Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 49

Okuzuukira—Ssuubi Kkakafu!

Okuzuukira—Ssuubi Kkakafu!

“Nnina essuubi mu Katonda . . . nti wajja kubaawo okuzuukira.”​—BIK. 24:15.

OLUYIMBA 151 Alibayita

OMULAMWA *

1-2. Abaweereza ba Yakuwa balina ssuubi ki ery’ekitalo?

ESSUUBI kintu kikulu nnyo. Abantu abamu essuubi lyabwe liri mu kuba n’obufumbo obulungi, okukuza abaana abalamu obulungi, oba okuwona obulwadde obw’amaanyi. Naffe Abakristaayo tuyinza okwagala ebintu ebyo. Naye essuubi lye tulina lisingira wala ebintu ebyo. Tulina essuubi ery’okubaawo emirembe gyonna n’okulaba abantu baffe abaafa nga bazzeemu okuba abalamu.

2 Omutume Pawulo yagamba nti: “Nnina essuubi mu Katonda . . . nti wajja kubaawo okuzuukira kw’abatuukirivu n’abatali batuukirivu.” (Bik. 24:15) Pawulo si ye yasooka okwogera ku ssuubi ery’okuzuukira. Yobu naye yalyogerako. Yali mukakafu nti Katonda yandimujjukidde n’amuzuukiza n’addamu okuba omulamu.​—Yob. 14:7-10, 12-15.

3. Lwaki tusobola okuganyulwa mu 1 Abakkolinso essuula 15?

3 “Okuzuukira kw’abafu” y’emu ku njigiriza ezikola “omusingi” ogw’enjigiriza zonna ez’Ekikristaayo, oba y’emu ku ‘njigiriza ezisookerwako’ ez’Ekikristaayo. (Beb. 6:1, 2) Ebyo Pawulo bye yayogera ku kuzuukira bisangibwa mu 1 Abakkolinso essuula 15. Ebyo bye yawandiika biteekwa okuba nga byazimba nnyo Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka. Naffe ebyo ebiri mu ssuula eyo bisobola okutuzimba n’okwongera okunyweza essuubi lye tubadde nalyo okumala ekiseera kiwanvu.

4. Ekimu ku bintu ebikulu ebitukakasa nti abantu baffe abaafa bajja kuzuukira kye kiruwa?

4 Okuzuukira kwa Yesu Kristo bukakafu bwa maanyi obulaga nti abantu baffe abaafa bajja kuzuukira. Ago ge gamu ku ‘mawulire amalungi’ Pawulo ge yabuulira Abakkolinso. (1 Kol. 15:1, 2) Mu butuufu yagamba nti singa Omukristaayo aba takkiririza mu kuzuukira, okukkiriza kwe kuba tekugasa. (1 Kol. 15:17) Okukkiririza mu kuzuukira kwa Yesu kituleetera okuba abakakafu nti ddala okuzuukira gye kuli.

5-6. Ebigambo ebiri mu 1 Abakkolinso 15:3, 4 bitusobozesa kuba na ssuubi ki?

5 Pawulo bwe yali atandika okwogera ebikwata ku kuzuukira alina ebintu bisatu bye yanokolayo, era bye bino: (1) “Kristo yafa ku lw’ebibi byaffe.” (2) “Yaziikibwa.” (3) ‘Yazuukizibwa ku lunaku olw’okusatu ng’Ebyawandiikibwa bwe bigamba.’​—Soma 1 Abakkolinso 15:3, 4.

6 Okufa kwa Yesu, okuziikibwa kwe, n’okuzuukizibwa kwe bitusobozesa kuba na ssuubi ki? Nnabbi Isaaya yagamba nti Masiya ‘yandiggiddwa mu nsi y’abalamu’ era ‘n’aziikibwa wamu n’ababi.’ Naye waliwo ekintu ekirala ekyali kizingirwamu. Isaaya yagattako nti Masiya yandibadde yeetikka “ebibi by’abantu bangi.” Ekyo Yesu yakikola ng’awaayo obulamu bwe ng’ekinunulo. (Is. 53:8, 9, 12; Mat. 20:28; Bar. 5:8) N’olwekyo okufa kwa Yesu, okuziikibwa kwe, n’okuzuukizibwa kwe bitusobozesa okuba n’essuubi ekkakafu nti tujja kusumululwa mu kibi n’okufa era tuddemu tubeere wamu n’abantu baffe abaafa.

OBUJULIZI OKUVA ERI ABANTU BANGI

7-8. Kiki ekiyamba Abakristaayo okuba abakakafu nti Yesu yazuukizibwa?

7 Olw’okuba essuubi lye tulina mu kuzuukira lirina akakwate n’okuzuukira kwa Yesu, kitwetaagisa okuba abakakafu nti Yesu yazuukizibwa. Lwaki tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa yazuukiza Yesu?

8 Waliwo abantu bangi abaalaba Yesu ng’amaze okuzuukizibwa. (1 Kol. 15:5-7) Omuntu Pawulo gwe yasooka okumenya ye mutume Peetero (Keefa). Waliwo abayigirizwa abaakikakasa nti Peetero yalaba Yesu ng’amaze okuzuukizibwa. (Luk. 24:33, 34) Ate era n’abatume “Ekkumi n’Ababiri” baalaba Yesu ng’amaze okuzuukizibwa. Oluvannyuma Kristo “yalabikira ab’oluganda abasukka mu 500 omulundi gumu,” oboolyawo mu lukuŋŋaana olwali e Ggaliraaya olwogerwako mu Matayo 28:16-20. Ate era Yesu “yalabikira Yakobo,” kirabika Yakobo muganda we, mu kusooka eyali tamukkiririzaamu nti ye Masiya. (Yok. 7:5) Oluvannyuma lw’okulaba Yesu ng’azuukiziddwa, Yakobo yali mukakafu nti Yesu ye Masiya. Mu butuufu, awo nga mu mwaka gwa 55 .E. omutume Pawulo we yawandiikira ebbaluwa eno, bangi ku abo abaalaba Yesu ng’azuukiziddwa baali bakyali balamu ne kiba nti omuntu yenna eyandibadde n’okubuusabuusa yandibadde abuuza abantu abo.

9. Kiki Ebikolwa 9:3-5 kye wagamba ekiraga nti ne Pawulo yali asobola okuwa obukakafu nti Yesu yazuukizibwa?

9 Oluvannyuma ne Pawulo kennyini Yesu yamulabikira. (1 Kol. 15:8) Pawulo (Sawulo) yali mu kkubo ng’agenda e Ddamasiko we yawulirira eddoboozi lya Yesu eyali azuukiziddwa era n’amulaba mu kwolesebwa mu kitiibwa eky’omu ggulu. (Soma Ebikolwa 9:3-5.) Ebyo Pawulo bye yalaba ne bye yawulira byayongera okuwa obukakafu nti ddala Yesu yazuukizibwa.​—Bik. 26:12-15.

10. Obukakafu Pawulo bwe yalina nti Yesu yazuukizibwa bwamuleetera kukola ki?

10 Abantu abamu bateekwa okuba nga baakwatibwako nnyo ebyo Pawulo bye yali ababuulira olw’okuba Yesu bwe yali tannalabikira Pawulo, Pawulo yalinga ayigganya Abakristaayo. Pawulo bwe yamala okuba omukakafu nti Yesu yazuukizibwa, yafuba nnyo okulaba nti amazima ago agategeezako abalala. Yagumira okukubibwa, okusibibwa mu kkomera, okumenyekamenyeka kw’eryato, bwe yali ng’afuba okubuulira abalala nti Yesu yazuukizibwa. (1 Kol. 15:9-11; 2 Kol. 11:23-27) Pawulo yali mukakafu nnyo nti Yesu yazuukizibwa mu bafu ne kiba nti yali mwetegefu okufa ng’alwanirira ekyo kye yali akkiririzaamu. Obujulizi obwo bwe tulabye tebukukakasa nti ddala Yesu yazuukizibwa mu bafu? Tebwongera okunyweza essuubi ly’olina mu kuzuukira?

ATEREEZA ENDOWOOZA ENKYAMU

11. Kiki ekiyinza okuba nga kye kyaviirako abamu mu Kkolinso okuba n’endowooza enkyamu ku kuzuukira?

11 Abamu mu kibuga ky’Abayonaani eky’e Kkolinso baalina endowooza enkyamu ku kuzuukira. Abamu baali bagamba n’okugamba nti “teri kuzuukira kw’abafu.” Lwaki? (1 Kol. 15:12) Abafirosoofo mu kibuga ekirala eky’Abayonaani eky’e Asene baali bajerega abo abaali bagamba nti Yesu yazuukizibwa. Abantu abamu mu Kkolinso bayinza okuba nga baali bafunye endowooza ng’eyo. (Bik. 17:18, 31, 32) Abamu bayinza okuba nga baali balowooza nti okuzuukira kubaawo mu ngeri ya kabonero, kwe kugamba, nti omuntu bwe yabanga tannafuuka Mukristaayo yabanga “mufu”, naye nti oluvannyuma lw’okufuuka Omukristaayo yabanga “alamuse” olw’okuba yabanga asonyiyiddwa ebibi bye. K’ebe nsonga ki gye baalina, okugamba nti okuzuukira tekuliiyo kyali kiraga nti okukkiriza kwabwe kwali kwa bwereere. Bwe kiba nti Katonda teyazuukiza Yesu, kyandibadde kitegeeza nti tewali kinunulo kyasasulwa, era nti abantu bonna baasigala mu kibi kyabwe. N’olwekyo abo abaali batakkiririza mu kuzuukira tebaalina ssuubi lyonna.​—1 Kol. 15:13-19; Beb. 9:12, 14.

12. Nga bwe kiragibwa mu 1 Peetero 3:18, 22, okuzuukira kwa Yesu kwayawukana kutya ku kuzuukira okwasooka okukwe?

12 Pawulo yali akimanyidde ddala nti “Kristo [yali] yazuukizibwa mu bafu.” Okuzuukira kwa Yesu kwali kusinga okwo okwali kubaddewo ng’okukwe tekunnabaawo, kubanga abantu abo abaazuukizibwa baddamu ne bafa. Pawulo yagamba nti Yesu “bye bibala ebibereberye eby’abo abaafa.” Mu ngeri ki Yesu gye yali ebibala ebibereberye? Ye muntu eyasooka okufa n’azuukizibwa n’omubiri ogw’omwoyo, era ye yasooka okuzuukizibwa n’agenda mu ggulu.​—1 Kol. 15:20; Bik. 26:23; soma 1 Peetero 3:18, 22.

ABO ABAJJA ‘OKUFUULIBWA ABALAMU’

13. Njawulo ki Pawulo gye yalaga eriwo wakati wa Adamu ne Yesu?

13 Okufa kw’omuntu omu kwandisobozesezza kutya obukadde n’obukadde bw’abantu okufuna obulamu? Pawulo yaddamu ekibuuzo ekyo. Yalaga enjawulo eriwo wakati w’ekyo Yesu kye yaleetera abantu, n’ekyo abantu kye basobola okufuna okuyitira mu Kristo. Ng’ayogera ku Adamu, Pawulo yagamba nti: ‘Okufa kwayitira mu muntu.’ Adamu bwe yayonoona yeereetera emitawaana era n’agireetera ne bazzukulu be. Tukyayolekagana n’ebintu ebibi ebyava mu bujeemu bwa Adamu. Naye olw’okuba Katonda yazuukiza Omwana we, tusobola okuba n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi. “Okuzuukira kw’abafu nakwo kuyitira mu muntu,” ng’ono ye Yesu. Pawulo yagamba nti: “Nga bonna bwe bafiira mu Adamu era bonna bajja kufuulibwa balamu mu Kristo.”​—1 Kol. 15:21, 22.

14. Adamu alizuukizibwa? Nnyonnyola.

14 Kiki Pawulo kye yali ategeeza bwe yagamba nti ‘bonna baafiira mu Adamu’? Pawulo yali ategeeza bazzukulu ba Adamu abaasikira ekibi n’obutali butuukirivu okuva ku Adamu era bwe batyo ne baba nga nabo bafa. (Bar. 5:12) Adamu tali omu ku abo ‘abajja okufuulibwa abalamu.’ Adamu taganyulwa mu kinunula kya Kristo kubanga yali muntu atuukiridde eyajeemera Yakuwa mu bugenderevu. Ekyatuuka ku Adamu kye kijja okutuuka ne ku abo “Omwana w’omuntu” b’ajja okulamula nti “mbuzi,” kwe kugamba, bajja kugenda “mu kufa okw’olubeerera.”​—Mat. 25:31-33, 46; Beb. 5:9.

Mu bonna abalina essuubi ery’okuzuukira okugenda mu ggulu, Yesu ye yasooka okuzuukira. (Laba akatundu 15-16) *

15. Baani abazingirwa mu ‘bonna abajja okufuulibwa abalamu’?

15 Weetegereze nti Pawulo yagamba nti “bonna bajja kufuulibwa balamu mu Kristo.” (1 Kol. 15:22) Ebbaluwa eyo Pawulo yagiwandiikira Abakristaayo abaafukibwako amafuta abaali mu Kkolinso abandizuukiziddwa ne bagenda mu ggulu. Abakristaayo abo ‘baatukuzibwa mu Kristo Yesu, era baayitibwa okuba abatukuvu.’ Ate era Pawulo yayogera ku “abo abaafa nga bali mu Kristo.” (1 Kol. 1:2; 15:18; 2 Kol. 5:17) Mu bbaluwa endala Pawulo yagamba nti abo ‘abagattiddwa wamu ne Yesu mu kufa okulinga okukwe era bajja kugattibwa wamu naye mu kuzuukira okulinga okukwe.’ (Bar. 6:3-5) Yesu yazuukizibwa n’omubiri ogw’omwoyo n’agenda mu ggulu. Bwe kityo bwe kijja okuba eri abo bonna ‘abali mu Kristo,’ kwe kugamba, Abakristaayo bonna abaafukibwako omwoyo omutukuvu.

16. Pawulo yali ategeeza ki bwe yayita Yesu ‘ebibala ebibereberye’?

16 Pawulo yawandiika nti Kristo bwe yazuukizibwa ye yali ‘ebibala ebibereberye eby’abo abaafa.’ Kijjukire nti waliwo n’abalala, gamba nga Laazaalo, abaazuukizibwa ne baddamu okuba abalamu wano ku nsi. Naye Yesu ye yasooka okuzuukizibwa mu bafu n’omubiri ogw’omwoyo n’aweebwa obulamu obutaggwaawo. Yali asobola okugeraageranyizibwa ku bibala ebibereberye Abayisirayiri bye baawangayo eri Katonda. Ate era mu kuyita Yesu ‘ebibala ebibereberye,’ Pawulo yali ategeeza nti n’abalala nabo oluvannyuma bandizuukiziddwa ne bagenda mu ggulu. Okufaananako Yesu, abatume n’abalala ‘abali mu Kristo’ nabo oluvannyuma bandizuukiziddwa ne bagenda okubeera mu ggulu.

17. Abo ‘abali mu Kristo’ bandizuukiziddwa ddi okugenda mu ggulu?

17 Pawulo we yawandiikira Abakkolinso ebbaluwa, okuzuukizibwa kw’abo ‘abali mu Kristo’ oba ‘abali obumu ne Kristo,’ abajja okugenda mu ggulu, kwali tekunnatandika. Pawulo yalaga nti kwandibaddewo mu biseera bya mu maaso. Yagamba nti: “Buli omu mu kiti kye; Kristo ebibala ebibereberye, oluvannyuma abo aba Kristo mu kiseera ky’okubeerawo kwe.” (1 Kol. 15:23; 1 Bas. 4:15, 16) Leero tuli mu kiseera ekyo kye yayogerako ‘eky’okubeerawo kwa Kristo.’ Abatume n’Abakristaayo abalala abaafukibwako amafuta abaafa, baalina okulindirira okutuusa mu kiseera eky’okubeerawo kwa Kristo balyoke bafune empeera yaabwe ey’omu ggulu, era ‘bagattibwe wamu ne Yesu mu kuzuukira okulinga okukwe.’

ESSUUBI LY’OLINA KKAKAFU!

18. (a) Lwaki tusobola okugamba nti eriyo okuzuukira okulala okujja okuddirira okw’abo abagenda mu ggulu? (b) Okusinziira ku 1 Abakkolinso 15:24-26, kiki ekijja okubaawo mu ggulu?

18 Ate bo Abakristaayo bonna abeesigwa abatalina ssuubi lya kubeera wamu ne Kristo mu ggulu? Nabo balina essuubi ery’okuzuukira. Bayibuli egamba nti Pawulo n’abalala abagenda mu ggulu bali mu “kuzuukira okusooka.” (Baf. 3:11) Ekyo kiraga nti waliyo okuzuukira okulala okuddirira okwo. Ekyo kikwatagana n’ekyo Yobu kye yayogera ku biseera bye eby’omu maaso. (Yob. 14:15) Abo “aba Kristo mu kiseera ky’okubeerawo kwe” bajja kuba wamu ne Kristo mu ggulu bw’anaaba aggyawo obufuzi bwonna, obuyinza bwonna, n’amaanyi gonna. ‘N’omulabe asembayo, nga kwe kufa,’ ajja kuggibwawo. Abo bonna abazuukizibwa ne bagenda mu ggulu tebaliddamu kufa. Ate bo abalala?​—Soma 1 Abakkolinso 15:24-26.

19. Kiki abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi kye basaanidde okusuubira?

19 Kiki abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi kye basaanidde okusuubira? Ebigambo bya Pawulo bibawa essuubi. Yagamba nti: “Nnina essuubi . . . nti wajja kubaawo okuzuukira kw’abatuukirivu n’abatali batuukirivu.” (Bik. 24:15) Kya lwatu nti tewali muntu atali mutuukirivu ayinza okugenda mu ggulu. N’olwekyo ebigambo ebyo byali bisonga ku kuzuukira okujja okubaawo ku nsi.

Bwe tuba nga tukkiririza mu kuzuukira tuba twesunga ebiseera eby’omu maaso (Laba akatundu 20) *

20. Essuubi lyo lyeyongedde litya okunywezebwa?

20 Tewali kubuusabuusa nti “wajja kubaawo okuzuukira”! Abo abajja okuzuukizibwa ku nsi bajja kuba n’essuubi ery’okubeerawo emirembe gyonna. Osobola okwesiga ekisuubizo kya Katonda ekyo. Essuubi eryo lisobola okukubudaabuda bw’olowooza ku bantu bo abaafa. Basobola okuzuukizibwa mu kiseera Kristo n’abalala lwe bajja okufuga “nga bakabaka okumala emyaka 1,000.” (Kub. 20:6) Naawe osobola okuba n’essuubi nti singa ofa ng’ekiseera eky’Obufuzi obw’Emyaka Olukumi tekinnatuuka, ojja kuzuukira. Essuubi eryo lya nnamaddala. (Bar. 5:5) Lisobola okukunyweza kati n’okukusobozesa okweyongera okuba omusanyufu ng’oweereza Katonda. Naye ng’ekitundu ekiddako bwe kiraga, waliwo ebirala bye tuyiga mu 1 Abakkolinso essuula 15.

OLUYIMBA 147 Katonda Atusuubizza Obulamu Obutaggwaawo

^ lup. 5 Abakkolinso Ekisooka essuula 15 eyogera ku kuzuukira. Lwaki enjigiriza ekwata ku kuzuukira nkulu gye tuli, era lwaki tusobola okuba abakakafu nti Yesu yazuukira? Ekitundu kino kigenda kuddamu ebibuuzo ebyo n’ebibuuzo ebirala ebikulu ebikwata ku kuzuukira.

^ lup. 56 EBIFAANANYI: Yesu ye yasooka okutwalibwa mu ggulu. (Bik. 1:9) Abamu ku bagoberezi be abandimwegasseeko oluvannyuma mwe muli Tomasi, Yakobo, Lidiya, Yokaana, Maliyamu, ne Pawulo.

^ lup. 58 EBIFAANANYI: Ow’oluganda eyafiirwa mukyala we gwe yali amaze naye ekiseera kiwanvu nga baweereza Yakuwa. Mukakafu nti mukyala we ajja kuzuukira, era akyeyongera okuweereza Yakuwa n’obwesigwa.