Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 12

Ekiseera Ekituufu eky’Okwogera Kye Kiruwa?

Ekiseera Ekituufu eky’Okwogera Kye Kiruwa?

“Buli kintu kiba n’ekiseera kyakyo . . . ekiseera eky’okusirika n’ekiseera eky’okwogera.”​—MUB. 3:1, 7.

OLUYIMBA 124 Tubeerenga Beesigwa

OMULAMWA *

1. Omubuulizi 3:1, 7 watuyigiriza ki?

ABAMU ku ffe twogera nnyo. Ate abalala teboogera nnyo. Ng’ekyawandiikibwa ekyesigamiziddwako ekitundu kino bwe kiraga, waliwo ekiseera eky’okwogera n’ekiseera eky’okusirika. (Soma Omubuulizi 3:1, 7.) Naye oluusi tuwulira nga twandyagadde baganda baffe boogere ekisingawo. Ate oluusi tuwulira nga twandyagadde abamu bakendeeze ku kwogera.

2. Ani alina okututeerawo emitindo egikwata ku ddi lwe tusaanidde okwogera na ngeri ki gye tusaanidde okwogeramu?

2 Okwogera kirabo okuva eri Yakuwa. (Kuv. 4:10, 11; Kub. 4:11) Mu Kigambo kye, atuyamba okumanya engeri gye tuyinza okukozesaamu obulungi ekirabo ekyo. Mu kitundu kino, tugenda kulaba ebyokulabirako okuva mu Byawandiikibwa ebituyamba okumanya ddi lwe tusaanidde okwogera na ddi lwe tusaanidde okusirika. Ate era tugenda kulaba engeri Yakuwa gy’atwalamu ebyo bye twogera n’abalala. Ka tusooke tulabe ddi lwe tusaanidde okwogera.

DDI LWE TUSAANIDDE OKWOGERA?

3. Okusinziira ku Abaruumi 10:14, ddi lwe tusaanidde okwogera?

3 Bulijjo tulina okuba abeetegefu okwogera ebikwata ku Yakuwa n’Obwakabaka bwe. (Mat. 24:14; soma Abaruumi 10:14.) Bwe tukola tutyo, tuba tukoppa Yesu. Emu ku nsonga enkulu ezaaleeta Yesu ku nsi kwe kubuulira abalala amazima agakwata ku Kitaawe. (Yok. 18:37) Naye tusaanidde okujjukira nti engeri gye twogeramu nayo nkulu. N’olwekyo bwe tuba tubuulira abalala ebikwata ku Yakuwa, tulina okwogera nabo mu ‘bukkakkamu era nga tubassaamu ekitiibwa.’ Ate era tulina okufaayo ku nneewulira zaabwe ne bye bakkiriza. (1 Peet. 3:15) Mu ngeri eyo, tujja kuba tetwogera bwogezi na bantu, wabula tujja kuba tubayigiriza era oboolyawo tubatuuke ku mutima.

4. Nga bwe kiragibwa mu Engero 9:9, bye twogera biyinza bitya okuyamba abalala?

4 Abakadde tebasaanidde kulonzalonza kwogera bwe bakiraba nti ow’oluganda oba mwannyinaffe yeetaaga okuwabulwa. Kya lwatu nti balina okulonda ekiseera ekituufu eky’okwogereramu baleme kuleetera mukkiriza munnaabwe kuwulira buswavu. Bayinza okwogerako naye nga tewaliiwo bantu balala. Bulijjo abakadde bafuba okwogera n’omuntu mu ngeri etamuweebuula. Wadde kiri kityo, tebalonzalonza kulaga muntu misingi gya Bayibuli egisobola okumuyamba okweyisa mu ngeri ey’amagezi. (Soma Engero 9:9.) Lwaki kikulu obutatya kwogera bwe kiba kyetaagisa? Lowooza ku byokulabirako bibiri eby’enjawulo: Ekimu kikwata ku musajja eyalina okugolola batabani be, ete ekirala kikwata ku mukazi eyawabula omusajja eyali agenda okufuuka kabaka.

5. Ddi kabona asinga obukulu Eli lwe yalemererwa okwogera?

5 Eli kabona asinga obukulu yalina abaana ab’obulenzi babiri be yali ayagala ennyo. Naye abaana abo baali tebassa kitiibwa mu Yakuwa. Baalina ebifo eby’obuvunaanyizibwa nga baweereza nga bakabona ku weema entukuvu. Naye baakozesa bubi obuyinza bwabwe, baajolonganga ebiweebwayo ebyaweebwangayo eri Yakuwa, era beenyigiranga kyere mu bikolwa eby’obugwenyufu. (1 Sam. 2:12-17, 22) Okusinziira ku Mateeka, batabani ba Eli baali bagwana kuttibwa, naye Eli yabanenyaako katono n’abaleka okweyongera okuweereza ku weema entukuvu. (Ma. 21:18-21) Yakuwa yatwala atya ngeri Eli gye yakwatamu ensonga eyo? Yagamba Eli nti: “Lwaki owa batabani bo ekitiibwa okusinga nze?” Yakuwa yasalawo okutta batabani ba Eli abo abaali ababi.​—1 Sam. 2:29, 34.

6. Kiki kye tuyigira ku Eli?

6 Waliwo ekintu ekikulu kye tuyigira ku Eli. Bwe tukimanyako nti mukwano gwaffe oba ow’eŋŋanda zaffe amenye etteeka lya Katonda, tulina okwogera, kwe kugamba, tulina okumujjukiza emitindo gya Yakuwa. Ate era tulina okukakasa nti afuna obuyambi bwe yeetaaga okuva mu abo abakiikirira Yakuwa. (Yak. 5:14) Obutafaananako Eli, tetwagala kuwa mukwano gwaffe oba wa ŋŋanda zaffe kitiibwa okusinga Yakuwa. Kyetaagisa obuvumu okutuukirira omuntu aba yeetaaga okugololwa, naye ebivaamu biba birungi. Kati ka tulabe enjawulo eriwo wakati wa Eli n’omukazi Omuyisirayiri eyali ayitibwa Abbigayiri.

Abbigayiri yassaawo ekyokulabirako ekirungi bwe kituuka ku kiseera ekituufu eky’okwogereramu (Laba akatundu 7-8) *

7. Lwaki Abbigayiri yayogera ne Dawudi?

7 Abbigayiri yali mukyala w’omusajja omugagga eyali ayitibwa Nabbali. Dawudi ne basajja be bwe baali badduka Kabaka Sawulo, baamala ekiseera nga bali wamu n’abalunzi ba Nabbali era baakuuma ebisibo bya Nabbali ne bitabbibwa banyazi. Nabbali yasiima kye baamukolera? Nedda. Dawudi bwe yamusaba awe abasajja be ku by’okulya ne ku mazzi, Nabbali yasunguwala era n’abavuma. (1 Sam. 25:5-8, 10-12, 14) N’ekyavaamu, Dawudi yasalawo nti yali agenda kutta abasajja bonna abaali mu nnyumba ya Nabbali. (1 Sam. 25:13, 22) Ekyo kyandyewaliddwa kitya? Abbigayiri yakitegeera nti kyali kiseera kya kwogera, era bw’atyo yagenda okusisinkana abasajja 400 abaali abayala, abasunguwavu, era nga balina ebyokulwanyisa, n’ayogera ne Dawudi.

8. Kiki kye tuyigira ku Abbigayiri?

8 Abbigayiri bwe yasisinkana Dawudi, yayogera n’obuvumu, ng’amussaamu ekitiibwa, era mu ngeri ey’amagezi. Wadde nga Abbigayiri si ye yali avunaanyizibwa ku ebyo ebyali bibaddewo, yeetondera Dawudi. Yayogera ku ngeri za Dawudi ennungi era yeesiga Yakuwa okumuyamba. (1 Sam. 25:24, 26, 28, 33, 34) Okufaananako Abbigayiri, tulina okwogera bwe tulaba omuntu ng’akwata ekkubo ekkyamu. (Zab. 141:5) Tulina okwogera naye mu ngeri eraga nti tumussaamu ekitiibwa naye era nga tuli bavumu. Bwe tuwa omuntu okuwabula kwe yeetaaga, tukiraga nti tuli mikwano gye egya nnamaddala.​—Nge. 27:17.

9-10. Kiki abakadde kye basaanidde okujjukira nga bawabula abalala?

9 Okusingira ddala, abakadde balina okwogera n’abo abali mu kibiina ababa bakutte ekkubo ekyamu. (Bag. 6:1) Abakadde basaanidde okukimanya nti nabo tebatuukiridde era nti nabo lumu bayinza okwetaaga okuwabulwa. Naye ekyo tekisaanidde kubalemesa kuwabula abo ababa beetaaga okuwabulwa. (2 Tim. 4:2; Tit. 1:9) Bwe baba bawabula omuntu balina okukozesa ekirabo eky’okwogera okuyigiriza obulungi omuntu oyo era balina okuba abagumiikiriza. Mukkiriza munnaabwe oyo baba bamwagala nnyo, era okwagala okwo kubaleetera okumuyamba. (Nge. 13:24) Naye kye basinga okutwala ng’ekikulu kwe kuwa Yakuwa ekitiibwa nga banywerera ku mitindo gye era nga bakuuma ekibiina kireme okwonoonebwa.​—Bik. 20:28.

10 We tutuukidde wano, tulabye ddi lwe tusaanidde okwogera. Naye waliwo embeera nga kitwetaagisa obutabaako kye twogera. Kusoomooza ki kwe tuyinza okwolekagana nakwo mu mbeera ng’ezo?

DDI LWE TUSAANIDDE OKUSIRIKA?

11. Kyakulabirako ki Yakobo kye yakozesa, era kikwata kitya ku kwogera?

11 Si kyangu kufuga lulimi lwaffe. Ekyo kyeyolekera bulungi mu bigambo bya Yakobo. Yagamba nti: “Omuntu yenna bw’aba tasobya mu kigambo, aba yatuukirira, ng’asobola okufuga omubiri gwe gwonna.” (Yak. 3:2, 3) Ebyuma bissibwa mu kamwa k’embalaasi era omuvuzi w’embalaasi bw’asika enkoba eziba zisibiddwa ku byuma ebyo asobola okutwala embalaasi yonna gy’aba ayagala oba okugiyimiriza. Bw’atasika bulungi nkoba, embalaasi eyinza okutabuka n’emala gadduka era ekyo kiyinza okugikosa oba okukosa oyo aba agyebagadde. Mu ngeri y’emu, bwe tulemwa okufuga olulimi lwaffe, kiyinza okuvaamu ebizibu eby’amaanyi. Kati ka tulabe ddi lwe kiyinza okutwetaagisa okufuga olulimi lwaffe ne tutabaako kye twogera.

12. Emu ku mbeera mwe tutalina kwogerera y’eruwa?

12 Kiki ky’okola bw’osisinkana ow’oluganda oba mwannyinaffe amanyi ebintu ebitwalibwa okuba eby’ekyama? Ng’ekyokulabirako, bw’osisinkana omuntu abeera mu nsi omulimu gwaffe gye gwawerebwa, omubuuza akubuulire kalonda akwata ku ngeri omulimu gwaffe gye gukolebwamu mu nsi eyo? Kya lwatu nti toba na kigendererwa kibi. Twagala nnyo baganda baffe era twagala okumanya ebibakwatako. Ate era twagala okubasabira nga twogera butereevu ku mbeera ze bayitamu. Wadde kiri kityo, ekyo kiba kiseera kya kusirika. Bwe tupikiriza omuntu okutubuulira ebintu by’atateekeddwa kutubuulira, tuba tetulaze kwagala eri omuntu oyo, n’eri ab’oluganda ne bannyinaffe abamutaddemu obwesige nti tajja kwogera bintu ebyo. Tewali n’omu ku ffe yandyagadde kwongera ku bizibu bakkiriza bannaffe abali mu nsi omulimu gwaffe gye gwawerebwa bye balina. Ate era tewali wa luganda oba mwannyinaffe ali mu nsi ng’eyo yandyagadde kubuulira balala ngeri Abajulirwa ba Yakuwa ababeera mu nsi eyo gye babuuliramu ne gye bafunamu enkuŋŋaana.

13. Nga bwe kiragibwa mu Engero 11:13, kiki abakadde kye balina okukola, era lwaki?

13 Okusingira ddala abakadde balina okukolera ku musingi oguli mu Engero 11:13 nga tebabuulira balala bintu bye batalina kumanya. (Soma.) Ekyo kiyinza obutaba kyangu nnaddala singa omukadde aba mufumbo. Omwami n’omukyala banyweza enkolagana yaabwe nga banyumya era nga beebuulira ebintu ebitali bimu. Naye omukadde alina okukimanya nti talina kubuulira mukyala we ‘byama’ by’ab’oluganda ne bannyinaffe mu kibiina. Ekyo bw’akikola, balekera awo okumussaamu obwesige n’ekitiibwa. Abo abalina obuvunaanyizibwa mu kibiina tebalina kuba “ba nnimibbirye,” oba balimba. (1 Tim. 3:8, obugambo obuli wansi.) Ekyo kiraga nti tebalina kulimba balala oba kukola lugambo. Omukadde ayagala mukyala we tajja kumutikka mugugu gwa bintu by’ateetaaga kumanya.

14. Mukyala w’omukadde asobola otya okuyamba omukadde okusigala ng’alina erinnya eddungi?

14 Omukyala asobola okuyamba omwami we okusigala ng’alina erinnya eddungi nga tamupikiriza kumubuulira bintu ebirina okukuumibwa nga bya kyama. Omukyala bw’akolera ku magezi ago, aba awagira omwami we era aba assa ekitiibwa mu abo abaabuulira omwami we ebintu by’alina okukuuma nga bya kyama. N’ekisinga obukulu, asanyusa Yakuwa kubanga aba ayambako mu kukuuma emirembe n’obumu mu kibiina.​—Bar. 14:19.

BYE TWOGERA BIKWATA BITYA KU YAKUWA?

15. Ebigambo bya mikwano gya Yobu abasatu byakwata bitya ku Yakuwa, era lwaki?

15 Waliwo bingi bye tuyinza okuyiga mu kitabo kya Yobu ku ngeri gye tulina okwogera na ddi lwe tulina okwogera. Yobu bwe yafuna ebizibu eby’amaanyi eby’omuddiriŋŋanwa, abasajja bana bajja gy’ali okumubudaabuda n’okumuwabula. Abasajja abo baamala ekiseera kiwanvu nga basirise busirisi. Naye ebyo basatu ku basajja abo, Erifaazi, Birudaadi, ne Zofa, bye baayogera biraga nti ekiseera kye baamala nga basirise tebaakimala nga balowooza ku ngeri gye baali bayinza okuyamba Yobu. Mu kifo ky’ekyo, baali balowooza ku ngeri gye baali bayinza okukakasa nti Yobu yalina ekikyamu kye yakola. Ebintu ebimu bye baayogera byali bituufu, naye bingi ku ebyo bye baayogera ku Yobu ne ku Yakuwa tebyali bya kisa era tebyali bituufu. Baasalira Yobu omusango. (Yob. 32:1-3) Ekyo kyakwata kitya ku Yakuwa? Yasunguwalira nnyo abasajja abo abasatu. Yabayita basirusiru era n’abagamba bagambe Yobu abasabire.​—Yob. 42:7-9.

16. Biki bye tuyigira ku Erifaazi, Birudaadi, ne Zofa?

16 Waliwo bye tuyigira ku Erifaazi, Birudaadi, ne Zofa. Ekisooka, tetusaanidde kusalira baganda baffe musango. (Mat. 7:1-5) Mu kifo ky’ekyo, tusaanidde okubawuliriza obulungi nga tetunnaba kwogera. Olwo tuba tusobola okutegeera obulungi embeera yaabwe. (1 Peet. 3:8) Eky’okubiri, bwe tuba twogera, tusaanidde okukakasa nti ebigambo byaffe bya kisa era nti bituufu. (Bef. 4:25) Eky’okusatu, Yakuwa afaayo ku ebyo bye twogera n’abalala.

17. Kiki kye tuyigira ku Eriku?

17 Omusajja ow’okuna eyakyalira Yobu yali ayitibwa Eriku, eyalina oluganda ku Ibulayimu. Eriku yawuliriza Yobu ne banne ba Yobu abasatu nga boogera. Ateekwa okuba nga yassaayo omwoyo ku ebyo ebyali byogerwa kubanga oluvannyuma yasobola okwogera mu ngeri ey’ekisa era n’okuwabula Yobu, ekintu ekyayamba Yobu okukyusa endowooza ye. (Yob. 33:1, 6, 17) Ekigendererwa kya Eriku ekikulu kyali kya kugulumiza Yakuwa so si okwegulumiza oba okugulumiza omuntu omulala yenna. (Yob. 32:21, 22; 37:23, 24) Ekyokulabirako kya Eriku kituyamba okukiraba nti waliwo ekiseera eky’okusirika n’ekiseera eky’okuwuliriza. (Yak. 1:19) Ate era tuyiga nti bwe tuba tuwabula abalala, ekigendererwa kyaffe ekikulu kirina kuba kuwa Yakuwa kitiibwa so si kwagala kwefunira kitiibwa.

18. Tuyinza tutya okukiraga nti tusiima ekirabo eky’okwogera?

18 Tusobola okulaga nti tusiima ekirabo eky’okwogera nga tukolera ku bulagirizi obuli mu Bayibuli obukwata ku ddi lwe tusaanidde okwogera na ngeri ki gye tusaanidde okwogeramu. Kabaka Sulemaani yaluŋŋamizibwa okuwandiika nti: “Ekigambo ekyogerwa mu kiseera ekituufu kiringa apo eza zzaabu eziri mu bbakuli eza ffeeza.” (Nge. 25:11) Bwe tuwuliriza obulungi abalala bye boogera era ne tulowooza nga tetunnayogera, ebigambo byaffe bisobola okuba nga apo eza zzaabu, kwe kugamba, biba bya muwendo era nga birungi. Mu ngeri eyo, ka tube nga twogera bingi oba bitono, ebigambo byaffe bijja kuzimba abalala era bijja kusanyusa Yakuwa. (Nge. 23:15; Bef. 4:29) Eyo y’emu ku ngeri esingayo obulungi gye tusobola okukiragamu nti tusiima ekirabo eky’okwogera Katonda kye yatuwa!

OLUYIMBA 82 “Ekitangaala Kyammwe Kyakirenga Abantu”

^ lup. 5 Ekigambo kya Katonda kirimu emisingi egituyamba okumanya ddi lwe tusaanidde okwogera na ddi lwe tusaanidde okusirika. Bwe tumanya ekyo Bayibuli ky’egamba era ne tukikolerako, bye twogera bisanyusa Yakuwa.

^ lup. 62 EBIFAANANYI: Mwannyinaffe akiraba nti kyetaagisa okuwabula mwannyinaffe omulala.

^ lup. 64 EBIFAANANYI: Ow’oluganda omu awa ow’oluganda omulala amagezi ku ngeri y’okukuumamu obuyonjo.

^ lup. 66 EBIFAANANYI: Abbigayiri yayogera ne Dawudi mu kiseera ekituufu era ebyavaamu byali birungi.

^ lup. 68 EBIFAANANYI: Ow’oluganda ne mukyala we nga beewala okubuulira abalala ebikwata ku mulimu gwaffe mu nsi gye gwawerebwa.

^ lup. 70 EBIFAANANYI: Omukadde yeegendereza, ebintu by’ekibiina ebirina okukuumibwa nga bya kyama bireme kuwulirwa muntu mulala.