Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 6

Yakuwa Kitaffe Atwagala Nnyo

Yakuwa Kitaffe Atwagala Nnyo

“Kale musabenga bwe muti: ‘Kitaffe.’”​—MAT. 6:9.

OLUYIMBA 135 Yakuwa Akugamba: ‘Ba wa Magezi, Mwana Wange’

OMULAMWA *

1. Kiki omuntu kye yalinanga okusooka okukola okusobola okutuukirira kabaka wa Buperusi?

KUBA akafaananyi ng’obeera mu bwakabaka bwa Buperusi emyaka 2,500 emabega. Olina ensonga gy’oyagala okwogerako ne kabaka w’ensi eyo, era ogenda mu kibuga ky’e Susani awali olubiri lwe. Naye okusobola okwogera ne kabaka oyo olina okusooka okufuna olukusa okuva gy’ali. Bw’otokikola, oyinza okufiirwa obulamu bwo!​—Es. 4:11.

2. Yakuwa ayagala tuwulire tutya nga twogera naye?

2 Nga twesiimye nnyo okuba nti Yakuwa tali nga kabaka wa Buperusi oyo! Yakuwa asingira wala abafuzi bonna, naye mwetegefu okutuwuliriza ekiseera kyonna. Ayagala twogere naye nga tetuliimu kutya. Ng’ekyokulabirako, wadde nga Yakuwa alina ebitiibwa nga Omutonzi, Omuyinza w’Ebintu Byonna, era Mukama Afuga Byonna, ayagala twogere naye nga tumuyita “Kitaffe.” (Mat. 6:9) Kitusanyusa nnyo okuba nti Yakuwa ayagala tuwulire nti tuli ku lusegere naye!

3. Lwaki tusobola okuyita Yakuwa “Kitaffe,” era kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

3 Kituukirawo okuyita Yakuwa “Kitaffe” kubanga ye nsibuko y’obulamu bwaffe. (Zab. 36:9) Olw’okuba ye Kitaffe, tulina okumugondera. Bwe tukola by’atulagira, tufuna emikisa mingi. (Beb. 12:9) Emikisa egyo gizingiramu n’okufuna obulamu obutaggwaawo mu ggulu oba ku nsi. Ate era ne mu kiseera kino tuganyulwa. Mu kitundu kino tugenda kulaba engeri Yakuwa, Kitaffe ow’omu ggulu, gy’akyolekamu kati nti atwagala nnyo n’ensonga etuleetera okuba abakakafu nti talitwabulira. Naye ka tusooke tulabe ensonga lwaki tusobola okuba abakakafu nti Kitaffe ow’omu ggulu atwagala nnyo era nti atufaako.

YAKUWA KITAFFE ATWAGALA ERA ATUFAAKO

Yakuwa ayagala tube kumpi naye, nga taata ayagala abaana be bw’ayagala babe kumpi naye (Laba akatundu 4)

4. Lwaki abamu kibazibuwalira okutwala Yakuwa nga Kitaabwe?

4 Kikuzibuwalira okutwala Katonda nga Kitaawo? Abamu bwe balowooza ku Yakuwa bayinza okuwulira nti ba wansi nnyo era nti tebalina mugaso. Babuusabuusa nti Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna abafaako. Naye Kitaffe ow’omu ggulu tayagala tuwulire bwe tutyo. Yatuwa obulamu era ayagala tube n’enkolagana ey’oku lusegere naye. Ekyo Pawulo yakyoleka bulungi bwe yali ayogera eri abantu b’omu Asene. Yabagamba nti Yakuwa “tali wala wa buli omu ku ffe.” (Bik. 17:24-29) Katonda ayagala buli omu ku ffe ayogere naye nga Kitaawe, okufaananako omwana ayogera ne muzadde we amwagala.

5. Kiki kye tuyigira ku mwannyinaffe omu?

5 Abalala kibazibuwalira okutwala Yakuwa nga Kitaabwe kubanga bataata baabwe tebaabalaga kwagala na mukwano. Mwannyinaffe omu agamba nti: “Taata yali mukambwe nnyo. Bwe nnali nnaakatandika okuyiga Bayibuli kyanzibuwalira okutwala Yakuwa nga Kitange. Naye bwe nnamala okutegeera Yakuwa, endowooza yange yakyuka.” Naawe bw’otyo bw’owulira? Bwe kiba kityo, ba mukakafu nti osobola okutwala Yakuwa nga Kitaawo asingayo.

6. Okusinziira ku Matayo 11:27, emu ku ngeri Yakuwa gy’atuyambyemu okumutwala nga Kitaffe atwagala y’eruwa?

6 Engeri emu Yakuwa gy’atuyambyemu okumutwala nga Kitaffe atwagala kwe kuba nti yawandiisa mu Bayibuli ebyo Yesu bye yayogera ne bye yakola. (Soma Matayo 11:27.) Yesu yayoleka bulungi engeri za Kitaawe ne kiba nti yali asobola okugamba nti: “Buli andaba aba alabye ne Kitange.” (Yok. 14:9) Emirundi mingi Yesu bwe yabanga ayogera ku Yakuwa yamuyitanga Kitaawe oba Kitaffe. Lwaki Yesu yayogera bw’atyo ku Yakuwa emirundi mingi? Emu ku nsonga eri nti yali ayagala abantu babe bakakafu nti Yakuwa ye Kitaabwe abaagala ennyo.​—Yok. 17:25, 26.

7. Engeri Yakuwa gye yayisaamu Omwana we etuyigiriza ki ku Yakuwa?

7 Tulina bingi bye tuyiga ku Yakuwa bwe tulowooza ku ngeri gye yayisaamu Omwana we, Yesu. Bulijjo Yakuwa yawulirizanga essaala za Yesu. Ng’oggyeeko okuwuliriza essaala ezo era yaziddangamu. (Yok. 11:41, 42) Mu bizibu byonna Yesu bye yayolekagana nabyo yakirabanga nti Yakuwa yali amuyamba.​—Luk. 22:42, 43.

8. Yakuwa yalabirira atya Yesu?

8 Yesu yakiraga nti Yakuwa ye Nsibuko y’Obulamu bwe era nti ye yali amubeesaawo, bwe yagamba nti: “Ndi mulamu ku bubwe.” (Yok. 6:57) Yesu yali yeesigira ddala Yakuwa era Yakuwa yamuwanga ebyetaago bye eby’omubiri. N’ekisinga obukulu, Yakuwa yamulabirira mu by’omwoyo.​—Mat. 4:4.

9. Yakuwa, Kitaawe wa Yesu, yakiraga atya nti ayagala nnyo Omwana we?

9 Olw’okuba Yakuwa ayagala nnyo Omwana we Yesu, yakakasa nti Yesu akimanya nti yali amuyamba. (Mat. 26:53; Yok. 8:16) Wadde nga Yakuwa teyaziyiza buli kintu kibi kutuuka ku Yesu, yamuyamba okubigumira. Yesu yali mukakafu nti ekintu ekibi kyonna ekyandimutuuseeko tekyandimutuusizzaako kabi ka lubeerera. (Beb. 12:2) Yakuwa yakiraga nti yali afaayo ku Yesu ng’amuwuliriza, ng’akola ku byetaago bye, ng’amutendeka, era ng’amuyamba. (Yok. 5:20; 8:28) Kati ka tulabe engeri naffe Kitaffe ow’omu ggulu gy’atulabiriramu mu ngeri y’emu.

ENGERI KITAFFE ATWAGALA ENNYO GY’ATULABIRIRAMU

Taata (1) awuliriza, (2) alabirira, (3) atendeka, era (4) akuuma abaana be. Kitaffe ow’omu ggulu naye atufaako mu ngeri y’emu (Laba akatundu 10-15) *

10. Okusinziira ku Zabbuli 66:19, 20, Yakuwa akiraga atya nti atwagala nnyo?

10 Yakuwa awuliriza essaala zaffe. (Soma Zabbuli 66:19, 20.) Tatuteerawo kkomo ku mirundi gye tulina okumusaba, ku biki bye tulina okumusaba, na bbanga lyenkana wa lye tulina okumala nga tumusaba. (1 Bas. 5:17) Tusobola okusaba Katonda waffe ekiseera kyonna, ka tube nga tuli wa. Buli kiseera mwetegefu okutuwuliriza. Bwe tukimanya nti Yakuwa awuliriza essaala zaffe, tweyongera okumwagala. Omuwandiisi wa zabbuli yagamba nti: “Njagala Yakuwa, olw’okuba awulira eddoboozi lyange.”​—Zab. 116:1.

11. Yakuwa addamu atya essaala zaffe?

11 Ng’oggyeeko okuba nti Kitaffe awulira essaala zaffe, era aziddamu. Omutume Yokaana yagamba nti: “Bwe tusaba ekintu kyonna ekituukagana n’ebyo [Katonda] by’ayagala, atuwulira.” (1 Yok. 5:14, 15) Kya lwatu nti oluusi essaala zaffe Yakuwa ayinza obutaziddamu nga bwe tuba tusuubira. Amanyi ekyo kye tusinga okwetaaga era oluusi ayinza okusalawo obutatuwa ekyo kye tuba tusabye oba okulindako okukituwa.​—2 Kol. 12:7-9.

12-13. Kitaffe ow’omu ggulu atulabirira atya?

12 Yakuwa akola ku byetaago byaffe. Akola ekyo kye yeetaaza bataata bonna okukola. (1 Tim. 5:8) Awa abaana be ebyetaago byabwe eby’omubiri. Tayagala tweraliikirire bye tunaalya, eby’okwambala, oba aw’okusula. (Mat. 6:32, 33; 7:11) Olw’okuba Yakuwa ye Kitaffe atwagala ennyo, akoze enteekateeka okukola ku byetaago byaffe byonna mu biseera eby’omu maaso.

13 N’ekisinga obukulu, Yakuwa akola ku byetaago byaffe eby’omwoyo. Okuyitira mu Kigambo kye, atutegeeza amazima agamukwatako, ekigendererwa kye, ekigendererwa ky’obulamu, n’ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso. Yakiraga nti atufaako kinnoomu bwe yakozesa bazadde baffe oba omuntu omulala okutuyamba okumumanya. Ate era ekyeyongera okutuyamba ng’akozesa abakadde mu kibiina abatwagala ennyo oba Abakristaayo abalala abakulu mu by’omwoyo. Ate era Yakuwa atuyigiriza ng’ayitira mu nkuŋŋaana zaffe, mwe tuyigira ebimukwatako nga tuli wamu ne baganda baffe ne bannyinaffe. Mu ngeri ezo awamu n’endala nnyingi, Yakuwa akiraga nti ye Kitaffe atufaako ffenna.​—Zab. 32:8.

14. Lwaki Yakuwa atutendeka, era atutendeka atya?

14 Yakuwa atutendeka. Obutafaananako Yesu, ffe tetutuukiridde. N’olwekyo, okusobola okututendeka, Kitaffe ow’omu ggulu atukangavvula bwe kiba kyetaagisa. Bayibuli egamba nti: “Abo Yakuwa b’ayagala b’akangavvula.” (Beb. 12:6, 7) Yakuwa atukangavvula mu ngeri nnyingi. Ng’ekyokulabirako, tuyinza okusoma ekintu ekimu mu Bayibuli oba okuwulira ekintu ekimu mu nkuŋŋaana ne tukiraba nti tulina we twetaaga okukyusaamu. Ate era Yakuwa ayinza okutuwabula okuyitira mu bakadde. Yakuwa k’abe ng’atukangavvudde atya, bulijjo atukangavvula olw’okuba atwagala.​—Yer. 30:11.

15. Yakuwa atukuuma atya?

15 Yakuwa atuyamba okugumira ebigezo. Nga taata ayagala abaana be bw’abayamba nga boolekagana n’ebizibu, Kitaffe ow’omu ggulu naye atuyamba nga tufunye ebizibu. Atukuuma mu by’omwoyo ng’akozesa omwoyo gwe omutukuvu okutuyamba okusigala nga tulina enkolagana ennungi naye. (Luk. 11:13) Yakuwa era atuyamba nga tuweddemu amaanyi oba nga tulina ebitweraliikiriza. Ng’ekyokulabirako, atuwa essuubi ery’ekitalo. Essuubi erikwata ku biseera eby’omu maaso lituyamba okugumira ebizibu. Kirowoozeeko: Ka tube nga twolekagana na bizibu ki, Kitaffe atwagala ennyo ajja kubimalirawo ddala mu biseera eby’omu maaso. Ebizibu byonna bye twolekagana nabyo bya kaseera buseera, naye emikisa Yakuwa gy’atuwa gya lubeerera.​—2 Kol. 4:16-18.

KITAFFE TASOBOLA KUTWABULIRA

16. Kiki ekyabaawo, Adamu bwe yajeemera Kitaawe ow’omu ggulu?

16 Tulaba obukakafu obulaga nti Yakuwa atwagala bwe tulowooza ku ekyo kye yakolawo nga Adamu amujeemedde. Adamu bwe yajeemera Kitaawe ow’omu ggulu, yali takyali wa mu maka ga Yakuwa era yafiiriza abaana be enkizo eyo. (Bar. 5:12; 7:14) Naye Yakuwa alina kye yakolawo okuyamba abaana ba Adamu.

17. Kiki Yakuwa kye yakola amangu ddala nga Adamu amaze okumujeemera?

17 Yakuwa yabonereza Adamu naye yasuubiza okuyamba abaana ba Adamu abaali batannazaalibwa. Amangu ddala, yasuubiza nti abantu abawulize bandikomezeddwawo mu maka ge. (Lub. 3:15; Bar. 8:20, 21) Ekyo Yakuwa yakisobozesa okuyitira mu ssaddaaka y’Omwana we, Yesu. Mu kuwaayo Omwana we ku lwaffe, Yakuwa yakiraga nti atwagala nnyo.​—Yok. 3:16.

Bwe tuba twava ku Kitaffe Yakuwa naye ne twenenya, mwetegefu okutwaniriza (Laba akatundu 18)

18. Lwaki tusobola okuba abakakafu nti Kitaffe Yakuwa atwagala nnyo ne bwe tuba nga tumuvuddeko okumala akaseera?

18 Wadde nga tetutuukiridde, Yakuwa ayagala tube mu maka ge, era tatutwala ng’omugugu gy’ali. Wadde ng’oluusi tuyinza okukola ebitamusanyusa oba okumuvaako okumala ekiseera, Yakuwa asigala alina essuubi nti tujja kukomawo gy’ali. Yesu yalaga engeri Yakuwa gy’ayagalamu abaana be bwe yagera olugero olukwata ku mwana omujaajaamya. (Luk. 15:11-32) Taata ayogerwako mu lugero olwo teyaggwaamu ssuubi nti ekiseera kyandituuse omwana we n’akomawo. Omwana oyo bwe yakomawo, taata we yamwaniriza n’essanyu. Bwe tuba nga twava ku Yakuwa naye ne twenenya, tusaanidde okuba abakakafu nti Kitaffe mwetegefu okutwaniriza.

19. Yakuwa anaggyawo atya ebintu ebibi ebyajjawo olw’ekibi kya Adamu?

19 Kitaffe ow’omu ggulu ajja kuggyawo ebintu byonna ebibi ebyajjawo olw’ekibi kya Adamu. Oluvannyuma lwa Adamu okujeema, Yakuwa yasalawo okulonda abantu 144,000 abajja okuweereza nga bakabaka era bakabona mu ggulu nga bali wamu n’Omwana we. Mu nsi empya, Yesu n’abo b’anaafuga nabo bajja kuyamba abantu abawulize okufuuka abatuukiridde. Oluvannyuma lw’okugezesebwa okusembayo, Katonda ajja kuwa abantu abawulize obulamu obutaggwaawo. Kitaffe ow’omu ggulu ajja kusanyuka nnyo okulaba ng’ensi ejjudde abaana be ab’obulenzi n’ab’obuwala abatuukiridde. Ekyo nga kijja kuba kiseera kirungi nnyo!

20. Yakuwa akiraze atya nti atwagala nnyo, era kiki kye tujja okulaba mu kitundu ekiddako?

20 Yakuwa akiraze nti atwagala nnyo. Ye Kitaffe asingayo. Awulira essaala zaffe era atuwa bye twetaaga, eby’omubiri n’eby’omwoyo. Atutendeka era atuyamba. Ate era atutegekedde ebintu ebirungi mu biseera eby’omu maaso. Kitusanyusa nnyo okukimanya nti Kitaffe ow’omu ggulu atwagala era atufaako! Ekitundu ekiddako kijja kulaga engeri ffe abaana be gye tuyinza okulaga nti tusiima okwagala kw’atulaga.

OLUYIMBA 108 Okwagala kwa Katonda Okutajjulukuka

^ lup. 5 Yakuwa ye Mutonzi waffe era Omufuzi w’Obutonde Bwonna, ate era Kitaffe atwagala ennyo. Mu kitundu kino tugenda kulaba ensonga lwaki tusaanidde okutwala Yakuwa nga Kitaffe. Ate era tugenda kulaba ensonga lwaki Yakuwa tasobola kutwabulira.

^ lup. 59 EBIFAANANYI: Buli kimu ku bifaananyi ebina kiraga taata n’omwana we: taata ng’awuliriza mutabani we, taata ng’awa muwala we ebyetaago bye eby’omubiri, taata ng’atendeka mutabani we, taata ng’abudaabuda mutabani we. Omukono gwa Yakuwa oguli emabega w’ebifaananyi ebyo gutujjukiza nti naffe Yakuwa atufaako mu ngeri y’emu.