka ne tutuukanya obulamu bwaffe n’ebyo Yakuwa by’ayagala. (Beb. 4:12) Naye okusobola okuganyulwa mu bujjuvu mu mwoyo omutukuvu tulina okussaawo obudde okusoma Bayibuli obutayosa n’okufumiitiriza ku ebyo bye tusoma. Bwe tukola tutyo, Ekigambo kya Katonda kijja kukwata ku byonna bye twogera ne bye tukola.

14. (a) Lwaki tuyinza okugamba nti enkuŋŋaana zaffe zibaamu omwoyo omutukuvu? (b) Tuyinza tutya okuganyulwa mu bujjuvu mu mwoyo omutukuvu nga tuli mu nkuŋŋaana?

14 Eky’okubiri, sinza Katonda ng’oli wamu n’abalala. (Zab. 22:22) Enkuŋŋaana zaffe zibaamu omwoyo omutukuvu. (Kub. 2:29) Lwaki tugamba bwe tutyo? Kubanga bwe tukuŋŋaana okusinziza awamu ne bakkiriza bannaffe, tusaba Katonda okutuwa omwoyo gwe omutukuvu, tuyimba ennyimba ezeesigamiziddwa ku Kigambo kya Katonda, era tuwuliriza obulagirizi obwesigamiziddwa ku Bayibuli obutuweebwa ab’oluganda abaalondebwa omwoyo omutukuvu. Ate era omwoyo omutukuvu guyamba bannyinaffe okuteekateeka ebitundu byabwe n’okubiwa. Naye bwe tuba ab’okuganyulwa mu bujjuvu mu mwoyo omutukuvu, tulina okujja mu nkuŋŋaana nga tutegese bulungi era ne tuzeenyigiramu. Mu ngeri eyo tubaawo mu nkuŋŋaana nga tulinga “abawanise amatanga gaffe era nga tuganjuluzza bulungi.”

15. Omwoyo omutukuvu gutuyamba gutya mu mulimu gw’okubuulira?

15 Eky’okusatu, weenyigire mu mulimu gw’okubuulira. Bwe tukozesa Bayibuli nga tubuulira era nga tuyigiriza, tuba tukkiriza omwoyo omutukuvu okutuyamba mu buweereza bwaffe. (Bar. 15:18, 19) Naye okusobola okuganyulwa mu bujjuvu mu mwoyo omutukuvu, olina okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira obutayosa n’okukozesa Bayibuli buli lwe kiba kisobose. Engeri emu gy’osobola okunyumyamu obulungi n’abantu ng’obuulira, kwe kukozesa ennyanjula ezifulumira mu Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe.

16. Engeri gye tusobola okufunamu omwoyo omutukuvu obutereevu y’eruwa?

16 Eky’okuna, saba Yakuwa. (Mat. 7:7-11; Luk. 11:13) Engeri gye tusobola okufunamu omwoyo omutukuvu obutereevu kwe kusaba Yakuwa agutuwe. Tewali kiyinza kulemesa ssaala zaffe kutuuka eri Yakuwa oba omwoyo omutukuvu okututuukako, k’abe Sitaani oba ka bibe bisenge bya kkomera. (Yak. 1:17) Tusaanidde kusaba tutya okusobola okuganyulwa mu bujjuvu mu mwoyo omutukuvu? Okusobola okuddamu ekibuuzo ekyo, ka twekenneenye ebikwata ku kusaba nga tulowooza ku kyokulabirako ekisangibwa mu Njiri ya Lukka mwokka. *

TOKOOWA KUSABA

17. Ekyokulabirako Yesu kye yawa ekiri mu Lukka 11:5-9, 13, kituyigiriza ki ku kusaba?

17 Soma Lukka 11:5-9, 13. Ekyokulabirako Yesu kye yawa kiraga engeri gye tusaanidde okusabamu omwoyo omutukuvu. Mu kyokulabirako ekyo, omusajja oyo yafuna kye yali ayagala olw’okuba ‘teyakoowa kusaba.’ Teyatya kusaba mukwano gwe kye yali ayagala wadde ng’obudde bwali bwa kiro nnyo. (Laba awannyonnyolerwa ebiri mu Lukka 11:8.) Yesu yakwataganya atya ekyokulabirako ekyo n’okusaba? Yagamba nti: “Musabenga, muliweebwa; munoonyenga, mulizuula; mukonkonenga, muliggulirwawo.” Ekyo kituyigiriza ki? Okusobola okufuna obuyambi bw’omwoyo omutukuvu tetulina kukoowa kusaba Katonda kugutuwa.

18. Okusinziira ku kyokulabirako Yesu kye yawa, lwaki tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kutuwa omwoyo gwe omutukuvu?

18 Ekyokulabirako Yesu kye yawa era kituyamba okulaba ensonga lwaki Yakuwa atuwa omwoyo gwe omutukuvu. Omusajja ayogerwako mu kyokulabirako ekyo yali ayagala okusembeza obulungi omugenyi we. Yali ayagala okuwa omugenyi we eyajja ekiro eky’okulya naye nga takirina. Yesu yagamba nti muliraanwa w’omusajja oyo yamuwa kye yali asaba kubanga omusajja oyo teyakoowa kumusaba mugaati. Kiki Yesu kye yali ayagala okutuyigiriza? Bwe kiba nti omuntu atatuukiridde awa munne ky’amusaba olw’okuba aba takooye kumusaba, Kitaffe ow’omu ggulu ow’ekisa taasingewo nnyo okuyamba abo abatakoowa kumusaba mwoyo mutukuvu? N’olwekyo tuli bakakafu nti bwe tusaba Yakuwa okutuwa omwoyo gwe omutukuvu, ajja kugutuwa.​—Zab. 10:17; 66:19.

19. Lwaki tuli bakakafu nti tujja kutuuka ku buwanguzi?

19 Tuli bakakafu nti wadde nga Sitaani talekera awo kutulwanyisa, tujja kumuwangula. Lwaki? Kubanga omwoyo omutukuvu gutuyamba mu ngeri bbiri. Esooka, gutuwa amaanyi ge twetaaga okuyita mu bigezo. Ey’okubiri, ge maanyi agatuyamba okweyongera okuweereza Yakuwa okutuusa lwe tulituuka mu nsi empya. N’olwekyo, ka tube bamalirivu okuganyulwa mu bujjuvu mu mwoyo omutukuvu!

OLUYIMBA 41 Wulira Okusaba Kwange

^ lup. 5 Ekitundu kino kiraga engeri omwoyo omutukuvu gye gutuyambamu okuba abagumiikiriza. Ate era kiraga ebyo bye tuyinza okukola okusobola okuguganyulwamu mu bujjuvu.

^ lup. 16 Mu bawandiisi b’ebitabo by’Enjiri, Lukka y’asinga okulaga nti okusaba kyali kitundu kikulu nnyo mu bulamu bwa Yesu.​—Luk. 3:21; 5:16; 6:12; 9:18, 28, 29; 18:1; 22:41, 44.

^ lup. 59 EBIFAANANYI: EKISOOKA: Ow’oluganda ne mwannyinaffe bazze ku Kizimbe ky’Obwakabaka. Bwe bakuŋŋaana awamu ne bakkiriza bannaabwe beenyigira mu bintu ebirina obulagirizi bw’omwoyo omutukuvu. EKY’OKUBIRI: Baategese bulungi era beenyigira mu nkuŋŋaana. N’ebintu ebirala bye tulabye mu kitundu kino, gamba ng’okusoma Ekigambo kya Katonda, okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira, n’okusaba Yakuwa, bituyamba okuganyulwa mu mwoyo omutukuvu.