Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBYAFAAYO

“Tuutuno! Mututume!”

“Tuutuno! Mututume!”

OYAGALA okugaziya ku buweereza bwo, oboolyawo ng’ogenda okuweereza mu kitundu oba mu nsi awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako? Bwe kiba kityo, ojja kuganyulwa nnyo mu ebyo ebikwata ku w’oluganda ne mwannyinaffe Bergame.

Jack ne Marie-Line babadde mu buweereza obw’ekiseera kyonna okuva mu 1988. Bantu abatuukana amangu n’embeera, era bakkirizza obuweereza obutali bumu mu Guadeloupe ne mu French Guiana. Ebitundu ebyo byombi kati birabirirwa ettabi lya Bufalansa. Ka tubeeko ebibuuzo bye tubuuza Jack ne Marie-Line.

Kiki ekyabakubiriza okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna?

Marie-Line: Nnakulira mu Guadeloupe era emirundi mingi nnamalanga olunaku lulamba nga mbuulira ne maama wange, eyali omubuulizi omunyiikivu. Njagala nnyo abantu, era bwe nnamala okusoma mu 1985, nnatandika okuweereza nga payoniya.

Jack: Bwe nnali nkyali muto, nnabeeranga nnyo n’ab’oluganda abaali mu buweereza obw’ekiseera kyonna era abaali baagala ennyo okubuulira. Mu luwummula nnaweerezanga nga payoniya omuwagizi. Oluusi ku wiikendi, twalinnyanga bbaasi ne tugenda ne tusisinkana bapayoniya ne tubuulira nabo mu bitundu bye baabanga babuuliramu. Twamalanga olunaku lulamba nga tubuulira era akawungeezi ne tugenda ku bbiici. Ekiseera ekyo kyatunyumira nnyo!

Bwe nnawasa Marie-Line mu 1988, muli nnagamba nti, ‛Tetulina buvunaanyizibwa bwa maanyi, lwaki tetugaziya ku buweereza bwaffe?’ Okufaananako Marie-Line nange nnatandika okuweereza nga payoniya. Nga wayise omwaka gumu, twagenda mu ssomero lya bapayoniya era oluvannyuma twalondebwa okuweereza nga bapayoniya ab’enjawulo. Twenyigira mu buweereza obutali bumu mu Guadeloupe nga tetunnaba kusindikibwa kuweerereza mu French Guiana.

Emyaka bwe gizze giyitawo babaweerezza mu bitundu bingi eby’enjawulo. Kiki ekibayambye okutuukana n’embeera?

Marie-Line: Ab’oluganda ku Beseri y’omu French Guiana baali bakimanyi nti ekyawandiikibwa kye tusinga okwagala ye Isaaya 6:8. N’olwekyo bwe baatukubiranga essimu, emirundi mingi mu ngeri ey’okusaaga baatubuuzanga nti, “Mujjukira ekyawandiikibwa kye musinga okwagala?” Twakimanyirangawo nti baabanga bagenda kutusindika walala. Twabaddangamu nti, “Tuutuno! Mututume!”

Twewala okugeraageranya obuweereza obupya ku obwo bwe tuba tuvuddemu, kubanga ekyo kiyinza okutuleetera obutasiima buweereza bupya. Ate era tufuba okumanya baganda baffe ne bannyinaffe.

Jack: Edda, ab’oluganda ne bannyinaffe abamu baagezangako okutusendasenda tuleme kugenda mu kitundu kirala, kubanga baabanga baagala tusigale nabo. Naye bwe twali tuva e Guadeloupe, ow’oluganda omu yatujjukiza ebigambo bya Yesu ebiri mu Matayo 13:38 awagamba nti: “Ennimiro ye nsi.” N’olwekyo, bwe batusindika mu kitundu ekirala, tukijjukira nti ka tube wa we tuli tuba tukyali mu nnimiro y’emu. Ekikulu be bantu ababa mu kitundu mwe tuba tusindikiddwa!

Bwe tutuuka mu kitundu ekipya, tukiraba nti abantu abalala basobola okubeera mu kitundu ekyo nga basanyufu. Bwe kityo, naffe tukibeeramu nga nabo bwe bakibeeramu. Oluusi emmere eyinza okuba ey’enjawulo ku gye tumanyidde, naye tulya bye balya era tunywa bye banywa, naye tufaayo okulaba nti obulamu bwaffe tebukosebwa. Tufuba okwogera obulungi ku buweereza bwonna bwe tuba tulimu.

Marie-Line: Waliwo n’ebintu ebirala bingi bye twayigira ku b’oluganda. Nzijukira ekintu ekimu ekyaliwo nga twakatuuka mu French Guiana. Lumu enkuba yali etonnya nnyo era nnali ndowooza nti twali tugenda kugirinda ekye tulyoke tugende okubuulira. Naye muganda wange omu yambuuza nti, “Tugende?” Nneewuunya ne mmuddamu nti, “Tugende tutya?” Yaddamu nti, “Weebikke manvuuli tugendere ku bugaali.” Bwe ntyo nnayiga okuvuga eggaali nga bwe nkutte manvuuli. Singa ekyo saakiyiga, sandisobodde kubuulira mu kiseera ky’enkuba!

Mukyusiddwa okugenda okuweereza mu bitundu eby’enjawulo nga 15. Magezi ki ge muyinza okuwa abo abasenguka okugenda okuweereza mu kitundu ekirala?

Marie-Line: Okusenguka kulimu okusoomooza okutali kumu. N’olwekyo kikulu okufuna ekifo mw’onoofunira emirembe ng’okomyewo okuva okubuulira.

Jack: Ntera okuddamu okusiiga langi munda mu nnyumba mwe tuba tugenda okubeera. Ebiseera ebimu ab’oluganda ku ofiisi y’ettabi bwe baakimanyanga nti twali tetugenda kulwa mu kitundu, baŋŋambanga nti, “Jack, ku luno totegana kusiiga bisenge!”

Marie-Line akuguse mu kupakira ebintu! Ebintu byonna abiteeka mu bbookisi ez’enjawulo era n’aziramba n’ebigambo gamba nga “ekinaabiro,” “ekisenge,” “effumbiro,” n’ebirala. N’olwekyo bwe tutuuka mu nnyumba empya, buli bbookisi tugissa mu kifo ekituufu. Awandiika olukalala olw’ebintu ebiba mu buli bbookisi ne kitusobozesa okuzuula amangu bye tuba twetaaga.

Marie-Line: Olw’okuba tulina entegeka ennungi, kitusobozesa okutandikirawo amangu okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira.

Nteekateeka ki gye mulina ebasobozesa ‘okutuukiriza mu bujjuvu obuweereza bwammwe’?​—2 Tim. 4:5.

Marie-Line: Ku Bbalaza tuwummula era ne tutegeka n’enkuŋŋaana. Okuva ku Lwokubiri tuba mu kubuulira.

Jack: Wadde nga tulina essaawa ze tulina okutuukiriza, ekyo si kye tumalirako ebirowoozo. Okubuulira kwe twemalirako. Okuva lwe tufuluma ennyumba okutuusa lwe tukomawo, tufuba okwogera na buli muntu gwe tusanga.

Marie-Line: Ng’ekyokulabirako, ne bwe tuba tugenze okuwummulako, ntera okutwala tulakiti. Abantu abamu batutuukirira ne batusaba ebitabo wadde nga tuba tetunnabagamba nti tuli Bajulirwa ba Yakuwa. N’olwekyo, tufaayo nnyo ku ngeri gye twambalamu ne gye tweyisaamu. Ebintu ebyo abantu babyetegereza.

Jack: Ate era tufuba okweyisa obulungi mu kitundu. Nfuba okuyonja awaka waffe nga nnondalonda ebipapula ebiba bisaasaanye, ne ntwala kasaasiro ne mmuyiwayo, era njera ebikoola ebiba bigudde. Baliraanwa baffe beetegereza ebintu ebyo era abamu batubuuza nti, “Mulinayo Bayibuli gye muyinza okumpa?”

Mubuulidde mu bitundu ebyesudde bingi. Mulina ekintu eky’enjawulo kye mujjukira mu bimu ku bitundu ebyo kye mwagala okutubuulirako?

Jack: Mu Guiana, ebitundu ebimu bizibu okutuukamu. Emirundi mingi buli wiiki tutambula mayiro 370 nga tuyita mu makubo amabi. Tetuyinza kwerabira lwe twagenda mu kitundu ky’e St. Élie, ekisangibwa mu kibira kya Amazon. Kyatutwalira essaawa eziwera okutuukayo nga tukozesa emmotoka ey’amaanyi n’eryato erya yingini. Abantu abasinga obungi ababeera mu kitundu ekyo basimi ba zzaabu. Olw’okusiima ebitabo byaffe, abamu baawaayo obutole bwa zzaabu okuwagira omulimu gw’okubuulira! Olweggulo twalaga ezimu ku vidiyo z’ekibiina. Abantu bangi bajja okuziraba.

Marie-Line: Gye buvuddeko awo, Jack yasabibwa okugenda okuwa emboozi y’Ekijjukizo e Camopi. Okusobola okutuukayo, twayita ku Mugga Oyapock nga tukozesa eryato erya yingini era kyatutwalira essaawa nnya okutuukayo. Tetusobola kwerabira lugendo olwo.

Jack: Omugga ogwo gwalina ebitundu eby’ebiyiriro era nga kya bulabe okubiyitamu. Naye byali binyuma okutunuulira ng’eryato ligenda libisemberera. Omugoba w’eryato aba alina okumanya obulungi ky’akola okusobola okubiyitamu. Naye twanyumirwa nnyo. Wadde nga waaliyo Abajulirwa ba Yakuwa 6 bokka, abantu nga 50 be baaliwo ku Kijjukizo, nga mwe mwali n’abantu abayitibwa Amerindian!

Marie-Line: Abavubuka basobola okufuna essanyu ng’eryo singa bagaziya ku buweereza bwabwe eri Yakuwa. Kiba kikwetaagisa okwesiga ennyo Yakuwa mu mbeera ezo, era ekyo kinyweza okukkiriza kwo. Bulijjo tulaba engeri Yakuwa gy’atuyambamu.

Muyize ennimi nnyingi. Kibanguyira okuyiga ennimi?

Jack: Nedda. Ennimi ezo nnaziyiga olw’okuba waaliwo obwetaavu. Ng’ekyokulabirako, nnali nnina okutandika okukubiriza Omunaala gw’Omukuumi mu lulimi Olusiranantongo * wadde nga nnali sinnaba kuweebwa na kitundu kya kusoma Bayibuli mu lulimi olwo! Nnabuuza ow’oluganda omu bwe nnali nkoze. Yanziramu nti, “Ebigambo ebimu tetubitegedde, naye okoze bulungi.” Abaana bannyamba nnyo. Bwe nnakolanga ensobi baŋŋambanga, naye bo abantu abakulu baasirikanga busirisi. Abaana nnabayigirako bingi.

Marie-Line: Mu kitundu ekimu, nnalina abayizi ba Bayibuli aboogera Olufalansa, Olupotugo, n’Olusiranantongo. Muganda wange omu yampa amagezi nti ntandikenga n’abayizi aboogera olulimi olwali lusinga okunzibuwalira nsembyengayo abo aboogera olulimi olwali lusinga okunnyanguyira. Oluvannyuma nnakiraba nti ekyo kyali kya magezi.

Lumu, nnasooka kuyigiriza muyizi eyali ayogera Olusiranantongo oluvannyuma ne ŋŋenda ku w’okubiri eyali ayogera Olupotugo. Bwe nnatandika okuyigiriza omuyizi ow’okubiri, muganda wange yaŋŋamba nti, “Marie-Line, ndowooza waliwo obuzibu!” Omukyala gwe nnali njigiriza yali ayogera Lupotugo kyokka nnali njogera naye mu Lusiranantongo olw’okuba lwali lunnyanguyira okusinga Olupotugo!

Ab’oluganda gye mwaweereza babaagala nnyo. Musobodde mutya okukola omukwano n’ab’oluganda?

Jack: Engero 11:25 wagamba nti: “Omugabi ajja kugaggawala.” Tuwaayo ebiseera okubeerako awamu ne baganda baffe n’okubaako bye tubakolera. Bwe tuba tukola emirimu ku Kizimbe ky’Obwakabaka, abamu baŋŋamba nti: “Leka ababuulizi be baba bakola omulimu ogwo.” Naye mbaddamu nti: “Nange ndi mubuulizi. N’olwekyo, bwe wabaawo omulimu ogukolebwa, nange mba njagala okugwenyigiramu.” Wadde nga ffenna tubaako ebiseera lwe twagala okuba ffekka, tetukkiriza kya kwagala kubeerako ffekka kutulemesa kukolera balala birungi.

Marie-Line: Tufuba okumanya ebikwata ku bakkiriza bannaffe. Bwe kityo, tusobola okumanya ddi omu ku bo lw’aba yeetaaga okumukuumirako abaana be oba okubanona ku ssomero. Tukola enkyukakyuka mu nteekateeka yaffe ne tusobola okubayamba. Ekyo kitusobozesezza okukola omukwano ogw’oku lusegere ne bakkiriza bannaffe.

Mikisa ki gye mufunye mu kuweereza awali obwetaavu obusingako?

Jack: Obuweereza obw’ekiseera kyonna butuviiriddemu emikisa mingi. Kituwadde akakisa okwetegereza ebitonde bya Yakuwa. Wadde ng’obuweereza buno bubaddemu okusoomooza okutali kumu, tulina emirembe ku mutima kubanga tumanyi nti buli gye tugenda abantu ba Yakuwa beetegefu okutuyamba.

Bwe nnali nkyali muvubuka, nnasibibwa mu kkomera mu French Guiana olw’obutabaako ludda lwe mpagira mu by’obufuzi. Nnali sikirowoozangako nti lumu nnandizzeeyo mu kitundu ekyo okuweereza ng’omuminsani era ne nzikirizibwa okubuulira mu makomera. Mazima ddala Yakuwa awa abaweereza be emikisa mingi!

Marie-Line: Ekimu ku bintu ebisinga okundeetera essanyu kwe kuyamba abalala. Tuli basanyufu nnyo okuweereza Yakuwa. Ekyo kituyambye n’okunyweza enkolagana yaffe ng’abafumbo. Oluusi Jack ayinza okumbuuza obanga tuyinza okukyaza abafumbo abaweddemu amaanyi tuliireko wamu nabo emmere. Ntera okumuddamu nti, “Ekyo nange kye mbadde ndowooza!” Emirundi mingi tukwatagana mu ndowooza.

Jack: Gye buvuddeko awo, nnazuulwamu ekika ekimu ekya kookolo. Wadde nga Marie-Line tayagala kukiwulira, mmugamba nti: “Mukwano, singa nfa enkya, nja kuba nfudde ‘sikaddiye bulungi.’ Naye nja kuba mumativu nga nkimanyi nti obulamu bwange mbukozesezza okuweereza Yakuwa, era ng’ekyo kye kintu ekisinga obukulu.”​—Lub. 25:8.

Marie-Line: Yakuwa atusobozesezza okumuweereza mu ngeri ezitali zimu ze twali tutasuubira n’okukola ebintu bye twali tutasuubira. Mazima ddala tufunye ebirungi bingi mu bulamu. Yonna ekibiina kya Yakuwa gye kitugamba okugenda gye tugenda nga tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kutuyamba!

^ lup. 32 Olusiranantongo lulimi olwava mu Lungereza, Oludaaki, Olupotugo, n’ennimi za Afirika ezimu, era nga kirabika abaddu be baalutandikawo.