Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 5

Tujja Kugenda Nammwe

Tujja Kugenda Nammwe

“Twagala kugenda nammwe kubanga tuwulidde nti Katonda ali nammwe.”​—ZEK. 8:23.

OLUYIMBA 26 Mwabikolera Nze

OMULAMWA *

Ab’endiga endala (abantu ekkumi) bagitwala nga nkizo okuweerereza wamu Yakuwa n’abaafukibwako omwoyo omutukuvu (Omuyudaaya) (Laba akatundu 1-2)

1. Kiki Yakuwa kye yagamba ekyandibaddewo mu kiseera kyaffe?

YAKUWA yagamba nti mu kiseera kyaffe: “Abantu kkumi okuva mu nnimi zonna ez’amawanga balikwata ku kyambalo ky’Omuyudaaya ne bakinyweza nga bagamba nti: ‘Twagala kugenda nammwe kubanga tuwulidde nti Katonda ali nammwe.’” (Zek. 8:23) “Omuyudaaya” ayogerwako wano akiikirira abo Katonda be yafukako omwoyo omutukuvu. Ate era bayitibwa “Isirayiri wa Katonda.” (Bag. 6:16) ‘Abantu ekkumi’ bakiikirira abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi emirembe gyonna. Bakimanyi nti Yakuwa yalonda abaafukibwako amafuta era bagitwala nga nkizo okusinza Yakuwa nga bali wamu nabo.

2. ‘Abantu ekkumi’ ‘bagenda’ batya n’abaafukibwako amafuta?

2 Wadde nga tekisoboka kumanya linnya lya buli omu ku abo abaafukibwako amafuta abali ku nsi leero, * abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi emirembe gyonna basobola ‘okugenda’ n’abaafukibwako amafuta. Mu ngeri ki? Bayibuli egamba nti ‘abantu kkumi bandikutte ku kyambalo ky’Omuyudaaya ne bakinyweza nga bagamba nti: “Twagala kugenda nammwe kubanga tuwulidde nti Katonda ali nammwe.”’ Olunyiriri olwo lwogera ku Muyudaaya omu. Naye ekigambo “nammwe” kiraga nti abantu abasukka mu omu be boogerwako. Ekyo kitegeeza nti Omuyudaaya oyo si muntu omu wabula akiikirira abaafukibwako amafuta bonna. Abo abataafukibwako mafuta baweerereza wamu Yakuwa n’abaafukibwako amafuta. Naye tebakitwala nti abaafukibwako amafuta be bakulembeze baabwe, kubanga bakimanyi nti Yesu ye Mukulembeze waabwe.​—Mat. 23:10.

3. Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu mu kitundu kino?

3 Okuva bwe kiri wakyaliwo Abakristaayo abaafukibwako amafuta mu bantu ba Katonda leero, abamu bayinza okwebuuza: (1) Abaafukibwako amafuta basaanidde kwetwala batya? (2) Abo abalya ku mugaati era abanywa ku nvinnyo ku Kijjukizo basaanidde kuyisibwa batya? (3) Singa omuwendo gw’abo abalya gweyongera okulinnya, kyanditweraliikirizza? Ebibuuzo ebyo bigenda kuddibwamu mu kitundu kino.

ABAAFUKIBWAKO AMAFUTA BASAANIDDE KWETWALA BATYA?

4. Kulabula ki okuli mu 1 Abakkolinso 11:27-29 abaafukibwako omwoyo omutukuvu kwe basaanidde okulowoozaako ennyo, era lwaki?

4 Abaafukibwako amafuta basaanidde okulowooza ennyo ku kulabula okuli mu 1 Abakkolinso 11:27-29. (Soma.) Ku mukolo gw’Ekijjukizo, eyafukibwako amafuta ayinza atya okulya n’okunywa “nga tagwanidde”? Aba tagwanidde singa alya ku mugaati era n’anywa ku nvinnyo naye nga tatambulira ku mitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu. (Beb. 6:4-6; 10:26-29) Abaafukibwako amafuta bakimanyi nti balina okusigala nga beesigwa bwe baba ab’okufuna “empeera ey’okuyitibwa okw’omu ggulu, Katonda gy’agaba okuyitira mu Kristo Yesu.”​—Baf. 3:13-16.

5. Abakristaayo abaafukibwako amafuta basaanidde kwetwala batya?

5 Omwoyo gwa Yakuwa guyamba abaweereza be okuba abeetoowaze, so si ab’amalala. (Bef. 4:1-3; Bak. 3:10, 12) N’olwekyo abaafukibwako amafuta tebakitwala nti basinga abalala. Bakimanyi nti Yakuwa tawa baafukibwako mafuta mwoyo mungi kusinga ku baweereza be abalala. Era tebakitwala nti bamanyi nnyo amazima agali mu Bayibuli okusinga abalala. Ate era tebagamba balala nti nabo baafukibwako amafuta era nti basaanidde okulya ku mugaati n’okunywa ku nvinnyo ku Kijjukizo. Mu kifo ky’ekyo, bakimanyi nti Yakuwa yekka y’alonda abantu okugenda mu ggulu.

6. Okusinziira ku 1 Abakkolinso 4:7, 8, abakristaayo abaafukibwako amafuta basaanidde kweyisa batya?

6 Wadde ng’abaafukibwako amafuta bagitwala nga nkizo ya maanyi okuyitibwa okugenda mu ggulu, tebasuubira balala kubayisa mu ngeri ya njawulo. (Baf. 2:2, 3) Ate era bakimanyi nti Yakuwa bwe yabafukaako omwoyo omutukuvu, talina mulala gwe yakibuulirako. N’olwekyo, omuntu eyafukibwako omwoyo omutukuvu tasaanidde kukyewuunya singa abamu tebakikkiririzaawo nti yafukibwako omwoyo omutukuvu. Akijjukira nti Bayibuli etugamba obutanguwa kukkiriza muntu agamba nti Katonda alina obuvunaanyizibwa obw’enjawulo bw’amuwadde. (Kub. 2:2) Olw’okuba aba tayagala kuleetera balala kumutwala nti wa kitalo, eyafukibwako amafuta tagenda ng’abuulira abalala nti yafukibwako amafuta. Ate era teyeewaanira ku balala olw’enkizo eyo.​—Soma 1 Abakkolinso 4:7, 8.

7. Biki abaafukibwako amafuta bye beewala okukola, era lwaki?

7 Abakristaayo abaafukibwako amafuta tebakitwala nti balina kusinga kukolagana ne bannaabwe abaafukibwako amafuta, nga balinga abeekozeemu akabiina. Tebanoonya balala abaafukibwako amafuta nga baagala okwogera ku kuyitibwa kwabwe oba okukola obubinja obw’okusoma Bayibuli. (Bag. 1:15-17) Singa abaafukibwako amafuta bakola ebintu ng’ebyo, ekibiina tekiba bumu. Baba tebakolera ku bulagirizi bw’omwoyo omutukuvu ogusobozesa abantu ba Katonda okuba mu mirembe n’okuba obumu.​—Bar. 16:17, 18.

ABAAFUKIBWAKO AMAFUTA BASAANIDDE KUYISIBWA BATYA?

Abaafukibwako amafuta oba abalala bonna abatwala obukulembeze, tetusaanidde kubatwala ng’ab’ekitalo (Laba akatundu 8) *

8. Lwaki osaanidde okwegendereza engeri gy’oyisaamu abo abalya ku mugaati era abanywa ku nvinnyo ku Kijjukizo? (Laba n’obugambo obuli wansi.)

8 Tusaanidde kuyisa tutya ab’oluganda ne bannyinaffe abaafukibwako amafuta? Kiba kikyamu okutwala omuntu okuba ow’enjawulo ennyo, ne bw’aba nga yafukibwako amafuta. (Mat. 23:8-12) Bw’eba eyogera ku bakadde, Bayibuli etukubiriza ‘okukoppa okukkiriza kwabwe,’ naye tetugamba kufuula muntu yenna mukulembeze waffe. (Beb. 13:7) Kyo kituufu nti Bayibuli egamba nti abamu basaanidde ‘okussibwamu ennyo ekitiibwa.’ Naye basaanidde okussibwamu ennyo ekitiibwa olw’okuba ‘bakulembera bulungi abalala’ era olw’okuba ‘bakola nnyo mu kwogera ne mu kuyigiriza,’ so si lwa kuba nti baafukibwako omwoyo omutukuvu. (1 Tim. 5:17) Bwe tutwala abaafukibwako amafuta ng’ab’ekitalo, kiyinza okubamalako emirembe. * N’ekisinga obubi, tuyinza okubaleetera okufuna amalala. (Bar. 12:3) Tewali n’omu ku ffe yandyagadde kuleetera n’omu ku baganda ba Kristo abaafukibwako amafuta kukola nsobi ng’eyo ey’amaanyi!​—Luk. 17:2.

9. Tuyinza tutya okulaga nti tussa ekitiibwa mu Bakristaayo abaafukibwako amafuta?

9 Tuyinza tutya okulaga nti tussa ekitiibwa mu abo Yakuwa be yafukako omwoyo omutukuvu? Tetusaanidde kubabuuza ngeri gye baafukibwako mwoyo mutukuvu. Ekyo tekitukwatako era tetwetaaga kukimanya. (1 Bas. 4:11; 2 Bas. 3:11) Ate era tetusaanidde kukitwala nti abaami baabwe oba bakyala baabwe, bazadde baabwe, oba ab’eŋŋanda zaabwe nabo baafukibwako omwoyo omutukuvu. Essuubi ery’okugenda mu ggulu terisikirwa busikirwa. Katonda y’aliwa omuntu. (1 Bas. 2:12) Ate era tetusaanidde kubuuza bibuuzo biyinza kulumya balala. Ng’ekyokulabirako, tetubuuza mukyala w’ow’oluganda eyafukibwako amafuta engeri gy’awuliramu bw’alowooza ku ky’okubeera ku nsi emirembe gyonna nga tali na mwami we. Tuli bakakafu nti mu nsi empya Yakuwa ajja ‘kuwa buli kiramu bye kyagala.’​—Zab. 145:16.

10. Bwe twewala okutwala abalala ng’ab’ekitalo, kitukuuma kitya?

10 Bwe tutatwala baafukibwako mafuta ng’ab’ekitalo, naffe kitukuuma. Mu ngeri ki? Bayibuli egamba nti abamu ku baafukibwako amafuta bayinza obutasigala nga beesigwa. (Mat. 25:10-12; 2 Peet. 2:20, 21) Bwe twewala okutwala abalala ng’ab’ekitalo kituyamba obutagoberera bantu, ka babe abo abaafukibwako amafuta, oba abamanyifu, oba abaweerezza Yakuwa okumala ekiseera ekiwanvu. (Yud. 16) Abantu abo bwe bafuuka abatali beesigwa oba bwe bava mu kibiina, tusigala tunyweredde ku Yakuwa era tetulekera awo kumuweereza.

OMUWENDO GW’ABO ABALYA ERA ABANYWA GWANDITWERALIIKIRIZZA?

11. Kiki ekibaddewo ku muwendo gw’abo abalya era abanywa ku mukolo gw’Ekijjukizo?

11 Okumala emyaka mingi, omuwendo gw’abo abalya era abanywa ku mukolo gw’Ekijjukizo gwali gugenda gukka. Naye mu myaka egiyise, omuwendo ogwo gugenze gulinnya buli mwaka. Ekyo kyanditweraliikirizza? Nedda. Ka tulabe ensonga lwaki.

12. Lwaki omuwendo gw’abo abalya era abanywa ku mukolo gw’Ekijjukizo tegusaanidde kutweraliikiriza?

12 “Yakuwa amanyi ababe.” (2 Tim. 2:19) Obutafaananako Yakuwa, ab’oluganda ababala abo abalya era abanywa ku mukolo gw’Ekijjukizo tebamanyidde ddala baani baafukibwako mwoyo mutukuvu. N’olwekyo omuwendo ogubalibwa guzingiramu n’abo abalowooza nti baafukibwako omwoyo omutukuvu naye nga tebaafukibwako. Ng’ekyokulabirako, abamu ku abo edda abaalyanga baalekera awo okulya. Abalala bayinza okuba nga balina obulwadde bw’obwongo, ne kibaleetera okulowooza nti bajja kufugira wamu ne Kristo mu ggulu. Ekituufu kiri nti tetumanyidde ddala muwendo mutuufu ogw’abaafukibwako amafuta abakyasigadde ku nsi.

13. Bayibuli eraga omuwendo gw’abaafukibwako amafuta abandibadde bakyali ku nsi ekibonyoobonyo ekinene we kyanditandikidde?

13 Wajja kubaawo abaafukibwako amafuta mu bitundu by’ensi bingi Yesu lw’anajja okubatwala mu ggulu. (Mat. 24:31) Bayibuli eraga nti mu nnaku ez’enkomerero wandibaddewo abaafukibwako amafuta batono ku nsi. (Kub. 12:17) Naye teraga bameka abandibadde bakyali ku nsi ekibonyoobonyo ekinene we kyanditandikidde.

Twandyeyisizza tutya singa wabaawo alya ku mugaati era anywa ku nvinnyo ku Kijjukizo? (Laba akatundu 14)

14. Okusinziira ku Abaruumi 9:11, 16, kiki kye tusaanidde okumanya ku kulondebwa kw’abaafukibwako amafuta?

14 Yakuwa y’asalawo ddi lw’afuka ku bantu amafuta. (Bar. 8:28-30) Yakuwa yatandika okufuka amafuta ku bantu oluvannyuma lwa Yesu okuzuukira. Kirabika mu kyasa ekyasooka Abakristaayo bonna ab’amazima baali baafukibwako amafuta. Mu byasa ebyaddirira, abasinga obungi ku abo abaali beegamba nti Bakristaayo, baali tebagoberera Kristo. Wadde kyali kityo, mu myaka egyo, Yakuwa alina abantu abatonotono be yalonda abaali Abakristaayo ab’amazima. Baalinga eŋŋaano Yesu gye yagamba nti yandikulidde wamu n’omuddo. (Mat. 13:24-30) Mu nnaku ez‘enkomerero, Yakuwa yeeyongedde okulonda abantu abajja okuba abamu ku 144,000. * N’olwekyo, Yakuwa bw’asalawo okulonda abamu ku bo ng’ebula akaseera katono enkomerero etuuke, tetusaanidde kubuusabuusa magezi ge. (Soma Abaruumi 9:11, 16.) * Tulina okwegendereza tuleme kuba ng’abakozi Yesu be yayogerako mu lumu ku ngero ze. Beemulugunya ku engeri mukama waabwe gye yayisaamu abo abaatandika okukola mu ssaawa esembayo.​—Mat. 20:8-15.

15. Abaafukibwako amafuta bonna bakola ‘ng’omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ ayogerwako mu Matayo 24:45-47? Nnyonnyola.

15 Si bonna abalina essuubi ery’okugenda mu ggulu nti bakola ‘ng’omuddu omwesigwa era ow’amagezi.’ (Soma Matayo 24:45-47.) Nga bwe kyali mu kyasa ekyasooka, ne leero Yakuwa ne Yesu bakozesa ab’oluganda batono okuliisa oba okuyigiriza abangi. Abaafukibwako amafuta batono mu kyasa ekyasooka abaakozesebwa okuwandiika Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani. Leero Abakristaayo abaafukibwako amafuta batono abalina obuvunaanyizibwa okuwa abantu ba Katonda ‘emmere mu kiseera ekituufu.’

16. Biki by’oyize mu kitundu kino?

16 Biki bye tuyize mu kitundu kino? Yakuwa yasalawo okuweera abaweereza be abasinga obungi obulamu obutaggwaawo ku nsi ate abalala abatono abajja okufugira awamu ne Yesu yasalawo kububaweera mu ggulu. Yakuwa awa abaweereza be bonna empeera, “Omuyudaaya” ‘n’abantu ekkumi,’ era bonna abeetaagisa okugondera amateeka ge gamu n’okusigala nga beesigwa. Bonna balina okusigala nga beetoowaze. Bonna balina kumuweerereza wamu era nga bali bumu. Era bonna balina okufuba okukuuma emirembe mu kibiina. Ng’enkomerero egenda esembera, ka tweyongere okuweereza Yakuwa n’okugoberera Kristo nga tuli “ekisibo kimu.”​—Yok. 10:16.

^ lup. 5 Omwaka guno, omukolo gw’okujjukira okufa kwa Yesu gujja kubaawo ku Lwokubiri nga Apuli 7. Tusaanidde kutwala tutya abo abalya ku mugaati era abanywa ku nvinnyo ku mukolo ogwo? Singa omuwendo gw’abo abalya gweyongera, kyanditweraliikirizza? Ekitundu kino ekyesigamiziddwa ku Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjanwali 2016 kijja kuddamu ebibuuzo ebyo.

^ lup. 2 Okusinziira ku Zabbuli 87:5, 6, mu biseera eby’omu maaso, Katonda ayinza okututegeeza amannya g’abo bonna abaliba bafugira awamu ne Yesu mu ggulu.​—Bar. 8:19.

^ lup. 8 Laba akasanduuko “Okwagala ‘Tekweyisa mu Ngeri Etasaana’” mu Omunaala gw’Omukuumi, ogwa Jjanwali 2016.

^ lup. 14 Wadde nga mu Ebikolwa by’Abatume 2:33 walaga nti omwoyo omutukuvu gufukibwa ku bantu okuyitira mu Yesu, Yakuwa y’abalonda kinnoomu.

^ lup. 14 Okumanya ebisingawo, laba “Ebibuuzo Ebiva mu Basomi” mu Watchtower, eya Maayi 1, 2007.

OLUYIMBA 34 Okutambulira mu Bugolokofu

^ lup. 56 EBIFAANANYI: Kiteeberezeemu ng’ow’oluganda akiikiridde ekitebe kyaffe ekikulu ne mukyala we beetooloddwa abantu ababakuba ebifaananyi ku lukuŋŋaana olunene. Okwo tekuba kubassaamu kitiibwa n’akamu!