Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 13

Mwagalane Nnyo

Mwagalane Nnyo

“Mwagalane nnyo okuviira ddala ku mutima.”—1 PEET. 1:22.

OLUYIMBA 109 Yoleka Okwagala Okuviira Ddala ku Mutima

OMULAMWA *

Mu kiro ekyasembayo amale attibwe, Yesu yakuutira abayigirizwa be okwagalana (Laba akatundu 1-2)

1. Kiragiro ki Yesu kye yawa abayigirizwa be? (Laba ekifaananyi ku ddiba.)

MU KIRO ekyasembayo amale attibwe, Yesu yawa abayigirizwa be ekiragiro. Yabagamba nti: “Nga bwe mbadde mbaagala, nammwe bwe muba mwagalana.” Yagattako nti: “Ku kino bonna kwe banaategeereranga nti muli bayigirizwa bange​—bwe munaayagalananga.”​—Yok. 13:34, 35.

2. Lwaki kikulu okwagalana?

2 Yesu yagamba nti abayigirizwa be ab’amazima bandibadde bategeererwa ku kwoleka okwagala ng’okwo kwe yayoleka. Ekyo bwe kyali mu kyasa ekyasooka era bwe kiri ne leero. N’olwekyo, kikulu nnyo okwagalana ne bwe kiba nga si kyangu!

3. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

3 Olw’okuba tetutuukiridde, oluusi kiyinza okutuzibuwalira okwagala ennyo baganda baffe. Wadde kiri kityo, tulina okufuba okukoppa Kristo. Mu kitundu kino, tugenda kulaba engeri okwagala gye kutuyamba okuba abantu abaleetawo emirembe, abatasosola, era abasembeza abalala. Nga twekenneenya ekitundu kino, weebuuze: ‘Kiki kye nnyinza okuyigira ku bakkiriza bannange abeeyongera okulaga abalala okwagala wadde nga tekyali kyangu gye bali?’

BA MUNTU ALEETAWO EMIREMBE

4. Okusinziira ku Matayo 5:23, 24, lwaki tulina okutabagana ne muganda waffe aba atulinako ensonga?

4 Yesu yakiraga nti kikulu okutabagana ne mukkiriza munnaffe aba atulinako ensonga. (Soma Matayo 5:23, 24.) Yagamba nti bwe tuba ab’okusanyusa Katonda tulina okuba nga tukolagana bulungi n’abalala. Bwe tufuba okuba mu mirembe ne baganda baffe, kisanyusa nnyo Yakuwa. Yakuwa tasobola kukkiriza kusinza kwaffe singa tusiba ekiruyi ne tugaana n’okugezaako okuleetawo emirembe.​—1 Yok. 4:20.

5. Kiki ekyakifuula ekizibu eri ow’oluganda omu okuleetawo emirembe?

5 Oluusi kiyinza okutuzibuwalira okuleetawo emirembe. Lwaki? Lowooza ku ekyo ekyatuuka ku Mark. * Mark yayisibwa bubi ow’oluganda omu bwe yamwogerako obubi eri abalala mu kibiina. Mark yeeyisa atya? Agamba nti: “Nnalemererwa okwefuga era ne njogera bubi n’ow’oluganda oyo.” Naye oluvannyuma Mark yejjusa era n’agezaako okwetondera ow’oluganda oyo n’okuzzaawo emirembe. Naye ow’oluganda oyo yagaana okuwuliriza Mark. Mu kusooka, Mark yagamba nti, ‘Lwaki nfuba okuleetawo emirembe ng’ate ye tayagala?’ Naye omulabirizi w’ekitundu yakubiriza Mark obutakoowa kugezaako. Kiki Mark kye yakola?

6. (a) Mark yafuba atya okuleetawo emirembe? (b) Mark yakolera atya ku Abakkolosaayi 3:13, 14?

6 Mark bwe yeetunulamu, yakiraba nti yali tayolese bwetoowaze era nti yali yeetutte okuba omutuukirivu ekisukkiridde. Yakiraba nti yalina okukyusa endowooza ye. (Bak. 3:8, 9, 12) Mu bwetoowaze yaddamu n’atuukirira ow’oluganda oyo n’amwetondera. Mark era yawandiikira ow’oluganda oyo amabaluwa agatali gamu, ng’amwetondera era n’akiraga nti yali ayagala bazzeewo enkolagana gye baalina. Mark yawa ow’oluganda oyo n’obulabo bwe yalowooza nti yandibwagadde. Eky’ennaku, ow’oluganda oyoyeeyongera okusibira Mark ekiruyi. Wadde kyali kityo, Mark yeeyongera okugondera ekiragiro kya Yesu ne yeeyongera okwagala muganda we n’okumusonyiwa. (Soma Abakkolosaayi 3:13, 14.) Bwe tufuba okutabagana n’abalala naye ne bagaana, okwagala okwa nnamaddala kujja kutusobozesa okweyongera okubasonyiwa n’okusaba Yakuwa emirembe gisobole okuddawo wakati waffe nabo.​—Mat. 18:21, 22; Bag. 6:9.

Bwe tufuna obutakkaanya n’omuntu kiyinza okutwetaagisa okukola ebintu eby’enjawulo okusobola okuzzaawo emirembe (Laba akatundu 7-8) *

7. (a) Kiki Yesu kye yatukubiriza okukola? (b) Mbeera ki enzibu mwannyinaffe omu gye yayolekagana nayo?

7 Yesu yatukubiriza okuyisanga abalala nga bwe twandyagadde batuyise. Era yagamba nti tetulina kwagala abo bokka abatwagala. (Luk. 6:31-33) Wadde nga tekitera kubaawo, watya singa omuntu omu mu kibiina atandika okukwewala era n’aba nga takubuuza? Ekyo kye kyatuuka Lara. Yagamba nti: “Muganda wange omu yatandika okunneewala naye nnali simanyi lwaki yali yeeyisa bw’atyo. Nnawulira bubi era saanyumirwanga kugenda mu nkuŋŋaana.” Mu kusooka Lara yagamba nti: ‘Si nze ndiko obuzibu. Kasita n’abalala mu kibiina bakiraba nti muganda wange oyo teyeeyisa bulungi.’

8. Kiki Lara kye yakola okuleetawo emirembe, era tumuyigirako ki?

8 Lara yabaako ky’akolawo okuleetawo emirembe. Yasaba Yakuwa era n’asalawo okwogerako ne muganda we oyo. Baayogera ku kizibu ekyaliwo, ne bagwaŋŋana mu kifuba, era ne bazzaawo emirembe. Ebintu byalabika ng’ebyali biteredde. Lara agamba nti: “Kyokka oluvannyuma muganda wange oyo yaddamu okunneewala n’obutambuuza. Ekyo kyammalamu nnyo amaanyi.” Mu kusooka, Lara yali alowooza nti okusobola okuba omusanyufu, muganda we oyo yalina okusooka okukyusa endowooza ye. Naye oluvannyuma Lara yakiraba nti ekintu ekituufu kye yali asaanidde okukola kwe kweyongera okuyisa obulungi muganda we oyo ‘n’okumusonyiwa.’ (Bef. 4:32–5:2) Lara yakijjukira nti okwagala okwa nnamaddala “tekusiba kiruyi. Kugumira ebintu byonna, kukkiriza ebintu byonna, kusuubira ebintu byonna, kugumiikiriza ebintu byonna.” (1 Kol. 13:5, 7) Lara yaddamu okufuna emirembe ku mutima. Ekiseera bwe kyayitawo, muganda we oyo yakyusaamuko. Bw’ofuba okuleetawo emirembe wakati wo ne baganda bo era ne weeyongera okubaagala, ba mukakafu nti ‘Katonda ow’okwagala n’emirembe ajja kubeera naawe.’​—2 Kol. 13:11.

BA MUNTU ATASOSOLA

9. Okusinziira ku Ebikolwa 10:34, 35, lwaki tetulina kuba basosoze?

9 Yakuwa tasosola. (Soma Ebikolwa 10:34, 35.) Bwe tutaba basosoze, tuba tukiraga nti tuli baana be. Tugondera ekiragiro eky’okwagala bantu bannaffe nga bwe tweyagala ffekka, era tufuba okubeera mu mirembe ne bakkiriza bannaffe.​—Bar. 12:9, 10; Yak. 2:8, 9.

10-11. Mwannyinaffe omu yasobola atya okweggyamu endowooza enkyamu gye yalina?

10 Oluusi abamu kiyinza obutababeerera kyangu okwewala obusosoze. Lowooza ku mwannyinaffe Ruth. Bwe yali akyali muto, waliwo omuntu okuva mu nsi emu eyamuyisa obubi. Ekyo kyakwata kitya ku Ruth? Agamba nti: “Nnakyawa buli kintu ekikwata ku nsi eyo. Nnali ndowooza nti abantu bonna abava mu nsi eyo be bamu, ka babe ba luganda.” Kiki ekyayamba Ruth okweggyamu endowooza eyo?

11 Ruth yakiraba nti yalina okweggyamu endowooza eyo embi. Yasoma mu Yearbook ebikwata ku nsi eyo. Agamba nti: “Nnafuba okuba n’endowooza ennungi ku bantu b’omu nsi eyo. Nnatandika okukiraba nti baganda bange ne bannyinaze mu nsi eyo banyiikivu nnyo mu kuweereza Yakuwa. Nneeyongera okukiraba nti nabo bali mu luganda lwaffe olw’ensi yonna.” Oluvannyuma lw’ekiseera, Ruth yakiraba nti yalina okukola ekisingawo ku ekyo. Agamba nti: “Buli lwe nnasisinkananga ab’oluganda ne bannyinaffe ab’omu nsi eyo, nnafubanga okubakolako omukwano. Nnayogeranga nabo ne nneeyongera okubamanya.” Kiki ekyavaamu? Ruth agamba nti: “Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, endowooza enkyamu gye nnalina yanzigwamu.”

Bwe tuba nga ‘twagala nnyo baganda baffe bonna,’ tujja kwewala okuba abasosoze (Laba akatundu 12-13) *

12. Buzibu ki mwannyinaffe ayitibwa Sarah bwe yalina?

12 Abamu baba n’obusosoze naye nga tebakimanyi. Ng’ekyokulabirako, Sarah yali alowooza nti si musosoze lw’okuba yali talamula bantu ng’asinziira ku langi yaabwe, embeera yaabwe ey’eby’enfuna, oba obuvunaanyizibwa bwe balina mu kibiina. Naye agamba nti: “Nnatandika okukiraba nti nnalimu obusosoze.” Mu ngeri ki? Sarah yali ava mu maka mayivu era abantu abayivu be yakolangako omukwano. Lumu yatuuka n’okugamba mukwano gwe omu nti: “Nze emikwano ngikola na bakkiriza bannange abayivu. Seesembereza bataasoma.” Sarah yali yeetaaga okukyusa endowooza ye. Yandikikoze atya?

13. Kiki kye tuyigira ku ngeri Sarah gye yakyusaamu endowooza ye?

13 Omulabirizi omu akyalira ebibiina yayamba Sarah okukyusa endowooza ye. Sarah agamba nti: “Yanneebaza olw’okuweereza Yakuwa n’obwesigwa, olw’okuddamu obulungi mu nkuŋŋaana, n’olw’okumanya Ebyawandiikibwa. Era yaŋŋamba nti okumanya kwe tulina bwe kugenda kweyongera, tuba twetaaga n’okukulaakulanya engeri ennungi gamba ng’obwetoowaze, obuwombeefu, n’obusaasizi.” Sarah yafumiitiriza ku bigambo by’ow’oluganda oyo. Agamba nti: “Nnakiraba nti ekisinga obukulu kwe kuba ow’ekisa n’okulaga okwagala.” Ekyo kyamuyamba okukyusa endowooza gye yalina ku bakkiriza banne. Agamba nti: “Nnafuba okumanya engeri ennungi ezaali zifuula bakkiriza bannange okuba ab’omuwendo mu maaso ga Yakuwa.” Ate ffe? Tetusaanidde kwetwala nti tuli ba waggulu ku balala olw’obuyigirize bwaffe! Bwe tuba nga ‘twagala nnyo baganda baffe bonna,’ tujja kwewala okuba abasosoze.​—1 Peet. 2:17.

BA MUNTU ASEMBEZA ABALALA

14. Okusinziira ku Abebbulaniya 13:16, Yakuwa awulira atya bwe tusembeza abalala?

14 Yakuwa asanyuka nnyo bwe tusembeza abalala. (Soma Abebbulaniya 13:16.) Okusembeza abalala, naddala abo abali mu bwetaavu, Yakuwa akitwala nti kitundu kya kusinza kwaffe. (Yak. 1:27; 2:14-17) Eyo ye nsonga lwaki Ebyawandiikibwa bitukubiriza ‘okusembezanga abagenyi.’ (Bar. 12:13) Bwe tuba abantu abasembeza abalala tulaga abalala nti tubafaako, tubaagala, era nti twagala babe mikwano gyaffe. Yakuwa asanyuka nnyo bwe tubaako be tuwadde eky’okulya oba eky’okunywa, be tuyise okuliirako awamu naffe ekijjulo, be tuwadde ebiseera byaffe, oba be tufuddeko mu ngeri endala. (1 Peet. 4:8-10) Naye waliwo ebintu ebimu ebiyinza okukifuula ekizibu gye tuli okusembeza abalala.

“Edda nnabanga saagala kusembeza balala naye kati nnakyuka era nfunye essanyu lingi” (Laba akatundu 16) *

15-16. (a) Lwaki abamu kibazibuwalira okusembeza abalala? (b) Kiki ekyayamba Edit okutandika okusembeza abagenyi?

15 Tuyinza okutya okusembeza abalala olw’embeera yaffe. Lowooza ku nnamwandu ayitibwa Edit. Bwe yali tannafuuka muweereza wa Yakuwa, yali tayagala kubeera nnyo na bantu. Edit yali awulira nti abalala basobola bulungi okusembeza abagenyi okusinga ye.

16 Edit bwe yamala okufuuka Omujulirwa wa Yakuwa, yakyusa endowooza ye. Yabaako kye yakolawo okuba omuntu asembeza abalala. Agamba nti: “Ekizimbe kyaffe eky’Obwakabaka ekipya bwe kyali kizimbibwa, omukadde omu yantuukirira n’ambuulira ku w’oluganda ne mwannyinaffe abaali bajja okutuyambako mu kuzimba era n’ambuuza obanga nnali nsobola okubasuza okumala wiiki bbiri. Nnajjukira engeri Yakuwa gye yawaamu nnamwandu w’e Zalefaasi emikisa.” (1 Bassek. 17:12-16) Edit yakkiriza okubasuza. Yafuna emikisa? Agamba nti: “Tebaasula wange wiiki bbiri zokka wabula baasulayo emyezi ebiri. Mu kiseera ekyo, twafuuka ba mukwano nnyo.” Edit afunye n’emikwano emirala egy’oku lusegere mu kibiina. Kati aweereza nga payoniya era atera okukyaza awaka abo b’aba abuulidde nabo ne babaako kye baliirako oba kye banywerako awamu naye. Agamba nti: “Okugaba kundeetera essanyu lingi, era nfunye emikisa mingi nnyo.”​—Beb. 13:1, 2.

17. Kiki Luke ne mukyala we kye baazuula?

17 Tuyinza okuba nga tusembeza abagenyi, naye tuyinza okwongera okulongoosaamu? Ng’ekyokulabirako, Luke ne mukyala we basembeza abagenyi. Baalinga basembeza mu maka gaabwe bazadde baabwe, ab’eŋŋanda zaabwe, mikwano gyabwe egy’oku lusegere, n’omulabirizi akyalira ebibiina ne mukyala we. Naye Luke agamba nti, “Twakiraba nti twali tukyaza abo bokka abaali ab’oku lusegere naffe.” Luke ne mukyala we baalongoosaamu batya mu kusembeza abalala?

18. Luke ne mukyala we baalongoosa batya mu ngeri gye baali basembezaamu abalala?

18 Luke ne mukyala we baakyusa endowooza yaabwe oluvannyuma lw’okufumiitiriza ku bigambo bya Yesu bino: “Bwe mwagala abo ababaagala, mpeera ki gye mufuna?” (Mat. 5:45-47) Baakiraba nti baali beetaaga okukoppa Yakuwa, oyo agabira bonna. Bwe kityo baasalawo okusembeza bakkiriza bannaabwe be baali batasembezangako. Luke agamba nti: “Kati ffenna tunyumirwa nnyo ebiseera ebyo bye tumala ne baganda baffe. Buli omu awulira ng’aziddwamu amaanyi era ng’azimbiddwa.”

19. Tukiraga tutya nti tuli bayigirizwa ba Yesu, era kiki ky’omaliridde okukola?

19 Mu kitundu kino tulabye engeri okwagala ennyo baganda baffe gye kituyamba okuba abantu abaleetawo emirembe, abatasosola, era abasembeza abalala. Tulina okweggyamu endowooza yonna embi era tulina okwagala ennyo baganda baffe ne bannyinaffe okuviira ddala ku mutima. Bwe tukola bwe tutyo, tujja kuba basanyufu era tujja kukyoleka nti tuli bayigirizwa ba Yesu.​—Yok. 13:17, 35.

OLUYIMBA 88 Njigiriza Amakubo Go

^ lup. 5 Yesu yagamba nti okwagala ke kabonero akaawulawo Abakristaayo ab’amazima. Okwagala kwe tulina eri bakkiriza bannaffe kutuleetera okuba abantu abaleetawo emirembe, abatasosola, era abasembeza abalala. Ekyo oluusi tekiba kyangu. Ekitundu kino kirimu amagezi agasobola okutuyamba okweyongera okwagalana ennyo okuviira ddala ku mutima.

^ lup. 5 Amannya agamu mu kitundu kino gakyusiddwa.

^ lup. 57 EBIFAANANYI: Mwannyinaffe asooka n’agezaako okutabagana ne muganda we naye ne kitasoboka, kyokka taggwaamu maanyi. Olw’okuba yeeyongedde okulaga okwagala, baddamu okutabagana.

^ lup. 59 EBIFAANANYI: Ow’oluganda omukulu mu myaka awulira nti abalala bonna mu kibiina tebamuliiko.

^ lup. 61 EBIFAANANYI: Mwannyinaffe mu kusooka eyali atya okusembeza abalala akyusa endowooza ye, era ekyo kimuleetera essanyu.