Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 44

Abaana Bo Banaaweereza Yakuwa?

Abaana Bo Banaaweereza Yakuwa?

“Yesu ne yeeyongera okufuna amagezi n’okukula era n’okusiimibwa Katonda n’abantu.”​—LUK. 2:52.

OLUYIMBA 134 Abaana Kirabo kya Muwendo Okuva eri Katonda

OMULAMWA *

1. Kintu ki ekisingayo obulungi omuntu ky’ayinza okusalawo?

EMIRUNDI mingi ebyo abazadde bye basalawo bikwata ku baana baabwe okumala ekiseera kiwanvu. Abazadde bwe basalawo obubi, bayinza okuleetera abaana baabwe ebizibu. Naye bwe basalawo mu ngeri ey’amagezi, bayamba abaana baabwe okuba n’obulamu obulungi era obw’amakulu. Kya lwatu nti abaana nabo balina okusalawo mu ngeri ey’amagezi. Ekintu ekisingayo obulungi omuntu ky’ayinza okusalawo kwe kuweereza Kitaffe ow’omu ggulu, Yakuwa.​—Zab. 73:28.

2. Yesu ne bazadde be baasalawo batya mu ngeri ey’amagezi?

2 Bazadde ba Yesu baafuba okuyamba abaana baabwe okuweereza Yakuwa, era ebyo bazadde be bye baasalawo byalaga nti ekyo kye kyali ekiruubirirwa kyabwe ekikulu mu bulamu. (Luk. 2:40, 41, 52) Yesu naye yasalawo mu ngeri ey’amagezi, ne kimusobozesa okutuukiriza ekyo Yakuwa kye yali ayagala akole. (Mat. 4:1-10) Yesu yafuuka omusajja ow’ekisa, omwesigwa, era omuvumu. Buli muzadde ayagala Yakuwa yandyagadde omwana we okuba bw’atyo.

3. Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu mu kitundu kino?

3 Mu kitundu kino tugenda kulaba eby’okuddamu mu bibuuzo bino: Kusalawo ki okulungi okukwata ku Yesu Yakuwa kwe yakola? Kiki abazadde Abakristaayo kye basobola okuyigira ku kusalawo bazadde ba Yesu kwe baakola? Era biki abavubuka Abakristaayo bye basobola okuyigira ku kusalawo Yesu kwe yakola?

MUYIGIRE KU YAKUWA

4. Kusalawo ki okulungi Yakuwa kwe yakola ku bikwata ku Mwana we?

4 Yakuwa yasalawo okulondera Yesu abazadde abalungi ennyo. (Mat. 1:18-23; Luk. 1:26-38) Ebigambo Maliyamu bye yayogera okuva ku mutima ebiri mu Bayibuli biraga okwagala okungi kwe yalina eri Yakuwa n’eri Ekigambo kye. (Luk. 1:46-55) Ate era engeri Yusufu gye yakolera ku bulagirizi Yakuwa bwe yamuwa yalaga nti yali atya Katonda era ng’ayagala okumusanyusa.​—Mat. 1:24.

5-6. Biki Yakuwa bye yakkiriza Omwana we okuyitamu?

5 Weetegereze nti Yakuwa teyalondera Yesu bazadde bagagga. Ssaddaaka Yusufu ne Maliyamu gye baawaayo oluvannyuma lwa Yesu okuzaalibwa yalaga nti baali baavu. (Luk. 2:24) Yusufu ayinza okuba nga yalina ebbajjiro ettono okumpi n’amaka ge agaali e Nazaaleesi. Kirabika Yusufu ne Maliyamu tebaalina nnyo ssente naddala bw’olowooza ku ky’okuba nti baalina abaana nga musanvu.​—Mat. 13:55, 56.

6 Yakuwa yakuuma Yesu obutatuukibwako bizibu ebimu naye teyamutangira buli kizibu. (Mat. 2:13-15) Ng’ekyokulabirako, Yesu yalina ab’eŋŋanda ze abaali batamukkiririzaamu. Lowooza ku ngeri Yesu gye yawuliramu okubeera n’ab’eŋŋanda ze mu kusooka abaali batakkiriza nti ye yali Masiya. (Mak. 3:21; Yok. 7:5) Ate era kirabika Yesu yalina okugumira ennaku ey’okufiirwa kitaawe eyamukuza, Yusufu. Okuva bwe kiri nti Yesu ye yali omwana asinga obukulu, Yusufu bwe yafa, Yesu yalina okukola omulimu Yusufu gwe yakolanga ogw’okuyimirizaawo amaka. (Mak. 6:3) Yesu bwe yeeyongera okukula yayiga engeri y’okulabiriramu maama we ne baganda be. Ateekwa okuba nga yalinanga okukola ennyo okusobola okubayimirizaawo. N’olwekyo yali amanyi kye kitegeeza okukoowa ennyo oluvannyuma lw’okumala olunaku lulamba ng’okola.

Abazadde, muteeketeeke abaana bammwe okwaŋŋanga ebizibu mu bulamu nga mubayigiriza okukozesa Ekigambo kya Katonda (Laba akatundu 7) *

7. (a) Bibuuzo ki abafumbo abalina abaana bye basaanidde okwebuuza? (b) Ebiri mu Engero 2:1-6 biyinza bitya okuyamba omuzadde okutendeka abaana be?

7 Bwe muba nga muli bafumbo era nga mwandyagadde okuzaala abaana, mwebuuze: ‘Tuli bantu abeetoowaze era abettanira eby’omwoyo ne kiba nti Yakuwa yanditulonze okulabirira omwana?’ (Zab. 127:3, 4) Bw’oba olina abaana, weebuuze: ‘Njigiriza abaana bange obukulu bw’okuba abakozi abanyiikivu?’ (Mub. 3:12, 13) ‘Nkola kyonna ekisoboka okukuuma abaana bange obutatuukibwako bintu bibi ebiri mu nsi ya Sitaani ebiyinza okubakosa mu mubiri oba okwonoona empisa zaabwe?’ (Nge. 22:3) Toyinza kutangira baana bo kutuukibwako buli kizibu. Ekyo tekisoboka. Naye osobola okubateekateeka okwaŋŋanga ebizibu mu bulamu nga weeyongera okubayigiriza okukozesa Ekigambo kya Katonda mu bulamu bwabwe. (Soma Engero 2:1-6.) Ng’ekyokulabirako, omu ku b’eŋŋanda zammwe bw’asalawo okulekera awo okuweereza Yakuwa, kozesa Ekigambo kya Katonda okuyamba abaana bo okulaba ensonga lwaki kikulu okusigala nga beesigwa eri Yakuwa. (Zab. 31:23) Oba singa mufiirwa omu ku bantu bammwe, laga abaana bo engeri gye basobola okukozesaamu Ekigambo kya Katonda okwaŋŋanga ennaku eyo n’okufuna emirembe.​—2 Kol. 1:3, 4; 2 Tim. 3:16.

MUYIGIRE KU YUSUFU NE MALIYAMU

8. Okusinziira ku Ekyamateeka 6:6, 7, kiki Yusufu ne Maliyamu kye baakola?

8 Bazadde ba Yesu baayamba Yesu okufuuka omuntu ayagalibwa Katonda olw’okuba baakolera ku bulagirizi Yakuwa bwe yawa abazadde. (Soma Ekyamateeka 6:6, 7.) Yusufu ne Maliyamu baali baagala nnyo Yakuwa era ekintu kye baakulembezanga mu bulamu kwe kuyamba abaana baabwe okwagala Yakuwa.

9. Kusalawo ki okukulu Yusufu ne Maliyamu kwe baakola?

9 Yusufu ne Maliyamu baasalawo okuba n’enteekateeka ennungi ey’eby’omwoyo mu maka gaabwe. Baagendanga mu nkuŋŋaana buli wiiki ezaabanga mu kkuŋŋaaniro ly’e Nazaaleesi, era baagendanga n’e Yerusaalemi buli mwaka okukwata Okuyitako. (Luk. 2:41; 4:16) Bwe baabanga bagenda e Yerusaalemi bayinza okuba nga baakozesanga ekiseera ekyo okuyigiriza Yesu ne baganda be ebyafaayo by’abantu ba Yakuwa, era oboolyawo baagendangako ne mu bifo ebimu ebyogerwako mu Byawandiikibwa. Abaana be bazaala bwe beeyongera obungi, kiyinza okuba nga tekyali kyangu eri Yusufu ne Maliyamu okunywerera ku nteekateeka yaabwe ey’eby’omwoyo. Naye baafuna emikisa mingi olw’okuginywererako! Olw’okuba baakulembeza okuweereza Yakuwa mu bulamu bwabwe, ab’omu maka gaabwe baalina enkolagana ennungi ne Katonda.

10. Biki abazadde Abakristaayo bye bayinza okuyigira ku Yusufu ne Maliyamu?

10 Kiki abazadde abatya Katonda kye basobola okuyigira ku Yusufu ne Maliyamu? Ekisinga obukulu, muyigirize abaana bammwe mu bigambo ne mu bikolwa nti mwagala nnyo Yakuwa. Ekirabo ekisingayo obulungi kye musobola okuwa abaana bammwe kwe kubayamba okwagala Yakuwa. Era ekimu ku bintu ebikulu bye musobola okuyigiriza abaana bammwe kwe kuba n’enteekateeka ennungi ey’eby’omwoyo, omuli okwesomesa, okusaba, okubaawo mu nkuŋŋaana, n’okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira. (1 Tim. 6:6) Kya lwatu nti mulina okuwa abaana bammwe ebyetaago eby’omubiri. (1 Tim. 5:8) Naye mukijjukire nti enkolagana abaana bammwe gye balina ne Yakuwa so si ebintu eby’omubiri, y’ejja okubayamba okuwonawo ng’ensi eno ezikirizibwa bayingire mu nsi ya Katonda empya. *​—Ezk. 7:19; 1 Tim. 4:8.

Kisanyusa nnyo okulaba ng’abazadde Abakristaayo basalawo mu ngeri eyamba abaana baabwe okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa! (Laba akatundu 11) *

11. (a) Okubuulirira okuli mu 1 Timoseewo 6:17-19 kuyamba kutya abazadde okusalawo obulungi nga bakuza abaana baabwe? (b) Biruubirirwa ki bye muyinza okulowoozaako ng’amaka, era birungi ki ebivaamu? (Laba akasanduuko “ Biruubirirwa Ki Bye Muyinza Okweteerawo?”)

11 Nga kisanyusa nnyo okulaba ng’abazadde bangi Abakristaayo basalawo mu ngeri eyamba abaana baabwe okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa! Basinziza wamu Yakuwa. Babaawo mu nkuŋŋaana ennene n’entono, era babuulira. Ab’omu maka agamu bagenda n’okubuulira mu bifo ebitatera kubuulirwamu. Abalala bagenda okulambula Beseri oba bayambako mu kuzimba ebizimbe ebikozesebwa ekibiina kya Yakuwa. Ab’omu maka abakola ebintu ebyo babaako bye beefiiriza mu by’ensimbi, era babaako n’okusoomooza kwe boolekagana nakwo. Naye baganyulwa nnyo mu by’omwoyo. (Soma 1 Timoseewo 6:17-19.) Abaana abakulira mu maka ng’ago emirundi mingi beeyongera okukola ebintu ebyo ebirungi nga bakuze era tebejjusa! *​—Nge. 10:22.

MUYIGIRE KU YESU

12. Yesu bwe yagenda akula, kiki kye yalina okukola?

12 Kitaawe wa Yesu ow’omu ggulu bulijjo asalawo mu ngeri ennungi, era ne bazadde be ab’oku nsi nabo baasalawo mu ngeri ey’amagezi. Naye Yesu bwe yagenda akula, naye yalina okubaako by’asalawo. (Bag. 6:5) Okufaananako abantu bonna, Yesu naye yalina eddembe ery’okwesalirawo. Yali asobola okusalawo okusooka okwenoonyeza ebibye. Mu kifo ky’ekyo, yasalawo okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa. (Yok. 8:29) Abaana bayinza batya okuganyulwa mu kyokulabirako Yesu kye yassaawo?

Abavubuka, temulekangayo kukolera ku bulagirizi bwa bazadde bammwe (Laba akatundu 13) *

13. Kintu ki ekikulu Yesu kye yasalawo ng’akyali muto?

13 Yesu bwe yali akyali muto yasalawo okugondera bazadde be. Teyagaana kukolera ku bulagirizi bwa bazadde be ng’agamba nti yali amanyi bingi okubasinga. Mu kifo ky’ekyo, “yeeyongera okubagondera.” (Luk. 2:51) Yesu obuvunaanyizibwa bwe yalina ng’omwana asinga obukulu, yabutwala nga bukulu. Yafaayo okuyigira ku kitaawe eyamukuza omulimu ogw’okweyimirizaawo, asobole okuyambako ku byetaago by’awaka.

14. Tumanya tutya nti Yesu yali munyiikivu mu kwesomesa Ekigambo kya Katonda?

14 Kirabika bazadde ba Yesu baamubuulira ku kuzaalibwa kwe okw’ekyamagero n’ebyo ababaka ba Katonda bye baamwogerako. (Luk. 2:8-19, 25-38) Yesu teyali mumativu n’ebyo byokka bye baamubuulira, wabula naye kennyini yeesomera Ebyawandiikibwa. Tumanya tutya nti Yesu yali munyiikivu mu kwesomesa Ekigambo kya Katonda? Kubanga bwe yali akyali mulenzi bulenzi, abayigiriza mu Yerusaalemi “beewuunya nnyo olw’okutegeera kwe, n’olw’ebyo bye yali addamu.” (Luk. 2:46, 47) Ate era ku myaka egyo 12, yali yamala dda okukyekakasiza nti Yakuwa ye Kitaawe.​—Luk. 2:42, 43, 49.

15. Yesu yakiraga atya nti yasalawo okukola Yakuwa by’ayagala?

15 Yesu bwe yamanya obuvunaanyizibwa bwe yalina mu kutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Katonda, yabukkiriza. (Yok. 6:38) Yali akimanyi nti abantu bangi bandimukyaye, era ekyo ateekwa okuba nga yakirowoozangako nnyo. Wadde kyali kityo, yasalawo okugondera Yakuwa. Yesu bwe yamala okubatizibwa mu 29 E.E., ekintu kye yakulembeza mu bulamu bwe, kwe kukola ekyo Yakuwa kye yali amwetaagisa. (Beb. 10:5-7) Ne bwe yali ng’afiira ku muti ogw’okubonaabona, teyalekayo kukola Katonda by’ayagala.​—Yok. 19:30.

16. Ekimu ku bintu abaana bye bayinza okuyigira ku Yesu kye kiruwa?

16 Gondera bazadde bo. Okufaananako Yusufu ne Maliyamu, bazadde bo tebatuukiridde. Wadde kiri kityo, bazadde bo Yakuwa yabawa obuvunaanyizibwa obw’okukukuuma, okukutendeka, n’okukuwa obulagirizi. Bw’obawuliriza era n’obagondera, ojja ‘kubeera bulungi.’​—Bef. 6:1-4.

17. Okusinziira ku Yoswa 24:15, kintu ki abaana kye balina okwesalirawo?

17 Salawo gw’onooweereza. Ggwe kennyini olina okutegeera ekyo Yakuwa ky’ali, ebizingirwa mu kigendererwa kye, n’ebyo by’akwetaagisa. (Bar. 12:2) Ekyo bw’okikola, ojja kusobola okusalawo ekintu ekisingayo obukulu mu bulamu, nga kuno kwe kuweereza Yakuwa. (Soma Yoswa 24:15; Mub. 12:1) Bw’oba n’enteekateeka ey’okusoma Bayibuli n’okwesomesa obutayosa, okwagala kw’olina eri Yakuwa kujja kweyongera okukula era okukkiriza kwo kujja kweyongera okunywera.

18. Kintu ki ekirala abaana kye balina okusalawo, era kiki ekijja okuvaamu?

18 Salawo okukulembeza Yakuwa mu bulamu bwo. Ensi ya Sitaani eyagala olowooze nti bw’okozesa ebitone by’olina okwenoonyeza ebibyo, ojja kuba musanyufu. Naye ekituufu kiri nti, abo abeemalira ku kwenoonyeza ebintu beereetera “obulumi bungi.” (1 Tim. 6:9, 10) Ku luuyi olulala, bw’owuliriza Yakuwa era n’osalawo okumukulembeza mu bulamu bwo, ojja kutuuka ku buwanguzi era ojja ‘kweyisa mu ngeri ey’amagezi.’​—Yos. 1:8.

KIKI KY’ONOOSALAWO OKUKOLA?

19. Kiki abazadde kye balina okujjukira?

19 Abazadde, mukole kyonna kye musobola okuyamba abaana bammwe okuweereza Yakuwa. Mwesige Yakuwa, era ajja kubayamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi. (Nge. 3:5, 6) Mukijjukire nti ebyo bye mukola bikwata nnyo ku baana bammwe okusinga ebyo bye mwogera. N’olwekyo musaleewo mu ngeri eneesobozesa abaana bammwe okwagalibwa Yakuwa.

20. Mikisa ki abaana gye bajja okufuna bwe basalawo okuweereza Yakuwa?

20 Abaana, bazadde bammwe basobola okubayamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi. Naye kiri eri mmwe okulaba nti musiimibwa mu maaso ga Katonda. N’olwekyo, mukoppe Yesu musalewo okuweereza Kitammwe ow’omu ggulu. Bwe mukola mutyo, mujja kuba n’eby’okukola bingi mu mulimu gwa Yakuwa, era mujja kuba n’obulamu obulungi era obw’essanyu. (1 Tim. 4:16) Ate mu biseera eby’omu maaso, mujja kufuna obulamu obusingayo obulungi!

OLUYIMBA 133 Weereza Yakuwa ng’Okyali Muvubuka

^ lup. 5 Abazadde Abakristaayo baagala abaana baabwe bwe bafuuke abaweereza ba Yakuwa abasanyufu. Biki bye basobola okukola okuyamba abaana baabwe okuweereza Yakuwa? Biki abavubuka bye basaanidde okukola okuba n’obulamu obw’amakulu? Ekitundu kino kigenda kuddamu ebibuuzo ebyo.

^ lup. 10 Laba ekitabo Yakuwa​—Azzaawo Okusinza Okulongoofu!, lup. 69-70, kat. 17-18.

^ lup. 11 Laba akasanduuko “Bazadde Bange Baali Balungi Nnyo” mu Awake!, eya Okitobba 2011, lup. 20, n’ekitundu “Ebbaluwa eri Bazadde Baabwe” mu Awake!, eya Maaki 8, 1999, lup. 25.

^ lup. 66 EBIFAANANYI: Maliyamu ateekwa okuba nga yayamba Yesu ng’akyali muto okwagala ennyo Yakuwa. Ne leero bamaama basobola okuyamba abaana baabwe okwagala Yakuwa.

^ lup. 68 EBIFAANANYI: Yusufu ateekwa okuba nga yali akitwala nti kikulu okugendanga n’ab’omu maka ge mu kkuŋŋaaniro. Leero bataata basaanidde okukitwala nti kikulu okubangawo mu nkuŋŋaana n’ab’omu maka gaabwe.

^ lup. 70 EBIFAANANYI: Yesu yayigira ku kitaawe okukola omulimu. Abavubuka leero basobola okuyigira ku bataata baabwe okukola emirimu.