Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 17

“Mbayise Mikwano Gyange”

“Mbayise Mikwano Gyange”

“Mbayise mikwano gyange kubanga mbategeezezza ebintu byonna bye nnawulira okuva eri Kitange.”​—YOK. 15:15.

OLUYIMBA 13 Kristo, Ekyokulabirako Kyaffe

OMULAMWA *

1. Oyinza otya okufuna omukwano ogw’oku lusegere n’omuntu?

EMIRUNDI egisinga, ekintu ky’olina okusooka okukola okusobola okufuna omukwano ogw’oku lusegere n’omuntu kwe kufunayo akadde okubeerako awamu naye. Bwe munyumya ku bintu bye mulowooza ne bye muyiseemu, kibayamba okufuuka ab’omukwano. Kyokka bwe kituuka ku kufuuka mikwano gya Yesu, waliwo okusoomooza kwe twolekagana nakwo. Okumu ku kusoomooza okwo kwe kuluwa?

2. Okusoomooza okusooka kwe twolekagana nakwo kwe kuluwa?

2 Okusoomooza okusooka kuli nti tetulabangako ku Yesu. Abakristaayo bangi abaaliwo mu kyasa ekyasooka nabo baayolekagana n’okusoomooza okwo. Wadde kyali kityo, omutume Peetero yabagamba nti: “Wadde nga temwamulabako, mumwagala. Wadde nga temumulaba kaakano, mumukkiririzaamu.” (1 Peet. 1:8) N’olwekyo kisoboka okukola omukwano ogw’oku lusegere ne Yesu wadde nga tetumulabangako.

3. Okusoomooza okw’okubiri kwe twolekagana nakwo kwe kuluwa?

3 Okusoomooza okw’okubiri kuli nti tetusobola kwogera na Yesu. Bwe tusaba, tuba twogera na Yakuwa. Kyo kituufu nti tusaba mu linnya lya Yesu, naye tetwogera naye. Mu butuufu Yesu tayagala tumusabe. Lwaki? Kubanga okusaba kuba kusinza, ate nga Yakuwa yekka y’alina okusinzibwa. (Mat. 4:10) Wadde kiri kityo, tusobola okukyoleka nti Yesu tumwagala.

4. Okusoomooza okw’okusatu kwe twolekagana nakwo kwe kuliwa, era biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino?

4 Okusoomooza okw’okusatu kuli nti Yesu abeera mu ggulu, n’olwekyo tetusobola kufuna kadde kubeerako naye. Wadde kiri kityo, tulina bingi bye tusobola okumanya ku Yesu wadde nga tetuli naye. Tugenda kulaba ebintu bina bye tusobola okukola okusobola okunyweza omukwano gwe tulina ne Yesu. Naye ka tusooke tulabe lwaki kikulu okukola omukwano ogw’oku lusegere ne Kristo.

LWAKI TWETAAGA OKUBA MIKWANO GYA YESU?

5. Lwaki tulina okuba mikwano gya Yesu? (Laba n’obusanduuko “ Okuba Mikwano gya Yesu Kitusobozesa Okuba Mikwano gya Yakuwa” ne “ Endowooza Ennuŋŋamu ku Kifo Yesu ky’Alina.”)

5 Tulina okuba mikwano gya Yesu bwe tuba ab’okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa. Lwaki? Lowooza ku nsonga bbiri. Esooka, Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Kitange kennyini abaagala olw’okuba munjagala.” (Yok. 16:27) Ate era yabagamba nti: “Tewali ajja eri Kitange okuggyako ng’ayitidde mu nze.” (Yok. 14:6) Omuntu okugezaako okuba mukwano gwa Yakuwa nga talina nkolagana ya ku lusegere ne Yesu aba ng’omuntu ayagala okuyingira ekizimbe nga tayitidde mu mulyango. Yesu yagamba nti: “Nze mulyango endiga mwe ziyita.” (Yok. 10:7) Ensonga ey’okubiri eri nti Yesu yayolekera ddala engeri za Kitaawe. Yagamba abayigirizwa be nti: “Buli andaba aba alabye ne Kitange.” (Yok. 14:9) N’olwekyo, emu ku ngeri enkulu gye tuyinza okumanya Yakuwa kwe kuyiga ebikwata ku bulamu bwa Yesu. Bwe tuyiga ebikwata ku Yesu tweyongera okumwagala. Era bwe tweyongera okwagala Yesu, okwagala kwe tulina eri Kitaawe kweyongera.

6. Ensonga endala lwaki tulina okuba mikwano gya Yesu y’eruwa? Nnyonnyola.

6 Tulina okuba mikwano gya Yesu essaala zaffe bwe ziba ez’okuddibwamu. Kino kisingawo ku kugamba obugambi nti “mu linnya lya Yesu” nga tufundikira essaala zaffe. Tulina okutegeera engeri Yakuwa gy’akozesaamu Yesu mu kuddamu essaala zaffe. Yesu yagamba abatume be nti: “Buli kyonna kye musaba mu linnya lyange ndikikola.” (Yok. 14:13) Wadde nga Yakuwa y’awuliriza era y’addamu essaala zaffe, yawa Yesu obuyinza okukola ebyo Yakuwa by’aba asazeewo. (Mat. 28:18) N’olwekyo, Katonda bw’aba tannaddamu ssaala zaffe, asooka kulaba obanga tukoledde ku kubuulirira Yesu kwe yawa. Ng’ekyokulabirako, Yesu yagamba nti: “Bwe musonyiwa abantu ensobi zaabwe, ne Kitammwe ali mu ggulu ajja kubasonyiwa; naye bwe mutabasonyiwa, ne Kitammwe ali mu ggulu tajja kubasonyiwa nsobi zammwe.” (Mat. 6:14, 15) N’olwekyo, nga kikulu nnyo okuyisa abalala nga bwe twagala Yakuwa ne Yesu batuyise!

7. Baani abaganyulwa mu ssaddaaka y’ekinunulo kya Yesu?

7 Abo bokka abalina enkolagana ey’oku lusegere ne Yesu be bajja okuganyulwa mu ssaddaaka y’ekinunulo kya Yesu. Ekyo tukimanya tutya? Yesu yagamba nti yali agenda ‘kuwaayo obulamu bwe ku lwa mikwano gye.’ (Yok. 15:13) Abantu abeesigwa abaaliwo nga Yesu tannajja ku nsi bajja kwetaaga okuyiga ebimukwatako basobole okumwagala. Abasajja abo n’abakazi abeesigwa gamba nga Ibulayimu, Saala, Musa, ne Lakabu bajja kuzuukizibwa. Naye n’abaweereza ba Yakuwa abo abeesigwa bajja kwetaaga okuba mikwano gya Yesu okusobola okufuna obulamu obutaggwaawo.​—Yok. 17:3; Bik. 24:15; Beb. 11:8-12, 24-26, 31.

8-9. Nga bwe kiragibwa mu Yokaana 15:4, 5, enkolagana gye tulina ne Yesu etusobozesa kukola ki, era lwaki ekyo kikulu?

8 Tulina enkizo ey’okukolera awamu ne Yesu mu mulimu gw’okubuulira n’okuyigiriza abantu amawulire amalungi ag’Obwakabaka. Yesu bwe yali ku nsi, yakola omulimu gw’okuyigiriza. Ate era okuva lwe yaddayo mu ggulu abadde akola ng’omutwe gw’ekibiina era akyeyongera okuwa obulagirizi obukwata ku mulimu gw’okubuulira n’okuyigiriza. Alaba era asiima okufuba kw’oteekamu mu kuyamba abantu bangi nga bwe kisoboka okumumanya n’okumanya Kitaawe. Mu butuufu, awatali buyambi bwa Yakuwa ne Yesu, tetusobola kutuukiriza mulimu guno.​—Soma Yokaana 15:4, 5.

9 Ekigambo kya Katonda kiraga bulungi nti bwe tuba ab’okusanyusa Yakuwa, tulina okwagala Yesu n’okusigala nga tumwagala. N’olwekyo, ka twetegereze ebintu bina bye tuyinza okukola okusobola okuba mikwano gya Yesu.

ENGERI GYE TUYINZA OKUBA MIKWANO GYA YESU

Osobola okuba mukwano gwa Yesu (1) ng’ofuba okumumanya, (2) ng’ofuba okuba n’endowooza ng’eyiye n’okweyisa nga ye, (3) ng’owagira baganda ba Kristo, ne (4) ng’owagira enteekateeka z’ekibiina (Laba akatundu 10-14) *

10. Ekintu ekisooka kye tulina okukola okusobola okuba mikwano gya Yesu kye kiruwa?

10 (1Manya Yesu. Ekyo tusobola okukikola nga tusoma ekitabo kya Matayo, Makko, Lukka, ne Yokaana. Bwe tusoma ebitabo ebyo ebyogera ku bulamu bwa Yesu era ne tubifumiitirizaako, kituleetera okwagala Yesu n’okumussaamu ekitiibwa olw’engeri ey’ekisa gye yayisaamu abantu. Ng’ekyokulabirako, wadde nga yali Mukama w’abayigirizwa be, teyabayisa nga baddu. Mu kifo ky’ekyo, yababuuliranga bye yabanga alowooza n’engeri gye yabanga yeewuliramu. (Yok. 15:15) Yesu yanakuwaliranga wamu nabo. (Yok. 11:32-36) N’abalabe be baakiraba nti yali mukwano gw’abo abakkirizanga obubaka bwe. (Mat. 11:19) Bwe tukoppa engeri Yesu gye yakolaganamu n’abayigirizwa be tuba n’enkolagana ennungi n’abalala, tuwulira essanyu n’obumativu, era tweyongera okwagala Yesu.

11. Ekintu eky’okubiri kye tulina okukola okuba mikwano gya Yesu kye kiruwa, era lwaki ekintu ekyo kikulu?

11 (2Lowooza era weeyise nga Yesu. Gye tukoma okumanya n’okukoppa endowooza ya Yesu, gye tukoma okwongera okunyweza omukwano gwaffe naye. (1 Kol. 2:16) Tuyinza tutya okukoppa Yesu? Lowooza ku kino. Yesu yalowoozanga nnyo ku ngeri y’okuyambamu abalala mu kifo ky’okwesanyusa yekka. (Mat. 20:28; Bar. 15:1-3) Olw’okuba yalina endowooza eyo, yali yeefiiriza era ng’asonyiwa. Teyayanguwanga kunyiiga ng’abalala bamwogeddeko bubi. (Yok. 1:46, 47) Era teyakkiriza nsobi abalala ze baabanga bakoze emabega kumuleetera kubalowoozaako bubi. (1 Tim. 1:12-14) Yesu yagamba nti: “Ku kino bonna kwe banaategeereranga nti muli bayigirizwa bange​—bwe munaayagalananga.” (Yok. 13:35) Weebuuze, “Nkoppa Yesu nga nkola kyonna ekisoboka okuba mu mirembe ne bakkiriza bannange?”

12. Ekintu eky’okusatu kye tulina okukola okuba mikwano gya Yesu kye kiruwa, era tuyinza kukikola tutya?

12 (3Wagira baganda ba Kristo. Ebyo bye tukolera baganda ba Yesu, Yesu akitwala nti tuba tubikolera ye. (Mat. 25:34-40) Engeri esingayo obukulu gye tuwagiramu abaafukibwako amafuta kwe kwenyigira mu mulimu ogw’okubuulira n’okuyigiriza, Yesu gwe yalagira abagoberezi be okukola. (Mat. 28:19, 20; Bik. 10:42) Awatali buyambi ‘bw’ab’endiga endala,’ baganda ba Kristo tebasobola kutuukiriza mulimu gwa kubuulira ogukolebwa mu nsi yonna. (Yok. 10:16) Bw’oba ng’oli wa ndiga ndala, buli lwe weenyigira mu mulimu guno, oba okiraga nti oyagala abaafukibwako amafuta awamu ne Yesu.

13. Tuyinza tutya okukolera ku kubuulirira Yesu kwe yawa okuli mu Lukka 16:9?

13 Era tusobola okukola omukwano ne Yakuwa ne Yesu nga tukozesa ssente zaffe okuwagira omulimu gwabwe. (Soma Lukka 16:9.) Ng’ekyokulabirako, tusobola okuwagira omulimu ogukolebwa mu nsi yonna, nga tuwaayo ssente okuwagira omulimu gw’okubuulira mu bifo ebyesudde, nga tuzimba era nga tulabirira ebizimbe ebikozesebwa mu kusinza okw’amazima, era nga tuwaayo ebintu ebiyamba abo ababa bakoseddwa obutyabaga. Ate era tusobola okuwaayo ssente okuwagira ensaasaanya ey’omu kibiina kyaffe n’okuyamba abo be tumanyi nti bali mu bwetaavu. (Nge. 19:17) Eyo y’emu ku ngeri gye tuwagiramu baganda ba Kristo.

14. Nga bwe kiragibwa mu Abeefeso 4:15, 16, ekintu eky’okuna kye tulina okukola okufuuka mikwano gya Yesu kye kiruwa?

14 (4Wagira enteekateeka z’ekibiina Ekikristaayo. Tunyweza enkolagana gye tulina ne Yesu omutwe gw’ekibiina nga tuwagira abo b’alonze okutulabirira. (Soma Abeefeso 4:15, 16.) Ng’ekyokulabirako, kati Ekibiina kya Yakuwa kifuba okukakasa nti Ebizimbe by’Obwakabaka bikozesebwa mu bujjuvu. Eyo ye nsonga lwaki ebibiina ebimu bigattiddwa wamu era enkyukakyuka ne zikolebwa mu bitundu ebibiina ebimu mwe bibuulira. Enteekateeka eno eyambye nnyo mu kukekkereza ssente. Era olw’enteekateeka eyo ababuulizi abamu babadde balina okukola enkyukakyuka. Ababuulizi abo abeesigwa bayinza okuba nga babadde bamaze emyaka mingi mu bibiina byabwe era nga balina omukwano ogw’oku lusegere ne bakkiriza bannaabwe mu bibiina ebyo. Naye kati basabibwa okugenda mu bibiina ebirala. Nga kiteekwa okuba nga kisanyusa nnyo Yesu okulaba abayigirizwa be abo abeesigwa nga bawagira enteekateeka eyo!

OKUBA MIKWANO GYA YESU EMIREMBE GYONNA

15. Omukwano gwaffe ne Yesu guneeyongera gutya okunywera mu biseera eby’omu maaso?

15 Abaafukibwako amafuta balina essuubi ery’okubeera ne Yesu emirembe gyonna nga bafugira wamu naye mu Bwakabaka bwa Katonda. Bajja kubeera ne Yesu, nga bamulaba, era nga boogera naye. (Yok. 14:2, 3) N’abo abanaabeera ku nsi Yesu ajja kubalaga okwagala era ajja kubalabirira. Wadde nga tebajja kulaba Yesu, enkolagana gye balina naye ejja kweyongera okunywera nga banyumirwa obulamu obulungi Yakuwa ne Yesu bwe banaabawa.​—Is. 9:6, 7.

16. Mikisa ki gye tufuna mu kuba mikwano gya Yesu?

16 Bwe tukkiriza okuba mikwano gya Yesu, tufuna emikisa mingi. Ng’ekyokulabirako, atulaga okwagala era atuyamba ne mu kiseera kino. Ate era tuba n’essuubi ery’okubeerawo emirembe gyonna. N’ekisinga obukulu, omukwano gwaffe ne Yesu gujja kutuviirako okufuna eky’obugagga ekisingayo obulungi, ng’eno ye nkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa, Kitaawe wa Yesu. Nga nkizo ya kitalo nnyo okuyitibwa mikwano gya Yesu!

OLUYIMBA 17 “Njagala”

^ lup. 5 Abatume baamala emyaka egiwerako nga boogera era nga bakolera wamu ne Yesu, era ekyo kyabaviirako okuba ab’omukwano ennyo. Yesu ayagala naffe tube mikwano gye, naye twolekagana n’okusoomooza abatume kwe bataayolekagana nakwo. Ekitundu kino kigenda kulaga okumu ku kusoomooza okwo era kituwe amagezi agasobola okutuyamba okuba mikwano gya Yesu n’okusigala nga tuli mikwano gye.

^ lup. 55 EBIFAANANYI: (1) Mu kusinza kw’amaka, tusobola okuyiga ku bulamu bwa Yesu n’obuweereza bwe. (2) Mu kibiina, tulina okufuba okutabagana ne baganda baffe. (3) Bwe tubuulira n’obunyiikivu, tuba tuwagira baganda ba Kristo. (4) Ebibiina bwe bigattibwa awamu, tusaanidde okuwagira ebyo ebiba bisaliddwawo abakadde.