Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 11

Otuuse Okubatizibwa?

Otuuse Okubatizibwa?

“Ekifaanana n’ekyo kaakano kibalokola, nga kuno kwe kubatizibwa.”​—1 PEET. 3:21.

OLUYIMBA 28 Okufuuka Mukwano gwa Yakuwa

OMULAMWA *

1. Kiki omuntu ky’alina okukola nga tannatandika kuzimba nnyumba?

LOWOOZA ku muntu ayagala okuzimba ennyumba. Amanyi ekika ky’ennyumba gy’ayagala okuzimba. Agenda bugenzi mu dduuka n’agula ebizimbisibwa n’atandika okuzimba? Nedda. Nga tannatandika kuzimba, waliwo ekintu ekikulu ky’alina okusooka okukola. Alina okusooka okubalirira ssente mmeka ezeetaagisa okusobola okuzimba ennyumba n’agimaliriza. Lwaki? Kubanga aba yeetaaga okumanya obanga alina ssente ezimala okusobola okumaliriza ennyumba eyo. Bw’asooka n’abalirira bulungi, asobola okuzimba ennyumba n’agimaliriza.

2. Okusinziira ku Lukka 14:27-30, kiki ky’osaanidde okulowoozaako nga tonnaba kubatizibwa?

2 Okwagala kw’olina eri Yakuwa n’okusiima by’akukolera bikuleetedde okulowooza ku ky’okubatizibwa? Bwe kiba kityo, oyolekaganye n’okusalawo okufaananako okw’omuntu ayagala okuzimba ennyumba. Lwaki tugamba bwe tutyo? Lowooza ku bigambo bya Yesu ebiri mu Lukka 14:27-30. (Soma.) Yesu yali ayogera ku kye kitegeeza okuba omuyigirizwa we. Okusobola okuba abagoberezi be, tulina okuba abeetegefu okwolekagana n’okusoomooza okutali kumu n’okwefiiriza ebintu ebitali bimu. (Luk. 9:23-26; 12:51-53) N’olwekyo nga tonnaba kubatizibwa olina okusooka okubalirira, kwe kugamba, okumanya ebyo ebizingirwamu. Ekyo kijja kukusobozesa okweyongera okuweereza Yakuwa n’obwesigwa oluvannyuma lw’okubatizibwa.

3. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

3 Kiba kya magezi omuntu okusalawo okubatizibwa wadde nga kizingiramu okusoomooza n’okwefiiriza okutali kumu? Yee, kya magezi! Okubatizibwa kuviirako omuntu okufuna emikisa mingi kati ne mu biseera eby’omu maaso. Kati ka tulabeyo ebimu ku bibuuzo ebikulu ebikwata ku kubatizibwa. Ekyo kijja kukuyamba okuddamu ekibuuzo kino, “Ntuuse okubatizibwa?”

BYE WEETAAGA OKUMANYA KU KWEWAAYO NE KU KUBATIZIBWA

4. (a) Okwewaayo kye ki? (b) Nga bwe kiragibwa mu Matayo 16:24, kitegeeza ki ‘okulekera awo okwetwala wekka’?

4 Okwewaayo kye ki? Nga tonnaba kubatizibwa oba olina okusooka okwewaayo. Okusobola okwewaayo, otuukirira Yakuwa mu kusaba n’omugamba nti ojja kukozesa obulamu bwo okumuweereza emirembe gyonna. Bwe weewaayo eri Katonda, ‘olekera awo okwetwala wekka.’ (Soma Matayo 16:24.) Oba ofuuse wa Yakuwa era eyo nkizo ya maanyi nnyo. (Bar. 14:8) Oba omugambye nti okuva kati, ogenda kwemalira ku kumuweereza, so si ku kukola by’oyagala. Bwe weewaayo oba weeyamye eri Katonda. Yakuwa tatukaka kukola bweyamo obwo. Naye bwe tweyama, atusuubira okutuukiriza kye tuba tweyamye.​—Zab. 116:12, 14.

5. Kakwate ki akaliwo wakati w’okwewaayo n’okubatizibwa?

5 Kakwate ki akaliwo wakati w’okwewaayo n’okubatizibwa? Bw’oba weewaayo eri Yakuwa oba wekka, era kiba wakati wo ne Yakuwa. Okubatizibwa kuba kwa mu lujjudde, era emirundi mingi kubaawo ku nkuŋŋaana ennene. Bw’obatizibwa, oba olaga abalala nti wamala okwewaayo eri Yakuwa. * N’olwekyo, bw’obatizibwa, abalala bakimanya nti oyagala Yakuwa Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna, n’amaanyi go gonna, era nti oli mumalirivu okumuweereza emirembe gyonna.​—Mak. 12:30.

6-7. Ensonga ebbiri eziri mu 1 Peetero 3:18-22, eziraga lwaki okubatizibwa kukulu nnyo ze ziruwa?

6 Ddala kyetaagisa okubatizibwa? Lowooza ku bigambo ebiri mu 1 Peetero 3:18-22. (Soma.) Eryato lyalaga abantu nti Nuuwa yali akkiririza mu Katonda. Mu ngeri y’emu, bw’obatizibwa kiraga abantu nti weewaayo eri Yakuwa. Naye ddala kyetaagisa okubatizibwa? Yee. Peetero yalaga ensonga lwaki kyetaagisa. Esooka, okubatizibwa ‘kukulokola.’ Okubatizibwa kutulokola singa tukiraga mu bikolwa byaffe nti tukkiririza mu Yesu era nti tukkiriza nti yatufiirira, n’azuukizibwa n’agenda mu ggulu, era nti kati ali “ku mukono gwa Katonda ogwa ddyo.”

7 Ey’okubiri, okubatizibwa kukuviirako okuba “n’omuntu ow’omunda omulungi.” Bwe twewaayo eri Katonda era ne tubatizibwa, tufuna enkolagana ey’enjawulo naye. Olw’okuba tuba twenenyezza mu bwesimbu era nga tukkiririza mu kinunulo, Katonda atusonyiwa ebibi byaffe. Ekyo kitusobozesa okuba n’omuntu ow’omunda omulungi mu maaso ge.

8. Kiki ekisaanidde okukuleetera okubatizibwa?

8 Kiki ekyandikukubirizza okubatizibwa? Okuyiga Bayibuli kikuyambye okumanya bingi ebikwata ku Yakuwa, kwe kugamba, okumanya engeri ze n’amakubo ge. By’oyize ku Yakuwa bikukutteko nnyo era bikuleetedde okumwagala ennyo. Okusingira ddala okwagala kw’olina eri Yakuwa kwe kusaanidde okukuleetera okubatizibwa.

9. Nga bwe kiragibwa mu Matayo 28:19, 20, kitegeeza ki okubatizibwa mu linnya lya Kitaffe, n’ery’Omwana, n’ery’omwoyo omutukuvu?

9 Ate era n’amazima g’oyize mu Bayibuli era n’ogakkiriza nago gakuleetedde okwagala okubatizibwa. Lowooza ku ekyo Yesu kye yagamba bwe yawa ekiragiro eky’okufuula abantu abayigirizwa. (Soma Matayo 28:19, 20.) Okusinziira ku bigambo bya Yesu, abo ababatizibwa balina okubatizibwa “mu linnya lya Kitaffe, n’ery’Omwana, n’ery’omwoyo omutukuvu.” Ekyo kitegeeza ki? Olina okukkiriza n’omutima gwo gwonna amazima agali mu Bayibuli agakwata ku Yakuwa; Omwana we, Yesu; n’omwoyo omutukuvu. Amazima ago galina amaanyi mangi era gasobola okukwata ku mutima gwo. (Beb. 4:12) Ka tulabeyo agamu ku go.

10-11. Mazima ki agakwata ku Kitaffe g’oyize era n’ogakkiriza?

10 Lowooza ku lwe wayiga amazima gano agakwata ku Kitaffe: Nti ‘erinnya lye ye Yakuwa,’ nti ‘y’Asingayo Okuba Waggulu, afuga ensi yonna,’ era nti ye “Katonda ow’amazima” yekka. (Zab. 83:18; Is. 37:16) Ye Mutonzi waffe, era “Obulokozi bwa Yakuwa.” (Zab. 3:8; 36:9) Yakola enteekateeka okutununula okuva mu kibi n’okufa era atuwadde essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo. (Yok. 17:3) Okwewaayo kwo n’okubatizibwa kujja kukwawulawo ng’omu ku Bajulirwa ba Yakuwa. (Is. 43:10-12) Ojja kuba omu ku baweereza ba Katonda abali mu nsi yonna abeenyumiririza mu kuyitibwa erinnya lya Katonda n’okulimanyisa abalala.​—Zab. 86:12.

11 Nga nkizo ya maanyi nnyo okutegeera amazima Bayibuli g’eyigiriza ku Kitaffe! Bw’okkiriza amazima ago ag’omuwendo, kikuleetera okwewaayo eri Yakuwa era n’obatizibwa.

12-13. Mazima ki agakwata ku Mwana g’oyize era n’okkiriza?

12 Wakwatibwako otya bwe wayiga amazima gano agakwata ku Mwana? Yesu y’addirira Yakuwa mu buyinza. Kyeyagalire yawaayo obulamu bwe okutununula. Bwe tukiraga mu bikolwa byaffe nti tukkiririza mu kinunulo, tusonyiyibwa ebibi byaffe, tufuna enkolagana ennungi ne Katonda, era tuba n’essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo. (Yok. 3:16) Yesu ye Kabona waffe Asinga Obukulu. Ayagala okutuyamba okuganyulwa mu kinunulo n’okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda. (Beb. 4:15; 7:24, 25) Okuva bwe kiri nti ye Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda, Katonda agenda kumukozesa okutukuza erinnya lye, okumalawo ebintu ebibi, n’okuleeta emikisa egy’olubeerera mu Lusuku lwa Katonda. (Mat. 6:9, 10; Kub. 11:15) Yesu yatuteerawo ekyokulabirako kye tusaanidde okukoppa. (1 Peet. 2:21) Yakozesa obulamu bwe okukola Katonda by’ayagala.​—Yok. 4:34.

13 Bw’okkiriza amazima agali mu Bayibuli agakwata ku Yesu, kikuleetera okwagala ennyo Omwana wa Katonda oyo. Okwagala okwo kukuleetera okukozesa obulamu bwo okukola Katonda by’ayagala nga Yesu bwe yakola. Era ekyo kikuleetera okwewaayo eri Yakuwa era n’obatizibwa.

14-15. Mazima ki agakwata ku mwoyo omutukuvu g’oyize?

14 Wawulira otya bwe wayiga amazima gano agakwata ku mwoyo omutukuvu? Omwoyo omutukuvu si muntu, wabula maanyi ga Katonda. Yakuwa yakozesa omwoyo omutukuvu okuluŋŋamya abaawandiika Bayibuli, era omwoyo omutukuvu gutuyamba okutegeera n’okukolera ku ebyo bye tuyiga mu Bayibuli. (Yok. 14:26; 2 Peet. 1:21) Okuyitira mu mwoyo omutukuvu Yakuwa atuwa “amaanyi agasinga ku ga bulijjo.” (2 Kol. 4:7) Omwoyo omutukuvu gutusobozesa okubuulira amawulire amalungi, okulwanyisa ebikemo, okwaŋŋanga ebintu ebimalamu amaanyi, n’okuvvuunuka ebigezo. Gutusobozesa okwoleka engeri ennungi eziri mu “kibala eky’omwoyo.” (Bag. 5:22) Katonda awa omwoyo gwe omutukuvu abo abamwesiga era abamusaba mu bwesimbu okugubawa.​—Luk. 11:13.

15 Nga kizzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti Yakuwa awa abantu be omwoyo gwe omutukuvu okubayamba okumuweereza! Bw’okkiriza amazima g’oyize ku mwoyo omutukuvu ojja kwagala okwewaayo eri Yakuwa era obatizibwe.

16. Biki bye twakalaba mu kitundu kino?

16 Bw’osalawo okwewaayo eri Katonda era n’obatizibwa oba osazeewo ekintu ekikulu ennyo. Nga bwe tulabye, olina okuba omwetegefu okwaŋŋanga okusoomooza okulimu awamu n’okwefiiriza. Naye emikisa gy’ofuna mingi nnyo okusinga bye weefiiriza. Okubatizibwa kusobola okukulokola era kukuyamba okuba n’omuntu ow’omunda omulungi. Ensonga esinga obukulu erina okukuleetera okubatizibwa kwe kwagala Yakuwa Katonda. Ate era olina okukkiriza n’omutima gwo gwonna amazima g’oyize ku Kitaffe, Omwana, n’omwoyo omutukuvu. Bw’olowooza ku ebyo bye twakalaba mu kitundu kino, oyinza kuddamu otya ekibuuzo kino, “Ntuuse okubatizibwa?”

BYE WEETAAGA OKUKOLA NGA TONNABATIZIBWA

17. Ebimu ku bintu omuntu by’alina okukola nga tannabatizibwa bye biruwa?

17 Bw’oba owulira nti otuuse okubatizibwa, awatali kubuusabuusa waliwo ebintu by’okoze okusobola okufuna enkolagana ennungi ne Katonda. * Okuyigirizibwa Bayibuli kikuyambye okumanya ebintu bingi ku Yakuwa ne ku Yesu. Ofunye okukkiriza. (Beb. 11:6) Okkiririza mu bujjuvu mu bisuubizo bya Yakuwa ebiri mu Bayibuli, era oli mukakafu nti okukkiririza mu ssaddaaka ya Yesu kusobola okukuggya mu kibi n’okufa. Weenenya ebibi byo, kwe kugamba, wanakuwalira ebibi bye wakola era n’osaba Yakuwa akusonyiwe. Wakyuka, kwe kugamba, walekayo ebintu ebibi bye wakolanga n’otandika okukola ebintu ebisanyusa Katonda. (Bik. 3:19) Oyagala nnyo okubuulira abalala ebikwata ku nzikiriza yo. Wafuuka omubuulizi atali mubatize, n’otandika okubuulira awamu n’ekibiina. (Mat. 24:14) Yakuwa musanyufu nnyo olw’okuba wakola ebintu ebyo. Osanyusizza omutima gwe.​—Nge. 27:11.

18. Biki ebirala by’olina okukola nga tonnaba kubatizibwa?

18 Nga tonnaba kubatizibwa, waliwo ebintu ebirala bye weetaaga okukola. Nga bwe twalabye, olina okwewaayo eri Katonda. Mutuukirire mu kusaba omusuubize nti ojja kukozesa obulamu bwo okukola by’ayagala. (1 Peet. 4:2) Oluvannyuma tegeeza omukwanaganya w’akakiiko k’abakadde nti oyagala kubatizibwa. Ajja kukola entegeka wabeewo abakadde aboogerako naawe. Ekyo tekisaanidde kukutiisa. Ab’oluganda abo bakumanyi era bakwagala. Bajja kubaako enjigiriza za Bayibuli ezisookerwako z’oyize ze bejjukanya naawe. Baba baagala kukakasa nti otegeera enjigiriza ezo era nti omanyi obukulu bw’okwewaayo n’okubatizibwa. Bwe bakiraba nti otuuse okubatizibwa bajja kukutegeeza nti ojja kubatizibwa ku lukuŋŋaana olunene oluddako.

KYE WEETAAGA OKUKOLA OLUVANNYUMA LW’OKUBATIZIBWA

19-20. Kiki ky’olina okukola oluvannyuma lw’okubatizibwa, era oyinza kukikola otya?

19 Biki by’ojja okwetaaga okukola oluvannyuma lw’okubatizibwa? * Kijjukire nti okwewaayo buba bweyamo, era Yakuwa akusuubira okubutuukiriza. N’olwekyo, oluvannyuma lw’okubatizibwa olina okutuukiriza obweyamo bwo. Ekyo oyinza kukikola otya?

20 Nywerera ku kibiina. Bw’obatizibwa, weegatta ku luganda olw’ensi yonna. (1 Peet. 2:17) Bakkiriza banno be baganda bo ne bannyoko ab’eby’omwoyo. Okubeerangawo mu nkuŋŋaana obutayosa kijja kukuyamba okunyweza enkolagana gy’olina nabo. Soma Ekigambo kya Katonda buli lunaku era okifumiitirizeeko. (Zab. 1:1, 2) Oluvannyuma lw’okusoma ekitundu ekimu mu Bayibuli, fumiitiriza ku ebyo by’oba osomye. Ebyo by’oba osomye bijja kukutuuka ku mutima. Nyiikirira okusaba. (Mat. 26:41) Essaala z’osaba mu bwesimbu zijja kukuyamba okweyongera okusemberera Katonda. ‘Sookanga kunoonya Bwakabaka.’ (Mat. 6:33) Ekyo osobola okukikola ng’omulimu gw’okubuulira gw’okulembeza mu bulamu bwo. Okubuuliranga obutayosa kijja kukuyamba okusigala ng’olina okukkiriza okunywevu era oyinza n’okuyamba abalala okutandika okutambulira mu kkubo eribatuusa mu bulamu obutaggwaawo.​—1 Tim. 4:16.

21. Okubatizibwa kujja kukusobozesa kufuna ki?

21 Okusalawo okwewaayo eri Yakuwa era n’okubatizibwa kye kintu ekisingayo obukulu omuntu ky’asobola okusalawo. Kyo kituufu nti kizingiramu okwefiiriza. Naye ddala kisaana okwefiiriza? Yee! Ebizibu byonna bye tuyinza okwolekagana nabyo mu nsi eno, ‘bya kaseera buseera era bitono.’ (2 Kol. 4:17) Naye okubatizibwa kujja kukusobozesa okuba n’obulamu obulungi mu kiseera kino ‘n’obulamu obwa nnamaddala’ mu biseera eby’omu maaso. (1 Tim. 6:19) N’olwekyo, saba era ofumiitirize ku ngeri gy’oddamu ekibuuzo kino, “Ntuuse okubatizibwa?”

OLUYIMBA 50 Essaala Yange ey’Okwewaayo

^ lup. 5 Olowooza ku ky’okubatizibwa? Bwe kiba kityo, ekitundu kino kijja kukuyamba. Waliwo ebibuuzo ebikulu ebigenda okuddibwamu mu kitundu kino ebikwatagana n’ensonga eno enkulu. Engeri gy’onoddamu ebibuuzo ebyo, ejja kukuyamba okumanya obanga otuuse okubatizibwa.

^ lup. 19 Bw’oba tonnamaliriza kusoma butabo Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli? ne Engeri gy’Oyinza Okusigala mu Kwagala kwa Katonda, weeyongere okusoma n’oyo akuyigiriza okutuusa lw’onoomalako obutabo obwo bwombi.