Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Amazima Agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda

Amazima Agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda

Yesu yayigiriza abagoberezi be okusaba nti: “Kitaffe ali mu ggulu, erinnya lyo litukuzibwe. Obwakabaka bwo bujje. By’oyagala bikolebwe mu nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu.” (Matayo 6:9, 10) Obwakabaka bwa Katonda kye ki? Biki bye bukola? Era lwaki tusaanidde okusaba bujje?

Yesu Ye Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda.

Lukka 1:31-33: “Olimutuuma erinnya Yesu. Oyo aliba mukulu era aliyitibwa Mwana w’Oyo Asingayo Okuba Waggulu; era Yakuwa Katonda alimuwa entebe ya Dawudi jjajjaawe; alifuga ennyumba ya Yakobo nga Kabaka emirembe gyonna, era Obwakabaka bwe tebuliggwaawo.”

Yesu yasinga kubuulira bikwata ku Bwakabaka.

Matayo 9:35: “Yesu n’agenda mu bibuga byonna ne mu byalo, ng’ayigiriza mu makuŋŋaaniro gaabwe, ng’abuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka era ng’awonya endwadde eza buli kika.”

Yesu yabuulira abayigirizwa be ebyandibayambye okumanya nti Obwakabaka bunaatera okujja.

Matayo 24:7: “Eggwanga lirirumba eggwanga, n’obwakabaka bulirumba obwakabaka, era walibaawo enjala ne musisi mu bifo ebitali bimu.”

Abagoberezi ba Yesu leero babuulira ebikwata ku Bwakabaka mu nsi yonna.

Matayo 24:14: “N’amawulire gano amalungi ag’Obwakabaka galibuulirwa mu nsi yonna okuba obujulirwa eri amawanga gonna, olwo enkomerero n’eryoka ejja.”