Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 29

“Bwe Mbeera Omunafu Lwe Mbeera ow’Amaanyi”

“Bwe Mbeera Omunafu Lwe Mbeera ow’Amaanyi”

“Ku lwa Kristo nsanyukira obunafu, okuvumibwa, okubeera mu bwetaavu, okuyigganyizibwa, n’ebizibu.”​—2 KOL. 12:10.

OLUYIMBA 38 Ajja Kukuwa Amaanyi

OMULAMWA *

1. Biki omutume Pawulo bye yeeyogerako?

OMUTUME Pawulo yagamba nti oluusi yawuliranga nga munafu. Yagamba nti omubiri gwe gwali ‘guggwaawo,’ nti yalina okufuba ennyo okukola ekituufu, era nti oluusi Yakuwa teyaddangamu ssaala ze mu ngeri gye yabanga asuubira. (2 Kol. 4:16; 12:7-9; Bar. 7:21-23) Pawulo era yagamba nti abo abaali bamuziyiza baali bamutwala ng’omunafu. * Naye teyakkiriza ndowooza mbi abalala gye baamulinako oba obunafu bwe yalina kumuleetera kwetwala nti talina mugaso.​—2 Kol. 10:10-12, 17, 18.

2. Okusinziira ku 2 Abakkolinso 12:9, 10, kintu ki ekikulu Pawulo kye yayiga?

2 Pawulo yayiga ekintu kino ekikulu ennyo: omuntu asobola okuba ow’amaanyi ne bw’aba ng’awulira nti munafu. (Soma 2 Abakkolinso 12:9, 10.) Yakuwa yagamba Pawulo nti amaanyi ge “gatuukirira mu bunafu,” ekitegeeza nti Yakuwa yandiwadde Pawulo amaanyi ge yali yeetaaga. Ka tusooke tulabe ensonga lwaki tetusaanidde kweraliikirira ng’abalabe baffe batwogerako bubi.

‘SANYUKIRA OKUVUMIBWA’

3. Lwaki tusobola okusanyukira okuvumibwa?

3 Tewali n’omu ayagala kwogerwako bubi. Kyokka singa abatuziyiza batwogerako bubi ekyo ne tukimalirako ebirowoozo, kisobola okutumalamu amaanyi. (Nge. 24:10) Kati olwo tusaanidde kutwala tutya ebintu ebibi abatuziyiza bye batwogerako? Okufaananako Pawulo, tusaanidde ‘okusanyukira okuvumibwa.’ (2 Kol. 12:10) Lwaki? Kubanga ebigambo ebibi ebitwogerwako awamu n’okuyigganyizibwa, biraga nti tuli bagoberezi ba Yesu ab’amazima. (1 Peet. 4:14) Yesu yagamba nti abagoberezi be bandiyigganyiziddwa. (Yok. 15:18-20) Bwe kityo bwe kyali mu kyasa ekyasooka. Abo abaali beenyumiririza mu buwangwa bw’Abayonaani baali batwala Abakristaayo ng’abataalina magezi era abanafu. Ate Abayudaaya baali batwala Abakristaayo ng’abataali ‘bayigirize era ng’abantu aba bulijjo,’ nga bwe baali batwala omutume Peetero ne Yokaana. (Bik. 4:13) Abakristaayo baali balabika ng’abanafu olw’okuba baali tebeenyigira mu bya bufuzi, nga tebayingira magye, era ng’abantu bangi tebabassaamu kitiibwa.

4. Abakristaayo abaasooka beeyisa batya ng’abalabe baabwe babayisa bubi?

4 Abakristaayo abo abaasooka bakkiriza ebintu ebibi abo abaali babayigganya bye baali baboogerako ne bye baali babakola okubamalamu amaanyi? Nedda. Ng’ekyokulabirako, omutume Peetero ne Yokaana baagitwala nga nkizo okuyigganyizibwa olw’okugoberera Yesu n’olw’okuyigiriza abantu ebyo bye yayigiriza. (Bik. 4:18-21; 5:27-29, 40-42) Ekyo kyali tekirina kukwasa bayigirizwa ba Yesu nsonyi. Wadde ng’abantu baali tebabassaamu kitiibwa, Abakristaayo abo abaasooka bye baakola byayamba nnyo abantu okusinga ebyo abalabe baabwe bye baakola. Ng’ekyokulabirako, ebitabo ebyaluŋŋamizibwa ebyawandiikibwa abamu ku Bakristaayo abo bikyayamba abantu bukadde na bukadde era bibawa essuubi. Era Obwakabaka bwe baali babuulira kati bufuga mu ggulu era mu kiseera ekitali kya wala bugenda kufuga abantu bonna ku nsi. (Mat. 24:14) Kyokka yo gavumenti ya Rooma eyayigganya ennyo Abakristaayo yasaanawo dda. Okugatta ku ekyo, Abakristaayo abo abaali abeesigwa kati bakabaka mu ggulu. Kyokka bo abaali babayigganya kati bafu; era bwe banaaba ab’okuzuukira, bajja kufugibwa Obwakabaka Abakristaayo be baayigganya bwe baali babuulira.​—Kub. 5:10.

5. Okusinziira ku Yokaana 15:19, lwaki oluusi abantu mu nsi banyooma abantu ba Yakuwa?

5 Leero, ffe Abajulirwa ba Yakuwa oluusi abantu batunyooma era batutwala ng’abatalina magezi era abanafu. Lwaki? Kubanga tetulina ndowooza ng’ey’abantu abatwetoolodde. Tufuba okuba abeetoowaze, abawombeefu, era abawulize. Ku luuyi olulala, abantu ab’amalala, ab’etwala okuba ab’ekitalo, era abajeemu, ensi b’etwala ng’abategeevu. Ate era tetwenyigira mu bya bufuzi era tetuyingira magye, ka gabe ga nsi ki. Olw’okuba tuli ba njawulo ku bantu abalala, abantu batutwala ng’aba wansi.​—Soma Yokaana 15:19; Bar. 12:2.

6. Biki Yakuwa by’asobozesa abantu be okukola?

6 Ka kibe ki ensi ky’etulowoozaako, waliwo ebintu ebyewuunyisa Yakuwa by’atusobozesa okukola. Atusobozesa okukola omulimu gw’okubuulira ku kigero ekitabangawo ku nsi. Abaweereza be bakuba magazini ezikyasinzeeyo okuvvuunulwa mu nnimi nnyingi n’okubunyisibwa mu nsi yonna, era bakozesa Bayibuli okuyamba abantu bukadde na bukadde okutereeza obulamu bwabwe. Ekitiibwa n’ettendo bidda eri Yakuwa akozesa abantu abalabika ng’abanafu okukola ebintu ebyo eby’amaanyi. Ate kiri kitya eri ffe kinnoomu? Yakuwa asobola okutuyamba okuba ab’amaanyi? Bwe kiba kityo, kiki kye tulina okukola Yakuwa okusobola okutuyamba? Ka tulabe ebintu bisatu bye tusobola okuyigira ku Pawulo.

TEWEESIGAMA KU MAANYI GO

7. Ekimu ku bintu bye tuyigira ku Pawulo kye kiruwa?

7 Ekimu ku bintu bye tuyigira ku Pawulo kye kino: Tetusaanidde kwesigama ku maanyi gaffe oba ku busobozi bwaffe nga tuweereza Yakuwa. Mu ndaba ey’obuntu, Pawulo yalina bingi bye yali asobola okusinziirako okuba n’amalala n’okwemalirira. Yakulira mu Taluso, ekyali ekibuga ekikulu eky’essaza erimu erya Rooma. Taluso kyali kibuga kigagga era nga kirimu ettendekero erya waggulu eryali limanyiddwa ennyo. Pawulo yali muyivu. Yasomesebwa Gamalyeri, omu ku bakulembeze b’Abayudaaya eyali assibwamu ennyo ekitiibwa. (Bik. 5:34; 22:3) Ate era emabega, Pawulo yalina ekifo kya maanyi mu Bayudaaya. Yagamba nti: “Okukulaakulana kwange mu ddiini y’Ekiyudaaya kwali kwa maanyi nnyo okusinga okw’abalala bangi ab’eggwanga lyange bwe twali twenkanya emyaka.” (Bag. 1:13, 14; Bik. 26:4) Naye Pawulo teyeesigama ku busobozi bwe.

Ebintu ebirabika ng’ebikulu mu nsi Pawulo yabitwala ‘ng’ebisasiro’ bw’obigeraageranya ku nkizo ey’okuba omugoberezi wa Kristo (Laba akatundu 8) *

8. Okusinziira ku Abafiripi 3:8, Pawulo yatwala atya ebintu bye yaleka, era lwaki ‘yasanyukiranga obunafu’?

8 Pawulo yali mwetegefu okulekayo ebintu ebyali bimufuula ow’amaanyi mu nsi. Yakiraba nti ebintu ebyo ebyali birabika ng’eby’omuwendo mu ndaba ey’obuntu byali ‘bisasiro.’ (Soma Abafiripi 3:8.) Pawulo yayolekagana n’ebizibu bingi olw’okufuuka omugoberezi wa Kristo. Abantu b’eggwanga lye baamukyawa. (Bik. 23:12-14) Era wadde nga yalina obutuuze bwa Rooma, Abaruumi baamukuba era ne bamusiba mu kkomera. (Bik. 16:19-24, 37) Okugatta ku ekyo, Pawulo yakiraba nti yalina obunafu obutali bumu. (Bar. 7:21-25) Mu kifo ky’okukkiriza abaali bamuyigganya oba obunafu bwe okumumalamu amaanyi, ‘yasanyukira obunafu.’ Lwaki? Kubanga bwe yabanga omunafu, yalabanga amaanyi ga Katonda nga gakolera mu bulamu bwe.​—2 Kol. 4:7; 12:10.

9. Tusaanidde kutwala tutya ebintu bye tuwulira nti bitufuula okuba abanafu?

9 Bwe tuba twagala okufuna amaanyi okuva eri Yakuwa, tetusaanidde kulowooza nti amaanyi mu mubiri, obuyigirize, obuwangwa bwaffe, oba eby’obugagga bye bitufuula okuba ab’omuwendo. Ebintu ebyo si bye bitufuula ab’omugaso eri Yakuwa. Mu butuufu, mu bantu ba Katonda, ‘abatwalibwa ng’abagezi si bangi, ab’amaanyi si bangi, era n’ab’ebitiibwa si bangi.’ Yakuwa yasalawo okukozesa “ebintu by’ensi ebinafu.” (1 Kol. 1:26, 27) N’olwekyo, bwe wabaawo ekintu ky’olowooza nti kikufuula munafu, tokikkiriza kukulemesa kuweereza Yakuwa. Mu kifo ky’ekyo, kitwale ng’ekikuwa akakisa okulaba amaanyi ga Yakuwa nga gakukoleramu. Ng’ekyokulabirako, bw’owulira ng’otidde abantu abavumirira ebyo by’okkiririzaamu, saba Yakuwa akuwe obuvumu okulwanirira okukkiriza kwo. (Bef. 6:19, 20) Bw’oba olina obulwadde obutawona oba obulemu, saba Yakuwa akuwe amaanyi osobole okusigala ng’omuweereza mu bujjuvu okusinziira ku busobozi bwo. Buli lw’olaba engeri Yakuwa gy’akuyambamu, okukkiriza kwo kweyongera okunywera.

YIGIRA KU BYOKULABIRAKO EBIRI MU BAYIBULI

10. Lwaki tusaanidde okwekenneenya ebyokulabirako by’abaweereza ba Yakuwa abeesigwa, gamba ng’abo aboogerwako mu Abebbulaniya 11:32-34?

10 Pawulo yanyiikiranga okusoma Ebyawandiikibwa. Alina ebintu bingi bye yayigira ku baweereza ba Yakuwa abeesigwa be yasomako mu Kigambo kya Katonda. Mu bbaluwa gye yawandiikira Abakristaayo Abebbulaniya, Pawulo yabakubiriza okufumiitiriza ku byokulabirako ebirungi abaweereza ba Yakuwa bangi bye bassaawo. (Soma Abebbulaniya 11:32-34.) Omu ku bo yali Kabaka Dawudi. Dawudi yayigganyizibwa abalabe be awamu n’abamu ku abo abaaliko mikwano gye. Bwe twetegereza ekyokulabirako kya Dawudi, tusobola okulaba engeri Pawulo gye yazzibwamu amaanyi mu kufumiitiriza ku bulamu bwa Dawudi n’engeri naffe gye tusobola okukoppamu Pawulo.

Wadde nga Dawudi yali alabika ng’omunafu, teyatya kulwanyisa Goliyaasi kubanga yali amanyi nti Yakuwa yandimuwandde amaanyi okuwangula Goliyaasi (Laba akatundu 11)

11. Lwaki Dawudi yalabika ng’omunafu? (Laba ekifaananyi ku ddiba.)

11 Omulwanyi ow’amaanyi era omuwagguufu eyali ayitibwa Goliyaasi bwe yatunuulira Dawudi yalaba nga munafu. Goliyaasi bwe yalaba Dawudi, ‘yamunyooma.’ Ekyo kyali kityo kubanga Goliyaasi yali munene nnyo okusinga Dawudi, yalina eby’okulwanyisa eby’amaanyi, era nga mutendeke nnyo mu by’okulwana. Kyokka Dawudi ye yali mulenzi muto ataalina bumanyirivu mu kulwana era ataalina bya kulwanyisa bya maanyi. Naye ekituufu kiri nti Dawudi yali wa maanyi kubanga yeesiga Yakuwa era Yakuwa yamuwa amaanyi n’asobola okuwangula omulabe we.​—1 Sam. 17:41-45, 50.

12. Kusoomooza ki okulala Dawudi kwe yayolekagana nakwo?

12 Waliwo okusoomooza okulala Dawudi kwe yayolekagana nakwo okwali kusobola okumuleetera okuwulira nti munafu. Dawudi yaweereza n’obwesigwa Sawulo, kabaka Yakuwa gwe yali alonze okufuga Isirayiri. Mu kusooka, Kabaka Sawulo yali ayagala Dawudi. Naye oluvannyuma, amalala gaaviirako Sawulo okukwatirwa Dawudi obuggya. Sawulo yayisa bubi nnyo Dawudi era n’atuuka n’okwagala okumutta.​—1 Sam. 18:6-9, 29; 19:9-11.

13. Dawudi yeeyisa atya nga Kabaka Sawulo amuyisa bubi?

13 Wadde nga Kabaka Sawulo yayisa bubi Dawudi, Dawudi yeeyongera okussa ekitiibwa mu kabaka oyo Yakuwa gwe yali yalonda. (1 Sam. 24:6) Dawudi teyanenya Yakuwa olw’ebintu ebibi Sawulo bye yali amukola. Mu kifo ky’ekyo, yeesiga Yakuwa okumuwa amaanyi okusobola okugumira ekizibu ekyo.​—Zab. 18:1, obugambo obuli waggulu.

14. Mbeera ki omutume Pawulo gye yayolekagana nayo eyali efaananako eya Dawudi?

14 Omutume Pawulo yayolekagana n’embeera efaananako n’eyo Dawudi gye yayolekagana nayo. Abalabe ba Pawulo baali ba maanyi nnyo okumusinga. Abakulembeze bangi ab’amaanyi abaaliwo mu kiseera kye baali tebamwagala. Emirundi mingi baalagira akubibwe era baamusiba mu kkomera. Okufaananako Dawudi, Pawulo yayisibwa bubi abantu abandibadde mikwano gye. N’abamu ku abo abaali mu kibiina Ekikristaayo baamuziyiza. (2 Kol. 12:11; Baf. 3:18) Naye Pawulo yawangula abo bonna abaali bamuziyiza. Mu ngeri ki? Yeeyongera okubuulira wadde nga yali ayigganyizibwa. Yasigala nga mwesigwa eri bakkiriza banne, ne bwe baakolanga ebintu ebyandimumazeemu amaanyi. N’ekisinga obukulu, yaweereza Katonda n’obwesigwa okutuukira ddala ku nkomerero. (2 Tim. 4:8) Ebyo byonna yasobola okubikola, si lwa kuba nti yeesigama ku maanyi ge, wabula lwa kuba nti yeesiga Yakuwa.

Bw’oba onnyonnyola abo abawakanya enzikiriza yo bawe ekitiibwa era balage ekisa (Laba akatundu 15) *

15. Kiruubirirwa ki kye tulina okuba nakyo, era tuyinza tutya okukituukako?

15 Naawe ovumibwa oba oyigganyizibwa bayizi banno, bakozi banno, oba ab’eŋŋanda zo abatali Bajulirwa ba Yakuwa? Waliwo omuntu mu kibiina eyakuyisa obubi? Bwe kiba kityo, jjukiranga ekyokulabirako kya Dawudi ne Pawulo. Osobola okweyongera ‘okuwangula ebintu ebibi ng’okola ebirungi.’ (Bar. 12:21) Abantu bwe baba nga batuyisa bubi, tetubalwanyisa nga Dawudi bwe yalwanyisa Goliyaasi wabula tuwangula ebintu ebibi nga tufuba okuyamba abantu okumanya ebikwata ku Yakuwa n’Ekigambo kye. Ekyo tusobola okukikola nga tukozesa Bayibuli okuddamu ebibuuzo by’abantu, ng’abo abatuyisa obubi tubawa ekitiibwa era nga tubalaga ekisa, era nga tukolera bonna ebirungi nga mw’otwalidde n’abalabe baffe.​—Mat. 5:44; 1 Peet. 3:15-17.

KKIRIZA ABALALA OKUKUYAMBA

16-17. Kiki Pawulo ky’ateerabira?

16 Pawulo bwe yali tannaba kufuuka muyigirizwa wa Yesu yali tawa balala kitiibwa era ng’ayigganya abagoberezi ba Yesu. (Bik. 7:58; 1 Tim. 1:13) Yesu kennyini ye yakomya Pawulo okuyigganya ekibiina Ekikristaayo. Yesu yayogera ne Pawulo ng’asinziira mu ggulu era n’amuziba amaaso. Okusobola okuddamu okulaba, Pawulo yalina okufuna obuyambi okuva eri abantu be yali ayigganya. Yakkiriza obuyambi obwamuweebwa omuyigirizwa eyali ayitibwa Ananiya, eyamuzibula amaaso.​—Bik. 9:3-9, 17, 18.

17 Oluvannyuma Pawulo yafuuka wa mugaso nnyo mu kibiina Ekikristaayo, naye teyeerabira ekyo Yesu kye yamuyigiriza bwe yali ku lugendo ng’agenda e Ddamasiko. Pawulo yasigala mwetoowaze era yakkirizanga obuyambi bakkiriza banne bwe baamuwanga. Yagamba nti ‘baamuzzaamu nnyo amaanyi.’​—Bak. 4:10, 11.

18. Lwaki oluusi kiyinza okutuzibuwalira okukkiriza obuyambi abalala bwe batuwa?

18 Kiki kye tuyigira ku Pawulo? Bwe twali twakatandika okukuŋŋaana n’abantu ba Yakuwa, tuyinza okuba nga twalinga beetegefu okukkiriza obuyambi bw’abalala olw’okuba twali tukimanyi nti twali tukyali bato nnyo mu by’omwoyo era nti twalina bingi bye twali tutamanyi. (1 Kol. 3:1, 2) Naye kiri kitya kati? Bwe tuba nga tumaze emyaka mingi nga tuweereza Yakuwa era nga tufunye obumanyirivu bungi, kiyinza obutatwanguyira kukkiriza balala kutuyamba naddala singa oyo agezaako okutuyamba yaakamala mu mazima ekiseera kitono ku kye tumazeemu. Naye emirundi mingi Yakuwa akozesa bakkiriza bannaffe okutunyweza. (Bar. 1:11, 12) Ekyo tulina okukimanya bwe tuba ab’okufuna amaanyi okuva eri Yakuwa.

19. Lwaki Pawulo yasobola okukola ebintu byonna bye yakola?

19 Pawulo yakola ebintu bingi eby’amaanyi oluvannyuma lw’okufuuka Omukristaayo. Lwaki? Kubanga yakimanya nti omuntu okutuuka ku buwanguzi tekisinziira ku maanyi g’alina mu mubiri, ku buyigirize, ku bugagga, oba ku kifo ky’alina, wabula kisinziira ku kwesiga Yakuwa. Ka ffenna tukoppe Pawulo (1) nga twesiga Yakuwa, (2) nga tuyigira ku byokulabirako by’abantu aboogerwako mu Bayibuli, era (3) nga tukkiriza obuyambi obutuweebwa bakkiriza bannaffe. Bwe tukola tutyo, ne bwe tuba nga tuwulira ng’abanafu, Yakuwa ajja kutufuula ba maanyi!

OLUYIMBA 71 Tuli Ggye lya Yakuwa!

^ lup. 5 Mu kitundu kino tugenda kwetegereza ekyokulabirako ky’omutume Pawulo. Tugenda kulaba nti bwe tuba abeetoowaze, Yakuwa atuwa amaanyi ge twetaaga okugumira okujeregebwa n’okuvvuunuka obunafu bwe tuba nabwo.

^ lup. 1 EBIGAMBO EBINNYONNYOLWA: Waliwo ebintu ebitali bimu ebiyinza okutuleetera okuwulira nti tuli banafu. Mu bino mwe muli obutali butuukirivu bwaffe, obwavu, obulwadde, oba okuba nti tulina obuyigirize butono. Ate era abalabe baffe bayinza okugezaako okutuleetera okuwulira nti tuli banafu nga batuvuma oba nga batutuusaako obulabe.

^ lup. 57 EBIFAANANYI: Pawulo bwe yatandika okubuulira ebikwata ku Kristo, yaleka ebintu bye yali atwala okuba eby’omuwendo ng’akyali Mufalisaayo. Mu bintu ebyo muyinza okuba nga mwalimu emizingo egyalimu amagezi g’ensi n’obusanduuko omwali ebyawandiikibwa.

^ lup. 61 EBIFAANANYI: Ow’oluganda nga bakozi banne ku mulimu bamupikiriza okwenyigira mu kukuza amazaalibwa g’omu ku bakozi.