Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Onésime ne Géraldine

Abo Abaddayo mu Nsi Zaabwe Bafuna Emikisa Mingi

Abo Abaddayo mu Nsi Zaabwe Bafuna Emikisa Mingi

AB’OLUGANDA ne bannyinaffe bangi abaava mu nsi ezikyakula ne bagenda mu nsi ezaakula edda basazeewo okuddayo mu nsi zaabwe. Okwagala kwe balina eri Yakuwa ne bantu bannaabwe kubaviiriddeko okugenda mu bitundu awali obwetaavu obusingako. (Mat. 22:37-39) Kwefiiriza ki kwe bakoze era mikisa ki gye bafunye? Okusobola okuddamu ekibuuzo ekyo, ka tulabe baganda baffe okuva mu nsi ya Cameroon, esangibwa mu bugwanjuba bwa Afirika.

“EKIFO EKITUUFU ‘EKY’OKUVUBAMU’”

Mu 1998 ow’oluganda ayitibwa Onésime yava mu nsi ye eya Cameroon n’agenda okubeera mu nsi emu ey’ebweru era yamalayo emyaka 14. Lumu bwe yali mu lukuŋŋaana, ow’oluganda eyali awa emboozi yawa ekyokulabirako ekikwata ku mulimu gw’okubuulira. Yagamba nti, “Singa ab’emikwano babiri baba bavuba mu bifo eby’enjawulo era ng’omu akwata ebyennyanja bingi okusinga munne, oyo akwata ebyennyanja ebitono tava w’avubira n’agenda mu kifo munne akwata ebyennyanja ebingi w’avubira?”

Ekyokulabirako ekyo kyaleetera Onésime okulowooza ku ky’okuddayo mu Cameroon awaali abantu bangi abaali baagala okuyiga Bayibuli, asobole okuyambako ababuulizi abali eyo. Naye yafunamu okweraliikirira. Yandisobodde okumanyiira embeera mu Cameroon oluvannyuma lw’okumala emyaka mingi ng’abeera mu nsi ey’ebweru? Okusobola okumanya obanga yandisobodde, Onésime yagendako mu Cameroon n’amalayo emyezi mukaaga. Oluvannyuma mu 2012, yaddayo kubeerera ddala mu Cameroon.

Onésime agamba nti: “Nnalina okumanyiira obudde obw’ebbugumu n’embeera y’obulamu mu Cameroon.” Era agattako nti: “Mu Kizimbe ky’Obwakabaka nnalina okuddamu okumanyiira okutuula ku ntebe ez’embaawo enjereere. Naye gye nnakoma okussangayo omwoyo ku programu, gye nnakoma okwerabira entebe ez’emitto ze nnatuulangamu.”

Mu 2013, Onésime yawasa Géraldine, eyali akomyewo mu Cameroon oluvannyuma lw’okumala emyaka mwenda ng’abeera mu Bufalansa. Mikisa ki gye baafuna olw’okwemalira ku bintu eby’omwoyo? Onésime agamba nti: “Ffembi twagenda mu Ssomero ly’Ababuulizi b’Enjiri y’Obwakabaka era twaweerezaako ne ku Beseri. Omwaka ogwayita, ababuulizi 20 okuva mu kibiina kyaffe baabatizibwa. Kati mpulira nti ndi mu kifo ekituufu ‘eky’okuvubiramu.’” (Mak. 1:17, 18) Géraldine agattako nti: “Nfunye emikisa mingi nnyo gye nnali sisuubira.”

ESSANYU ERIRI MU KUFUULA ABANTU ABAYIGIRIZWA

Judith ne Sam-Castel

Judith yali yasengukira mu Amerika naye ng’ayagala okugaziya ku buweereza bwe. Agamba nti, “Buli lwe nnagendanga okukyalira ab’eŋŋanda zange mu Cameroon, bwe nnabanga nzirayo mu Amerika nnakaabanga olw’okuba nnabanga ndeka abantu be nnabanga ntandise okuyigiriza Bayibuli.” Wadde kyali kityo, Judith yali atya okuddayo mu Cameroon. Yalina omulimu ogwali gumusasula ssente ennyingi ezaali zimusobozesa okusasulira obujjanjabi taata we eyali mu Cameroon bwe yali yeetaaga. Naye Judith yeesiga Yakuwa n’akomawo mu Cameroon. Agamba nti waliwo ebintu ebirungi bye yawulira ng’asubwa mu nsi y’ebweru gye yali abeera. Yasaba Yakuwa amuyambe okumanyiira, era omulabirizi akyalira ebibiina ne mukyala we nabo baamuzzaamu nnyo amaanyi.

Judith bw’alowooza ku kiseera ekyo agamba nti, “Mu myaka esatu nnafuna essanyu ery’okuyigiriza abantu bana Bayibuli ne babatizibwa.” Judith yatandika okuweereza nga payoniya ow’enjawulo. Kati ye n’omwami we Sam-Castel, bakola omulimu gw’okukyalira ebibiina. Ate ye taata wa Judith? Judith n’ab’eŋŋanda ze baasobola okufuna eddwaliro mu nsi endala eryakola ku by’obujjanjabi bwa kitaawe. Era kitaawe yalongoosebwa n’atereera.

YAKUWA ABAYAMBA

Caroline ne Victor

Ow’oluganda ayitibwa Victor yasenguka n’agenda mu Canada. Oluvannyuma lw’okusoma ekitundu ekimu mu Omunaala gw’Omukuumi ekyali kyogera ku buyigirize obwa waggulu, yafumiitiriza ku misomo gye. Yaleka obuyigirize obwa Yunivasite n’asalawo okusomerera eby’emikono ebyali bitwala akaseera katono. Agamba nti, “Ekyo kyansobozesa okufuna omulimu amangu n’okutuuka ku kiruubirirwa kyange eky’okuweereza nga payoniya.” Oluvannyuma lw’ekiseera Victor yawasa Caroline, era bombi baakyalako mu Cameroon. Nga bali eyo baagendako ku ofiisi y’ettabi era ne babagamba okulowooza ku ky’okuweereza mu Cameroon. Victor agamba nti: “Tetwalina nsonga etugaana. Era okuva bwe kiri nti twali tetwetuumako bintu, twakkiriza ekyo kye baatugamba.” Wadde nga Caroline yalina obulwadde obwali bumutawaanya, ekyo tekyabalemesa kugenda.

Victor ne Caroline baatandika okuweereza nga bapayoniya aba bulijjo okusobola okuyamba abantu abangi abaali baagala okuyiga Bayibuli. Olw’okuba baalina akasente ke baali batereseewo, mu kusooka kyali tekibeetagisa kukola. Oluvannyuma baddayo mu Canada ne bakola okumala emyezi mitono ne kibasobozesa okukomawo mu Cameroon ne beeyongera okuweereza nga bapayoniya. Mikisa ki gye baafuna? Baagenda mu Ssomero ly’Ababuulizi b’Enjiri y’Obwakabaka, baaweerezaako nga bapayoniya ab’enjawulo, era kati bayambako mu mulimu gw’okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka. Victor agamba nti, “Olw’okuba twaleka obulamu obwangu, twalina okwesiga Yakuwa, era Yakuwa atulabiridde.”

ESSANYU ERIVA MU KUYAMBA ABANTU OKWEWAAYO ERI YAKUWA

Stéphanie ne Alain

Mu 2002, Alain, eyali asomera mu yunivasite emu mu Bugirimaani yasoma tulakiti, Abavubuka​—Munaakozesa Mutya Obulamu Bwammwe? Bye yasoma mu tulaki eyo byamuleetera okweteerawo ebiruubirirwa. Mu 2006 yagenda mu Ssomero Eritendeka ab’Oluganda Abali Obwannamunigina, era oluvannyuma yasindikibwa okugenda okuweereza mu Cameroon, ensi gye yazaalibwa.

Mu Cameroon, Alain yafuna omulimu ogwali gutamwetaagisa kukola kiseera kyonna. Oluvannyuma yafuna omulimu ogwali gusasula ssente ennyingiko, naye yakiraba nti gwali gujja kukendeeza ku budde bwe yali amala mu buweereza. N’olwekyo bwe yayitibwa okuweereza nga payoniya ow’enjawulo, yakkiririzaawo. Mukama we ku mulimu yamusuubiza okumwongeza ssente, naye Alain yanywerera ku ekyo kye yali asazeewo. Oluvannyuma Alain yawasa Stéphanie, eyali amaze ekiseera kiwanvu ng’abeera mu Bufalansa. Buzibu ki Stéphanie bwe yasanga ng’azzeeyo mu Cameroon?

Stéphanie agamba nti: “Nnalwala obulwadde obutali bumu naye nga si bwa maanyi, era nnafuna obujjanjabi ne nfuna ku buweerero.” Alain ne Stéphanie baafuna emikisa olw’obugumiikiriza bwe baayoleka. Alain agamba nti: “Bwe twagenda okubuulira mu kyalo ekimu ekiyitibwa Katé, twasangayo abantu bangi abaali baagala okuyigirizibwa Bayibuli. Twatandika okubayigiriza Bayibuli nga tukozesa essimu. Babiri ku bantu abo baabatizibwa era ekibinja kyatandikibwayo.” Stéphanie agattako nti: “Okuyamba abantu ne batuuka okwewaayo eri Yakuwa kireeta essanyu lingi nnyo. Okuweereza mu kitundu kino kitusobozesezza okufuna essanyu eryo enfunda n’enfunda.” Kati Alain ne Stéphanie bakola omulimu gw’okukyalira ebibiina.

“EKYO KYE TWAKOLA KYE TWALI TUTEEKEDDWA OKUKOLA”

Léonce ne Gisèle

Gisèle we yabatirizibwa yali asoma bya kisawo mu Yitale. Olw’okuba ow’oluganda ne mukyala we abaamuyigiriza Bayibuli baali bapayoniya era nga beemalidde ku kuweereza Yakuwa, kyamukwatako nnyo naye n’ayagala okugaziya ku buweereza bwe. Bwe kityo Gisèle yatandika okuweereza nga payoniya owa bulijjo nga tannamaliriza misomo gye.

Gisèle yayagala okuddayo mu Cameroon asobole okugaziya ku buweereza bwe, naye waliwo ebyali bimutiisaamu. Agamba nti, “Nnalina okufiirwa obutuuze bwange obw’omu Yitale n’okuleka mikwano gyange n’ab’eŋŋanda zange abaali mu Yitale.” Wadde kyali kityo, mu Maayi 2016, Gisèle yaddayo mu Cameroon. Nga wayise ekiseera yafumbirwa Léonce, era ofiisi y’ettabi mu Cameroon yabasaba bagende okuweereza mu Ayos, akabuga omuli obwetaavu bw’ababuulizi obusingako.

Obulamu bwali butya mu Ayos? Gisèle agamba nti: “Emirundi mingi twamalanga wiiki eziwera nga tetulina masannyalaze, era amasimu gaffe tegaabangako muliro. Ebiseera bingi tetwagakozesanga. Nnayiga okufumbira ku nku. Amazzi twagakimanga kiro. Twagakimiranga ku kigaali era twagendanga ne tooci, kubanga mu budde obwo oluzzi terwabeerangako bantu bangi.” Kiki ekyasobozesa Gisèle n’omwami we okugumira embeera eyo? Gisèle agamba nti: “Omwoyo gwa Yakuwa, okuba nti ffembi twali tuyambagana, n’okuba nti mikwano gyaffe n’ab’eŋŋanda zaffe baatuzzangamu amaanyi, era ng’olumu n’olumu batuwagira mu by’ensimbi, kyatuyamba okuyita mu mbeera eyo.”

Gisèle musanyufu olw’okusalawo okuddayo mu nsi ye? Nga taliimu nkenyera yonna agamba nti “Yee!” Agattako nti, “Mu kusooka twakaluubirizibwamu era oluusi twawuliranga nga tuweddemu amaanyi. Naye kasita twavvuunuka embeera eyo, nze n’omwami wange twakiraba nti ekyo kye twakola kye twali tuteekeddwa okukola. Twesiga Yakuwa era tuwulira nti tweyongedde okumusemberera.” Léonce ne Gisèle baagenda mu Ssomero ly’Ababuulizi b’Enjiri y’Obwakabaka era kati baweereza nga bapayoniya ab’enjawulo.

Okufaananako abavubi abagumira embeera ezitali zimu okusobola okukwasa eby’ennyanja ebingi, abo abaddayo mu nsi zaabwe beefiiriza ebintu ebitali bimu okusobola okuyamba abantu abaagala okuwuliriza obubaka bw’Obwakabaka. Yakuwa tasobola kwerabira kufuba kwa baganda baffe abo abanyiikivu olw’okwagala kwe balaze erinnya lye. (Nek. 5:19; Beb. 6:10) Bw’oba ng’obeera mu nsi ndala era nga mu nsi gye wava eriyo obwetaavu bw’ababuulizi, osobola okuddayo? Bw’onoddayo, Yakuwa ajja kukuwa emikisa mingi.​—Nge. 10:22.