Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 43

Yakuwa Awa Ekibiina Kye Obulagirizi

Yakuwa Awa Ekibiina Kye Obulagirizi

“‘Amagye oba amaanyi si bye bijja okusobozesa ebintu bino okubaawo, wabula omwoyo gwange,’ Yakuwa ow’eggye bw’agamba.”​—ZEK. 4:6.

OLUYIMBA 40 Mukama Wo y’Ani?

OMULAMWA *

1. Kiki Abakristaayo ababatize kye balina okweyongera okukola?

WABATIZIBWA? Bwe kiba kityo, wayoleka mu lujjudde okukkiriza kw’olina era n’okiraga nti oyagala okuweereza Yakuwa ng’oli wamu n’ekibiina kye. * Kya lwatu nti olina okweyongera okunyweza okukkiriza kw’olina mu Yakuwa. Era olina okweyongera okuba omukakafu nti Yakuwa akozesa ekibiina kye leero.

2-3. Yakuwa awa atya ekibiina kye obulagirizi leero? Waayo ebyokulabirako.

2 Leero Yakuwa awa ekibiina kye obulagirizi mu ngeri eyoleka engeri ze, ekigendererwa kye, n’emitindo gye. Ka tulabeyo engeri za Yakuwa ssatu ezeeyolekera mu kibiina kye.

3 Esooka, “Katonda tasosola.” (Bik. 10:34) Okwagala kwaleetera Yakuwa okuwaayo Omwana we “okuba ekinunulo ku lwa bonna.” (1 Tim. 2:6; Yok. 3:16) Yakuwa akozesa abantu be okubuulira amawulire amalungi eri bonna abaagala okuwuliriza, kisobozese abantu bangi nga bwe kisoboka okuganyulwa mu kinunulo. Ey’okubiri, Yakuwa Katonda wa ntegeka era wa mirembe. (1 Kol. 14:33, 40) N’olwekyo, abo abamusinza balina okuba nga bategekeddwa bulungi era nga bali mu mirembe. Ey’okusatu, Yakuwa ye ‘Muyigiriza Asingiridde.’ (Is. 30:20, 21) Eyo ye nsonga lwaki ekibiina kye kifuba okuyigiriza abantu Ekigambo kye, mu kibiina ne mu mulimu gw’okubuulira. Engeri za Yakuwa ezo essatu zeeyoleka zitya mu kibiina Ekikristaayo ekyasooka? Zeeyoleka zitya leero? Omwoyo omutukuvu guyinza gutya okukuyamba ng’oweerereza wamu n’ekibiina kya Yakuwa leero?

KATONDA TASOSOLA

4. Nga bwe kiragibwa mu Ebikolwa 1:8, kiki Yesu kye yalagira abagoberezi be okukola, era buyambi ki bwe bandifunye?

4 Mu kyasa ekyasooka. Obubaka Yesu bwe yabuulira bwawa abantu bonna essuubi. (Luk. 4:43) Yalagira abagoberezi be okweyongera mu maaso n’omulimu gwe yatandika; bawe obujulirwa “mu bitundu by’ensi ebisingayo okuba eby’ewala.” (Soma Ebikolwa 1:8.) Kya lwatu nti baali tebasobola kukola mulimu ogwo mu maanyi gaabwe. Baali beetaaga “omuyambi,” kwe kugamba, omwoyo omutukuvu Yesu gwe yasuubiza.​—Yok. 14:26; Zek. 4:6.

5-6. Omwoyo omutukuvu gwayamba gutya abagoberezi ba Yesu?

5 Abagoberezi ba Yesu baafuna omwoyo omutukuvu ku Pentekooti 33 E.E. Omwoyo ogwo gwabayamba ne batandikirawo okubuulira, era mu kiseera kitono abantu nkumi na nkumi bakkiriza amawulire amalungi. (Bik. 2:41; 4:4) Okuyigganyizibwa bwe kwabalukawo, abayigirizwa tebaatya, wabula baasaba Katonda okubayamba. Baasaba nti: “Sobozesa abaddu bo okweyongera okwogera ekigambo kyo n’obuvumu.” Bajjuzibwa omwoyo omutukuvu ne beeyongera ‘okwogera ekigambo kya Katonda n’obuvumu.’​—Bik. 4:18-20, 29, 31.

6 Waliwo n’okusoomooza okulala abayigirizwa ba Yesu kwe baayolekagana nakwo. Ng’ekyokulabirako, mu kiseera ekyo kopi z’Ebyawandiikibwa zaali ntono. Ate era tebaalina bintu bibayamba mu kwesomesa nga bye tulina leero. Okugatta ku ekyo, abayigirizwa abo baalina okubuulira abantu aboogera ennimi ez’enjawulo. Wadde kyali kityo, abayigirizwa abo abanyiikivu baasobola okukola ekintu ekyali kirabika ng’ekitasoboka. Mu myaka nga 30 gyokka, baali babuulidde amawulire amalungi “mu bitonde byonna ebiri wansi w’eggulu.”​—Bak. 1:6, 23.

7. Emyaka egisukka mu 100 emabega, abaweereza ba Yakuwa baakiraga batya nti baali bamanyi Yakuwa kye yali ayagala bakole, era baakolawo ki?

7 Mu kiseera kyaffe. Yakuwa akyeyongera okuwa abantu be obulagirizi n’amaanyi. Okusingira ddala awa abantu be obulagirizi ng’akozesa Bayibuli, eyaluŋŋamizibwa omwoyo omutukuvu. Mu Bayibuli tusoma ku buweereza bwa Yesu ne ku kiragiro kye yawa abagoberezi be eky’okweyongera okukola omulimu gwe yatandika. (Mat. 28:19, 20) Dda nnyo mu Jjulaayi 1881, magazini eno yagamba nti: “Tetwayitibwa, oba tetwafukibwako mwoyo mutukuvu kufuna bitiibwa oba kufuna bya bugagga, wabula twayitibwa okukozesa buli kimu kye tulina okubuulira amawulire amalungi.” Akatabo To Whom the Work Is Entrusted, akaafulumizibwa mu 1919, kaagamba nti: “Omulimu gulabika nga munene nnyo naye gwa Mukama waffe era tujja kugukola mu maanyi ge.” Okufaananako Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka, ab’oluganda abo baakola n’obunyiikivu omulimu nga bakakafu nti omwoyo omutukuvu gwandibayambye okubuulira abantu aba buli ngeri. Naffe tuli bakakafu nti omwoyo omutukuvu gujja kutuyamba.

Ekibiina kya Yakuwa kikozesezza ebintu ebisingayo obulungi okubunyisa amawulire amalungi (Laba akatundu 8-9)

8-9. Nkola ki ekibiina kya Yakuwa ze kikozesezza okutuusa amawulire amalungi ku bantu bangi nga bwe kisoboka?

8 Ekibiina kya Yakuwa kizze kikozesa ebintu ebisingayo obulungi okubunyisa amawulire amalungi. Mu bino muzingiddemu ebitabo ebikubiddwa mu kyapa, firimu ya “Photo-Drama of Creation,” gramufoomu, emmotoka ez’ebizindaalo, leediyo, ate mu kiseera kino, kompyuta ne Intaneeti. Ate era ekibiina kya Yakuwa kikola omulimu gw’okuvvuunula ogukyasinzeeyo obunene mu byafaayo! Lwaki? Abantu aba buli ngeri basobole okuwulira amwulire amalungi mu nnimi zaabwe. Yakuwa tasosola; yagamba nti amawulire amalungi gandibuuliddwa “eri buli ggwanga n’ekika n’olulimi n’abantu.” (Kub. 14:6, 7) Ayagala abantu bonna bawulire obubaka bw’Obwakabaka.

9 Ate bo abantu abatali bangu kutuukako olw’okuba babeera mu bifo ebikuumibwa ennyo? Okusobola okutuuka ku bantu ng’abo, ekibiina kya Yakuwa kyalowooza ku kukozesa engeri endala ez’okubuulira. Ng’ekyokulabirako, mu 2001, Akakiiko Akafuzi kakkiriza ababuulizi okukozesa obugaali okuteekebwa ebitabo n’ebirala ebiri ng’ebyo mu kubuulira mu Bufalansa era oluvannyuma ne mu bitundu ebirala. Ebyavaamu byali birungi. Mu 2011 enkola eyo empya yatandika okukozesebwa ne Amerika mu kimu ku bitundu ebisinga okubaamu abantu abangi mu kibuga New York. Mu mwaka ogwasooka, ebitabo 102,129 ne magazini 68,911 bye byagabibwa. Ate era abantu 4,701 be baasaba okuyigirizibwa Bayibuli! Mazima ddala Yakuwa yakozesa omwoyo omutukuvu okuyamba abantu be okukola omulimu ogwo. Bw’ekityo, Akakiiko Akafuzi kakkiriza okukozesa obugaali n’ebirala ebiri ng’ebyo mu kubuulira mu nsi yonna.

10. Kiki kye tuyinza okukola okusobola okulongoosa mu buweereza bwaffe?

10 Ky’oyinza okukola. Kozesa mu bujjuvu okutendekebwa Yakuwa kw’atuwa mu nkuŋŋaana zaffe. Buuliranga wamu n’ekibinja kyo eky’okubuulira. Bw’okola bw’otyo, ojja kusobola okuweebwa obuyambi bwe weetaaga, era ebyokulabirako by’abalala ebirungi bijja kukuzzaamu amaanyi. Weeyongere okubuulira wadde ng’oyolekagana n’okusoomooza. Ng’ekyawandiikibwa ekyesigamiziddwako ekitundu kino bwe kiraga, ebyo Katonda by’ayagala tetubikola mu maanyi gaffe wabula omwoyo omutukuvu gwe gutuyamba. (Zek. 4:6) Tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kutuwa amaanyi ge twetaaga olw’okuba omulimu gwe tukola gugwe.

YAKUWA KATONDA WA NTEGEKA ERA WA MIREMBE

11. Akakiiko akafuzi mu kyasa ekyasooka kaakolera katya awamu okusobozesa abantu ba Katonda okuba nga bategekeddwa bulungi?

11 Mu kyasa ekyasooka. Akakiiko akafuzi mu Yerusaalemi kaakolera wamu okukakasa nti wabaawo entegeka ennungi n’emirembe mu bantu ba Katonda. (Bik. 2:42) Ng’ekyokulabirako, bwe wajjawo ensonga ekwata ku kukomolebwa awo nga mu 49 E.E., akakiiko akafuzi keekenneenya ensonga eyo nga kakolera ku bulagirizi bw’omwoyo omutukuvu. Singa ekibiina kyasigala kyeyawuddemu ku nsonga eyo, omulimu gw’okubuulira tegwanditambudde bulungi. Wadde ng’abatume n’abakadde baali Bayudaaya, tebaatwalirizibwa ndowooza za Kiyudaaya oba abo abaali bazitumbula. Mu kifo ky’ekyo beekenneenya Ekigambo kya Katonda era ne bamusaba omwoyo gwe omutuuvu gubayambe okusalawo mu ngeri entuufu. (Bik. 15:1, 2, 5-20, 28) Biki ebyavaamu? Yakuwa yawa omukisa ekyo kye baasalawo, waaliwo emirembe n’obumu, era omulimu gw’okubuulira gwagenda mu maaso.​—Bik. 15:30, 31; 16:4, 5.

12. Kiki ekiraga nti ekibiina kya Yakuwa kitegekeddwa bulungi era kirimu emirembe?

12 Mu kiseera kyaffe. Ekibiina kya Yakuwa kifubye okuyamba abantu ba Yakuwa okuba nga bategekeddwa bulungi era nga bali mu mirembe. Dda nnyo mu 1895, magazini ya Zion’s Watch Tower and Herald of Christ’s Presence eya Noovemba 15 yalimu ekitundu ekirina omutwe “Engeri Esaanira era Entegeke,” ekyali kyesigamiziddwa ku 1 Abakkolinso 14:40. Ekitundu ekyo kyagamba nti: “Abatume baakubiriza nnyo Ekkanisa eyasooka okukola ebintu mu ngeri entegeke obulungi . . . Kikulu naffe okweyongera okukolera ‘ku bintu ebyawandiikibwa edda okutuyigiriza.’” (Bar. 15:4) Nga bwe kyali mu kyasa ekyasooka, ekibiina kya Yakuwa leero kifuba okulaba nti abantu ba Yakuwa baba bategeke bulungi era nga bali mu mirembe. Ng’ekyokulabirako: Singa obaawo mu kusoma Omunaala gw’Omukuumi mu kibiina ekirala oba mu nsi endala oba omanyi bulungi engeri gye gugenda okukubirizibwamu na kitundu ki ekiba kigenda okwekenneenyezebwa. Towulira ng’abuze! Omwoyo gwa Katonda gwe gutusobozesa okuba n’obumu ng’obwo.​—Zef. 3:9.

13. Nga tulowooza ku Yakobo 3:17 bibuuzo ki bye tusaanidde okwebuuza?

13 Ky’oyinza okukola. Yakuwa ayagala abantu be “okukuuma obumu obw’omwoyo mu mirembe egibagatta.” (Bef. 4:1-3) N’olwekyo weebuuze: ‘Nfuba okuleetawo obumu n’emirembe mu kibiina? Ŋŋondera abo abatwala obukulembeze mu kibiina? Nneesigika nnaddala bwe kiba nti nnina obuvunaanyizibwa mu kibiina? Nkwata ebiseera, nnyamba abalala, era njagala nnyo okuweereza?’ (Soma Yakobo 3:17.) Bw’okiraba nti olina we weetaaga okulongoosaamu, saba Yakuwa akuwe omwoyo gwe omutukuvu. Gy’onookoma okukolera ku bulagirizi bw’omwoyo omutukuvu, bakkiriza banno gye bajja okukoma okukwagala n’okukutwala nti oli wa muwendo.

YAKUWA ATUYIGIRIZA ERA ATUWA BYE TWETAAGA

14. Okusinziira ku Abakkolosaayi 1:9, 10, Yakuwa yayigiriza atya abantu be mu kyasa ekyasooka?

14 Mu kyasa ekyasooka. Yakuwa ayagala nnyo okuyigiriza abantu be. (Zab. 32:8) Ayagala bamumanye, bamwagale, era babeerewo emirembe gyonna. Ebyo byonna tebyandisobose singa yali tayigiriza bantu be. (Yok. 17:3) Yakuwa yakozesa ekibiina Ekikristaayo eky’omu kyasa ekyasooka okuyigiriza abantu be. (Soma Abakkolosaayi 1:9, 10.) “Omuyambi,” kwe kugamba, omwoyo omutukuvu Yesu gwe yasuubiza gwabayamba nnyo. (Yok. 14:16) Gwasobozesa abayigirizwa okwongera okutegeera Ekigambo kya Katonda, n’okujjukira ebintu bingi Yesu bye yayogera ne bye yakola, oluvannyuma ebyawandiikibwa mu bitabo by’Enjiri. Ebintu ebyo byanyweza okukkiriza kw’Abakristaayo abasooka, era byabaleetera okwagala Katonda, Omwana we, ne bakkiriza bannaabwe.

15. Olabye otya engeri Yakuwa gy’atuukirizzaamu ekyo kye yasuubiza mu Isaaya 2:2, 3?

15 Mu kiseera kyaffe. Yakuwa yagamba nti “mu nnaku ezisembayo,” abantu okuva mu mawanga gonna bandizze ku lusozi lwe olw’akabonero okuyigirizibwa amakubo ge. (Soma Isaaya 2:2, 3.) Obunnabbi obwo tubulaba nga butuukirira leero. Okusinza okw’amazima kugulumiziddwa waggulu okusinga okusinza kwonna okw’obulimba. Ate era Yakuwa atugabula ekijjulo eky’eby’omwoyo ekya ssava! (Is. 25:6) Okuyitira mu ‘muddu omwesigwa era ow’amagezi,’ takoma ku kutuwa mmere mu bungi naye era agituwa mu bika eby’enjawulo, gamba ng’ebintu ebiri mu buwandiike, emboozi, vidiyo, ne katuuni. (Mat. 24:45) Naffe tuwulira nga Eriku, mukwano gwa Yobu, eyagamba nti: “Muyigiriza ki alinga [Katonda]?”​—Yob. 36:22.

Amazima ka gakutuuke ku mutima, era gakolereko mu bulamu bwo (Laba akatundu 16) *

16. Kiki ky’oyinza okukola okusobola okukula mu by’omwoyo?

16 Ky’oyinza okukola. Omwoyo omutukuvu gujja kukuyamba okukolera ku ebyo by’osoma mu Kigambo kya Katonda. Okufaananako omuwandiisi wa zabbuli, naawe saba Yakuwa nti: “Ai Yakuwa, njigiriza amakubo go. Nja kutambulira mu mazima go. Gatta wamu omutima gwange nsobole okutya erinnya lyo.” (Zab. 86:11) Weeyongere okulya emmere ey’eby’omwoyo Yakuwa gy’atuwa okuyitira mu Kigambo kye ne mu kibiina kye. Kya lwatu nti ekigendererwa kyo si kumanya bumanya ebyo ebiri mu Bayibuli. By’oyiga birina okukutuuka ku mutima era obikolereko. Omwoyo gwa Yakuwa gusobola okukuyamba okukola ekyo. Ate era osaanidde okufuba okuzzaamu amaanyi bakkiriza banno. (Beb. 10:24, 25) Lwaki? Kubanga muli ba mu maka gamu ag’eby’omwoyo. Saba Yakuwa akuwe omwoyo gwe, gukuyambe okuddamu ebintu ebiviira ddala ku mutima mu nkuŋŋaana n’okukola obulungi ebitundu ebiba bikuweereddwa. Bw’okola bw’otyo, oba olaga Yakuwa n’Omwana we nti oyagala nnyo “endiga” zaabwe ez’omuwendo.​—Yok. 21:15-17.

17. Oyinza otya okukiraga nti owagira ekibiina kya Yakuwa?

17 Mu kiseera ekitali kya wala, ekibiina kyokka ekijja okusigala ku nsi ky’ekyo ekikulemberwa omwoyo gwa Katonda. N’olwekyo, fuba okukolera awamu n’ekibiina kya Yakuwa. Okufaananako Katonda, laga abantu bonna okwagala awatali kusosola, ng’obabuulira amawulire amalungi. Era okufaananako Katonda, kirage nti oyagala entegeka ennungi n’emirembe ng’ofuba okukuuma obumu mu kibiina. Ate era wuliriza Omuyigiriza wo Asingiridde, ng’ofuba okulya ekijjulo eky’eby’omwoyo ky’atuwa. Bw’onookola bw’otyo, ensi ya Sitaani bw’eneeba ezikirizibwa tojja kutya. Mu kifo ky’ekyo, ojja kuba mugumu, ng’oli wamu n’abo abaweerereza awamu mu kibiina kya Yakuwa.

OLUYIMBA 3 Amaanyi Gaffe, Essuubi Lyaffe, Obwesige Bwaffe

^ lup. 5 Oli mukakafu nti Yakuwa awa ekibiina kye obulagirizi leero? Mu kitundu kino, tugenda kulaba engeri Yakuwa gye yawaamu ekibiina Ekikristaayo ekyasooka obulagirizi era n’engeri gy’akyeyongera okuwaamu abantu be obulagirizi leero.

^ lup. 1 EBIGAMBO EBINNYONNYOLWA: Ekibiina kya Yakuwa kirina ekitundu eky’omu ggulu n’ekitundu eky’oku nsi. Mu kitundu kino, ekigambo “ekibiina” kitegeeza ekitundu eky’oku nsi.

^ lup. 52 EBIFAANANYI: Oluvannyuma lw’okulaba vidiyo n’okulaba abalala abaweereza awali obwetaavu obusingako, mwannyinaffe aweereza nga payoniya akwatibwako n’ayagala okubakoppa. Oluvannyuma atuuka ku kiruubirirwa kye eky’okuweereza awali obwetaavu obusingako.