Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 3

Yakuwa Katonda Wo Akutwala nti Oli wa Muwendo!

Yakuwa Katonda Wo Akutwala nti Oli wa Muwendo!

“Yatujjukira bwe twali nga tufeebezeddwa.”​—ZAB. 136:23.

OLUYIMBA 33 Omugugu Gwo Gukwase Yakuwa

OMULAMWA *

1-2. Mbeera ki abaweereza ba Yakuwa bangi ze boolekagana nazo, era ziyinza kubakolako ki?

LOWOOZA ku mbeera zino esatu: Ow’oluganda akyali omuvubuka azuulwamu obulwadde obw’amaanyi ennyo. Ow’oluganda omukozi omunyiikivu ali mu myaka 50 afiirwa omulimu gwe era wadde ng’afuba okunoonya omulimu omulala gumubula. Mwannyinaffe akaddiye takyasobola kukola nga bwe yakolanga edda mu buweereza bwe.

2 Bw’oba ng’oyolekagana n’embeera ng’ezo waggulu, oyinza okuwulira nti tokyali wa mugaso. Ekyo kiyinza okukumalako essanyu, okukuleetera okwenyooma, oba okutaataaganya enkolagana gy’olina n’abalala.

3. Sitaani n’abo abali wansi w’obuyinza bwe batwala batya obulamu bw’abantu?

3 Ensi eyoleka endowooza Sitaani gy’alina ku bulamu bw’abantu. Okuva edda, Sitaani azze atwala abantu ng’abatalina mugaso. Nga talina kisa, yagamba Kaawa nti bwe yandijeemedde Katonda yandifunye eddembe, wadde nga yali amanyi bulungi nti ekyo kyandiviiriddeko Kaawa okufa. Eby’obusuubuzi by’ensi, eby’obufuzi, awamu n’amadiini g’ensi biri mu buyinza bwa Sitaani. N’olwekyo, tekyewuunyisa nti bannabyabusuubuzi bangi, bannabyabufuzi, n’abakulu b’amadiini bakola ebintu ebyoleka nti tebassa kitiibwa mu bulamu bw’abantu era tebafaayo ku nneewulira zaabwe.

4. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

4 Obutafaananako Sitaani, Yakuwa ayagala tuwulire nti tuli ba mugaso era atuyamba nga twolekagana n’embeera eziyinza okutuleetera okuwulira nti tetuli ba mugaso. (Zab. 136:23; Bar. 12:3) Ekitundu kino kigenda kutuyamba okulaba engeri Yakuwa gy’atuyambamu mu mbeera zino: (1) Nga tuli balwadde, (2) nga tulina ebizibu by’eby’enfuna, ne (3) ng’okukaddiwa kutuleetedde okuwulira nti tetulina kya maanyi kye tuyinza kukola mu buweereza bwaffe eri Yakuwa. Naye ka tusooke tulabe ensonga lwaki buli omu ku ffe asobola okuba omukakafu nti wa muwendo mu maaso ga Yakuwa.

YAKUWA ATUTWALA NTI TULI BA MUWENDO

5. Kiki ekikukakasa nti abantu ba muwendo eri Yakuwa?

5 Wadde nga twakolebwa mu nfuufu, tuli ba muwendo nnyo okusinga enfuufu. (Lub. 2:7) Lowooza ku zimu ku nsonga lwaki tugamba nti tuli ba muwendo eri Yakuwa. Yakuwa yatonda abantu nga balina obusobozi obw’okwoleka engeri ze. (Lub. 1:27) Mu kukola bw’atyo, yatutonda nga tuli ba waggulu okusinga ebintu ebirala byonna bye yakola ku nsi, era yatukwasa obuvunaanyizibwa okulabirira ensi n’ensolo ezigiriko.​—Zab. 8:4-8.

6. Bukakafu ki obulala obulaga nti abantu Yakuwa abatwala nga ba muwendo?

6 N’oluvannyuma lwa Adamu okwonoona, Yakuwa yeeyongera okutwala abantu nti ba muwendo. Atutwala nti tuli ba muwendo nnyo ne kiba nti yawaayo Omwana we gw’ayagala ennyo okutufiirira. (1 Yok. 4:9, 10) Ng’asinziira ku ssaddaaka ya Yesu eyo, Yakuwa ajja kuzuukiza abo abaafa olw’ekibi kya Adamu, “abatuukirivu n’abatali batuukirivu.” (Bik. 24:15) Ekigambo kye kiraga nti tuli ba muwendo gy’ali ka tube nga tuli balwadde, nga tulina ebizibu by’eby’enfuna, oba nga tukaddiye.​—Bik. 10:34, 35.

7. Biki ebirala ebikakasa abaweereza ba Yakuwa nti Yakuwa abatwala nga ba muwendo?

7 Waliwo n’ensonga endala kwe tusinziira okuba abakakafu nti Yakuwa atutwala nti tuli ba muwendo. Yatusembeza gy’ali era yeetegeereza engeri gye twatwalamu amawulire amalungi agaatubuulirwa. (Yok. 6:44) Bwe twatandika okusemberera Yakuwa, naye yatusemberera. (Yak. 4:8) Ate era Yakuwa awaayo obudde bungi okutuyigiriza, era ekyo kiraga nti tuli ba muwendo gy’ali. Amanyi ekyo kye tuli kati n’ekyo kye tusobola okuba. Era atukangavvula olw’okuba atwagala. (Nge. 3:11, 12) Mazima ddala Yakuwa atutwala nti tuli ba muwendo!

8. Ebigambo ebiri mu Zabbuli 18:27-29 bikwata bitya ku ngeri gye tutwalamu ebizibu bye twolekagana nabyo?

8 Abantu abamu baali batwala Kabaka Dawudi ng’ataalina mugaso, naye ye Dawudi yali akimanyi nti Yakuwa yali amwagala era nti yali amuyamba. Ekyo kyayamba Dawudi okugumira embeera gye yalimu. (2 Sam. 16:5-7) Bwe tuba nga tuweddemu amaanyi oba nga twolekagana n’ebizibu, Yakuwa asobola okutuyamba okutunuulira ebintu mu ngeri endala era asobola okutuyamba okuvvuunuka ekizibu kyonna. (Soma Zabbuli 18:27-29.) Yakuwa bw’aba atuyamba, tewali kisobola kutulemesa kumuweereza nga tuli basanyufu. (Bar. 8:31) Kati ka tulabe embeera za mirundi esatu mwe twetaagira ennyo okukijjukira nti Yakuwa atwagala era nti atutwala nti tuli ba muwendo.

BWE TUBA ABALWADDE

Okusoma ebigambo bya Katonda ebiri mu Bayibuli kisobola okutuyamba okwaŋŋanga okweraliikirira kwe tufuna nga tuli balwadde (Laba akatundu 9-12)

9. Obulwadde buyinza kukwata butya ku ngeri gye twetwalamu?

9 Obulwadde busobola okutukosa mu birowoozo ne tutandika okuwulira ng’abatakyalina mugaso. Abalala bwe bakiraba nti embeera y’obulamu bwaffe si nnungi, oba bwe kiba nti abalala be balina okutukolera ebintu ebitali bimu olw’obulwadde, ekyo kiyinza okutuleetera okuwulira obuswavu. Abalala ne bwe baba nga tebamanyi nti tuli balwadde, tuyinza okuwulira obuswavu olw’obutasobola kukola bintu bye twakolanga edda. Mu biseera ng’ebyo nga twennyamidde, Yakuwa atuzzaamu amaanyi. Mu ngeri ki?

10. Okusinziira ku Engero 12:25, kiki ekisobola okutuyamba nga tuli balwadde?

10 Bwe tuba nga tuli balwadde, “ebigambo ebirungi” bisobola okutuzzaamu amaanyi. (Soma Engero 12:25.) Mu Bayibuli Yakuwa yassaamu ebigambo ebirungi ebituyamba okukijjukira nti ne bwe tuba nga tuli balwadde, tusigala tuli ba muwendo gy’ali. (Zab. 31:19; 41:3) Bwe tusoma ebigambo bya Yakuwa ebiri mu Bayibuli era ne tubiddiŋŋana, Yakuwa atuyamba okwaŋŋanga okweraliikirira kwe tufuna nga tulina balwadde.

11. Yakuwa yayamba atya ow’oluganda omu?

11 Lowooza ku Jorge. Bwe yali akyali muvubuka, Jorge yafuna obulwadde obw’amaanyi ne bumunyiikirira mangu n’atandika okuwulira nga talina mugaso. Agamba nti: “Obulwadde obwo bwandeetera okuwulira obubi ennyo era bwandeetera okuwulira obuswavu olw’abantu okuntunuuliranga. Ekyo nnali sikyetegekedde. Embeera yange bwe yeeyongera okwonooneka, nnalowooza ku ngeri obulamu bwange gye bwali bugenda okukyuka. Kyannakuwaza nnyo era ne nsaba Yakuwa annyambe.” Yakuwa yamuyamba atya? Agamba nti: “Olw’okuba nnali sisobola kussa mwoyo ku kintu kumala kiseera kiwanvu, bankubiriza okusomangayo ennyiriri ntonotono okuva mu kitabo kya Zabbuli eziraga nti Yakuwa afaayo ku baweereza be. Nnasomanga ennyiriri ezo era ne nziddiŋŋana buli lunaku, era ekyo kyambudaabuda nnyo. Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, abalala baatandika okukiraba nti nnali nneeyongedde okufuna akamwenyumwenyu. Era baagamba nti endowooza ennuŋŋamu gye nnalina yabazzaamu amaanyi. Nnakiraba nti Yakuwa yali azzeemu essaala zange! Yannyamba okukyusa engeri gye nnali nneetwalamu. Nnatandika okussa ebirowoozo ku ebyo Bayibuli by’eyogera ku ngeri Yakuwa gy’antwalamu wadde nga ndi mulwadde.”

12. Bw’oba ng’oli mulwadde, Yakuwa ayinza atya okukuyamba?

12 Bw’oba ng’oli mulwadde, ba mukakafu nti Yakuwa amanyi by’oyitamu. Musabe akuyambe osobole okutunuulira embeera yo mu ngeri entuufu. Era noonya mu Bayibuli ebigambo ebibudaabuda Yakuwa bye yakuteeramu. Fumiitiriza nnyo ku nnyiriri eziraga nti Yakuwa atwala abaweereza be nga ba muwendo. Bw’okola bw’otyo, ojja kukiraba nti Yakuwa mulungi eri abo abamuweereza n’obwesigwa.​—Zab. 84:11.

BWE TUBA NGA TWOLEKAGANA N’EBIZIBU BY’EBY’ENFUNA

Okukijjukira nti Yakuwa yasuubiza okutulabirira kijja kutuyamba ng’omulimu gutubuze (Laba akatundu 13-15)

13. Omutwe gw’amaka ayinza kuwulira atya ng’afiiriddwa omulimu gwe?

13 Buli mutwe gw’amaka aba ayagala okufunira ab’omu maka ge ebyetaago byabwe. Naye ow’oluganda ayinza okufiirwa omulimu gwe wadde nga talina kikyamu ky’akoze. Ayinza okugezaako okunoonya omulimu omulala naye ne gubula. Mu mbeera ng’eyo ayinza okuwulira ng’atalina mugaso. Okussa ebirowoozo bye ku bisuubizo bya Yakuwa kiyinza kitya okumuyamba?

14. Lwaki Yakuwa atuukiriza ebisuubizo bye?

14 Bulijjo Yakuwa atuukiriza ebisuubizo bye. (Yos. 21:45; 23:14) Ekyo akikola olw’ensonga eziwerako. Esooka, erinnya lye likwatibwako. Yakuwa yasuubiza nti ajja kulabirira abaweereza be abeesigwa, era akitwala nga kimukakatako okutuukiriza ekisuubizo ekyo. (Zab. 31:1-3) Ate era Yakuwa akimanyi nti singa talabirira abo abali mu maka ge, kyandibadde kitunakuwaza nnyo era ne kitumalamu amaanyi. Yasuubiza okutulabirira mu by’omubiri ne mu by’omwoyo, era tewali kiyinza kumulemesa kutuukiriza kisuubizo ekyo!​—Mat. 6:30-33; 24:45.

15. (a) Kizibu ki Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka kye baayolekagana nakyo? (b) Zabbuli 37:18, 19 watukakasa ki?

15 Bwe tujjukira ensonga lwaki Yakuwa atuukiriza ebisuubizo bye, tusobola okuba abakakafu nti ajja kutulabirira nga twolekagana n’ebizibu by’eby’enfuna. Lowooza ku Bakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka. Ekibiina ky’omu Yerusaalemi bwe kyayigganyizibwa, ‘bonna baasaasaana, okuggyako abatume.’ (Bik. 8:1) Lowooza ku ngeri ekyo gye kyakwata ku Bakristaayo abo. Baayolekagana n’ebizibu by’eby’enfuna! Bayinza okuba nga baafiirwa amayumba gaabwe ne bizineesi zaabwe. Naye Yakuwa teyabaabulira era tebaggwebwako ssanyu. (Bik. 8:4; Beb. 13:5, 6; Yak. 1:2, 3) Yakuwa yayamba Abakristaayo abo era naffe ajja kutuyamba.​—Soma Zabbuli 37:18, 19.

OKWAŊŊANGA EBIZIBU EBIJJAWO MU BUKADDE

Okussa ebirowoozo ku ebyo bye tusobola okukola, ka tube nga tukaddiye, kituyamba okukimanya nti Yakuwa atutwala nga tuli ba muwendo era nti asiima obuweereza bwaffe (Laba akatundu 16-18)

16. Mbeera ki eyinza okutuleetera okwebuuza obanga obuweereza bwaffe Yakuwa abutwala nga bwa muwendo?

16 Bwe tugenda tukaddiwa, tuyinza okutandika okuwulira nti tetulina kinene kye tusobola kuwa Yakuwa. Kabaka Dawudi bwe yagenda akaddiwa naye ayinza okuba nga yawulirako bw’atyo. (Zab. 71:9) Yakuwa ayinza atya okutuyamba?

17. Kiki kye tuyigira ku Jheri?

17 Lowooza ku mwannyinaffe ayitibwa Jheri. Baamuyita okubaawo mu kutendekebwa okukwata ku kuddaabiriza Ekizimbe ky’Obwakabaka, naye yali tayagala kugenda. Yagamba nti: “Nkaddiye, ndi nnamwandu, era sirina bukugu bwonna Yakuwa bw’asobola kukozesa. Sirina mugaso.” Ekiro, ng’okutendekebwa kugenda kubaawo nkeera, yasaba Yakuwa n’amutegeeza ebyamuli ku mutima. Enkeera bwe yatuuka ku Kizimbe ky’Obwakabaka, yali akyebuuza obanga yali agwana okubaawo. Bwe baali babatendeka, omu ku boogezi yagamba nti obukugu obusingayo obukulu Yakuwa bw’anoonya mu muntu kwe kuba nti omuntu oyo mwetegefu okuyigirizibwa Yakuwa. Jheri agamba nti: “Mmuli nnagamba nti, ‘Obukugu obwo mbulina!’ Nnatandika okukaaba nga nkiraba nti Yakuwa yali azzeemu okusaba kwange. Yali ankakasa nti nnalina ekintu eky’omugaso kye nnali nsobola okumuwa era nti mwetegefu okunjigiriza!” Jheri agattako nti: “Nnagenda mu kutendekebwa okwo nga nnina ekiwuggwe, nga sirina maanyi, era nga nnennyamidde. Naye we kwaggweerako, nnali mpulira nga nzizeemu amaanyi era nga ndi wa mugaso!”

18. Bayibuli eraga etya nti Yakuwa yeeyongera okusiima bye tukola ne bwe tuba tukaddiye?

18 Bwe tugenda tukaddiwa, tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa akyasobola okutukozesa emirimu egitali gimu. (Zab. 92:12-15) Yesu yakyoleka nti ebintu bye tukola ne bwe birabika ng’ebitono ennyo mu ndaba yaffe, Yakuwa abisiima. (Luk. 21:2-4) N’olwekyo, essira lisse ku ebyo by’osobola okukola. Ng’ekyokulabirako, osobola okubuulira abalala ebikwata ku Yakuwa, okusabira baganda bo, n’okukubiriza abalala okusigala nga beesigwa. Yakuwa akutwala nga mukozi munne, si olw’ebyo by’okola, naye olw’okuba oli muwulize gy’ali.​—1 Kol. 3:5-9.

19. Abaruumi 8:38, 39 watukakasa ki?

19 Nga twesiimye nnyo okuba nti tusinza Yakuwa, Katonda atwala abaweereza be nti ba muwendo! Yatutonda nga tulina okukola by’ayagala, era okusinza okulongoofu kwe kufuula obulamu bwaffe okuba obw’amakulu. (Kub. 4:11) Wadde ng’ensi eyinza okututwala ng’abatalina mugaso, Yakuwa ye tatutwala bw’atyo. (Beb. 11:16, 38) Bwe tuwulira nga tuweddemu amaanyi olw’obulwadde, olw’ebizibu by’eby’enfuna, oba olw’okukaddiwa, tusaanidde okukijjukira nti tewali kisobola kutwawula ku kwagala kwa Kitaffe ow’omu ggulu.​—Soma Abaruumi 8:38, 39.

^ lup. 5 Waliwo embeera eyakutuukako n’ekuleetera okuwulira nti tolina mugaso? Ekitundu kino kigenda kukuyamba okukiraba nti Yakuwa akutwala nti oli wa muwendo nnyo. Era kigenda kukuyamba okulaba engeri gy’oyinza okusigala ng’owulira nti oli wa mugaso ka kibe ki ekiba kikutuuseeko mu bulamu.

OLUYIMBA 30 Kitange, Katonda Wange era Mukwano Gwange