Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 14

Obulumbaganyi Okuva mu Bukiikakkono!

Obulumbaganyi Okuva mu Bukiikakkono!

“Waliwo eggwanga erizze mu nsi yange.”​—YOW. 1:6.

OLUYIMBA 95 Ekitangaala Kyeyongera

OMULAMWA *

1. Nkola ki Ow’oluganda Russell ne banne gye baakozesa okwekenneenya Ebyawandiikibwa, era lwaki yali nnungi?

EMYAKA egisukka mu kikumi emabega, Ow’oluganda C. T. Russell ne banne, abayizi b’Ekigambo kya Katonda abatonotono, baatandika okukuŋŋaananga awamu. Baali baagala okulaba obanga basobola okutegeera ekyo Bayibuli ky’eyigiriza ku Yakuwa Katonda, Yesu Kristo, embeera y’abafu, n’ekinunulo. Enkola gye baakozesa okwekenneenya Ebyawandiikibwa yali nnyangu. Beebuuzanga ekibuuzo, olwo bonna awamu ne beekenneenya ebyawandiikibwa byonna ebikwatagana n’ensonga eyo. Bye baazuulanga baabiteekanga mu buwandiike. Yakuwa yawa Abakristaayo abo abeesimbu omukisa ne bazuula amazima amakulu agali mu Bayibuli era agakyali ag’omuwendo ennyo gye tuli.

2. Kiki oluusi ekiyinza okutuviirako okutegeera mu bukyamu obunnabbi obuli mu Bayibuli?

2 Naye mu kiseera kitono, Abayizi ba Bayibuli abo baakizuula nti wadde nga kyangu okutegeera enjigiriza za Bayibuli ezitali zimu, tekitera kuba kyangu kutegeera makulu g’obunnabbi obuli mu Bayibuli. Lwaki? Ensonga emu eri nti emirundi mingi obunnabbi bwa Bayibuli butegeerwa butuukirizibwa oba nga bumaze okutuukirizibwa. Naye waliwo n’ensonga endala. Okusobola okutegeera obulungi obunnabbi, tulina okwekenneenya kalonda yenna azingirwamu. Bwe twekenneenyaako ekintu kimu kyokka ekikwata ku bunnabbi ebirala ne tutabirowoozaako, tuyinza okubutegeera mu bukyamu. Kirabika ekyo kye kyaliwo ne ku bunnabbi obumu obuli mu kitabo kya Yoweeri. Ka twekenneenye obunnabbi obwo era tulabe ensonga lwaki tubadde twetaaga okukyusa mu ngeri gye tubadde tubutegeeramu.

3-4. Tubadde tutegeera tutya obunnabbi obuli mu Yoweeri 2:7-9?

3 Soma Yoweeri 2:7-9. Yoweeri yalagula ku nzige ezandibadde zoonoona ensi ya Isirayiri. Enzige ezo ezirya ennyo ezirina amannyo n’emba ebiringa eby’empologoma, zandibadde zirya ebimera byonna mu nsi ya Isirayiri! (Yow. 1:4, 6) Okumala emyaka mingi tubadde tulowooza nti obunnabbi obwo bukwata ku ngeri abantu ba Yakuwa gye babuuliramu, efaananako enzige ezitasobola kuziyizibwa. Twali tugamba nti omulimu guno ogw’okubuulira gukosa “ensi,” oba abantu abali mu madiini ag’obulimba. *

4 Bwe tusoma Yoweeri 2:7-9 wokka, ennyinnyonnyola eyo eyinza okulabika ng’entuufu. Naye bwe twekenneenya ebirala ebizingirwa mu bunnabbi obwo tukiraba nti twetaaga okukyusa mu ngeri gye tubadde tubutegeeramu. Ka tulabe ensonga nnya lwaki kiri kityo.

ENSONGA NNYA LWAKI TWETAAGA OKUKYUSA MU NTEGEERA YAFFE

5-6. Kibuuzo ki ekijjawo bwe twekenneenya (a) Yoweeri 2:20? (b) Yoweeri 2:25?

5 Esooka, weetegereze ekisuubizo kya Yakuwa ekikwata ku nzige. Yagamba nti: “Ndigobera wala oyo ow’ebukiikakkono [enzige] ave we muli.” (Yow. 2:20) Bwe kiba nti enzige ezo zikiikirira Abajulirwa ba Yakuwa abagondera ekiragiro kya Yesu eky’okubuulira n’okufuula abantu Abayigirizwa, ate lwaki Yakuwa yandizigobye? (Ezk. 33:7-9; Mat. 28:19, 20) Kyeyoleka lwatu nti abo Yakuwa be yandigobye tebandibadde baweereza be, wabula bantu abandibadde bayisa obubi abantu be.

6 Ensonga ey’okubiri, lowooza ku ebigambo ebiri mu Yoweeri 2:25. Yakuwa yagamba nti: “Ndibasasula emyaka enzige ezibeera mu bibinja n’enzige ezitannamera biwaawaatiro n’enzige ezirya ennyo n’enzige ezivaabira gye zaamala nga zirya ebirime byammwe; eggye lyange eddene lye nnabasindikira.” Weetegereze nti Yakuwa asuubiza ‘okusasula’ ebyo enzige bye zandyonoonye. Singa enzige ezo zaali zikiikirira ababuulizi b’enjiri y’Obwakabaka, ekyo kyandibadde kiraga nti obubaka bwe babuulira bukosa abantu. Naye ekyo si bwe kiri, kubanga obubaka obwo buwonya obulamu era busobola okuleetera abantu ababi okwenenya. (Ezk. 33:8, 19) Ekyo kiba kibaganyudde nnyo!

7. Ekigambo “oluvannyuma” ekiri mu Yoweeri 2:28, kituyamba kutegeera ki?

7 Soma Yoweeri 2:28, 29. Lowooza ku nsonga ey’okusatu, ng’eno ekwata ku ngeri ebintu ebyogerwako mu bunnabbi obwo gye byandibadde biddiriŋŋanamu. Okyetegerezza nti Yakuwa agamba nti: “Oluvannyuma ndifuka omwoyo gwange”; kwe kugamba, oluvannyuma lw’enzige okumaliriza omulimu gwe zaalina okukola? Bwe kiba nti enzige ezo be babuulizi b’Obwakabaka bwa Katonda, lwaki Yakuwa yandibafuseeko omwoyo gwe oluvannyuma lw’okumaliriza omulimu ogw’okuwa obujulirwa? Ekituufu kiri nti awatali mwoyo gwa Yakuwa omutukuvu, ababuulizi b’Obwakabaka tebandisobodde kubuulira kumala myaka mingi ate nga bayigganyizibwa era ng’omulimu gwabwe guwerebwa.

Ow’oluganda J. F. Rutherford n’abalala abaafukibwako amafuta abaawoma omutwe mu kulangirira n’obuvumu emisango Katonda gye yasalira ensi ya Sitaani eno embi (Laba akatundu 8)

8. Enzige ezoogerwako mu Okubikkulirwa 9:1-11 zikiikirira baani? (Laba ekifaananyi ku ddiba.)

8 Soma Okubikkulirwa 9:1-11. Kati ka tulabe ensonga ey’okuna. Tubadde tukwataganya enzige ezoogerwako mu bunnabbi bwa Yoweeri n’omulimu gwaffe ogw’okubuulira olw’obunnabbi obubufaananako obuli mu kitabo ky’Okubikkulirwa. Obunnabbi obuli mu Okubikkulirwa bwogera ku nzige ezirina obwenyi obulinga obw’abantu era nga ku mitwe gyazo kuliko “ebifaanana ng’engule eza zzaabu.” (Kub. 9:7) Zibonyaabonya ‘abantu abatalina kabonero ka Katonda ku byenyi byabwe,’ kwe kugamba, abalabe ba Katonda, okumala emyezi etaano, nga gino gye myezi enzige gye ziwangaala. (Kub. 9:4, 5) Obunnabbi obwo bulabika bukwata ku baweereza ba Yakuwa abaafukibwako amafuta. Balangirira n’obuvumu omusango Katonda gw’asalidde ensi ya Sitaani era ekyo kimalako abantu b’ensi ya Sitaani emirembe.

9. Njawulo ki ez’amaanyi eziriwo wakati w’enzige Yoweeri ze yalaba n’ezo Yokaana ze yayogerako?

9 Kyo kituufu nti waliwo ebintu ebimu ebifaanagana mu bunnabbi obuli mu Okubikkulirwa n’obwo obuli mu kitabo kya Yoweeri. Naye waliwo n’ebirala ebikulu bye butafaanaganya. Lowooza ku bino: Mu bunnabbi bwa Yoweeri, enzige zisaanyaawo ebimera. (Yow. 1:4, 6, 7) Mu kwolesebwa Yokaana kwe yafuna, enzige “zigambibwa obutakola kabi ku bimera eby’oku nsi.” (Kub. 9:4) Enzige Yoweeri ze yalaba zaava mu bukiikakkono. (Yow. 2:20) Enzige Yokaana ze yalaba zaava mu bunnya. (Kub. 9:2, 3) Enzige Yoweeri ze yalaba zaagobebwa. Mu Okubikkulirwa, enzige tezigobebwa, wabula zikkirizibwa okumaliriza omulimu gwazo. Tewaliiwo kiraga nti Yakuwa tazisiima.​—Laba akasanduuko “ Obunnabbi Obukwata ku Nzige—​Bulina Bye Bufaanaganya Naye Bwawukana.”

10. Waayo ekyokulabirako okuva mu Byawandiikibwa ekiraga nti enzige ezoogerwako mu bunnabbi bwa Yoweeri n’ezo Yokaana ze yalaba zikiikirira ebintu bya njawulo.

10 Enjawulo ez’amaanyi eziriwo wakati w’obunnabbi obwo obubiri zituleetera okukiraba nti tebukwatagana. Ekyo kiba kitegeeza ki? Kitegeeza nti enzige Yoweeri ze yayogerako si ze zimu n’enzige ezoogerwako mu kitabo ky’Okubikkulirwa. Mu Bayibuli, ekintu ekimu kisobola okuba n’amakulu ag’enjawulo. Ng’ekyokulabirako, mu Okubikkulirwa 5:5, Yesu ayitibwa “Empologoma y’omu kika kya Yuda,” ate nga mu 1 Peetero 5:8, Sitaani ayogerwako “ng’empologoma ewuluguma.” Ensonga ennya ze tulabye n’ebibuuzo ebijjawo biraga nti twetaaga okukyusa mu ngeri gye tubadde tunnyonnyolamu obunnabbi bwa Yoweeri. Obunnabbi obwo bulina makulu ki?

BULINA MAKULU KI?

11. Yoweeri 1:6 ne 2:1, 8, 11 watuyamba watya okumanya ekyo enzige kye zikiikirira?

11 Bwe twekenneenya ennyiriri endala ez’obunnabbi bwa Yoweeri, tukiraba nti nnabbi oyo yali ayogera ku bulumbaganyi bw’eggye. (Yow. 1:6; 2:1, 8, 11) Yakuwa yagamba nti yandikozesezza ‘eggye lye eddene’ (abasirikale ba Babulooni) okubonereza Abayisirayiri abajeemu. (Yow. 2:25) Kituukirawo okuba nti eggye eryo liyitibwa “oyo ow’ebukiikakkono” kubanga Abababulooni bandirumbye Isirayiri nga bava mu bukiikakkono. (Yow. 2:20) Eggye eryo ligeraageranyizibwa ku kibinja ky’enzige ekitegekeddwa obulungi. Ng’ayogera ku ggye eryo, Yoweeri yagamba nti: “Buli [musirikale] atambulira mu kkubo lye. . . . Bafubutuka ne bayingira ekibuga, baddukira ku bbugwe. Bawalampa amayumba, bayingirira mu madirisa ng’ababbi.” (Yow. 2:8, 9) Lowooza ku mbeera eyo. Abasirikale babunye buli wamu. Tewali muntu w’ayinza kubeekweka. Tewali asobola kusimattuka kitala ky’Abababulooni!

12. Obunnabbi bwa Yoweeri obukwata ku nzige bwatuukirizibwa butya?

12 Okufaananako enzige, Abababulooni (oba, Abakaludaaya) baalumba ekibuga Yerusaalemi mu 607 E.E.T. Bayibuli egamba nti: ‘Kabaka w’Abakaludaaya yatta n’ekitala abavubuka baabwe. Teyasaasira mulenzi wadde omuwala, omukadde wadde oyo aliko obulemu. Katonda yawaayo buli kimu mu mukono gwe. Yayokya ennyumba ya Katonda ow’amazima era n’amenyaamenya bbugwe wa Yerusaalemi; yayokya ebigo byamu byonna era n’ayonoona ebintu byonna eby’omuwendo.’ (2 Byom. 36:17, 19) Abababulooni bwe baamala okulumba ensi ne bagizikiriza, abantu abaagiraba baagamba nti: “Ensi efuuse matongo, teriimu bantu wadde ensolo, era eweereddwayo eri Abakaludaaya.”​—Yer. 32:43.

13. Nnyonnyola amakulu ga Yeremiya 16:16, 18.

13 Nga wayise emyaka nga 200 Yoweeri ng’amaze okwogera obunnabbi obwo, Yakuwa yakozesa Yeremiya okwogera ekintu ekirala ekikwata ku bulumbaganyi obwo. Yalaga nti Abayisirayiri abeenyigira mu bikolwa ebibi bandibadde banoonyezebwa ne bakwatibwa. Yagamba nti: “‘Laba, ŋŋenda kutumya abavubi bangi,’ Yakuwa bw’agamba, ‘era bajja kubavubayo. Oluvannyuma nja kutumya abayizzi bangi, era bajja kubayigga ku buli lusozi ne ku buli kasozi era ne mu mpampagama z’enjazi. . . . nja kubasasula mu bujjuvu ekyo ekigwanira ensobi zaabwe n’ebibi byabwe.’” Ka zibe nnyanja oba bibira, tewali na kimu kyandisobodde kukweka Bayisirayiri abajeemu ne batakwatibwa ggye lya Babulooni.​—Yer. 16:16, 18.

OKUZZIBWAWO

14. Obunnabbi obuli mu Yoweeri 2:28, 29 bwatuukirizibwa ddi?

14 Naye era Yoweeri alina n’amawulire amalungi ge yayogera. Ensi yandizziddwawo. (Yow. 2:23-26) Ate era nga wayise ekiseera, wandibaddewo emmere nnyingi ey’eby’omwoyo. Yakuwa yagamba nti: “Ndifuka omwoyo gwange ku bantu aba buli ngeri, era batabani bammwe ne bawala bammwe balyogera obunnabbi . . . Era n’abaddu bange abasajja n’abakazi ndibafukako omwoyo gwange.” (Yow. 2:28, 29) Omwoyo ogwo omutukuvu Yakuwa teyagufuka ku bantu ng’Abayisirayiri baakakomezebwawo okuva e Babulooni. Wabula yagubafukako nga wayise ebyasa ebiwerako, ku lunaku lwa Pentekooti 33 E.E. Ekyo tukimanya tutya?

15. Okusinziira ku Ebikolwa 2:16, 17, bigambo ki eby’enjawulo Peetero bye yakozesa ng’ajuliza Yoweeri 2:28, era ekyo kiraga ki?

15 Ng’aluŋŋamizibwa, omutume Peetero yakwataganya obunnabbi obuli mu Yoweeri 2:28, 29 ku kintu ekyewuunyisa ekyaliwo ku lunaku lwa Pentekooti. Ku ssaawa nga ssatu ez’oku makya, omwoyo omutukuvu gwafukibwa ku bantu mu ngeri ey’ekyamagero era abo be gwafukibwako baatandika okwogera “ku bintu bya Katonda eby’ekitalo.” (Bik. 2:11) Ng’aluŋŋamizibwa Katonda, Peetero alina ebigambo eby’enjawulo bye yakozesa bwe yali ajuliza obunnabbi bwa Yoweeri. Weetegerezza enjawulo eyo? (Soma Ebikolwa 2:16, 17.) Mu kifo ky’okujuliza obunnabbi obwo ng’atandika n’ekigambo “oluvannyuma,” Peetero yagamba nti: Mu nnaku ez’enkomerero.” Wano Peetero yali alaga nti mu nnaku ez’enkomerero y’enteekateeka y’Ekiyudaaya, omwoyo gwa Katonda gwandifukiddwa “ku bantu aba buli ngeri.” Kino kiraga nti ekiseera kiwanvu kyayitawo obunnabbi obuli mu Yoweeri ne bulyoka butuukirizibwa.

16. Omwoyo gwa Katonda gwakola ki ku mulimu gw’okubuulira mu kyasa ekyasooka, era gukoze ki ku mulimu ogwo leero?

16 Omwoyo gwa Katonda bwe gwamala okufukibwa ku Bakristaayo mu kyasa ekyasooka, baatandika okukola omulimu gw’okubuulira ogwandibadde gubuna ensi yonna oluvannyuma lw’ekiseera. Mu kiseera omutume Pawulo we yawandiikira Abakkolosaayi ebbaluwa, awo nga mu 61 E.E., yali asobola okugamba nti amawulire amalungi gaali gabuuliddwa “mu bitonde byonna ebiri wansi w’eggulu.” (Bak. 1:23) Pawulo bwe yakozesa ebigambo ‘ebitonde byonna’ yali ategeeza ebitundu by’ensi ye ne banne bye baali basobola okutuukamu. Omwoyo gwa Katonda gusobozesezza omulimu gw’okubuulira okweyongera ennyo mu kiseera kyaffe ne kiba nti gubunye “okutuuka ensi gy’ekoma”!​—Bik. 13:47; laba akasanduuko “ Ndifuka Omwoyo Gwange ku Bantu.”

KIKI EKIKYUSE?

17. Nkyukakyuka ki ekoleddwa mu ngeri gye tutegeeramu obunnabbi bwa Yoweeri obukwata ku nzige?

17 Kiki ekikyuse? Kati tutegeera bulungi obunnabbi obuli mu Yoweeri 2:7-9. Kyeyoleka kaati nti, ennyiriri ezo tezikwata ku mulimu gwaffe ogw’okubuulira, wabula zikwata ku bulumbaganyi eggye lya Babulooni lye bwakola ku Yerusaalemi mu 607 E.E.T.

18. Kiki ekikwata ku bantu ba Katonda ekitakyuse?

18 Kiki ekitakyuse? Abantu ba Yakuwa bakyeyongera okubuulira amawulire amalungi buli wamu nga bakozesa enkola ezitali zimu. (Mat. 24:14) Tewali gavumenti yonna esobola kutulemesa kukola mulimu gwa kubuulira ogwatuweebwa. Era olw’okuba Yakuwa atuwadde emikisa, tubuulira amawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka ku kigero ekitabangawo! Tweyongera okusaba Yakuwa atuyambe okutegeera obunnabbi obuli mu Bayibuli nga tuli bakakafu nti mu kiseera ekituufu ajja kutusobozesa “okutegeera amazima gonna”!​—Yok. 16:13.

OLUYIMBA 97 Obulamu Bwaffe Bwesigamye ku Kigambo kya Katonda

^ lup. 5 Okumala emyaka mingi tubadde tulowooza nti obunnabbi obuli mu Yoweeri essuula 1 ne 2 bukwata ku mulimu gwaffe ogw’okubuulira ogukolebwa leero. Naye waliwo ensonga nnya lwaki twetaaga okukyusa mu ngeri gye tubadde tutegeeramu ekitundu ekyo eky’obunnabbi bwa Yoweeri. Nsonga ki ezo?

^ lup. 3 Ng’ekyokulabirako, laba ekitundu “Amagezi ga Yakuwa Geeyolekera mu Butonde” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Apuli 15, 2009, akatundu 14-16.