Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 47

Ebimu ku Ebyo Bye Tuyiga mu Kitabo ky’Eby’Abaleevi

Ebimu ku Ebyo Bye Tuyiga mu Kitabo ky’Eby’Abaleevi

“Buli Kyawandiikibwa kyaluŋŋamizibwa Katonda, era kigasa.”​—2 TIM. 3:16.

OLUYIMBA 98 Ebyawandiikibwa​—Byaluŋŋamizibwa Katonda

OMULAMWA *

1-2. Lwaki Abakristaayo leero basaanidde okwekenneenya ekitabo ky’Eby’Abaleevi?

OMUTUME Pawulo yagamba mukwano gwe Timoseewo nti: “Buli Kyawandiikibwa kyaluŋŋamizibwa Katonda, era kigasa.” (2 Tim. 3:16) Mu Byawandiikibwa ebyo mwe muli n’ekitabo ky’Eby’Abaleevi. Ekitabo ekyo okitwala otya? Abamu bakitwala ng’ekitabo ekirimu amateeka amangi agatakyali ga mugaso leero, naye Abakristaayo bo si bwe batyo bwe balowooza.

2 Ekitabo ky’Eby’Abaleevi kyawandiikibwa emyaka nga 3,500 emabega, era Yakuwa yakikuuma kisobole “okutuyigiriza.” (Bar. 15:4) Olw’okuba ekitabo ky’Eby’Abaleevi kituyamba okumanya endowooza ya Yakuwa ku bintu ebitali bimu, tusaanidde okukyekenneenya. Mu butuufu, waliwo ebintu bingi bye tuyinza okuyiga mu kitabo ekyo ekyaluŋŋamizibwa. Ka tulabeyo bina.

ENGERI GYE TUYINZA OKUSIIMIBWA YAKUWA

3. Lwaki ssaddaaka zaawebwangayo ku Lunaku olw’Okutangirirako Ebibi?

3 Eky’okuyiga ekisooka: Ssaddaaka zaffe okusobola okukkirizibwa, tulina okuba nga tusiimibwa Yakuwa. Buli mwaka ku Lunaku olw’Okutangirirako Ebibi, eggwanga lya Isirayiri lyakuŋŋaananga wamu era kabona asinga obukulu yawangayo ssaddaaka z’ensolo. Ssaddaaka ezo zajjukizanga Abayisirayiri nti baali beetaaga okusonyiyibwa ebibi! Naye kabona asinga obukulu bwe yabanga tannatwala musaayi gwa ssaddaaka yonna mu Awasinga Obutukuvu ebibi by’eggwanga lya Isirayiri bisobole okusonyiyibwa, yabanga alina okusooka okukola ekintu ekikulu n’okusinga okusinga okusonyiyibwa kw’ebibi by’Abayisirayiri.

(Laba akatundu 4) *

4. Nga bwe kiragibwa mu Eby’Abaleevi 16:12, 13, kiki kabona asinga obukulu kye yakolanga ku mulundi gwe yasookanga okuyingira mu Awasinga Obutukuvu ku Lunaku olw’Okutangirirako Ebibi? (Laba ekifaananyi ku ddiba.)

4 Soma Eby’Abaleevi 16:12, 13. Kuba akafaananyi nga Lunaku lwa Kutangirirako Bibi: Kabona asinga obukulu ayingira mu weema entukuvu. Guno gwe mulundi ogusooka ku egyo esatu gy’alina okuyingira mu Awasinga Obutukuvu ku lunaku olwo. Mu mukono ogumu akutte obubaani obw’akaloosa, ate mu mukono omulala akutte ekyoterezo ekijjudde amanda agaaka. Asooka n’ayimirira mu maaso g’olutimbe ku mulyango oguyingira Awasinga Obutukuvu. N’obuwombeefu, ayingira Awasinga Obutukuvu n’ayimirira mu maaso g’essanduuko ey’endagaano. Mu ngeri ey’akabonero, ayimiridde mu maaso ga Yakuwa Katonda! N’obwegendereza, kabona ayiwa obubaani ku manda agaaka era Awasinga Obutukuvu wajjula akaloosa. * Oluvannyuma ajja kuddamu ayingire Awasinga Obutukuvu n’omusaayi gw’ebiweebwayo olw’ekibi. Weetegereze nti ayotereza obubaani nga tannaleeta musaayi gw’ebiweebwayo olw’ekibi.

5. Kiki kye tuyigira ku ngeri obubaani gye bwakozesebwangamu ku Lunaku olw’Okutangirirako Ebibi?

5 Kiki kye tuyigira ku ngeri obubaani gye bwakozesebwangamu ku Lunaku olw’Okutangirirako Ebibi? Bayibuli eraga nti essaala ezikkirizibwa ez’abaweereza ba Yakuwa abeesigwa ziringa obubaani. (Zab. 141:2; Kub. 5:8) Kijjukire nti kabona yatwalanga obubaani mu maaso ga Yakuwa nga yeewoombese. Mu ngeri y’emu, bwe tuba tusaba Yakuwa tusaanidde okukikola mu ngeri eraga nti tumussaamu nnyo ekitiibwa. Tugitwala nga nkizo ya maanyi Omuyinza w’Ebintu Byonna okutukkiriza okwogera naye n’okumusemberera ng’omwana bw’asemberera kitaawe. (Yak. 4:8) Yakuwa atukkiriza okuba mikwano gye! (Zab. 25:14) Enkizo eyo tugitwala nga ya muwendo nnyo ne kiba nti tetwagala kukola kintu kyonna kimunyiiza.

6. Kiki kye tuyigira ku kuba nti kabona asinga obukulu yasookanga kwotereza bubaani nga tannaba kuwaayo ssaddaaka?

6 Kijjukire nti kabona asinga obukulu yalinanga okwotereza obubaani nga tannawaayo ssaddaaka. Mu ngeri eyo yabanga mukakafu nti Yakuwa yandikkirizza ssaddaaka ze yabanga agenda okuwaayo. Ekyo kituyigiriza ki? Nga Yesu tannaba kuwaayo bulamu bwe nga ssaddaaka ku lw’abantu, yalina okukola ekintu ekikulu ennyo n’okusinga okusobozesa abantu okulokolebwa. Kintu ki ekyo? Yalina okugondera Yakuwa ebbanga lyonna lye yandimaze ku nsi, Yakuwa asobole okukkiriza ssaddaaka ye. Mu ngeri eyo, Yesu yandikiraze nti okukola ebintu nga Yakuwa bw’ayagala kye kisingayo obulungi era nti obufuzi bwa Yakuwa bwe busingayo.

7. Lwaki engeri Yesu gye yatambuzaamu obulamu bwe yasanyusa Kitaawe?

7 Ekiseera kyonna Yesu kye yamala ku nsi, yasigala nga muwulize eri Yakuwa. Wadde nga yayolekagana n’ebikemo awamu n’ebigezo era nga yali akimanyi nti yali agenda kuttibwa mu bulumi obutagambika, yali mumalirivu okukiraga nti obufuzi bwa Yakuwa bwe busingayo obulungi. (Baf. 2:8) Bwe yali ayolekagana n’ebigezo, Yesu yasaba “n’akulukusa amaziga nga yeegayirira.” (Beb. 5:7) Essaala ze zaalaga nti yali mwesigwa eri Yakuwa era zaamuleetera okuba omumalirivu okusigala nga muwulize eri Yakuwa. Eri Yakuwa, essaala za Yesu zaali ng’obubaani obw’akaloosa. Engeri Yesu gye yatambuzaamu obulamu bwe ku nsi yasanyusa nnyo Yakuwa era yakiraga nti obufuzi bwa Yakuwa bwe busingayo obulungi.

8. Tuyinza tutya okukoppa Yesu?

8 Tusobola okukoppa Yesu nga tufuba okugondera Yakuwa n’okuba abeesigwa gy’ali. Bwe twolekagana n’ebigezo, tunyiikira okusaba Yakuwa atuyambe tusigale nga tukola ebimusanyusa. Mu ngeri eyo, tuba tukiraga nti tuwagira obufuzi bwa Yakuwa. Tukimanyi nti Yakuwa tasobola kukkiriza kusaba kwaffe singa tuba twenyigira mu bintu by’akyawa. Naye bwe tutambuliza obulamu bwaffe ku mitindo gya Yakuwa, tubeera bakakafu nti essaala zaffe ziri ng’obubaani obw’akaloosa eri Yakuwa. Era bwe tuba abeesigwa era abawulize eri Yakuwa kimusanyusa nnyo.​—Nge. 27:11.

TUWEEREZA YAKUWA OLW’OKUBA TUMUSIIMA ERA TUMWAGALA

(Laba akatundu 9) *

9. Lwaki Abayisirayiri baawangayo ebiweebwayo eby’emirembe?

9 Eky’okuyiga eky’okubiri: Tuweereza Yakuwa olw’okuba tusiima by’atukolera. Okusobola okutegeera ensonga eyo, ka tulowooza ku biweebwayo eby’emirembe Abayisirayiri bye baawangayo. * Ekitabo ky’Eby’Abaleevi kiraga nti Omuyisirayiri yabanga asobola okuwaayo ssaddaaka ey’emirembe “olw’okwebaza.” (Leev. 7:11-13, 16-18) Ssaddaaka eyo yagiwangayo si lwa kuba nti yali ateekeddwa okugiwaayo, naye lwa kuba nti yali ayagala okugiwaayo. N’olwekyo kino kyabanga kiweebwayo ekya kyeyagalire omuntu kye yawangayo olw’okuba yali ayagala Yakuwa Katonda we. Omuntu eyawangayo ekiweebwayo ekyo, ab’omu maka ge, awamu ne kabona baalyanga ku nnyama y’ensolo gye yabanga awaddeyo. Naye ebitundu ebimu eby’ensolo eyo byaweebwanga Yakuwa yekka. Bitundu ki ebyo?

(Laba akatundu 10) *

10. Ebiweebwayo eby’emirembe ebyogerwako mu Eby’Abaleevi 3:6, 12, 14-16 bituyamba bitya okumanya ekyakubiriza Yesu okukola Kitaawe by’ayagala?

10 Eky’okuyiga eky’okusatu: Olw’okuba twagala Yakuwa, tumuwa ekisingayo obulungi. Amasavu Yakuwa yali agatwala ng’ekitundu ky’ensolo ekisingayo obulungi. Ate era yalaga nti ebitundu by’ensolo ebimu, gamba ng’ensigo, yali abitwala nga bya njawulo. (Soma Eby’Abaleevi 3:6, 12, 14-16.) N’olwekyo, Omuyisirayiri bwe yawangayo kyeyagalire ebitundu ebyo awamu n’amasavu, Yakuwa yasanyukanga nnyo. Omuyisirayiri eyawangayo ebitundu ebyo, yakiraganga nti yali ayagala okuwa Yakuwa ekisingayo obulungi. Mu ngeri y’emu, ne Yesu kyeyagalire yawa Yakuwa ekisingayo obulungi ng’amuweereza n’omutima gwe gwonna olw’okuba yali amwagala. (Yok. 14:31) Yesu yali ayagala nnyo okukola Katonda by’ayagala, kubanga yali ayagala nnyo amateeka ga Katonda. (Zab. 40:8) Nga kiteekwa okuba nga kyasanyusa nnyo Yakuwa okulaba nga Yesu amuweereza kyeyagalire!

Okwagala kwe tulina eri Yakuwa kutuleetera okumuwa ekisingayo obulungi (Laba akatundu 11-12) *

11. Obuweereza bwaffe bufaananako butya ssaddaaka ez’emirembe, era ekyo kituzzaamu kitya amaanyi?

11 Obuweereza bwaffe eri Yakuwa bufaananako ssaddaaka ezo ez’emirembe kubanga eyo ye ngeri gye tulagamu nti tumwagala. Tuwa Yakuwa ekisingayo obulungi olw’okuba tumwagala n’omutima gwaffe gwonna. Nga kiteekwa okuba nga kisanyusa nnyo Yakuwa okulaba abaweereza be bangi nga bamuweereza kyeyagalire olw’okuba bamwagala nnyo era olw’okuba baagala amakubo ge! Kituzzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti Yakuwa takoma ku kulaba bye tumukolera naye era alaba n’ebigendererwa bye tuba nabyo nga tubikola. Ng’ekyokulabirako, bw’oba ng’okaddiye era nga tokyasobola kukola kinene nga bwe wakolanga edda, ba mukakafu nti Yakuwa akutegeera bulungi. Oyinza okuwulira ng’awaayo ekitono eri Yakuwa, naye Yakuwa alaba okwagala okw’amaanyi kw’olina gy’ali okukukubiriza okukola ky’osobola. Asiima ekyo ekisingayo obulungi ky’osobola okumuwa.

12. Engeri Yakuwa gye yawulirangamu ng’omuweereza we awaddeyo ssaddaaka ey’emirembe etuyigiriza ki?

12 Biki bye tuyigira ku ssaddaaka ez’emirembe? Omuliro bwe gwayokyanga ebitundu by’ensolo ebisingayo obulungi, omukka gwayambukanga waggulu era Yakuwa yasanyukanga nnyo. N’olwekyo ba mukakafu nti bw’oweereza Yakuwa n’omutima gwo gwonna kyeyagalire, kimusanyusa nnyo. (Bak. 3:23) Byonna bye tumukolera nga tumuweereza, ka bibe bingi oba bitono, abisiima nnyo era tasobola kubyerabira.​—Mat. 6:20; Beb. 6:10.

YAKUWA AWA OMUKISA EKIBIINA KYE

13. Okusinziira ku Eby’Abaleevi 9:23, 24, Yakuwa yalaga atya nti yali asiimye okussibwawo kwa bakabona?

13 Eky’okuyiga eky’okuna: Yakuwa awa omukisa ekitundu eky’oku nsi eky’ekibiina kye. Lowooza ku ekyo ekyaliwo mu 1512 E.E.T., weema entukuvu bwe yassibwawo okumpi n’Olusozi Sinaayi. (Kuv. 40:17) Musa ye yakubiriza omukolo ogw’okussa Alooni ne batabani be ku bwakabona. Abayisirayiri baakuŋŋaana wamu okulaba nga bakabona bawaayo ssaddaaka z’ensolo ezaasooka. (Leev. 9:1-5) Yakuwa yalaga atya nti yali asiimye okulondebwa kw’abakabona abo? Alooni ne Musa bwe baali basabira abantu omukisa, Yakuwa yasindika omuliro okuva mu ggulu ne gwokya ssaddaaka eyali ku kyoto.​—Soma Eby’Abaleevi 9:23, 24.

14. Lwaki eky’okuba nti Yakuwa yasemba Alooni ne batabani be okuba bakabona kitukwatako leero?

14 Omuliro ogwava mu ggulu gwalaga ki? Yakuwa okusindika omuliro ogwo kyalaga nti yali asembye ekya Alooni ne batabani be okuweereza nga bakabona. Ekyo Abayisirayiri bwe baakiraba, baakitegeera nti nabo baalina okuwagira bakabona abo. Ekyo kitukwatako leero? Obwakabona obwaliwo mu Isirayiri ey’edda kyali kisiikiriza ekyali kiraga obwakabona obusingako obwali bugenda okubaawo. Yesu Kristo ye Kabona Asinga Obukulu, era waliwo bakabona era bakabaka abalala 144,000, abajja okuweerereza awamu naye mu ggulu.​—Beb. 4:14; 8:3-5; 10:1.

Yakuwa awa ekibiina kye obulagirizi n’emikisa. Tuwagira ekibiina kye n’omutima gwaffe gwonna (Laba akatundu 15-17) *

15-16. Yakuwa akiraze atya nti ayamba “omuddu omwesigwa era ow’amagezi”?

15 Mu 1919, Yesu yalonda abasajja abatonotono abaafukibwako amafuta okuba “omuddu omwesigwa era ow’amagezi.” Omuddu oyo y’awoma omutwe mu mulimu gw’okubuulira era awa abagoberezi ba Kristo ‘emmere mu kiseera ekituufu.’ (Mat. 24:45) Tulaba obukakafu obulaga nti Yakuwa asiima omuddu omwesigwa era ow’amagezi?

16 Sitaani n’abagoberezi be bagezaako nnyo okulemesa omuddu omwesigwa okukola omulimu gwe. Singa Yakuwa yali tayamba muddu mwesigwa, tekyandisobose kutuukiriza mulimu ogwo. Wabaddewo Ssematalo za mirundi ebiri, ensi ebaddemu ebizibu by’eby’enfuna, era abantu ba Yakuwa bayisiddwa mu ngeri etali ya bwenkanya era bayigganyiziddwa. Wadde kiri kityo, omuddu omwesigwa era ow’amagezi yeeyongedde okuwa abagoberezi ba Kristo ku nsi emmere ey’eby’omwoyo. Lowooza ku mmere ennyingi ey’eby’omwoyo gye tulina leero esobola okufunibwa ku bwereere mu nnimi ezisukka mu 900! Buno bukakafu bwa nkukunala obulaga nti Yakuwa ayamba omuddu omwesigwa. Omulimu gw’okubuulira nagwo bukakafu obulaga nti Yakuwa awa omuddu omwesigwa emikisa. Amawulire amalungi kati gabuulirwa “mu nsi yonna.” (Mat. 24:14) Tewali kubuusabuusa nti Yakuwa awa ekibiina kye obulagirizi era ekiwa omukisa.

17. Tuyinza tutya okukiraga nti tuwagira ekibiina Yakuwa ky’akozesa?

17 Buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza, ‘Ngitwala nga nkizo okuba mu kitundu eky’oku nsi eky’ekibiina kya Yakuwa?’ Okufaananako omuliro ogwava mu ggulu ne gwokya ekiweebwayo mu nnaku za Musa ne Alooni, Yakuwa atuwadde obukakafu obw’enkukunala obulaga nti akozesa ekibiina kye. Mazima ddala tusaanidde okusiima ennyo Yakuwa. (1 Bas. 5:18, 19) Tuyinza tutya okukiraga nti tuwagira ekibiina Yakuwa ky’akozesa? Tukikola nga tukolera ku bulagirizi obutuweebwa mu bitabo byaffe ne mu nkuŋŋaana ennene n’entono. Ate era tulaga nti tukiwagira nga twenyigira mu bujjuvu mu mulimu gw’okubuulira n’okuyigiriza.​—1 Kol. 15:58.

18. Kiki ky’omaliridde okukola?

18 Ka tube bamalirivu okukolera ku ebyo bye tuyize mu kitabo ky’Eby’Abaleevi. Ka tufube okulaba nti Yakuwa asiima ssaddaaka zaffe. Ka tuweereze Yakuwa olw’okuba tusiima by’atukolera. Ka tweyongere okuwa Yakuwa ekyo ekisingayo obulungi olw’okuba tumwagala n’omutima gwaffe gwonna. Ate era ka tukole kyonna ekisoboka okuwagira ekibiina Yakuwa ky’akozesa leero. Bwe tukola ebintu ebyo, tuba tulaga Yakuwa nti tusiima enkizo gye yatuwa ey’okuba Abajulirwa be!

OLUYIMBA 96 Ekitabo kya Katonda​—Kya Bugagga

^ lup. 5 Ekitabo ky’Eby’Abaleevi kirimu amateeka Yakuwa ge yawa Isirayiri ey’edda. Abakristaayo tetuli wansi w’amateeka ago, naye tulina bingi bye tusobola okugayigirako. Mu kitundu kino tugenda kulaba ebyo bye tuyiga mu kitabo ky’Eby’Abaleevi.

^ lup. 4 Obubaani obwayoterezebwanga mu weema entukuvu bwatwalibwanga nti butukuvu, era mu Isirayiri ey’edda bwakozesebwanga mu kusinza Yakuwa mwokka. (Kuv. 30:34-38) Tewali kiraga nti Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka baayoterezanga obubaani mu kusinza kwabwe.

^ lup. 9 Okumanya ebisingawo ku biweebwayo eby’emirembe, laba Insight on the Scriptures, Omuzingo 2, lup. 526.

^ lup. 54 EBIFAANANYI: Ku Lunaku olw’Okutangirirako Ebibi, kabona asinga obukulu yayingiranga Awasinga Obutukuvu ng’alina obubaani n’ekyoterezo ekyabangako amanda agaaka okwotereza obubaani okujjuza ekifo kyonna akaloosa. Oluvannyuma yaddangamu okuyingira mu Awasinga Obutukuvu ng’alina omusaayi gw’ekiweebwayo olw’ekibi.

^ lup. 56 EBIFAANANYI: Omuyisirayiri ng’akwasa kabona endiga ya ssaddaaka ey’emirembe okulaga nti ye n’ab’omu maka ge basiima Yakuwa.

^ lup. 58 EBIFAANANYI: Mu buweereza bwe bwonna obw’oku nsi, Yesu yakiraga nti ayagala nnyo Yakuwa ng’akwata amateeka ge era ng’ayamba abagoberezi be okugakwata.

^ lup. 60 EBIFAANANYI: Mwannyinaffe akaddiye, awa Yakuwa ekisingayo obulungi ng’abuulira ng’akozesa amabaluwa.

^ lup. 62 EBIFAANANYI: Mu Febwali 2019, Ow’oluganda Gerrit Lösch ali ku Kakiiko Akafuzi yafulumya Enkyusa ey’Ensi Empya mu Lugirimaani era ekyo kyasanyusa nnyo ab’oluganda. Leero ababuulizi mu Bugirimaani, okufaananako bannyinaffe bano ababiri, babuulira nga bakozesa Bayibuli eyo eyafulumizibwa.