Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 49

Waliwo Ekiseera eky’Okukola n’Eky’Okuwummula

Waliwo Ekiseera eky’Okukola n’Eky’Okuwummula

“Mujje . . . mu kifo etali bantu muwummuleko.”​—MAK. 6:31.

OLUYIMBA 143 Weeyongere Okulindirira n’Obugumiikiriza

OMULAMWA *

1. Abantu batwala batya okukola?

ABANTU abasinga obungi mu kitundu gy’obeera batwala batya okukola? Mu nsi nnyingi abantu bakola nnyo era bamala essaawa nnyingi ku mirimu okusinga bwe kyabanga edda. Emirundi mingi abantu abakola ennyo tebaba na kiseera kuwummulako, kubeerako wamu na ba mu maka gaabwe, oba okukola ku bwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo. (Mub. 2:23) Ku luuyi olulala, abantu abamu tebaagala kukola era bafuna obusongasonga bwe beekwasa baleme okukola.​—Nge. 26:13, 14.

2-3. Yakuwa ne Yesu baatuteerawo kyakulabirako ki ku kukola?

2 Kyeyoleka lwatu nti abantu bangi mu nsi tebalina ndowooza nnuŋŋamu ku kukola. Naye lowooza ku ndowooza Yakuwa ne Yesu gye balina ku kukola. Awatali kubuusabuusa Yakuwa mukozi, era kino Yesu yakyoleka bwe yagamba nti: “N’okutuusa kaakano Kitange akola, era nange nkola.” (Yok. 5:17) Lowooza ku mulimu omunene Katonda gwe yakola bwe yatonda ebitonde ebingi ennyo eby’omwoyo awamu n’obwengula. Ate era ebintu ebingi ennyo bye tulaba ku nsi biraga omulimu omunene Katonda gwe yakola. Eyo ye nsonga lwaki omuwandiisi wa zabbuli yagamba nti: “Bye wakola nga bingi, Ai Yakuwa! Byonna wabikola n’amagezi. Ensi ejjudde ebintu bye wakola.”​—Zab. 104:24.

3 Yesu yakoppa Kitaawe. Katonda “bwe yali ateekateeka eggulu” Yesu yakolera wamu naye. Yesu yali ne Yakuwa, ng’akola “ng’omukozi omukugu.” (Nge. 8:27-31) Ate oluvannyuma Yesu bwe yajja ku nsi, yakola n’obunyiikivu. Okukola kwali ng’emmere gy’ali, era ebyo bye yakola byalaga nti Katonda ye yali amutumye.​—Yok. 4:34; 5:36; 14:10.

4. Kiki kye tuyigira ku Yakuwa ne Yesu ku bikwata ku kuwummula?

4 Okuba nti Yakuwa ne Yesu bakozi banyiikivu, kitegeeza nti tetulina kuwummula? Nedda. Yakuwa takoowa, n’olwekyo teyeetaaga kuwummula oluvannyuma lw’okukola omulimu ogw’amaanyi. Naye Bayibuli egamba nti Yakuwa bwe yamala okutonda eggulu n’ensi, ‘yawummula.’ (Kuv. 31:17) Ekyo kitegeeza nti yasirisaamu mu kukola, n’amala ekiseera ng’asanyukira ebyo bye yali akoze. Ate era wadde nga Yesu yali mukozi munyiikivu ng’ali ku nsi, yafunangayo ekiseera n’awummulamu era n’aliirako wamu ne mikwano gye.​—Mat. 14:13; Luk. 7:34.

5. Bangi ku bantu ba Katonda boolekagana na kizibu ki?

5 Bayibuli ekubiriza abantu ba Katonda okuba abakozi. Tebalina kuba bagayaavu wabula balina okuba abakozi abanyiikivu. (Nge. 15:19) Oboolyawo olina omulimu gw’okola okweyimirizaawo awamu n’ab’omu maka go. Ate era abayigirizwa ba Kristo bonna balina omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi. Wadde kiri kityo, weetaaga okuwummula ekimala. Oluusi okisanga nga kizibu okufuna ekiseera ekimala okukola omulimu ogukuyimirizaawo, okubuulira, n’okuwummula? Tusaanidde kukola kyenkana wa era tusaanidde kuwummula kyenkana wa?

OKUBA N’ENDOWOOZA ENNUŊŊAMU KU KUKOLA N’OKUWUMMULA

6. Makko 6:30-34 walaga watya nti Yesu yalina endowooza etagudde lubege ku kukola ne ku kuwummula?

6 Kikulu okuba n’endowooza entuufu ku kukola. Kabaka Sulemaani yaluŋŋamizibwa okuwandiika nti: “Buli kintu kiba n’ekiseera kyakyo, na buli ekikolebwa.” Sulemaani yayogera ku kusimba, ku kuzimba, ku kukaaba, ku kuseka, ku kuzina, ne ku bintu ebirala. (Mub. 3:1-8) Kya lwatu nti okukola n’okuwummula bintu bikulu nnyo mu bulamu. Yesu yalina endowooza etagudde lubege ku kukola ne ku kuwummula. Lumu abatume ba Yesu baali babuulidde nnyo nga tebafunye na “kiseera kya kuwummulamu wadde eky’okulya emmere.” Yesu yabagamba nti: “Mujje tugende mu kifo etali bantu muwummuleko.” (Soma Makko 6:30-34.) Wadde nga Yesu n’abayigirizwa be oluusi tebaafunanga kiseera kya kuwummula nga bwe bandyagadde, Yesu yali akimanyi nti bonna baali beetaaga okuwummula.

7. Okwekenneenya ebikwata ku tteeka lya Ssabbiiti kinaatuyamba kitya?

7 Oluusi kyetaagisa okuwummulako oba okukyusa mu bintu bye tukola buli lunaku. Ekyo tukirabira ku nteekateeka ya Ssabbiiti eya buli wiiki Yakuwa gye yateerawo Abayisirayiri ab’edda. Tetuli wansi wa Mateeka ga Musa naye bwe twekenneenya ebyo Amateeka ago bye googera ku Ssabbiiti, tuganyulwa. Bituyamba okumanya obanga tulina endowooza entuufu ku kukola ne ku kuwummula.

SSABBIITI​—KYALI KISEERA KYA KUWUMMULA NA KUSINZA

8. Okusinziira ku Okuva 31:12-15, Ssabbiiti lwabanga lunaku lwa ki?

8 Ekigambo kya Katonda kigamba nti, oluvannyuma lw’okumala “ennaku” mukaaga ng’atonda, Katonda yalekera awo okutonda ebintu ku nsi. (Lub. 2:2) Wadde kiri kityo, Yakuwa ayagala nnyo okukola era ‘n’okutuusa kati akyakola.’ (Yok. 5:17) Yakuwa yamala “ennaku” mukaaga ng’akola, n’awummula ku “lunaku” olw’omusanvu era yagamba Abayisirayiri okuwummulanga ku lunaku olw’omusanvu. Katonda yagamba nti Ssabbiiti kaali kabonero wakati we n’Abayisirayiri. Ssabbiiti lwali lunaku lwa ‘kuwummulira ddala, nga lutukuvu eri Yakuwa.’ (Soma Okuva 31:12-15.) Ekiragiro eky’okuwummula ku Ssabbiiti kyali kikwata ku bantu bonna, nga mwe mwali n’abaana n’abaddu, era kyakwatanga ne ku nsolo za waka. (Kuv. 20:10) Ekiseera kya Ssabbiiti kyasobozesanga abantu okulowooza ku bintu eby’omwoyo.

9. Mu kiseera kya Yesu, ndowooza ki etali ntuufu eyaliwo eyali ekwata ku Ssabbiiti?

9 Olunaku lwa Ssabbiiti lwaganyulanga nnyo abantu ba Katonda; naye mu kiseera kya Yesu abakulembeze b’eddiini baali bassaawo obuteekateeka obukwata ku ngeri y’okukwatamu Ssabbiiti. Ng’ekyokulabirako, baagamba nti, omuntu yali takkirizibwa kunoga kirimba kya ŋŋaano ku Ssabbiiti, oba okuwonya omulwadde. (Mak. 2:23-27; 3:2-5) Obuteekateeka ng’obwo bwali tebulaga ndowooza ya Yakuwa, era ekyo Yesu yakyoleka bulungi eri abo abaali bamuwuliriza.

Amaka Yesu mwe yakulira gaakozesanga olunaku lwa Ssabbiiti okwenyigira mu bintu eby’omwoyo (Laba akatundu 10) *

10. Matayo 12:9-12 walaga ki ku ndowooza Yesu gye yalina ku Ssabbiiti?

10 Yesu n’abagoberezi be baakwatanga Ssabbiiti olw’okuba baali wansi wa Mateeka ga Musa. * Naye Yesu yakiraga mu bigambo ne mu bikolwa nti tekyali kikyamu okukolera abantu ebintu ebirungi ku Ssabbiiti. Yagamba nti: “Kikkirizibwa okukola ekintu ekirungi ku Ssabbiiti.” (Soma Matayo 12:9-12.) Okukolera abantu ebintu eby’ekisa era ebibayamba yali takitwala ng’okumenya etteeka lya Ssabbiiti. Ebyo Yesu bye yakola, byalaga nti yali ategeera bulungi ensonga lwaki Yakuwa yagamba abantu be okuwummulanga ku Ssabbiiti. Olw’okuba abantu tebaakolanga mirimu ku Ssabbiiti baabanga basobola okulowooza ku bintu eby’omwoyo. Amaka Yesu ge yakuliramu gateekwa okuba nga gaakozesanga olunaku lwa Ssabbiiti okusinza Katonda n’okweyongera okumusemberera. Ekyo tukirabira ku ebyo bye tusoma ku Yesu bwe yali mu kabuga k’ewaabwe ak’e Nazaaleesi. Bayibuli egamba nti: “Ng’enkola [ya Yesu] bwe yabanga ku Ssabbiiti, yayingira mu kkuŋŋaaniro, n’ayimirira okusoma.”​—Luk. 4:15-19.

OLINA NDOWOOZA KI KU KUKOLA?

11. Yesu bwe yali ku nsi, ani yamuteerawo ekyokulabirako ekirungi ku bikwata ku kukola?

11 Yusufu yalina endowooza ya Yakuwa ku kukola bwe yali ayigiriza Yesu omulimu gw’okubajja. (Mat. 13:55, 56) Era Yesu yalabanga Yusufu ng’akola n’obunyiikivu okulabirira amaka ge agaali amanene. Kituukirawo okuba nti Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Omukozi agwanira empeera ye.” (Luk. 10:7) Kya lwatu nti Yesu yali mukozi munyiikivu.

12. Byawandiikibwa ki ebiraga ekyo Bayibuli ky’eyogera ku kukola n’obunyiikivu?

12 Omutume Pawulo naye yali mukozi munyiikivu. Omulimu gwe omukulu gwali gwa kuwa bujulirwa ku linnya lya Yesu n’ebintu Yesu bye yayigiriza. Wadde kiri kityo, Pawulo yakola omulimu ogw’okweyimirizaawo. Abakristaayo ab’omu Ssessalonika baali bakimanyi bulungi nti Pawulo ‘yakolanga nnyo emisana n’ekiro’ aleme ‘kutikka’ muntu n’omu mugugu. (2 Bas. 3:8; Bik. 20:34, 35) Pawulo bwe yawandiika ebikwata ku mulimu gwe, ayinza okuba nga yali ategeeza omulimu gw’okukola weema. Bwe yali mu Kkolinso, yabeeranga wamu ne Akula ne Pulisikira, ng’akola nabo “kubanga bonna baali bakozi ba weema.” Okuba nti Pawulo yakolanga “emisana n’ekiro” tekitegeeza nti yali tawummula. Oluusi yawummulangamu mu kukola weema, gamba nga ku Ssabbiiti. Olunaku lwa Ssabbiiti yalukozesanga okubuulira Abayudaaya kubanga nabo tebaakolanga ku lunaku olwo.​—Bik. 13:14-16, 42-44; 16:13; 18:1-4.

13. Kiki kye tuyigira ku Pawulo?

13 Omutume Pawulo yassaawo ekyokulabirako ekirungi. Wadde nga yalina okukola omulimu okusobola okweyimirizaawo, yeenyigiranga obutayosa “mu mulimu omutukuvu ogw’okubuulira amawulire amalungi agakwata ku Katonda.” (Bar. 15:16; 2 Kol. 11:23) Yakubiriza n’abalala okukola kye kimu. N’ekyavaamu, Akula ne Pulisikira baali ‘bakozi banne mu Kristo Yesu.’ (Bar. 12:11; 16:3) Pawulo yakubiriza Abakkolinso okuba “n’eby’okukola bingi mu mulimu gwa Mukama waffe.” (1 Kol. 15:58; 2 Kol. 9:8) Ate era Yakuwa yaluŋŋamya Pawulo okuwandiika nti: “Omuntu yenna atayagala kukola, n’okulya talyanga.”​—2 Bas. 3:10.

14. Mu kwogera ebigambo ebiri mu Yokaana 14:12, Yesu yali ategeeza ki?

14 Omulimu ogusinga obukulu mu nnaku zino ez’enkomerero gwe gw’okubuulira n’okufuula abantu abayigirizwa. Mu butuufu Yesu yagamba nti abayigirizwa be bandikoze omulimu ogusinga n’ogugwe! (Soma Yokaana 14:12.) Yali tategeeza nti twandikoze ebyamagero nga ye. Wabula yali ategeeza nti abagoberezi be bandibuulidde era bandiyigirizza mu kitundu kinene nnyo okusinga ye kye yabuuliramu, bandibuulidde abantu bangi okusinga ye be yabuulira, era omulimu bandigukoze okumala ekiseera kiwanvu okusinga ye kye yamala ng’akola.

15. Bibuuzo ki bye tusaanidde okwebuuza, era lwaki?

15 Bw’oba ng’okola omulimu ogukuyimirizaawo, weebuuze: ‘Ku mulimu mmanyiddwa ng’omukozi omunyiikivu? Emirimu gyange ngimalira mu budde era ngikola n’omutima gwange gwonna?’ Bwe kiba nti eky’okuddamu kiri nti yee, mukama wo ku mulimu ayinza okukwesiga. Ate era kiyinza okuviirako bakozi banno okuwuliriza obubaka bw’Obwakabaka. Ate bwe kituuka ku mulimu gw’okubuulira n’okuyigiriza, weebuuze: ‘Mmanyiddwa ng’omukozi omunyiikivu? Nneeteekateeka bulungi nga ŋŋenda okubuulira? Nzirayo mangu eri abantu ababa balaze okusiima? Nneenyigira obutayosa mu ngeri ez’enjawulo ez’okubuulira?’ Bw’oba ng’oddamu nti yee, ojja kunyumirwa obuweereza bwo.

NDOWOOZA KI GY’OLINA KU KUWUMMULA?

16. Endowooza Yesu n’abatume be gye baalina ku kuwummula eyawukana etya ku eyo abantu bangi gye balina leero?

16 Yesu yali akimanyi nti oluusi abatume be baali beetaaga okuwummula. Naye abantu bangi mu kiseera ekyo ne mu kiseera kyaffe bafaananako omusajja omugagga Yesu gwe yayogerako mu lugero olumu. Omusajja oyo yeegamba nti: “Weewummulire, olye, onywe, era osanyuke.” (Luk. 12:19; 2 Tim. 3:4) Omutima gwe yagumalira ku kuwummula na kwesanyusa. Okwawukana ku musajja oyo, Yesu n’abatume be tebeemalira ku kwesanyusa.

Okuba n’endowooza etagudde lubege ku kukola n’okuwummula kitusobozesa okukola ebintu ebirungi ebituzzaamu amaanyi (Laba akatundu 17) *

17. Tukozesa tutya ebiseera bye tuba tuwummudde ku mirimu gyaffe?

17 Leero tufuba okukoppa Yesu ng’ebiseera bye tutaba ku mirimu gyaffe tetubikozesa kuwummulamu kyokka, wabula nga tubikozesa n’okubuulira abalala awamu n’okubaawo mu nkuŋŋaana. Mu butuufu, okufuula abantu abayigirizwa n’okubaawo mu nkuŋŋaana tukitwala nga kikulu nnyo ne kiba nti tufuba okubyenyigiramu obutayosa. (Beb. 10:24, 25) Ne bwe tuba nga tulina gye tuba tugenze okuwummulako, tusigala tugoberera enteekateeka yaffe ey’eby’omwoyo nga tubaawo mu nkuŋŋaana yonna gye tuba tuli, era nga tukozesa akakisa konna ke tufuna okubuulira abo be tuba tusanze.​—2 Tim. 4:2.

18. Kiki Kabaka waffe Yesu Kristo ky’ayagala tukole?

18 Nga tuli basanyufu nnyo okuba nti Kabaka waffe, Yesu Kristo, tatusuubiramu kye tutasobola, era atuyamba okuba n’endowooza entuufu ku kukola ne ku kuwummula! (Beb. 4:15) Ayagala tuwummule ekimala. Ate era ayagala tukole n’obunyiikivu okweyimirizaawo n’okwenyigira mu mulimu ogw’okufuula abantu abayigirizwa. Mu kitundu ekiddako tugenda kulaba ekyo Yesu kye yakola okutusumulula mu buddu obubi ennyo.

OLUYIMBA 38 Ajja Kukuwa Amaanyi

^ lup. 5 Ebyawandiikibwa bituyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku kukola ne ku kuwummula. Mu kitundu kino tugenda kwekenneenya ebikwata ku Ssabbiiti Abayisirayiri ze baakwatanga era tulabe engeri gye bituyamba okumanya endowooza gye tusaanidde okuba nayo ku kukola ne ku kuwummula.

^ lup. 10 Abayigirizwa ba Yesu baali bassa nnyo ekitiibwa mu tteeka lya Ssabbiiti ne kiba nti baayimirizaamu ebyo bye baali bateekateeka okussa ku mulambo gwa Yesu okutuusa nga Ssabbiiti ewedde.​—Luk. 23:55, 56.

^ lup. 55 EBIFAANANYI: Yusufu atwala ab’omu maka ge mu kkuŋŋaaniro ku Ssabbiiti.

^ lup. 57 EBIFAANANYI: Taata akola ennyo okulabirira ab’omu maka ge akozesa ebiseera by’aba nga tali ku mulimu okwenyigira mu bintu eby’omwoyo, ne bw’aba ng’agenze n’ab’omu maka ge okuwummulako.