Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

Okwagala Kwa Katonda Okutajjulukuka Kutukuuma Okuva Eri Obulimba Bwa Sitaani

Okwagala Kwa Katonda Okutajjulukuka Kutukuuma Okuva Eri Obulimba Bwa Sitaani

Sitaani ayagala abantu balowooze nti ebintu ebibi ebibatuukako Yakuwa y’abireeta (Yob 8:4)

Ayagala tulowooze nti Yakuwa tafaayo oba nga tukuuma obwesigwa bwaffe oba nedda (Yob 9:​20-22; w15 7/1 lup. 12 ¶3)

Okwagala Kwa Yakuwa okutajjulukuka kutuyamba obutabuzaabuzibwa bulimba bwa Sitaani (Yob 10:12; Zb 32:​7, 10; w21.11 lup. 6 ¶14)

GEZAAKO KINO: Bw’oba oyolekagana n’ekizibu, laba engeri ezitali zimu Yakuwa gy’akuyambamu, oziwandiike, era ozejjukanyenga.