Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Weesige Yakuwa Bwe Wabaawo Abakuyiikiriza

Weesige Yakuwa Bwe Wabaawo Abakuyiikiriza

Bwe batuyiikiriza kiyinza okutwennyamiza. Abo abatuyiikiriza bwe bavumirira enzikiriza zaffe ne tutya, kisobola okutuleetera okuddirira mu by’omwoyo. Kiki ekiyinza okukuyamba ng’oyiikirizibwa?

Abaweereza ba Yakuwa bangi basobodde okwaŋŋanga okuyiikirizibwa olw’okuba beesiga Yakuwa. (Zb 18:17) Ng’ekyokulabirako, Eseza yabuulira Kabaka olukwe Kamani lwe yali akoze. (Es 7:​1-6) Naye ekyo bwe yali tannakikola, yakiraga nti yeesiga Yakuwa ng’asiiba. (Es 4:​14-16) Yakuwa yawa Eseza emikisa olw’ebyo bye yakola era n’amukuuma awamu n’abantu ba Yakuwa.

Abavubuka, bwe wabaawo ababayiikiriza, musabe Yakuwa abayambe era mwogereko n’abantu abakulu gamba nga bazadde bammwe ku mbeera gye muyitamu. Mube bakakafu nti Yakuwa ajja kubayamba nga bwe yayamba Eseza. Kiki ekirala kye muyinza okukola okwaŋŋanga okuyiikirizibwa?

MULABE VIDIYO BWE NNALI OMUTIINI​—NNYINZA NTYA OKUGUMIRA OKUYIIKIRIZIBWA? OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Kiki abavubuka kye bayinza okuyigira ku Charlie ne Ferin?

  • Kiki abazadde kye bayinza okuyigira ku Charlie ne Ferin ku ngeri gye bayinza okuyambamu abaana baabwe bwe baba nga bayiikirizibwa?