Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Abasumba Abakola Ennyo Okuyamba Abantu ba Katonda

Abasumba Abakola Ennyo Okuyamba Abantu ba Katonda

Abantu bangi tebeesiga abo abali mu buyinza. Lwaki kiri bwe kityo? Olw’okuba abantu bangi ababa mu buyinza bakozesa bubi obuyinza bwabwe nga baagala okwekkusa. (Mi 7:3) Nga tuli basanyufu nnyo okuba nti abakadde mu kibiina batendekeddwa okukozesa obuyinza bwabwe okuyamba abantu ba Yakuwa!​—Es 10:3; Mat 20:​25, 26.

Obutafaananako ab’obuyinza mu nsi, abakadde mu kibiina bakola omulimu gwabwe ogw’okulabirira abantu ba Yakuwa, olw’okuba baagala Yakuwa n’abantu be. (Yok 21:16; 1Pe 5:​1-3) Nga bakolera wansi w’obulagirizi bwa Yesu, abakadde bayamba buli mubuulizi mu kibiina okuwulira nti wa mu maka ga Yakuwa era n’okumuyamba okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa. Bazzaamu endiga za Yakuwa amaanyi, era basitukiramu okuyamba abo ababa beetaaga obujjanjabi obw’amangu oba abo ababa bagwiriddwako obutyabaga. Bw’oba weetaaga obuyambi, totya kutuukirira omu ku bakadde mu kibiina kyo.​—Yak 5:14.

MULABE VIDIYO, ABASUMBA ABAFAAYO KU NDIGA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Mariana yaganyulwa atya mu buyambi obwamuweebwa abakadde?

  • Elias yaganyulwa atya mu buyambi obwamuweebwa abakadde?

  • Ebyo by’olabye mu vidiyo bikutte bitya ku ngeri gy’otwalamu emirimu abakadde gye bakola?