Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 16

Wuliriza, Tegeera, era Laga Obusaasizi

Wuliriza, Tegeera, era Laga Obusaasizi

“Mulekere awo okusala omusango nga musinziira ku ndabika ya kungulu, naye musale omusango mu butuukirivu.”​—YOK. 7:24.

OLUYIMBA 101 Okukolera Awamu nga Tuli Bumu

OMULAMWA *

1. Kintu ki ekizzaamu amaanyi ekikwata ku Yakuwa Bayibuli ky’etutegeeza?

WANDYAGADDE abantu okukulamula nga basinziira ku langi yo, ku ndabika yo ey’omu maaso, oba ku bunene oba obutono bw’omubiri gwo? Kya lwatu nedda. Nga kizzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti Yakuwa tatulamula ng’asinziira ku ndabika yaffe ey’oku ngulu! Ng’ekyokulabirako, Samwiri bwe yatunuulira batabani ba Yese, teyalaba ekyo Yakuwa kye yalaba. Yakuwa yali agambye Samwiri nti omu ku batabani ba Yese yali agenda kufuuka kabaka wa Isirayiri. Naye yandibadde ani? Samwiri bwe yalaba Eriyaabu, mutabani wa Yese omukulu, yagamba nti, “Mazima ddala ono Yakuwa gw’alonze.” Eriyaabu yali alabika nga kabaka. Naye Yakuwa yagamba Samwiri nti: “Totunuulira ndabika ye na buwanvu bwe, kubanga si gwe nnonze.” Ekyo kituyigiriza ki? Yakuwa yagattako nti: “Abantu balaba ekyo amaaso gaabwe kye gasobola okulaba, naye Yakuwa alaba ekiri mu mutima.”​—1 Sam. 16:1, 6, 7.

2. Nga bwe kiragibwa mu Yokaana 7:24, lwaki tetusaanidde kulamula balala nga tusinziira ku ndabika yaabwe ey’okungulu? Waayo ekyokulabirako.

2 Olw’okuba tetutuukiridde, tutera okulamula abalala nga tusinziira ku ndabika yaabwe ey’okungulu. (Soma Yokaana 7:24.) Naye ebyo bye tulaba n’amaaso gaffe, bitutegeeza kitono nnyo ku muntu. Ng’ekyokulabirako, n’omusawo omukugu era alina obumanyirivu, bitono nnyo by’asobola okumanya ng’atunuulidde butunuulizi omulwadde. Alina okuwuliriza omulwadde n’obwegendereza bw’aba wa kumanya obulwadde obwamulumako emabega, engeri gy’awuliramu, n’obubonero bw’obulwadde bw’alina kati. Omusawo ayinza n’okusindika omulwadde mu kifaananyi asobole okulaba ekiri munda mu mubiri gwe. Bw’atakola bw’atyo, ayinza okuwa omulwadde obujjanjabi obutali butuufu. Mu ngeri y’emu, naffe tetusobola kutegeera bulungi baganda baffe nga tutunuulira butunuulizi ekyo kye bali kungulu. Tulina okufuba okumanya ekyo kye bali munda. Kya lwatu nti tetusobola kusoma mitima, n’olwekyo tetusobola kutegeerera ddala balala nga Yakuwa bw’abategeera. Naye tusobola okufuba okukoppa Yakuwa. Mu ngeri ki?

3. Ebyo bye tugenda okulaba ku bantu abamu aboogerwako mu Bayibuli binaatuyamba bitya okukoppa Yakuwa?

3 Yakuwa ayisa atya abaweereza be? Abawuliriza. Alowooza ku bintu bye bayiseemu ne ku mbeera yaabwe. Era abalaga obusaasizi. Nga twekenneenya engeri Yakuwa gye yakolamu ebintu ebyo ng’akolagana ne Yona, Eriya, Agali, ne Lutti, ka tulabe engeri gye tusobola okumukoppa nga tukolagana ne baganda baffe.

WULIRIZA BULUNGI

4. Lwaki tuyinza okuba n’endowooza etali nnungi ku Yona?

4 Okusinziira ku ndaba yaffe ey’obuntu, tuyinza okulowooza nti Yona yali teyeesigika oba nti teyali mwesigwa. Yakuwa yamulagira okugenda okulangirira omusango gwe yali asalidde Nineeve. Naye mu kifo ky’okugondera Yakuwa, Yona yalinnya ekyombo ekyali kigenda mu kitundu ekirala, “adduke Yakuwa.” (Yon. 1:1-3) Singa ggwe wali otumye Yona, wandibadde omuwa akakisa akalala okukola omulimu ogwo? Oboolyawo nedda. Naye Yakuwa yakiraba nti Yona yali asaana okuweebwa akakisa akalala.​—Yon. 3:1, 2.

5. Ebigambo ebiri mu Yona 2:1, 2, 9 bikuyigiriza ki ku Yona?

5 Essaala Yona gye yasaba eraga ekyo ddala kye yali. (Soma Yona 2:1, 2, 9.) Essaala eyo, emu ku ssaala ennyingi Yona ze yasaba, etuyamba obutakoma ku kumutwala ng’omusajja eyadduka obuvunaanyizibwa Yakuwa bwe yali amuwadde. Ebigambo bye yakozesa biraga nti yali mwetoowaze, yali asiima, era nti yali mumalirivu okugondera Yakuwa. N’olwekyo tekyewuunyisa nti ensobi eyo Yona gye yakola Yakuwa si gye yatunuulira. Yakuwa yaddamu essaala ya Yona era ne yeeyongera okumukozesa nga nnabbi!

Bwe tumanya ebizingirwamu, kitusobozesa okuba abasaasizi (Laba akatundu 6) *

6. Lwaki kikulu okuwuliriza obulungi abalala?

6 Okusobola okuwuliriza obulungi abalala, tulina okuba abeetoowaze era abagumiikiriza. Waliwo ensonga nga ssatu lwaki ekyo tusaanidde okukikola. Esooka, kituyamba okwewala okulowooleza abalala kye batali. Ey’okubiri, kituyamba okutegeera enneewulira n’ebiruubirirwa byabwe ne tusobola okubalumirirwa. N’ey’okusatu, tusobola okuyamba omuntu okumanya ekintu ky’abadde teyeemanyiiko. Ebiseera ebimu tuyinza obutamanya nneewulira zaffe okutuusa nga tuzoogeddeko. (Nge. 20:5) Omukadde omu ow’omu Asiya agamba nti: “Nzijukira lumu nnakola ensobi ne njogera nga sisoose kuwuliriza. Nnagamba mwannyinaffe omu nti yali yeetaaga okulongoosa mu ngeri gy’addamu mu nkuŋŋaana. Oluvannyuma nnakizuula nti yali azibuwalirwa okusoma era nti yali ateekamu okufuba kwa maanyi okusobola okubaako ky’addamu.” Mazima ddala kikulu nnyo buli mukadde okusooka ‘okuwuliriza ensonga’ nga tannawabula muntu!​—Nge. 18:13.

7. Kiki ky’oyigira ku ngeri Yakuwa gye yakolaganamu ne Eriya?

7 Abamu ku baganda baffe ne bannyinaffe kibazibuwalira okwogera ku ngeri gye bawuliramu olw’embeera gye baakuliramu, olw’obuwangwa bwabwe, oba olw’engeri zaabwe. Tuyinza tutya okukifuula ekyangu gye bali okutweyabiza? Jjukira engeri Yakuwa gye yayisaamu Eriya nga Eriya adduse Yezebeeri. Kyatwala ennaku eziwerako Eriya n’alyoka abuulira Kitaawe ow’omu ggulu engeri gye yali awuliramu. Yakuwa yamuwuliriza bulungi. Oluvannyuma Yakuwa yazzaamu Eriya amaanyi era n’amuwa omulimu omukulu ogw’okukola. (1 Bassek. 19:1-18) Baganda baffe ne bannyinaffe kiyinza okubatwalira ekiseera okuwulira nga beetegefu okwogera naffe, era ng’eyo ye ngeri yokka gye tusobola okutegeera obulungi enneewulira yaabwe. Bwe tukoppa Yakuwa ne tuba bagumiikiriza, basobola okutwesiga. Bwe baba nga beetegefu okutubuulira engeri gye bawuliramu, tusaanidde okubawuliriza obulungi.

MANYA BAKKIRIZA BANNO

8. Okusinziira ku Olubereberye 16:7-13, Yakuwa yayamba atya Agali?

8 Agali, omuweereza wa Salaayi, yeeyisa mu ngeri etaali ya magezi bwe yamala okufuuka mukyala wa Ibulaamu. Agali bwe yafuna olubuto yatandika okunyooma Salaayi ataalina baana. Embeera yayonooneka nnyo Saala n’atuuka n’okugoba Agali. (Lub. 16:4-6) Olw’okuba tetutuukiridde, tuyinza okulowooza nti Agali yali mukazi wa malala era nti ekyo ekyamutuukako kyali kimugwanira. Naye Yakuwa si bw’atyo bwe yali amutunuulira. Yatuma malayika we gy’ali. Malayika oyo yayamba Agali okutereeza endowooza ye era n’amuwa omukisa. Agali yakiraba nti Yakuwa yali amulaba era nti yali amanyi bulungi embeera ye. Agali yayita Yakuwa “Katonda alaba, . . . oyo andaba.”​—Soma Olubereberye 16:7-13.

9. Kiki Yakuwa kye yalowoozaako ng’akolagana ne Agali?

9 Kiki Yakuwa kye yalaba mu Agali? Yali amanyi bulungi embeera ya Agali n’ebintu byonna bye yali ayiseemu. (Nge. 15:3) Agali yali Mumisiri eyali abeera mu maka g’Abebbulaniya. Kyandiba nti oluusi yawuliranga nga tabajaamu? Yawuliranga ng’asubwa ab’ewaabwe n’ensi ye? Agali si ye yekka eyali mukazi wa Ibulaamu. Okumala ekiseera, abamu ku basajja abeesigwa baabanga n’omukazi asukka mu omu. Naye ekyo si kye kyali ekigendererwa kya Yakuwa. (Mat. 19:4-6) N’olwekyo, tekyewuunyisa nti obufumbo ng’obwo bwabangamu ebizibu gamba ng’obuggya n’obukyayi. Wadde nga Yakuwa yali akimanyi nti kyali kikyamu Agali obutassa kitiibwa mu Salaayi, yalowooza ku mbeera ya Agali ne ku bintu bye yali ayiseemu era n’amulaga ekisa.

Manya bulungi baganda bo (Laba akatundu 10-12) *

10. Tuyinza tutya okweyongera okumanya bakkiriza bannaffe?

10 Tusobola okukoppa Yakuwa nga tufuba okutegeera baganda baffe. Fuba okweyongera okumanya bakkiriza banno. Yogerako nabo ng’enkuŋŋaana tezinnatandika n’oluvannyuma nga ziwedde, buulirako wamu nabo, era bwe kiba kisoboka bayite baliireko wamu naawe ekijjulo. Ekyo bw’okikola oyinza okukizuula nti mwannyinaffe alabika ng’eyeewulira alina ensonyi, ow’oluganda gw’olowooza nti ayagala nnyo ebintu mugabi, ab’omu maka abatera okutuuka ekikeerezi mu nkuŋŋaana bayigganyizibwa. (Yob. 6:29) Kyo kituufu nti tetusaanidde ‘kweyingiza mu nsonga z’abalala.’ (1 Tim. 5:13) Naye kirungi okubaako bye tumanya ku bakkiriza bannaffe n’embeera ze bayitamu ezibaleetera okweyisa nga bwe beeyisa.

11. Lwaki abakadde basaanidde okutegeera obulungi endiga?

11 Okusingira ddala abakadde basaanidde okumanya bakkiriza bannaabwe be balabirira. Lowooza ku w’oluganda ayitibwa Artur eyali aweereza ng’omulabirizi akyalira ebibiina. Ye n’ow’oluganda omulala baakyalira mwannyinaffe eyali alabika ng’ow’ensonyi era atayagala kubeera na balala. Artur agamba nti: “Twakimanya nti bba wa mwannyinaffe oyo yafa nga wayise ekiseera kitono bukya bafumbiriganwa. Wadde ng’embeera gye yali ayitamu teyali nnyangu, yayamba abaana be okwagala Yakuwa ne bafuuka abaweereza ba Yakuwa abanywevu. Naye kati mwannyinaffe oyo yali takyalaba bulungi era nga mwennyamivu. Wadde kyali kityo, yali akyayagala Yakuwa era ng’alina okukkiriza okunywevu. Twakiraba nti waliwo ebintu ebirungi bingi bye twali tuyinza okuyigira ku mwannyinaffe oyo.” (Baf. 2:3) Omulabirizi oyo yali akoppa Yakuwa. Yakuwa amanyi endiga ze era amanyi obulumi bwe ziyitamu. (Kuv. 3:7) Abakadde bwe bamanya obulungi endiga, baba basobola okuziyamba obulungi.

12. Mwannyinaffe ayitibwa Yip Yee yaganyulwa atya mu kumanya obulungi mwannyinaffe omu mu kibiina?

12 Bw’omanya embeera mukkiriza munno akola ebikunyiiza gye yakuliramu, kiyinza okukuyamba okumulumirirwa. Lowooza ku kyokulabirako kino. Mwannyinaffe Yip Yee abeera mu Asiya agamba nti: “Muganda wange omu mu kibiina yali ayogerera waggulu nnyo. Nnalowoozanga nti talina mpisa. Naye olumu bwe nnabuulirako naye, nnakimanya nti yayambangako bazadde be okutunda eby’enyanja mu katale. Yabanga alina okwogerera waggulu ng’ayita abaguzi.” Yip Yee agamba nti: “Nnakizuula nti okusobola okumanya obulungi bakkiriza bannange, nnina okumanya embeera gye baakuliramu.” Kyetaagisa okufuba okusobola okumanya obulungi bakkiriza banno. Naye bw’ogaziwa mu mutima nga Bayibuli bw’etukubiriza, oba okoppa Yakuwa, oyo “ayagala abantu aba buli ngeri.”​—1 Tim. 2:3, 4; 2 Kol. 6:11-13.

LAGA OBUSAASIZI

13. Nga bwe kiragibwa mu Olubereberye 19:15, 16, kiki bamalayika kye baakola Lutti bwe yali yeekunya, era lwaki?

13 Mu kiseera ekyali ekya kazigizigi, Lutti yalwawo okukolera ku bulagirizi bwa Yakuwa. Bamalayika babiri baagenda ewuwe ne bamugamba aggye ab’omu maka ge mu Sodomu. Lwaki? Baamugamba nti: ‘Tugenda kuzikiriza ekifo kino.’ (Lub. 19:12, 13) Enkeera ku makya Lutti n’ab’omu maka ge baali bakyali waka. Bamalayika baddamu okulabula Lutti, naye Lutti yadda ‘mu kwekunya.’ Tuyinza okutwala Lutti ng’omuntu eyali teyeefiirayo era ataali muwulize. Naye Yakuwa teyalekayo kumuyamba. “Olw’obusaasizi Yakuwa bwe yamulaga,” bamalayika baakwata Lutti n’ab’omu maka ge ku mukono ne babafulumya ekibuga.​—Soma Olubereberye 19:15, 16.

14. Kiki ekiyinza okuba nga kyaleetera Yakuwa okulaga Lutti obusaasizi?

14 Waliwo ensonga eziwerako eziyinza okuba nga zaaleetera Yakuwa okulaga Lutti obusaasizi. Oboolyawo Lutti yalwawo okuva mu maka ge olw’okuba yali atya abantu abaali babeera wabweru w’ekibuga. Waliwo n’ebintu ebirala ebiyinza okuba nga byamutiisa. Lutti ayinza okuba nga yali amanyi bakabaka ababiri abaagwa mu binnya ebyali mu kiwonvu ekyali okumpi awo, ebyalimu ebintu ebiddugavu ebikwatira. (Lub. 14:8-12) Ng’omwami era taata, Lutti ayinza okuba nga yali yeeraliikirira olw’ab’omu maka ge. Okugatta ku ekyo, Lutti yali mugagga era ayinza okuba nga yalina n’ennyumba mu Sodomu. (Lub. 13:5, 6) Kya lwatu nti tewali kintu na kimu ku ebyo kyandiremesezza Lutti kugondera Yakuwa mu bwangu. Wadde kyali kityo, Yakuwa teyatunuulira nsobi ya Lutti, era yamutwala ‘ng’omusajja omutuukirivu.’​—2 Peet. 2:7, 8.

Bwe tuwuliriza obulungi tuyinza okumanya engeri gye tuyinza okulagamu abalala obusaasizi (Laba akatundu 15-16) *

15. Mu kifo ky’okulamula omuntu nga tusinziira ku ngeri gye yeeyisaamu, kiki kye tusaanidde okukola?

15 Mu kifo ky’okulamula omuntu ng’osinziira ku nneeyisa ye, fuba okutegeera engeri gy’aba awuliramu. Ekyo mwannyinaffe Veronica abeera mu Bulaaya kye yakola. Agamba nti: “Omu ku baganda bange yateranga okuba nga buli kiseera munyiikaavu, era yeeyawulanga ku balala. Ebiseera ebimu nnatyanga n’okumutuukirira. Naye muli nnagamba nti, ‘Singa nze mbadde mu mbeera ye nnandibadde nneetaaga ow’omukwano.’ N’olwekyo nnasalawo okumubuuza engeri gye yali awuliramu. Era yambuulira engeri gye yali awuliramu! Kati muganda wange oyo mmutegeera ekisingawo.”

16. Lwaki tusaanidde okusaba Yakuwa atuyambe okutegeera abalala?

16 Yakuwa yekka y’atutegeera mu bujjuvu. (Nge. 15:11) N’olwekyo musabe akuyambe okulaba ekyo ky’alaba mu balala n’okumanya engeri gy’oyinza okulagamu abalala obusaasizi. Okusaba kwayamba mwannyinaffe Anzhela okweyongera okuba omuntu alumirirwa abalala. Muganda we omu mu kibiina yali afuuse muzibu okukolagana naye. Anzhela agamba nti: “Kyandibadde kyangu gye ndi okukolokotanga muganda wange oyo n’okumwewala. Naye nnasaba Yakuwa annyambe nsobole okutegeera muganda wange oyo.” Yakuwa yaddamu okusaba kwa Anzhela? Anzhela agamba nti: “Nnagenda ne muganda wange oyo okubuulira era oluvannyuma ne twogera okumala essaawa nnyingi. Nnamuwuliriza bulungi. Nneeyongera okumwagala era ndi mumalirivu okumuyamba.”

17. Kiki kye tusaanidde okuba abamalirivu okukola?

17 Tosobola kulondamu baani ku bakkiriza banno b’osaanidde kulaga busaasizi. Okufaananako Yona, Eriya, Agali, ne Lutti, bonna boolekagana n’ebizibu. Era emirundi egimu ebizibu ebyo bayinza okuba nga be baabyereetera. Ekituufu kiri nti ffenna twali twereeteddeko ebizibu. N’olwekyo, kituukirawo okuba nti Yakuwa atugamba nti buli omu alumirirwe munne. (1 Peet. 3:8) Bwe tugondera Yakuwa, twongera okunyweza obumu bwe tulina mu luganda lwaffe olw’ensi yonna. N’olwekyo, bwe tuba tukolagana ne baganda baffe ka tube bamalirivu okubawuliriza, okubategeera, n’okubalaga obusaasizi.

OLUYIMBA 87 Jjangu Ozzibwemu Amaanyi

^ lup. 5 Abantu abatatuukiridde tutera okulowooleza abantu kye batali. Naye Yakuwa ye “alaba ekiri mu mutima.” (1 Sam. 16:7) Ekitundu kino kigenda kulaga engeri Yakuwa gye yayambamu Yona, Eriya, Agali, ne Lutti. Kigenda kutuyamba okulaba engeri gye tuyinza okumukoppamu nga tukolagana ne baganda baffe ne bannyinaffe.

^ lup. 52 EBIFAANANYI: Ow’oluganda omukulu ng’anyiize olw’okuba ow’oluganda omuto atuuse kikeerezi mu nkuŋŋaana, naye oluvannyuma akizuula nti ow’oluganda oyo yafunye akabenje.

^ lup. 54 EBIFAANANYI: Wadde ng’omulabirizi w’ekibinja ky’okubuulira mu kusooka yali alowooza nti mwannyinaffe omu yeeyawula ku balala era nti yeetwala okuba owa waggulu, oluvannyuma yakitegeera nti mwannyinaffe oyo yali wa nsonyi era nga teyeetaaya ng’ali n’abantu b’atamanyidde.

^ lup. 56 EBIFAANANYI: Mwannyinaffe omu bw’abeerako awamu ne mwannyinaffe omulala akizuula nti si muntu atayagala kwesembereza balala nga bwe yabadde alowooza nga yaakamusisinkana ku Kizimbe ky’Obwakabaka.