Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Tuyinza Tutya Okukulaakulanya Okwagala eri Katonda n’Eri Muliraanwa?

Tuyinza Tutya Okukulaakulanya Okwagala eri Katonda n’Eri Muliraanwa?

Wadde ng’Abakristaayo tetukyali wansi w’Amateeka ga Musa, amateeka ababiri agasinga obukulu mu mateeka ago—​okwagala Katonda n’okwagala muliraanwa​—gakwata ku ebyo byonna Yakuwa by’ayagala tukole. (Mat 22:37-39) Okwagala ng’okwo tetuzaalibwa nakwo, wabula tulina kukukulaakulanya. Ekyo tuyinza kukikola tutya? Engeri emu enkulu kwe kusoma Bayibuli buli lunaku. Bwe tusoma ku ngeri za Katonda eziragibwa mu Byawandiikibwa, tusobola okulaba ‘obulungi bwa Yakuwa.’ (Zb 27:4) N’ekivaamu, tweyongera okwagala Yakuwa era tufuna endowooza ng’eyiye. Ekyo kituleetera okugondera amateeka ge, nga mw’otwalidde n’eryo erikwata ku kulaga abalala okwagala. (Yok 13:34, 35; 1Yo 5:3) Ka tulabe amagezi ga mirundi esatu agasobola okutuyamba okunyumirwa okusoma Bayibuli:

  • Soma nga bw’okuba akafaananyi. Kuba akafaananyi nga ggwe ali mu mbeera eyo gy’osomako. Biki bye wandirabye, bye wandiwulidde, oba bye wandiwunyirizza? Abo b’osomako bayinza kuba nga baali bawulira batya?

  • Kyusakyusaamu mu ngeri gy’osomamu. Oyinza okukola bino: Oyinza okusoma mu ddoboozi eriwulikika, oba okuwuliriza ebisomebwa nga bw’ogoberera. Oyinza okusoma ku muntu oba ku nsonga eyogerako mu Bayibuli, mu kifo ky’okusoma essuula nga bwe ziddiriŋŋana. Ng’ekyokulabirako, oyinza okukozesa Ebyongerezeddwako A7 oba B12 mu Enkyusa ey’Ensi Empya, okusoma ebikwata ku Yesu. Osobola okusoma essuula yonna ekyawandiikibwa eky’olunaku mwe kiggiddwa. Ate era osobola okusoma ebitabo bya Bayibuli nga bwe biddiriŋŋana, okusinziira ku biseera mwe baabiwandiikira.

  • Soma n’ekigendererwa eky’okutegeera. Okusoma essuula emu buli lunaku n’ogitegeera bulungi era n’ogifumiitirizaako, kisinga okusoma essuula nnyingi ng’oyagala okumalako Bayibuli. Fumiitiriza ku mbeera eyaliwo. Weetegereze ebizingirwamu byonna. Kozesa mmaapu n’ebyawandiikibwa ebiri mu miwaatwa. Noonyereza waakiri ku nsonga emu gy’otategedde. Bwe kiba kisoboka, kozesa obudde bwe bumu okufumiitiriza, ng’obwo bw’okozesezza ng’osoma.