Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 20

“Kabaka ow’Ebukiikakkono” y’Ani Leero?

“Kabaka ow’Ebukiikakkono” y’Ani Leero?

“Alituuka ku nkomerero ye, so tewaliba amuyamba.”​—DAN. 11:45.

OLUYIMBA 95 Ekitangaala Kyeyongera

OMULAMWA *

1-2. Biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino?

LEERO waliwo obukakafu bungi okusinga bwe kyali kibadde obulaga nti tuli mu nnaku ezisembayo ez’ennaku ez’enkomerero y’enteekateeka y’ebintu eno. Mu kiseera ekitali kya wala, Yakuwa ne Yesu Kristo, bagenda kuzikiriza gavumenti zonna eziwakanya Obwakabaka. Ng’ekyo tekinnabaawo, kabaka ow’ebukiikakkono ne kabaka ow’ebukiikaddyo bajja kweyongera okuba mu kanyoolagano n’okulwanyisa abantu ba Katonda.

2 Mu kitundu kino, tugenda kwekenneenya obunnabbi obuli mu Danyeri 11:40–12:1. Tugenda kulaba ani kabaka ow’ebukiikakkono leero era n’ensonga lwaki tetusaanidde kutya bigezo bye tugenda okwolekagana nabyo mu maaso awo.

KABAKA OW’EBUKIIKAKKONO OMUPYA

3-4. Leero ani kabaka ow’ebukiikakkono? Nnyonnyola.

3 Oluvannyuma lwa Soviet Union okusasika mu 1991, abantu ba Katonda abaali mu kitundu kye yali efuga baafuna “obuyambi obutonotono,” kwe kugamba, baafuna eddembe okumala akaseera. (Dan. 11:34) Ekyo kyabasobozesa okubuulira kyere era omuwendo gw’ababuulizi mu mawanga agaali mu Soviet Union gwalinnya nnyo. Naye nga wayise ekiseera, Russia n’ensi ezigiwagira baafuuka kabaka ow’ebukiikakkono. Nga bwe twalaba mu kitundu ekyayita, gavumenti okusobola okuba kabaka ow’ebukiikakkono oba kabaka ow’ebukiikaddyo erina okuba ng’etuukiriza ebintu bino bisatu: (1) erina okubaako ebintu eby’amaanyi by’ekola abantu ba Katonda, (2) okuyitira mu bintu by’ekola ekiraga nti yakyawa Katonda n’abantu be, ne (3) eba evuganya ne ginnaayo.

4 Weetegereze ensonga lwaki tugamba nti kabaka ow’ebukiikakkono leero ye Russia n’ensi ezigiwagira. (1) Zirina ebintu eby’amaanyi bye zikoze abantu ba Katonda, nga muno mwe muli okuwera omulimu gw’okubuulira n’okuyigganya ab’oluganda ne bannyinaffe bangi ababeera mu bitundu ebifugibwa gavumenti ezo. (2) Ebikolwa byazo ebyo biraga nti ensi ezo zaakyawa Yakuwa n’abantu be. (3) Ate era ensi ezo zizze zivuganya ne kabaka ow’ebukiikaddyo, kwe kugamba, Obufuzi Kirimaanyi Obwa Bungereza n’Amerika. Kati ka tulabe ebyo Russia n’ensi ezigiwagira bye zikoze ebiraga nti ye kabaka ow’ebukiikakkono.

KABAKA OW’EBUKIIKAKKONO NE KABAKA OW’EBUKIIKADDYO BEEYONGERA OKUSINDIKAGANA

5. Kiseera ki ekyogerwako mu Danyeri 11:40-43, era kiki ekibaawo mu kiseera ekyo?

5 Soma Danyeri 11:40-43. Ekitundu kino eky’obunnabbi kiraga ebintu ebibaawo mu kiseera eky’enkomerero. Kyogera ku kanyoolagano wakati wa kabaka ow’ebukiikakkono ne kabaka ow’ebukiikaddyo. Nga Danyeri bwe yagamba, mu kiseera eky’enkomerero, kabaka ow’ebukiikaddyo ne kabaka ow’ebukiikakkono bandibadde ‘basindikagana.’​—Dan. 11:40.

6. Bukakafu ki obulaga nti bakabaka ababiri babadde basindikagana?

6 Kabaka ow’ebukiikakkono ne kabaka ow’ebukiikaddyo bavuganya nga buli omu ayagala abe nga y’asingayo okuba ow’amaanyi mu nsi yonna. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ekyo ekyaliwo oluvannyuma lwa Ssematalo II, Soviet Union n’ensi ezaali zigiwagira bwe zaafuna obuyinza ku nsi nnyingi ez’omu Bulaaya. Ekyo kyaviirako kabaka ow’ebukiikaddyo okukola omukago n’ensi endala okugatta awamu amagye gaazo okulwanyisa kabaka ow’ebukiikakkono. Omukago ogwo guyitibwa NATO. Era kabaka ow’ebukiikakkono ne kabaka ow’ebukiikaddyo basaasaanya obutitimbe bwa ssente buli omu okusobola okuzimba eggye ery’amaanyi. Ate era kabaka ow’ebukiikakkono ne kabaka ow’ebukiikaddyo baalwanagana nga buli omu awagira abalabe ba munne mu nsi ezitali zimu mu Afirika, Asiya, ne mu Amerika ow’ebukiikaddyo. Mu myaka egiyise, Russia n’ensi ezigiwagira zongedde okwoleka obuyinza mu nsi yonna. Ate era zirwanagana ne kabaka ow’ebukiikaddyo okuyitira ku kompyuta. Bakabaka abo bombi buli omu alumiriza munne okukozesa programu za kompyuta okugezaako okugootaanya eby’enfuna bya munne n’okuyingirira eby’obufuzi bya munne. Ate era nga Danyeri bwe yalaga, kabaka ow’ebukiikakkono yeeyongera okulumba abantu ba Katonda.​—Dan. 11:41.

KABAKA OW’EBUKIIKAKKONO AYINGIRA MU “NSI ENNUNGI”

7. ‘Ensi Ennungi’ y’eruwa?

7 Danyeri 11:41 wagamba nti kabaka ow’ebukiikakkono aliyingira mu “Nsi Ennungi.” Nsi ki eyo? Mu biseera by’edda, Isirayiri yali etwalibwa okuba ensi ‘eyali esinga ensi endala zonna okulabika obulungi.’ (Ezk. 20:6) Naye ekyasinga okufuula ensi eyo okuba ey’omuwendo kwe kuba nti okusinza okw’amazima kwali eyo. Naye okuva ku Pentekooti 33 E.E., ‘Ensi Ennungi’ si kifo ekirina we kisangibwa ku nsi, kubanga abantu ba Yakuwa basangibwa mu nsi yonna. ‘Ensi Ennungi’ leero lwe lusuku olw’eby’omwoyo abantu ba Yakuwa lwe balimu, nga lukolerwamu ebintu gamba ng’okusinza Yakuwa okuyitira mu nkuŋŋaana ne mu kubuulira.

8. Kabaka ow’ebukiikakkono ayingidde atya mu “Nsi Ennungi”?

8 Mu kiseera ky’ennaku ez’enkomerero, kabaka ow’ebukiikakkono ayingidde mu “Nsi Ennungi” emirundi mingi. Ng’ekyokulabirako, Bugirimaani eyali efugibwa Abanazi bwe yali nga ye kabaka ow’ebukiikakkono, naddala mu kiseera ekya Ssematalo ow’okubiri, yayingira mu “Nsi Ennungi” bwe yayigganya era n’atta abantu ba Katonda. Oluvannyuma lwa Ssematalo II, Soviet Union bwe yafuuka kabaka ow’ebukiikakkono, kabaka oyo yayingira mu “Nsi Ennungi” bwe yayigganya abantu ba Katonda era n’abatwala mu buwaŋŋanguse.

9. Mu myaka egiyise, Russia n’ensi ezigiwagira ziyingidde zitya mu “Nsi Ennungi”?

9 Mu myaka egiyise, Russia n’ensi ezigiwagira nazo ziyingidde mu “Nsi Ennungi.” Mu ngeri ki? Mu 2017, kabaka oyo ow’ebukiikakkono aliwo mu kiseera kino, yawera omulimu gw’Abajulirwa ba Yakuwa era n’asiba mu makomera abamu ku baganda baffe ne bannyinaffe. Yawera n’ebitabo byaffe, nga mw’otwalidde n’Enkyusa ey’Ensi Empya. Ate era yawamba ofiisi yaffe ey’ettabi mu Russia awamu n’Ebizimbe by’Obwakabaka n’Ebizimbe Ebituuza Enkuŋŋaana Ennene. Oluvannyuma lw’ebyo, mu 2018 Akakiiko Akafuzi kaakiraga nti Russia n’ensi ezigiwagira ye kabaka ow’ebukiikakkono. Naye Abajulirwa ba Yakuwa ne bwe bayigganyizibwa ennyo, tebalwanyisa gavumenti yonna oba okukuma omuliro mu bantu ekyuke. Mu kifo ky’ekyo, nga Bayibuli bw’egamba, basabira “abo bonna abali mu bifo ebya waggulu,” naddala bwe baba nga baliko ebintu bye basalawo ebiyinza okukwata ku ddembe lyaffe ery’okusinza.​—1 Tim. 2:1, 2.

KABAKA OW’EBUKIIKAKKONO ALISAANYAAWO KABAKA OW’EBUKIIKADDYO?

10. Ekiseera kinaatuuka kabaka ow’ebukiikakkono n’asaanyaawo kabaka ow’ebukiikaddyo? Nnyonnyola.

10 Obunnabbi obuli mu Danyeri 11:40-45 okusingira ddala bwogera ku ebyo kabaka ow’ebukiikakkono by’akola. Ekyo kitegeeza nti ekiseera kijja kutuuka kabaka ow’ebukiikakkono asaanyeewo kabaka ow’ebukiikaddyo? Nedda. Kabaka ow’ebukiikaddyo ajja kuba akyali ‘mulamu,’ kwe kugamba, ajja kuba akyaliwo, Yakuwa ne Yesu we banaazikiririza gavumenti z’abantu ku Amagedoni. (Kub. 19:20) Ekyo tukikakasa tutya? Lowooza ku ebyo ebiri mu bunnabbi obuli mu kitabo kya Danyeri n’eky’Okubikkulirwa.

Ku Amagedoni, Obwakabaka bwa Katonda, obugeraageranyizibwa ku jjinja, bujja kuzikiriza obufuzi bw’abantu, obukiikirirwa ekibumbe ekinene (Laba akatundu 11)

11. Danyeri 2:43-45 walaga ki? (Laba ekifaananyi ku ddiba.)

11 Soma Danyeri 2:43-45. Nnabbi Danyeri yayogera ku gavumenti ezitali zimu ezirina kye zaakola ku bantu ba Katonda. Gavumenti ezo zikiikirirwa ebitundu eby’enjawulo eby’ekibumbe ekinene. Gavumenti esembayo mu gavumenti ezo ekiikirirwa ebigere eby’ekyuma ekitabuddwamu ebbumba. Ebigere ebyo bikiikirira Obufuzi Kirimaanyi Obwa Bungereza ne Amerika. Obunnabbi obwo bulaga nti Obufuzi Kirimaanyi Obwa Bungereza ne Amerika bujja kuba bukyaliwo Obwakabaka bwa Katonda we bunaazikiririza gavumenti z’abantu zonna.

12. Omutwe gw’ensolo ogw’omusanvu gukiikirira ki, era lwaki ekyo kikulu okukimanya?

12 Omutume Yokaana naye yayogera ku bufuzi kirimaanyi obutali bumu obulina kye bwakola ku bantu ba Katonda. Mu bunnabbi bwa Yokaana, gavumenti ezo zikiikirirwa ensolo erina emitwe omusanvu. Omutwe gw’ensolo eyo ogw’omusanvu gukiikirira Obufuzi Kirimaanyi Obwa Bungereza ne Amerika. Ekyo kikulu okukimanya kubanga ensolo eyo temeraayo mutwe mulala. Omutwe ogwo ogw’omusanvu gujja kuba gukyafuga, Kristo n’eggye lye ery’omu ggulu we banaaguzikiririza awamu n’ensolo yonna. *​—Kub. 13:1, 2; 17:13, 14.

KIKI KABAKA OW’EBUKIIKAKKONO KY’ANAATERA OKUKOLA?

13-14. “Googi ow’omu nsi y’e Magoogi” y’ani, era kiki ekiyinza okumuleetera okulumba abantu ba Katonda?

13 Obunnabbi obuli mu Ezeekyeri butuyamba okumanya ebimu ku biyinza okubaawo mu nnaku ezisembayo eza kabaka ow’ebukiikakkono ne kabaka ow’ebukiikaddyo. Bwe kiba nti obunnabbi obuli mu Ezeekyeri 38:10-23; Danyeri 2:43-45; 11:44–12:1; ne Okubikkulirwa 16:13-16, 21 bwogera ku kiseera kye kimu n’ebintu bye bimu, tuyinza okusuubira ebintu bino wammanga okubaawo.

14 Oluvannyuma lw’ekibonyoobonyo ekinene okutandika, “bakabaka b’ensi yonna” bajja kwegatta wamu. (Kub. 16:13, 14; 19:19) Amawanga ago aganaaba geegasse awamu Bayibuli egayita “Googi ow’omu nsi y’e Magoogi.” (Ezk. 38:2) Amawanga ago gajja kukola olulumba olusembayo ku bantu ba Katonda. Kiki ekinaaviirako amawanga okukola olulumba olwo? Ng’ayogera ku kiseera ekyo, omutume Yokaana yagamba nti omuzira ogw’ebitole ebinene gujja kugwa ku balabe ba Katonda. Omuzira ogwo guyinza okuba nga gukiikirira obubaka obw’omusango abantu ba Yakuwa bwe bajja okulangirira. Kiyinzika okuba nti obubaka obwo bujja kuviirako Googi ow’e Magoogi okulumba abantu ba Katonda ng’ayagala okubasaanyaawo ku nsi.​—Kub. 16:21.

15-16. (a) Danyeri 11:44, 45 wayinza kuba nga woogera ku ki? (b) Kiki ekijja okutuuka ku kabaka ow’ebukiikakkono awamu n’abalala bonna abali mu Googi ow’e Magoogi?

15 Obubaka obwo obw’omusango n’olulumba olusembayo olunaakolebwa abalabe ba Katonda biyinza okuba nga bye bintu bye bimu ebyogerwako mu Danyeri 11:44, 45. (Soma.) Mu nnyiriri ezo, Danyeri agamba nti “amawulire agaliva ebuvanjuba n’ebukiikakkono” galyeraliikiriza kabaka ow’ebukiikakkono n’agenda “mu busungu obungi.” Kabaka ow’ebukiikakkono ajja kuba n’ekiruubirirwa ‘eky’okusaanyaawo bangi.’ ‘Abangi’ aboogerwako awo bayinza okuba nga be bantu ba Yakuwa. * Wano Danyeri ayinza okuba nga yali ayogera ku lulumba olusembayo olujja okukolebwa ku bantu ba Katonda.

16 Olulumba olwo olunaakolebwa kabaka ow’ebukiikakkono ng’ali wamu ne gavumenti endala ez’ensi lujja kunyiiza nnyo Omuyinza w’Ebintu Byonna, era olutalo Amagedoni lujja kutandika. (Kub. 16:14, 16) Mu kiseera ekyo, kabaka ow’ebukiikakkono, awamu n’amawanga amalala agakola Googi ow’e Magoogi, ajja kusaanyizibwawo era “tewaliba amuyamba.”​—Dan. 11:45.

Ku lutalo Amagedoni Yesu Kristo n’eggye lye ery’omu ggulu bajja kuzikiriza ensi ya Sitaani era bawonyeewo abantu ba Katonda (Laba akatundu 17)

17. Mikayiri “omulangira omukulu” ayogerwako mu Danyeri 12:1 y’ani, era kiki ky’ajja okukola?

17 Olunyiriri oluddako mu bunnabbi bwa Danyeri obwo lwongera okutangaaza ku ngeri kabaka ow’ebukiikakkono ne banne gye bajja okuzikirizibwamu n’engeri gye tujja okuwonyezebwawo. (Soma Danyeri 12:1.) Olunyiriri olwo lutegeeza ki? Mikayiri lye linnya eddala erya Kabaka waffe, Kristo Yesu. Abadde ‘ayimiridde’ ku lw’abantu ba Katonda okuva mu 1914 Obwakabaka lwe bwassibwawo mu ggulu. Mu kiseera ekitali kya wala, ajja ‘kuyimirira,’ oba ajja kusaanyaawo abalabe be ku Amagedoni. Olutalo olwo lwe lujja okuba entikko y’ekiseera Danyeri ky’ayogerako ng’ekiseera ekikyasinzeeyo okuba “eky’obuyinike” mu byafaayo. Ekiseera ekyo ng’olutalo Amagedoni lunaatera okutandika, obunnabbi bwa Yokaana obuli mu Okubikkulirwa bukiyita ‘ekibonyoobonyo ekinene.’​—Kub. 6:2; 7:14.

ERINNYA LYO LINAABA ‘LIWANDIIKIDDWA MU KITABO’?

18. Lwaki tetusaanidde kutya biseera bya mu maaso?

18 Bombi Danyeri ne Yokaana baalaga nti Yakuwa ne Yesu bajja kuwonyaawo abaweereza baabwe mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene, era ekyo kituyamba obutatya biseera bya mu maaso. Danyeri alaga nti abo abanaawonawo b’ebo abanaaba ng’amannya gaabwe ‘gawandiikiddwa mu kitabo.’ (Dan. 12:1) Kiki kye tusaanidde okukola amannya gaffe okusobola okuwandiikibwa mu kitabo ekyo? Tulina okukyoleka nti tukkiririza mu Yesu, Omwana gw’Endiga owa Katonda. (Yok. 1:29) Tulina okwewaayo eri Katonda era tubatizibwe. (1 Peet. 3:21) Ate era tulina okukiraga nti tuwagira Obwakabaka bwa Katonda nga tufuba okuyamba abalala okuyiga ebikwata ku Yakuwa.

19. Kiki kye tusaanidde okukola kati, era lwaki?

19 Kino kye kiseera okwongera okwesiga Yakuwa n’ekibiina kye eky’abaweereza be abeesigwa. Era kino kye kiseera okuwagira Obwakabaka bwa Katonda. Bwe tukola tutyo, tujja kuwonawo Obwakabaka bwa Katonda bwe bunaaba buzikiriza kabaka ow’ebukiikakkono ne kabaka ow’ebukiikaddyo.

OLUYIMBA 149 Oluyimba olw’Obuwanguzi

^ lup. 5 “Kabaka ow’ebukiikakkono” y’ani leero, era anaatuuka atya ku nkomerero ye? Okumanya eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo kijja kwongera okunyweza okukkiriza kwaffe, era kijja kutuyamba okweteekerateekera ebigezo bye tugenda okwolekagana nabyo mu kiseera ekitali kya wala.

^ lup. 12 Okumanya ebisingawo ku bunnabbi obuli mu Danyeri 2:36-45 ne Okubikkulirwa 13:1, 2, laba Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjuuni 15, 2012, lup. 7-19.