Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okunoonya Amazima

Okunoonya Amazima

Okumanya amazima kiyinza okuwonya obulamu bwaffe. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ngeri obulamu bwaffe gye bukwatibwako olw’okumanya eky’okuddamu mu kibuuzo kino, Endwadde zisaasaana zitya?

Okumala emyaka mingi, tewali n’omu yali amanyidde ddala kyakuddamu mu kibuuzo ekyo. Mu kiseera ekyo, endwadde nnyingi zatta abantu bukadde na bukadde. Oluvannyuma, bannassaayansi baazuula ekituufu. Baakizuula nti ebiseera ebisinga endwadde zireetebwa buwuka obusirikitu. Okumanya ekyo kiyambye abantu okwewala endwadde nnyingi n’okuzijjanjaba, era kireetedde abantu bangi okuwangaala n’okuba abalamu obulungi.

Ate kiri kitya ku bibuuzo ebirala ebikulu? Okumanya eby’okuddamu mu bibuuzo bino wammanga kinaakuyamba kitya?

  • Katonda y’ani?

  • Yesu Kristo y’ani?

  • Obwakabaka bwa Katonda kye ki?

  • Biki ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso?

Abantu bukadde na bukadde bafunye eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo era obulamu bwabwe bulongoose nnyo. Naawe osobola okuganyulwa bw’onoofuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo.

KISOBOKA OKUZUULA AMAZIMA?

Oyinza okwebuuza nti, ‘Nnyinza ntya okuzuula amazima agakwata ku kintu?’ Okumanya amazima agakwata ku bintu ebisinga obungi si kyangu. Lwaki?

Abantu bangi tebeesiga bannabyabufuzi, abasuubuzi, oba bannamawulire okubabuulira amazima. Si kyangu abantu okumanya obanga abalala bye bababuulira bituufu, babawa ndowooza zaabwe, balina bye babakweka, oba babalimba. Olw’okuba abantu bangi tebeesigika era nga balimba, kizibuwalira abalala okukkiriza amazima n’emiganyulo gye bayinza okufuna olw’okugamanya.

Wadde kiri kityo, kisoboka okufuna eby’okuddamu ebituufu mu bibuuzo ebisinga obukulu mu bulamu. Kisoboka kitya? Ng’okola ebyo by’otera okukola bulijjo okusobola okumanya ekituufu.

ENGERI GY’ONOONYAMU AMAZIMA

Mu ngeri emu oba endala, otera okunoonya amazima. Lowooza ku Jessica. Agamba nti: “Omubiri gwa muwala wange gugaana eby’okulya ebimu gamba ng’ebinyeebwa, era ne bw’alyako katono katya ayinza okufa.” Jessica alina okukakasa nti eby’okulya by’agulira muwala we tebijja kumukola bubi. Agamba nti: “Kye nsooka okukola kwe kusoma ebiwandiikiddwa ku mmere gye ŋŋenda okugula nsobole okumanya ebyateekebwamu. Oluvannyuma nnoonyereza ekisingawo era ne nneebuuza ku baagitabula nsobole okumanya obanga teyateekebwamu binyeebwa wadde akatono. Ate era nneeyongera okunoonyereza ebikwata ku kampuni eyo mmanye obanga yeesigika.”

By’otera okunoonyerezaako mu bulamu biyinza okuba nga si bikulu nnyo ng’ebya Jessica, naye okufaananako Jessica, osobola okugoberera enkola eno wammanga osobole okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo by’oyinza okuba nabyo:

  • Funa obukakafu.

  • Nnoonyereza ekisingawo.

  • Kakasa nti by’onoonyerezaamu byesigika.

Okunoonyereza mu ngeri eyo kiyinza okukuyamba okufuna eby’okuddamu ebyesigika mu bibuuzo ebikulu mu bulamu. Mu ngeri ki?

EKITABO EKY’ENJAWULO EKIRIMU AMAZIMA

Jessica bwe yali ayagala okumanya eby’okuddamu mu bibuuzo ebisinga obukulu mu bulamu, yakozesa enkola y’emu ng’eyo gy’akozesa ng’anoonyereza ku mmere ya muwala we. Agamba nti, “Okusoma Bayibuli n’okunoonyereza n’obwegendereza byannyamba okufuna eby’okuddamu ebituufu.” Okufaananako Jessica, abantu bukadde na bukadde basobodde okumanya engeri Bayibuli gy’eddamu ebibuuzo bino:

  • Lwaki twatondebwa?

  • Kiki ekituuka ku muntu ng’afudde?

  • Lwaki waliwo okubonaabona kungi?

  • Katonda anaggyawo atya okubonaabona?

  • Amaka gaffe gasobola gatya okubaamu essanyu?

Bayibuli esobola okukuyamba okufuna eby’okuddamu ebituufu mu bibuuzo ebyo awamu n’ebirala era osobola n’okunoonyereza ku mukutu www.pr418.com/lg.