Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Yakuwa Ayamba abo Abaweddemu amaanyi

Yakuwa Ayamba abo Abaweddemu amaanyi

Ebiseera ebimu ffenna tufuna ebitunakuwaza. Kyokka ekyo tekitegeeza nti tuba tuddiridde mu by’omwoyo. Bayibuli eraga nti ebiseera ebimu ne Yakuwa afuna ebimunakuwaza. (Lub 6:​5, 6) Naye watya singa tutera okufuna ebintu ebitunakuwaza ennyo oba ebitunakuwaza buli kiseera?

Saba Yakuwa akuyambe. Yakuwa afaayo nnyo ku ngeri gye tuwuliramu. Bwe tuba abasanyufu oba abanakuwavu, akimanya. Amanyi ensonga lwaki tuyinza okulowooza oba okuwulira mu ngeri emu. (Zb 7:9b) N’ekisingira ddala, Yakuwa atufaako era asobola okutuyamba okwaŋŋanga embeera ezituleetera okunakuwala oba okwennyamira.​—Zb 34:18.

Fuga ebirowoozo byo. Okulowooza ku bintu ebimalamu amaanyi kisobola okutumalako essanyu, era kisobola okutuleetera okuddirira mu by’omwoyo. Eyo ye nsonga lwaki tusaanidde okukuuma omutima gwaffe ogw’akabonero, oba ekyo kye tuli munda.​—Nge 4:23.

MULABE VIDIYO BAKKIRIZA BANNAFFE ABALINA EMIREMBE KU MUTIMA WADDE NGA WALIWO EBIBENNYAMIZA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Biki Nikki bye yakola ebyamuyamba ng’alina obulwadde obw’okwennyamira?

  • Lwaki Nikki yakiraba nti yali yeetaaga okulaba omusawo?​—Mat 9:12

  • Nikki yeesiga atya Yakuwa okumuyamba?