Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Abasirikale Abayudaaya ab’omu yeekaalu baali baani? Baakolanga mirimu ki?

Ogumu ku mirimu emingi egyakolebwanga Abaleevi abataali bakabona gwali gufaananako n’omulimu gwa poliisi. Baalinga bakulirwa abakulu b’abakuumi ba yeekaalu. Omuwandiisi Omuyudaaya ayitibwa Philo ayogera bw’ati ku mirimu gye baakolanga: “Abamu ku [Baleevi] abo bayimirira ku miryango nga bakuuma, abalala bayimirira munda mu [yeekaalu] mu maaso g’ekifo ekitukuvu okuziyiza omuntu yenna atasaanidde kuyingira mu kifo ekyo, ka kibe mu bugenderevu oba mu butali bugenderevu. Abalala balawuna yeekaalu mu mpalo emisana n’ekiro okugikuuma.”

Olukiiko olukulu olw’Abayudaaya lweyambisanga nnyo abasirikale abo mu mirimu egitali gimu. Abasirikale abo kye kibinja ky’Abayudaaya kyokka Abaruumi kye bakkirizanga okubeera n’eby’okulwanyisa.

Omwekenneenya omu ayitibwa Joachim Jeremias, agamba nti ‘abasirikale bwe baakwata Yesu, yababuuza ensonga lwaki bwe yabanga ayigiriza buli lunaku mu yeekaalu tebaamukwatanga. (Mat. 26.55) Yesu teyandibabuuzizza kibuuzo ekyo singa tebaali bamu ku basirikale b’omu yeekaalu.’ Omwekenneenya oyo era alowooza nti abasirikale emabegako abaasindikibwa okukwata Yesu nabo baali basirikale ba mu yeekaalu. (Yok. 7:32, 45, 46) Ate nga wayise ekiseera, abasirikale awamu n’oyo eyali abakulira baasindikibwa okukwata abayigirizwa ba Yesu babaleete mu maaso g’Olukiiko Olukulu. Era kirabika abasirikale b’omu yeekaalu be baawalawala Pawulo okumuggya mu yeekaalu.​—Bik. 4:1-3; 5:17-27; 21:27-30.