Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | MATAYO 20-21

“Buli Ayagala Okuba Omukulu mu Mmwe Ateekeddwa Okubeera Omuweereza Wammwe”

“Buli Ayagala Okuba Omukulu mu Mmwe Ateekeddwa Okubeera Omuweereza Wammwe”

20:28

Abawandiisi n’Abafalisaayo baali ba malala, era baayagalanga nnyo okulabibwa abantu n’okulamusibwa mu butale

Abawandiisi n’Abafalisaayo baali ba malala era baayagalanga nnyo ebitiibwa n’abantu okubalaba. (Mat 23:5-7) Naye Yesu yali wa njawulo. Yagamba nti: “Omwana w’omuntu teyajja kuweerezebwa, wabula okuweereza.” (Mat 20:28) Mu buweereza bwaffe, tukola ebintu nga twagala abantu batulabe basobole okututendereza? Bwe tuba twagala okuba ab’ebitiibwa mu maaso ga Yakuwa, tusaanidde okukoppa Yesu nga tuweereza abalala. Ebintu bye tukola nga tuweereza abalala, abantu bayinza obutabiraba, naye Yakuwa aba abiraba. (Mat 6:1-4) Omuntu omuwombeefu . . .

  • yeenyigira mu kulongoosa n’okuddaabiriza Ekizimbe ky’Obwakabaka

  • afaayo okuyamba bannamukadde n’abantu abalala

  • awaayo ssente okuwagira omulimu gw’Obwakabaka