Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 45

Okuyamba Abalala Okukwata Ebiragiro bya Kristo

Okuyamba Abalala Okukwata Ebiragiro bya Kristo

‘Mugende mufuule abantu abayigirizwa, nga mubayigiriza okukwata ebintu byonna bye nnabalagira.’​—MAT. 28:19, 20.

OLUYIMBA 89 Wulira, Ssa mu Nkola, Oweebwe Emikisa

OMULAMWA *

1. Okusinziira ku Matayo 28:18-20, kiragiro ki Yesu kye yawa?

YESU bwe yamala okuzuukizibwa, yalabikira abayigirizwa be abaali bakuŋŋaanidde e Ggaliraaya. Yalina ekintu ekikulu kye yali ayagala okubagamba. Kintu ki ekyo? Bye yabagamba bisangibwa mu Matayo 28:18-20.​—Soma.

2. Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu?

2 Ekiragiro Yesu kye yawa ekikwata ku kufuula abantu abayigirizwa kikwata ne ku baweereza ba Katonda kinnoomu leero. N’olwekyo ka tulabeyo ebibuuzo bisatu ebikwata ku mulimu Yesu gwe yatuwa. Ekisooka, ng’oggyeeko okuyigiriza abayigirizwa abapya ebyo Katonda by’atwetaagisa, kiki ekirala kye tusaanidde okukola? Eky’okubiri, ababuulizi bonna mu kibiina bayinza batya okuyamba omuyizi wa Bayibuli okukulaakulana mu by’omwoyo? Eky’okusatu, tuyinza tutya okuyamba bakkiriza bannaffe abatakyabuulira okuddamu okwenyigira mu mulimu gw’okufuula abantu abayigirizwa?

BAYIGIRIZE OKUKWATA EBIRAGIRO BYA KRISTO

3. Kintu ki Yesu kye yayogerako mu kiragiro kye yawa?

3 Ebyo Yesu bye yagamba abayigirizwa be bitegeerekeka bulungi. Tuteekwa okuyigiriza abantu ebintu bye yalagira. Naye waliwo ekintu ekikulu kye tutalina kubuusa maaso. Yesu teyagamba nti: ‘Mubayigirize ebintu byonna bye nnabalagira,’ wabula yagamba nti: Mubayigirize “okukwata ebintu byonna bye nnabalagira.” Okusobola okukola ekyo nga tuyigiriza omuyizi wa Bayibuli, tetulina kukoma ku kumuyigiriza buyigiriza wabula tulina n’okumuwa obulagirizi. (Bik. 8:31) Lwaki?

4. Kitegeeza ki okukwata ekiragiro? Waayo ekyokulabirako.

4 “Okukwata” ekiragiro kitegeeza okukissa mu nkola. Okusobola okumanya engeri gye tusobola okuyigiriza omuntu okukwata oba okukolera ku bintu Kristo bye yalagira, ka tulabeyo ekyokulabirako. Lowooza ku musomesa ayigiriza omuntu okuvuga emmotoka. Omusomesa oyo ayinza okusooka okuyigiriza omuyizi we amateeka g’enguudo mu kibiina. Naye okusobola okuyigiriza omuyizi we okukolera ku mateeka ago, waliwo ekirala ky’alina okukola. Alina okugenda n’omuyizi oyo ku luguudo, omuyizi n’avuga ng’omusomesa bw’amulaga engeri y’okukolera ku mateeka ge yayize mu kibiina. Kiki kye tuyigira ku kyokulabirako ekyo?

5. (a) Okusinziira ku Yokaana 14:15 ne 1 Yokaana 2:3, kiki kye tulina okuyigiriza abayizi baffe aba Bayibuli okukola? (b) Waayo ebyokulabirako ku ngeri gye tuyinza okuyamba abayizi baffe okukolera ku bye bayiga.

5 Bwe tuba tuyigiriza abantu Bayibuli, tubayigiriza ebyo Katonda by’atwetaagisa. Naye waliwo ekirala kye tuteekeddwa okukola. Tuteekeddwa okubayigiriza okukolera ku ebyo bye bayiga. (Soma Yokaana 14:15; 1 Yokaana 2:3.) Okuyitira mu kyokulabirako kye tussaawo, tusobola okuyamba abayizi baffe okumanya engeri gye bayinza okukolera ku misingi gya Bayibuli ku ssomero, ku mulimu, oba nga beesanyusaamu. Tusobola okubabuulira ku kintu ekimu ekyaliwo mu bulamu bwaffe ne tubalaga engeri okukolera ku magezi agali mu Bayibuli gye kyatukuumamu oba gye kyatuyambamu okusalawo mu ngeri ey’amagezi. Ng’abayizi baffe bawulira, tusobola okusaba Yakuwa abawe omwoyo gwe omutukuvu gubawe obulagirizi.​—Yok. 16:13.

6. Kiki ekizingirwa mu kuyigiriza abalala okukwata ebiragiro bya Yesu?

6 Kiki ekizingirwa mu kuyigiriza abalala okukwata ebiragiro bya Kristo? Tusaanidde okuyamba abayizi baffe nabo okwagala okufuula abantu abayigirizwa. Abayizi abamu bayinza okutya okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira. Tusaanidde okuba abagumiikiriza nga tubayamba okweyongera okutegeera amazima, emitima gyabwe gisobole okukwatibwako kibakubirize okubuulira. Tuyinza tutya okuyamba abayizi ba Bayibuli okwagala okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira abalala amawulire amalungi?

7. Tuyinza tutya okuyamba omuyizi waffe owa Bayibuli okwagala kubuulira abalala amawulire amalungi?

7 Tuyinza okubuuza omuyizi waffe ebibuuzo nga bino: “Okukolera ku ebyo Bayibuli by’eyigiriza kikuyambye kitya mu bulamu bwo? Olowooza n’abalala beetaaga okuyiga ebintu ebyo? Kiki ky’osobola okukola okubayamba?” (Nge. 3:27; Mat. 9:37, 38) Laga omuyizi wo tulakiti ze tukozesa mu kuyigiriza era omubuuze ziruwa z’alaba nti ab’eŋŋanda ze, mikwano gye, oba bakozi banne bayinza okuzaagala. Muwe tulakiti eziwerako. Weegezeemu naye ku ngeri gy’ayinza okugabamu tulakiti ezo mu ngeri ey’amagezi. Kya lwatu nti omuyizi waffe bw’akkirizibwa okubuulira awamu n’ekibiina, tusaanidde okukolera awamu naye okumuwa obulagirizi.​—Mub. 4:9, 10; Luk. 6:40.

ENGERI EKIBIINA GYE KISOBOLA OKUYAMBA ABAYIZI OKUKULAAKULANA

8. Lwaki kikulu abayizi baffe okwagala ennyo Katonda ne bantu bannaabwe? (Laba akasanduuko “ Engeri Gye Tuyinza Okuyamba Abayizi ba Bayibuli Okweyongera Okwagala Katonda.”)

8 Kijjukire nti Yesu yatugamba okuyigiriza abalala “okukwata ebintu byonna” bye yalagira. Ebintu ebyo bizingiramu n’ebiragiro ebibiri ebisinga obukulu, okwagala Katonda n’okwagala bantu bannaffe, era ng’ebiragiro ebyo birina akakwate n’omulimu gw’okubuulira. (Mat. 22:37-39) Kakwate ki ako? Okwagala Katonda ne bantu bannaffe kye kisinga okutukubiriza okubuulira. Abayizi ba Bayibuli abamu bwe balowooza ku ky’okubuulira, bafuna okutya. Naye tusobola okubakakasa nti Yakuwa ajja kubayamba era nti mpolampola bajja kuggwaamu okutya abantu. (Zab. 18:1-3; Nge. 29:25) Akasanduuko akali ku lupapula olw’okuna kalaga ebintu bye tusobola okukola okuyamba omuyizi waffe okweyongera okwagala Katonda. Okugatta ku ekyo, kiki abo abali mu kibiina kye basobola okukola okuyamba abayigirizwa abapya okukulaakulanya okwagala?

9. Ng’ekyokulabirako ky’omuntu ayiga okuvuga emmotoka bwe kiraga, omuyizi ayiga atya ebintu ebikulu?

9 Lowooza nate ku kyokulabirako ky’omuntu ayiga okuvuga emmotoka. Bw’aba avuga emmotoka ng’omusomesa we amutudde ku lusegere, ayiga atya? Ayiga nga ng’awuliriza omusomesa we era nga yeetegereza abavuzi abalala abalungi. Ng’ekyokulabirako, omusomesa we ayinza okumulaga omuvuzi w’emmotoka akkiriza omuvuzi w’emmotoka omulala okuyingira oluguudo. Oba ayinza okumulaga omuvuzi w’emmotoka omulala akendeeza ku mataala kisobozese bavuzi banne okulaba obulungi. Ebyokulabirako ng’ebyo biyamba omuyizi okuyiga ebintu ebikulu by’alina okukola.

10. Kiki ekisobola okuyamba omuyizi wa Bayibuli okukulaakulana mu by’omwoyo?

10 Mu ngeri y’emu, omuyizi wa Bayibuli atandika okutambulira mu kkubo ery’obulamu tayigira ku musomesa we yekka, wabula ayigiria ne ku kyokulabirako ekirungi abaweereza ba Yakuwa abalala kye bassaawo. Kati olwo kintu ki ekisobola okuyamba ennyo abayizi ba Bayibuli okukulaakulana mu by’omwoyo? Kwe kubeerangawo mu nkuŋŋaana. Lwaki tugamba tutyo? Okuyigirizibwa okwesigamiziddwa ku Byawandiikibwa okubaawo mu nkuŋŋaana kuyamba omuyizi wa Bayibuli okwongera ku kumanya kw’alina, okunyweza okukkiriza kwe, era kumuyamba okweyongera okwagala Katonda. (Bik. 15:30-32) Ate era mu nkuŋŋaana omusomesa asobola okuyamba omuyizi okumanya baganda baffe ne bannyinaffe abalina bye bafaanaganya naye. Omuyizi ajja kulaba ab’oluganda ne bannyinaffe abooleka okwagala. Lowooza ku byokulabirako bino.

11. Byakulabirako ki omuyizi by’ayinza okulaba mu kibiina, era biyinza kumukolako ki?

11 Omuyizi nga muzadde ali obw’omu ayinza okulaba mwannyinaffe ali mu mbeera ng’eyiye. Akwatibwako nnyo bw’alaba mwannyinaffe oyo ng’afuba okujja mu nkuŋŋaana n’abaana be abato. Omuyizi alwanyisa omuze ogw’okunywa sigala amanya omubuulizi omu eyalina omuze ogwo naye n’asobola okuguvvuunuka. Omubuulizi oyo abuulira omuyizi engeri okwagala kw’alina eri Yakuwa gye kwagenda kweyongera ne kumuyamba okugondera ebiragiro bya Katonda. (2 Kol. 7:1; Baf. 4:13) Omuyizi bw’awulira ebyo omubuulizi by’amugamba yeeyongera okuba omukakafu nti naye asobola okuvvuunuka ekizibu ekyo. Omuwala akyali omuvubuka era ayiga Bayibuli alaba omuvubuka omulala mu kibiina anyumirwa okuweereza Yakuwa. Omuyizi wa Bayibuli bw’alaba essanyu mwannyinaffe oyo ly’alina ayinza okweyongera okwagala okumanya ensonga lwaki mwannyinaffe oyo buli kiseera aba musanyufu.

12. Lwaki tuyinza okugamba nti buli omu kibiina alina ky’asobola okukola okuyamba abayizi ba Bayibuli okukulaakulana?

12 Omuyizi wa Bayibuli bw’amanya ababuulizi ab’enjawulo, abaako ebintu by’abayigirako ebimuyamba okumanya kye kitegeeza okugondera ekiragiro kya Kristo ekikwata ku kwagala Katonda ne bantu bannaffe. (Yok. 13:35; 1 Tim. 4:12) Ate era nga bwe tulabye, omuyizi wa Bayibuli alina by’ayigira ku babuulizi aboolekagana n’embeera ezifaananako ezize. Ebyokulabirako by’ab’oluganda abo biyamba omuyizi okukiraba nti naye asobola okukola enkyukakyuka ezeetaagisa okusobola okufuuka omuyigirizwa wa Kristo. (Ma. 30:11) Buli omu kibiina alina ky’asobola okukolawo okuyamba abayizi ba Bayibuli okukulaakulana mu by’omwoyo. (Mat. 5:16) Ggwe biki by’okolawo okuyamba abayizi ba Bayibuli abajja mu nkuŋŋaana okukulaakulana?

YAMBA ABATAKYABUULIRA OKUDDAMU OKUBUULIRA

13-14. Yesu yayisa atya abatume be abaali baweddemu amaanyi?

13 Twagala okuyamba bakkiriza bannaffe abatakyabuulira okuddamu okwenyigira mu mulimu Kristo gwe yatuwa ogw’okufuula abantu abayigirizwa. Engeri Yesu gye yayisaamu abatume be abaali baweddemu amaanyi etuyamba okumanya kye tusobola okukola okubayamba.

14 Yesu bwe yali anaatera okuttibwa abatume be ‘bonna baamwabulira ne badduka.’ (Mak. 14:50; Yok. 16:32) Kiki Yesu kye yakola mu kiseera ekyo ng’abatume be baweddemu amaanyi? Bwe waali wayise ekiseera kitono ng’azuukiziddwa, Yesu yagamba abamu ku bagoberezi be nti: “Temutya! Mugende mugambe baganda bange [nti nnazuukiziddwa].” (Mat. 28:10a) Yesu teyaleka batume be. Wadde nga baamwabulira, yasigala abayita baganda be. Okufaananako Yakuwa, Yesu yabasaasira era n’abasonyiwa.​—2 Bassek. 13:23.

15. Tutwala tutya baganda baffe abatakyabuulira?

15 Okufaananako Yesu, naffe tufaayo nnyo ku abo abatakyabuulira. Bakyali baganda baffe ne bannyinaffe era tubaagala. Tukyajjukira emirimu emirungi gye baakola mu biseera eby’emabega era ng’abamu bayinza okuba nga baagikola okumala emyaka mingi nnyo. (Beb. 6:10) Mazima ddala tubasubwa! (Luk. 15:4-7) Okufaananako Yesu, tuyinza tutya okukiraga nti tubafaako?

16. Tuyinza tutya okukiraga nti tufaayo ku bakkiriza bannaffe abatakyabuulira?

16 Bayite okujja mu nkuŋŋaana. Engeri emu Yesu gye yazzaamu abatume be amaanyi kwe kubayita okujja mu lukuŋŋaana. (Mat. 28:10b; 1 Kol. 15:6) Naffe leero tusobola okukubiriza bakkiriza bannaffe abatakyabuulira okujja mu nkuŋŋaana bwe baba nga tebajja. Kiyinza okutwetaagisa okubayita emirundi egiwerako ne balyoka batandika okujja. Tewali kubuusabuusa nti Yesu yasanyuka nnyo okuba nti abayigirizwa be bakkiriza okujja mu lukuŋŋaana.​—Geraageranya Matayo 28:16 ne Lukka 15:6.

17. Kiki kye tusaanidde okukola ng’oyo eyali aweddemu amaanyi azze mu lukuŋŋaana?

17 Mwanirize n’essanyu. Yesu yaleetera abayigirizwa be okuwulira obulungi nga bazze okumusisinkana. Ye yasooka okwogera nabo. (Mat. 28:18) Tuneeyisa tutya ng’ow’oluganda eyali aweddemu amaanyi azze mu lukuŋŋaana? Tusaanidde okumwaniriza n’essanyu. Mu kusooka tuyinza okutya nga tulowooza nti tuyinza okubulwa eky’okwogera naye. Awatali kumuleetera kukwatibwa nsonyi, tuyinza okumugamba nti tuli basanyufu okumulaba.

18. Tuyinza tutya okuyamba abo abaggwaamu amaanyi okuguma?

18 Bagumye. Abayigirizwa ba Yesu bayinza okuba nga baawulira nti tebajja kusobola kubuulira mu nsi yonna. Yesu yabagumya ng’abagamba nti: “Ndi wamu nammwe ennaku zonna.” (Mat. 28:20) Ekyo kyayamba abayigirizwa be? Yee. Waayita ekiseera kitono ne batandika “okuyigiriza n’okubuulira amawulire amalungi.” (Bik. 5:42) Abo abaggwaamu amaanyi nabo beetaaga okugumya. Bayinza okuba nga bawulira batya okuddamu okubuulira. Tusobola okubagumya nga tubagamba nti tebajja kubuulira bokka. Bwe baba nga beetegefu okuddamu okubuulira tusobola okugenda nabo. Kya lwatu nti bwe baddamu okubuulira bajja kusiima nnyo obuyambi bwaffe. Abo abaggwaamu amaanyi bwe tubatunuulira era ne tubayisa nga baganda baffe ne bannyinaffe, bayinza okuddamu okuweereza Yakuwa era ekyo kireetera ekibiina kyonna essanyu.

TWAGALA OKUMALIRIZA OMULIMU OGWATUWEEBWA

19. Kiki kye twagala, era lwaki?

19 Omulimu gw’okufuula abantu abayigirizwa tunaagukola kutuusa ddi? Tugenda kugukola okutuusa ekiseera ky’amafundikira g’enteekateeka y’ebintu eno lwe kinaggwaako. (Mat. 28:20; laba Awannyonnyolerwa Ebigambo Ebimu, “Amafundikira g’Enteekateeka y’Ebintu.”) Tunaasobola okukola omulimu gw’okuyigiriza n’okufuula abantu abayigirizwa okutuukira ddala ku nkomerero? Tuli bamalirivu okukola ekyo! Tuwaayo ebiseera byaffe, amaanyi gaffe, n’ebintu byaffe okuzuula ‘abo bonna abalina endowooza ennuŋŋamu ebasobozesa okufuna obulamu obutaggwaawo.’ (Bik. 13:48) Ekyo bwe tukikola tuba tukoppa Yesu. Yagamba nti: “Emmere yange kwe kukola oyo eyantuma by’ayagala n’okumaliriza omulimu gwe.” (Yok. 4:34; 17:4) Ekyo naffe kye twagala. Twagala okumaliriza omulimu ogwatukwasibwa. (Yok. 20:21) Era twagala n’abalala, nga mw’otwalidde n’abo abatakyabuulira, okukolera wamu naffe omulimu guno okutuukira ddala ku nkomerero.​—Mat. 24:13.

20. Okusinziira ku Abafiripi 4:13, lwaki tusobola okumaliriza omulimu Yesu gwe yatulagira okukola?

20 Kyo kituufu nti si kyangu kukola mulimu Yesu gwe yatukwasa. Naye omulimu guno tetugukola ffekka. Yesu yatusuubiza nti ajja kuba naffe. Bwe tuba tukola omulimu gw’okufuula abantu abayigirizwa “tukolera wamu ne Katonda” era ‘tuba wamu ne Kristo.’ (1 Kol. 3:9; 2 Kol. 2:17) N’olwekyo tusobola okumaliriza omulimu guno. Nga nkizo ya maanyi nnyo okukola omulimu guno n’okuyamba abalala okugukola!​—Soma Abafiripi 4:13.

OLUYIMBA 79 Mubayigirize Basobole Okuba Abanywevu

^ lup. 5 Yesu yalagira abagoberezi be okufuula abantu abayigirizwa era babayigirize okukwata byonna bye yabalagira. Ekitundu kino kiraga engeri gye tuyinza okukolera ku ebyo Yesu bye yalagira. Ebimu ku byogerwako mu kitundu kino byesigamiziddwa ku kitundu ekiri mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjulaayi 1, 2004, olupapula 25-29.

^ lup. 66 EBIFAANANYI: Mwannyinaffe ng’annyonnyola omuyizi ebintu by’ayinza okukola okusobola okweyongera okwagala Katonda. Oluvannyuma omuyizi akola ebintu ebisatu omusomesa we bye yamugambye.