Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 27

Teweetwala Kuba wa Waggulu Nnyo

Teweetwala Kuba wa Waggulu Nnyo

“Ntegeeza buli omu ku mmwe obuteetwala nti wa waggulu nnyo, naye alage nti alina endowooza ennuŋŋamu.”​—BAR. 12:3.

OLUYIMBA 130 Sonyiwanga

OMULAMWA *

1. Okusinziira ku Abafiripi 2:3, obwetoowaze butuyamba butya okuba n’enkolagana ennungi n’abalala?

TWOLEKA obwetoowaze ne tugondera Yakuwa olw’okuba tukimanyi nti bulijjo amanyi ekyo ekisingayo okutuganyula. (Bef. 4:22-24) Obwetoowaze butuleetera okukulembeza Yakuwa by’ayagala n’okutwala abalala nti batusinga. Ekyo kituyamba okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa awamu ne bakkiriza bannaffe.​—Soma Abafiripi 2:3.

2. Kiki Pawulo kye yali tategeeza, era kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

2 Kyokka bwe tutaba beegendereza, tusobola okutwalirizibwa abantu abali mu nsi ya Sitaani, ab’amalala era abeefaako bokka. * Kirabika ekyo kye kyatuuka ku Bakristaayo abamu mu kyasa ekyasooka, kubanga Pawulo yawandiikira Abakristaayo ab’omu Rooma n’abagamba nti: “Ntegeeza buli omu ku mmwe obuteetwala nti wa waggulu nnyo, naye alage nti alina endowooza ennuŋŋamu.” (Bar. 12:3) Pawulo yali tategeeza nti tulina okwefeebya. Naye obwetoowaze butuyamba okumanya engeri entuufu gye tusaanidde okwetwalamu. Ekitundu kino kigenda kwogera ku mbeera za mirundi esatu mwe twetaagira okwewala okwetwala okuba aba waggulu ennyo. Embeera ezo ze zino: (1) mu bufumbo, (2) nga tulina enkizo mu kibiina, ne (3) engeri gye tukozesaamu emikutu emigattabantu.

YOLEKA OBWETOOWAZE MU BUFUMBO BWO

3. Lwaki oluusi mu bufumbo mubaamu obutakkaanya, era abamu bakwata batya embeera eyo?

3 Yakuwa ayagala omwami n’omukyala babe basanyufu mu bufumbo bwabwe. Naye olw’okuba tewali muntu atuukiridde, oluusi abafumbo bafuna obutakkaanya. Mu butuufu, Pawulo yagamba nti abo abayingira obufumbo babaako ebizibu bye bafuna. (1 Kol. 7:28) Olw’okuba abafumbo abamu buli kiseera baba n’obutakkaanya, buli omu ku bo ayinza okutandika okulowooza nti yali nsobi okufumbiriganwa ne munne. Bwe baba nga batwaliriziddwa endowooza y’ensi bayinza okwanguwa okulowooza nti okugattululwa kwe kusobola okubaggya mu mbeera eyo. Buli omu ayinza okutandika okwerowoozaako yekka ng’agamba nti okusobola okuba omusanyufu alina okugattululwa ne munne.

4. Kiki kye tulina okwewala?

4 Tusaanidde okufuba okulaba nti tetwetamwa bufumbo bwaffe. Tulina okukimanya nti ensonga yokka esobola okusinziirwako okugattululwa kwe kuba nti omu ku bafumbo yeenyigidde mu bikolwa eby’obugwenyufu. (Mat. 5:32) N’olwekyo bwe twolekagana n’okubonaabona Pawulo kwe yayogerako, tetusaanidde kukkiriza malala kutuleetera kutandika kwebuuza: ‘Obufumbo buno nnina kye mbufunamu? Ndagibwa okwagala nga bwe kigwana? Nnyinza okufuna essanyu erisingawo singa nfunayo omuntu omulala?’ Weetegereze nti eyeebuuza ebibuuzo ebyo aba talowooza ku munne, wabula aba yeerowoozaako yekka. Amagezi g’ensi gagamba nti goberera omutima gwo kye gukugamba era kola ekikuleetera essanyu ne bwe kiba nga kitegeeza kusattulula bufumbo bwo. Naye amagezi agava eri Katonda gagamba nti ‘temufaayo ku byammwe byokka naye mufeeyo ne ku by’abalala.’ (Baf. 2:4) Yakuwa ayagala okuume obufumbo bwo mu kifo ky’okubusaanyaawo. (Mat. 19:6) Ayagala ye gw’oba osooka okulowoozaako.

5. Okusinziira ku Abeefeso 5:33, omwami n’omukyala buli omu asaanidde kuyisa atya munne?

5 Omwami n’omukyala basaanidde okwagalana n’okuwaŋŋana ekitiibwa. (Soma Abeefeso 5:33.) Bayibuli etukubiriza okwagala ennyo okugaba okusinga okuweebwa. (Bik. 20:35) Kiki ekisobola okuyamba abafumbo okulagaŋŋana okwagala n’okuwaŋŋana ekitiibwa? Bwetoowaze. Omwami n’omukyala abeetoowaze buli omu aba tanoonya bimugasa yekka, wabula anoonya ebigasa munne.​—1 Kol. 10:24.

Mu kifo ky’okuvuganya, omwami n’omukyala abeetoowaze bakolera wamu (Laba akatundu 6)

6. Kiki ky’oyigira ku bigambo bya Steven ne Stephanie?

6 Obwetoowaze buyambye abafumbo bangi okwongera okufuna essanyu mu bufumbo bwabwe. Ng’ekyokulabirako, Ow’oluganda ayitibwa Steven agamba nti: “Omwami n’omukyala basaanidde okukolera awamu naddala nga wazzeewo ebizibu. Mu kifo ky’okugamba nti ‘Kiki ekinankolera?’ kirungi okugamba nti ‘kiki ekinaatukolera?’” Mukyala we, Stephanie, naye alina endowooza y’emu. Agamba nti: “Tewali n’omu ayagala kubeera na muntu nga buli kiseera baba mu kusika muguwa. Bwe tufuna obutakkaanya, tufuba okumanya kwe buba buvudde. Oluvannyuma tusaba Yakuwa, tunoonyereza, era ensonga ne tugyogerako. Mu kifo kya buli omu okunenya munne, tufuba okugonjoola ekizibu.” Mazima ddala omwami n’omukyala buli omu aganyulwa singa teyeetwala nti wa waggulu.

BA MWETOOWAZE NG’OWEEREZA YAKUWA

7. Ndowooza ki ow’oluganda gy’asaanidde okuba nayo ng’aweereddwa enkizo mu kibiina?

7 Tugitwala nga nkizo okuweereza Yakuwa mu ngeri yonna gye tusobola. (Zab. 27:4; 84:10) Ow’oluganda bw’aba nga mwetegefu okukola ekisingawo mu buweereza bwe eri Yakuwa, ekyo kisiimibwa nnyo. Bayibuli egamba nti: “Singa omusajja yenna aluubirira okuba omulabirizi, aba yeegomba omulimu omulungi.” (1 Tim. 3:1) Kyokka bw’abaako obuvunaanyizibwa bw’aweebwa, tasaanidde kwetwala nti wa waggulu. (Luk. 17:7-10) Asaanidde okuba n’ekiruubirirwa eky’okuweereza abalala mu bwetoowaze.​—2 Kol. 12:15.

8. Kiki kye tuyigira ku ebyo bye tusoma ku Diyotuleefe, Uzziya, ne Abusaalomu?

8 Bayibuli erina abantu beeyogerako abeetwala okuba aba waggulu. Diyotuleefe teyali mwetoowaze era yali ayagala “okuba mu kifo ekisooka” mu kibiina. (3 Yok. 9) Uzziya yayoleka amalala bwe yagezaako okukola ekintu Yakuwa kye yali teyamulagira kukola. (2 Byom. 26:16-21) Abusaalomu mu lukujjukujju yagezaako okusendasenda abantu bamwagale olw’okuba yali ayagala okufuuka kabaka. (2 Sam. 15:2-6) Ebyo bye tusoma ku bantu abo biraga nti Yakuwa tasanyukira abo abeenoonyeza ebitiibwa. (Nge. 25:27) Amalala n’okwenoonyeza ebitiibwa bisuula omuntu mu buzibu.​—Nge. 16:18.

9. Kyakulabirako ki Yesu kye yassaawo?

9 Obutafaananako bantu abo, ye Yesu ‘wadde nga yali mu kifaananyi kya Katonda, teyalowooza ku kya kwezza buyinza asobole okwenkanankana ne Katonda.’ (Baf. 2:6) Wadde nga Yesu y’addirira Yakuwa mu buyinza, teyeetwala kuba wa waggulu. Yagamba abayigirizwa be nti: “Oyo eyeetwala okuba owa wansi mu mmwe mmwenna ye mukulu.” (Luk. 9:48) Nga kirungi nnyo okuweerereza awamu ne bapayoniya, abaweereza, abakadde, awamu n’abalabirizi abakyalira ebibiina abakoppa Yesu mu kwoleka obwetoowaze! Bwe tuba abeetoowaze, tujja kulaga abalala okwagala era ng’ekyo kye kitwawulawo ng’abaweereza ba Katonda ab’amazima.​—Yok. 13:35.

10. Kiki ky’osaanidde okukola singa olowooza nti waliwo embeera mu kibiina etekwatiddwa bulungi?

10 Watya singa olowooza nti waliwo ebitatambula bulungi mu kibiina era nti tebikwatiddwa bulungi? Mu kifo ky’okwemulugunya, osaanidde okwoleka obwetoowaze ne weeyongera okuwagira abo abatwala obukulembeze. (Beb. 13:17) Okusobola okukola ekyo, weebuuze: ‘Ebizibu bye ndaba ddala bya maanyi nnyo ne kiba nti byetaaga okukolwako? Kino kye kiseera ekituufu okubikolako? Nze nnina obuvunaanyizibwa okubikolako? Naye ddala nfuba kuleetawo bumu oba nneenoonyeza byange?’

Abo abakwasiddwa obuvunaanyizibwa mu kibiina tebasaanidde kumanyibwa lwa busobozi bwe balina bwokka naye era balina okumanyibwa olw’obwetoowaze bwe booleka (Laba akatundu 11) *

11. Okusinziira ku Abeefeso 4:2, 3, bwe tuba abeetoowaze nga tuweereza Yakuwa biki ebivaamu?

11 Obwetoowaze Yakuwa abutwala nga bukulu okusinga obusobozi era n’obumu abutwala nga bukulu nnyo okusinga okukola obulungi emirimu. N’olwekyo fuba okuba omwetoowaze ng’oweereza Yakuwa. Bw’okola bw’otyo, ojja kwongera okuleetawo obumu mu kibiina. (Soma Abeefeso 4:2, 3.) Weenyigire mu mulimu gw’okubuulira. Noonya engeri y’okuweerezaamu abalala ng’obaako ebintu ebirungi by’obakolera. Sembeza abalala nga mw’otwalidde n’abo abataweereddwa buvunaanyizibwa mu kibiina. (Mat. 6:1-4; Luk. 14:12-14) Bw’oyoleka obwetoowaze ng’okolera wamu ne bakkiriza banno, tebajja kulaba bulabi busobozi bw’olina naye era bajja kukiraba nti oli mwetoowaze.

YOLEKA OBWETOOWAZE NG’OKOZESA EMIKUTU EMIGATTABANTU

12. Bayibuli etukubiriza okuba n’emikwano? Nnyonnyola.

12 Yakuwa ayagala tunyumirwe okubeerako awamu ne mikwano gyaffe n’ab’eŋŋanda zaffe. (Zab. 133:1) Yesu yalina emikwano emirungi. (Yok. 15:15) Bayibuli eyogera ku miganyulo egiva mu kuba n’emikwano emirungi. (Nge. 17:17; 18:24) Era etugamba nti si kirungi kweyawula ku balala. (Nge. 18:1) Bangi bakitwala nti emikutu emigattabantu gibayamba okufuna emikwano mingi n’okwewala ekiwuubaalo. Naye tulina okwegendereza nga tukozesa emikutu emigattabantu.

13. Lwaki abantu abamu abakozesa emikutu emigattabantu bafuna ekiwuubaalo n’okwennyamira?

13 Okunoonyereza kulaga nti abantu abamala ebiseera ebingi nga basoma oba nga balaba ebintu ebiteekeddwa ku mikutu emigattabantu bayinza okufuna ekiwuubaalo oba n’okwennyamira. Lwaki? Emu ku nsonga eri nti ebifaananyi abantu bye batera okussa ku mikutu egyo by’ebyo ebiraga ebintu ebisingayo obulungi bye batuuseeko mu bulamu. Bassaako ebifaananyi byabwe ebisingayo obulungi, ebya mikwano gyabwe, n’eby’ebifo bye baba bagenzeemu. Omuntu alaba ebifaananyi ebyo ayinza okutandika okulowooza nti obulamu bwe tebunyuma. Mwannyinaffe omu ow’emyaka 19 agamba nti: “Nnatandika okuwulira ng’essanyu limpeddeko bwe nnalabanga engeri abalala gye baabanga banyumiddwamu obulamu ku wiikendi nga nze ndi waka mpuubadde.”

14. Amagezi agali mu 1 Peetero 3:8 gayinza gatya okutuyamba nga tukozesa emikutu emigattabantu?

14 Kya lwatu nti emikutu emigattabantu tusobola okugikozesa obulungi, gamba ng’okuwuliziganya n’ab’eŋŋanda zaffe ne mikwano gyaffe. Naye okyetegerezza nti ebimu ku bintu abantu bye bassa ku mikutu emigattabantu biraga nti baagala abalala babeegombe? Baba ng’abagamba abalala nti “Muntunuulire.” Abamu bassa n’ebigambo ebitali bya kisa oba eby’obuwemu ku bifaananyi bye bassa ku mikutu egyo oba abalala bye baba bataddeko. Ekyo kikontana n’ekyo Abakristaayo kye bakubirizibwa okukola, eky’okwoleka obwetoowaze n’okulumirirwa abalala.​—Soma 1 Peetero 3:8.

By’oteeka ku mikutu emigattabantu, biraga nti weewaana oba nti oli mwetoowaze? (Laba akatundu 15)

15. Bayibuli etuyamba etya okwewala okwetwala nti tuli ba waggulu?

15 Bw’oba ng’okozesa emikutu emigattabantu, weebuuze: ‘Ebigambo, ebifaananyi, oba vidiyo bye nteekako biyinza okuleetera abalala okulowooza nti nneewaana? Nnyinza okuleetera abalala okukwatibwa obuggya?’ Bayibuli egamba nti: “Buli kintu ekiri mu nsi​—okwegomba kw’omubiri, okwegomba kw’amaaso, n’okweraga olw’ebintu omuntu by’alina mu bulamu​—tebiva eri Kitaffe wabula biva eri ensi.” (1 Yok. 2:16) Mu nkyusa emu eya Bayibuli, ebigambo “okweraga olw’ebintu omuntu by’alina mu bulamu” bivvuunulwa nga “omuntu okwagala okulabika nti wa waggulu.” Abakristaayo tebasaanidde kwagala balala kubatwala nti ba waggulu. Bakolera ku kubuulirira kuno okuli mu Bayibuli: “Ka tulemenga okwetwala nti tuli ba kitalo, nga tuleetawo okuvuganya wakati mu ffe, era nga tukwatirwagana obuggya.” (Bag. 5:26) Bwe tuba abeetoowaze tetujja kuba ng’abantu mu nsi ab’amalala era abaagala abalala okubatwala nti ba waggulu.

‘LAGA NTI OLINA ENDOWOOZA ENNUŊŊAMU’

16. Lwaki tusaanidde okwewala amalala?

16 Tulina okukulaakulanya obwetoowaze kubanga abantu ab’amalala tebaba na ‘ndowooza nnunŋamu.’ (Bar. 12:3) Abantu ab’amalala batera okuleetawo ennyombo era beetwala nga ba kitalo. Endowooza yaabwe ne bye bakola bitera okubaleetera emitawaana era bikosa n’abalala. Bwe batakyusa ndowooza yaabwe, ebirowoozo byabwe byonoonebwa era ne bikyamizibwa Sitaani. (2 Kol. 4:4; 11:3) Naye ye omuntu omwetoowaze aba n’endowooza ennuŋŋamu. Yeetunuulira mu ngeri entuufu era aba akimanyi nti mu ngeri nnyingi abalala bamusinga. (Baf. 2:3) Ate era aba akimanyi nti “Katonda alwanyisa ab’amalala naye abawombeefu abalaga ekisa eky’ensusso.” (1 Peet. 5:5) Abo abalina endowooza ennuŋŋamu tebaagala Yakuwa kubalwanyisa.

17. Kiki kye tulina okukola okusobola okusigala nga tuli beetoowaze?

17 Okusobola okusigala nga tuli beetoowaze, tusaanidde ‘okweyambulako omuntu ow’edda n’ebikolwa bye, twambale omuntu omuggya’ nga Bayibuli bw’egamba. Ekyo kyetaagisa okufuba. Twetaaga okuyiga ebikwata ku Yesu era tufube okumukoppa. (Bak. 3:9, 10; 1 Peet. 2:21) Bwe tukoppa Yesu, tujja kuganyulwa nnyo. Bwe tukulaakulanya obwetoowaze, tujja kwongera okufuna essanyu mu maka, tujja kwongera okuleetawo obumu mu kibiina, era tujja kwewala okukozesa obubi emikutu emigattabantu. N’ekisinga obukulu, Yakuwa ajja kutuwa emikisa era tujja kuba tusiimibwa mu maaso ge.

OLUYIMBA 117 Okwoleka Obulungi

^ lup. 5 Leero abantu bangi balina amalala era beefaako bokka. Tulina okuba abeegendereza tuleme kweyisa nga bo. Mu kitundu kino tugenda kulaba embeera za mirundi esatu mwe twetaagira okwewala okwetwala nti tuli ba waggulu.

^ lup. 2 EBIGAMBO EBINNYONNYOLWA: Omuntu ow’amalala aba yeerowoozaako nnyo okusinga bw’alowooza ku balala. N’olwekyo, omuntu ow’amalala aba yeefaako yekka. Naye obwetoowaze buyamba omuntu obuteefaako yekka. Omuntu omwetoowaze taba na malala era takitwala nti y’asinga abalala.

^ lup. 56 EBIFAANANYI: Omukadde alina enkizo okuwa emboozi ku nkuŋŋaana ennene era alina ab’oluganda b’avunaanyizibwako agitwala nga nkizo okukolera awamu n’abalala omulimu gw’okubuulira n’okulongoosa Ekizimbe ky’Obwakabaka.