Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 50

“Abafu Banaazuukira Batya?”

“Abafu Banaazuukira Batya?”

“Ggwe Okufa, obuwanguzi bwo buli wa? Ggwe Okufa, obulumi bwo buli wa?”​—1 KOL. 15:55.

OLUYIMBA 141 Obulamu Kyamagero

OMULAMWA *

1-2. Lwaki Abakristaayo bonna basaanidde okumanya ebikwata ku kuzuukizibwa kw’abo abagenda mu ggulu?

ABANTU abasinga obungi leero abaweereza Yakuwa balina essuubi ery’okubeera ku nsi emirembe gyonna. Naye Abakristaayo abatonotono abaafukibwako amafuta abakyasigaddewo, bo balina essuubi ery’okuzuukizibwa bagende mu ggulu. Abakristaayo abaafukibwako amafuta baagala nnyo okumanya obulamu bwabwe bwe buliba mu biseera eby’omu maaso. Naye ate abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi? Nga bwe tugenda okulaba, okuzuukizibwa kw’abo abagenda mu ggulu kujja kuviirako n’abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi okufuna emikisa. N’olwekyo, ka tube nga tulina ssuubi rya kugenda mu ggulu oba lya kubeera ku nsi, ffenna tusaanidde okumanya ebikwata ku kuzuukira kw’abo abagenda mu ggulu.

2 Katonda yaluŋŋamya abamu ku bayigirizwa ba Yesu mu kyasa ekyasooka okuwandiika ebikwata ku kuzuukizibwa kw’abo abagenda mu ggulu. Omutume Yokaana yagamba nti: “Kati tuli baana ba Katonda, naye kye tuliba tekinnamanyika. Naye tumanyi nti bw’alirabisibwa tujja kubeera nga ye.” (1 Yok. 3:2) N’olwekyo Abakristaayo abaafukibwako amafuta tebamanyidde ddala bwe baliba nga bamaze okuzuukizibwa ne bagenda mu ggulu era nga balina emibiri egy’omwoyo. Naye bwe banaagenda mu ggulu, bajja kulabira ddala Yakuwa. Bayibuli tetubuulira buli kimu ekikwata ku kuzuukizibwa kw’abo abagenda mu ggulu, naye omutume Pawulo alina bye yawandiika ku kuzuukizibwa okwo. Abaafukibwako amafuta abo bajja kuba wamu ne Kristo ‘bw’anaggyawo obufuzi bwonna, obuyinza bwonna, n’amaanyi gonna.’ Omwo mwe mujja n’okuba ‘omulabe alisembayo okuggibwawo, nga kwe kufa.’ Oluvannyuma, Yesu awamu n’abo b’agenda okufuga nabo, bajja kwessa wansi wa Yakuwa, era ebintu byonna bijja kuba wansi wa Yakuwa. (1 Kol. 15:24-28) Ekyo nga kijja kuba kiseera kirungi nnyo! *

3. Nga bwe kiragibwa mu 1 Abakkolinso 15:30-32, okuba nti Pawulo yali akkiririza mu kuzuukira kyamusobozesa kukola ki?

3 Okuba nti Pawulo yali akkiririza mu kuzuukira kyamusobozesa okugumira ebizibu ebitali bimu. (Soma 1 Abakkolinso 15:30-32.) Yagamba Abakkolinso nti: “Buli lunaku njolekagana n’okufa.” Ate era yagamba nti: “Nnalwana n’ensolo mu Efeso.” Oboolyawo yali ayogera ku kulwanira ddala n’ensolo mu kifo awaalabirwanga emizannyo mu Efeso. (2 Kol. 1:8; 4:10; 11:23) Oba ayinza okuba nga yali ayogera ku Bayudaaya, oba abalala abaali bamuyigganya abaali ‘ng’ensolo.’ (Bik. 19:26-34; 1 Kol. 16:9) Ka kibe ki kye yali ategeeza, Pawulo yayolekagana n’ebizibu eby’amaanyi, naye n’asigala ng’alina essuubi erinywevu erikwata ku biseera eby’omu maaso.​—2 Kol. 4:16-18.

Ab’omu maka agamu ababeera mu nsi omulimu gwaffe gye gukugirwa, beeyongera okusinza Yakuwa nga bakakafu nti Yakuwa ajja kubawa emikisa (Laba akatundu 4)

4. Essuubi erikwata ku kuzuukira linywezezza litya Abakristaayo leero? (Laba ekifaananyi ku ddiba.)

4 Ebiseera bye tulimu bizibu nnyo. Abamu ku baganda baffe bakoseddwa olw’obumenyi bw’amateeka obuliwo. Abalala babeera mu bitundu omuli entalo era ng’obulamu bwabwe buli mu kabi. Ate abalala baweerereza Yakuwa mu nsi omulimu gw’okubuulira gye gukugirwa oba gye gwawerebwa. Kyokka beeyongera okumuweereza wadde nga bayinza okusibibwa oba okuttibwa. Baganda baffe abo batuteereddewo ekyokulabirako kirungi nnyo. Bakakafu nti ne bwe bafiirwa obulamu bwabwe mu kiseera kino, Yakuwa ajja kubawa ekintu ekisingawo obulungi mu biseera eby’omu maaso.

5. Ndowooza ki enkyamu esobola okunafuya okukkiriza kwe tulina mu kuzuukira?

5 Pawulo yalabula bakkiriza banne ku ndowooza enkyamu abamu gye baalina. Baali bagamba nti: “Bwe kiba nti abafu tebajja kuzuukizibwa, ‘ka tulye era tunywe, kubanga enkya tujja kufa.’” Mu butuufu endowooza eyo yaliwo nga n’ekiseera kya Pawulo tekinnatuuka. Pawulo ayinza okuba nga yali ajuliza Isaaya 22:13, awalaga endowooza Abayisirayiri gye baalina. Mu kifo ky’okusemberera Katonda, baasalawo kwemalira ku bya masanyu. Abayisirayiri abo baalina endowooza egamba nti, “leero weetuli, enkya tuvaawo,” era ne leero abantu bangi balina endowooza eyo. Naye Bayibuli eraga nti Abayisirayiri okuba n’endowooza eyo kyabaviiramu emitawaana mingi.​—2 Byom. 36:15-20.

6. Essuubi lye tulina erikwata ku kuzuukira lyandikutte litya ku mikwano gye tulonda?

6 Okuba nti tukkiriza nti Yakuwa ajja kuzuukiza abafu, kisaanidde okukwata ku ngeri gye tulondamu abo be tufuula mikwano gyaffe. Ab’oluganda mu Kkolinso baalina okwegendereza obutakola mikwano n’abo abaali batakkiririza mu kuzuukira. Ekyo kituyigiriza ekintu kino ekikulu: Tewali kalungi kayinza kuva mu kukola mikwano n’abantu abalina endowooza egamba nti ‘tusanyuke leero, kubanga enkya tetuliiwo.’ Okufuula abantu ng’abo mikwano gyaffe, kisobola okwonoona endowooza yaffe n’okutunafuya mu by’omwoyo. Mu butuufu, kiyinza okutuviiramu okutandika okukola ebintu Katonda by’akyawa. Eyo ye nsonga lwaki omutume Pawulo yagamba nti: “Muddeemu amagezi mukole eby’obutuukirivu era temutambuliranga mu kibi.”​—1 Kol. 15:33, 34.

MUBIRI GWA NGERI KI?

7. Nga bwe kiragibwa mu 1 Abakkolinso 15:35-38, kibuuzo ki ekikwata ku kuzuukira abamu kye bayinza okuba nga baali babuuza?

7 Soma 1 Abakkolinso 15:35-38. Omuntu eyali ayagala okuleetera abalala okubuusabuusa nti eriyo okuzuukira, yali ayinza okubuuza nti: “Abafu banaazuukira batya?” Tusaanidde okwekenneenya engeri Pawulo gye yaddamu ekibuuzo ekyo, kubanga abantu bangi leero balina endowooza za njawulo ku ekyo ekituuka ku muntu ng’amaze okufa. Bayibuli eyigiriza ki ku nsonga eyo?

Ng’akozesa ekyokulabirako ky’ensigo n’ekimera, Pawulo yalaga nti Katonda asobola okuwa abo abazuukizibwa omubiri ogusaana (Laba akatundu 8)

8. Kyakulabirako ki ekisobola okutuyamba okutegeera ebikwata ku kuzuukira kw’abo abagenda mu ggulu?

8 Omuntu bw’afa, omubiri gwe guvunda. Oyo eyasobozesa ensi n’obwengula okubaawo, asobola okuzuukiza omuntu n’amuwa omubiri ogusaana. (Lub. 1:1; 2:7) Pawulo yakozesa ekyokulabirako okulaga nti Katonda tekimwetaagisa kukomyawo mubiri gwe gumu omuntu gwe yalina nga tannafa. Lowooza ku ‘mpeke enjereere’ oba “ensigo.” Ensigo bw’esimbibwa mu ttaka, emera, n’efuuka ekimera ekiggya. Ekimera ekyo kiba kya njawulo ku nsigo eyo. Pawulo yakozesa ekyokulabirako ekyo okulaga nti Omutonzi waffe asobola ‘okuwa omuntu omubiri nga bw’aba ayagadde.’

9. Kiki 1 Abakkolinso 15:39-41 kye woogera ku bika by’emibiri egy’enjawulo?

9 Soma 1 Abakkolinso 15:39-41. Pawulo yalaga nti ebitonde birina emibiri gya njawulo. Ng’ekyokulabirako, waliwo emibiri egy’ennyama egy’enjawulo, gamba ng’egy’ente, egy’ebinyonyi, n’egy’ebyennyanja. Yagamba nti, ku ggulu tulaba enjawulo eriwo wakati w’enjuba n’omwezi. Ate era yagamba nti, “ekitiibwa ky’emmunyeenye emu tekyenkana na kya mmunyeenye ndala.” Ekyo kituufu ddala ne bwe kiba nti tetusobola kukiraba na maaso gaffe. Bannassaayansi bagamba nti waliwo ebika by’emmunyeenye eby’enjawulo, ezimu nnene, endala ntono, ezimu mmyufu, endala njeru, ate endala za kyenvu, gamba ng’enjuba yaffe. Pawulo era yagamba nti, “waliwo emibiri egy’omu ggulu n’emibiri egy’oku nsi.” Yali ategeeza ki? Ku nsi tulina mibiri gya nnyama, naye abali mu ggulu, gamba nga bamalayika, balina mibiri gya mwoyo.

10. Abo abazuukizibwa okugenda mu ggulu baba na mubiri ki?

10 Weetegereze ekyo Pawulo kye yazzaako okwogera: “Bwe kityo bwe kiri ne ku kuzuukira kw’abafu. Gusigibwa mu kuvunda; guzuukizibwa mu butavunda.” Kya lwatu nti omuntu bw’afa, omubiri gwe guvunda, ne gufuuka enfuufu. (Lub. 3:19) Kati olwo kijja kitya okuba nti omubiri “guzuukizibwa mu butavunda”? Pawulo yali tayogera ku bantu abazuukizibwa okubeera ku nsi, gamba ng’abo abaazuukizibwa Eriya, Erisa, ne Yesu. Pawulo yali ayogera ku abo abazuukizibwa n’omubiri ogw’omu ggulu, kwe kugamba, omubiri “ogw’omwoyo.”​—1 Kol. 15:42-44.

11-12. Nkyukakyuka ki eyaliwo ku Yesu bwe yazuukizibwa, era nkyukakyuka ki efaananako eyo ebaawo ku baafukibwako amafuta?

11 Yesu bwe yali ku nsi, yalina mubiri gwa nnyama, naye bwe yazuukizibwa, “yafuuka omwoyo oguwa obulamu” n’addayo mu ggulu. Abaafukibwako amafuta nabo bandizuukiziddwa n’omubiri ogw’omwoyo. Pawulo yagamba nti: “Nga bwe twayambala ekifaananyi ky’oyo eyakolebwa mu nfuufu, era tujja kwambala ekifaananyi ky’oyo ow’omu ggulu.”​—1 Kol. 15:45-49.

12 Kikulu okukijjukira nti Yesu teyazuukizibwa na mubiri ng’ogw’abantu. Pawulo yalaga ensonga lwaki kiri kityo bwe yagamba nti “omubiri n’omusaayi tebisobola kusikira Bwakabaka bwa Katonda” mu ggulu. (1 Kol. 15:50) Abatume n’abalala abaafukibwako amafuta tebandizuukiziddwa kugenda mu ggulu na mibiri egivunda egy’ennyama n’omusaayi. Bandizuukiziddwa ddi? Pawulo yakiraga nti okuzuukizibwa kuno kwali kukyali kwa mu biseera bya mu maaso; baali tebagenda kuzuukiririzibwawo nga baakafa. Pawulo we yawandiikira ebbaluwa ya 1 Abakkolinso, abamu ku bayigirizwa ba Yesu baali “beebaka mu kufa,” gamba ng’omutume Yakobo. (Bik. 12:1, 2) Abatume abalala n’Abakristaayo abamu abaafukibwako amafuta nabo baali bagenda kusooka ‘beebake mu kufa.’​—1 Kol. 15:6, obugambo obuli wansi.

OKUFA KUWANGULWA

13. Biki ebyandibaddewo mu kiseera ‘ky’okubeerawo’ kwa Yesu?

13 Pawulo ne Yesu baayogera ku kiseera eky’enjawulo ennyo mu byafaayo, nga kuno kwe kubeerawo kwa Kristo. Mu kiseera ekyo wandibaddewo entalo, musisi, endwadde ez’amaanyi, n’ebintu ebirala ebibi mu nsi. Obunnabbi obwo tubulabye nga butuukirizibwa okuva mu 1914. Ate era waliwo n’ekintu ekirala ekikulu ekyandibaddewo. Yesu yagamba nti, amawulire amalungi agalaga nti Obwakabaka bwa Katonda bufuga, gandibuuliddwa “mu nsi yonna okuba obujulirwa eri amawanga gonna, olwo enkomerero n’eryoka ejja.” (Mat. 24:3, 7-14) Pawulo yakiraga nti ekiseera ‘ky’okubeerawo kwa Mukama waffe,’ era kye kiseera Abakristaayo abaafukibwako amafuta abaali ‘beebaka mu kufa,’ mwe bandizuukiriziddwa.​—1 Bas. 4:14-16, obugambo obuli wansi; 1 Kol. 15:23.

14. Kiki ekibaawo ku baafukibwako amafuta abafa mu kiseera ky’okubeerawo kwa Kristo?

14 Abaafukibwako amafuta abafa mu kiseera kino, bazuukiririzibwawo ne bagenda mu ggulu. Kino kiragibwa mu bigambo bya Pawulo ebiri mu 1 Abakkolinso 15:51, 52. Yagamba nti: “Ffenna tetujja kwebaka mu kufa, naye ffenna tujja kukyusibwa, mu kaseera buseera, ng’okutemya n’okuzibula, ekkondeere erisembayo bwe lirivuga.” Ebigambo bya Pawulo ebyo bituukirizibwa mu kiseera kino! Baganda ba Kristo abo bwe bamala okuzuukizibwa, bafuna essanyu lingi; ‘babeera ne Mukama waffe.”​—1 Bas. 4:17.

Abo abakyusibwa mu kaseera buseera “ng’okutemya n’okuzibula” bajja kukolera wamu ne Yesu okuzikiriza ababi bonna ku nsi (Laba akatundu 15)

15. Mulimu ki abo abakyusibwa mu kaseera buseera, “ng’okutemya n’okuzibula” gwe bajja okukola?

15 Bayibuli eraga omulimu abo abakyusibwa mu kaseera buseera “ng’okutemya n’okuzibula” gwe bajja okukola mu ggulu. Yesu yabagamba nti: “Oyo awangula n’anywerera ku bikolwa byange okutuukira ddala ku nkomerero, ndimuwa obuyinza ku mawanga, nga nange bwe nnabufuna okuva eri Kitange, era alirunda abantu n’omuggo ogw’ekyuma baatikeyatike ng’ebibya eby’ebbumba.” (Kub. 2:26, 27) N’olwekyo, bajja kugoberera Omuduumizi waabwe, balunde amawanga n’omuggo ogw’ekyuma.​—Kub. 19:11-15.

16. Obukadde n’obukadde bw’abantu banaawangula batya okufa?

16 Mazima ddala abaafukibwako amafuta bajja kuwangula okufa. (1 Kol. 15:54-57) Okuzuukizibwa kwabwe kujja kubasobozesa okwenyigira mu kumalawo ebintu ebibi byonna ku nsi ku lutalo lwa Amagedoni olujja. Abakristaayo abalala bukadde na bukadde bajja ‘kuyita mu kibonyoobonyo ekinene’ bayingire mu nsi empya. (Kub. 7:14) Bajja kulaba ekintu ekirala ekijja okuviirako okufa okuwangulwa, nga kwe kuzuukizibwa kw’obuwumbi n’obuwumbi bw’abantu abaafa. Lowooza ku ssanyu lye tujja okuba nalyo ng’obuwanguzi obwo bubaddewo! (Bik. 24:15) Era abo bonna abajja okusigala nga beesigwa eri Yakuwa bajja kuwangula okufa kwe twasikira okuva ku Adamu. Bajja kubeera balamu emirembe gyonna.

17. Nga bwe kiragibwa mu 1 Abakkolinso 15:58 kiki kye tusaanidde okukola kati?

17 Mazima ddala ebyo ebikwata ku kuzuukira Pawulo bye yawandiikira Abakkolinso, bizzaamu buli Mukristaayo aliwo leero amaanyi. N’olwekyo nga Pawulo bwe yatukubiriza, tusaanidde okuba n’eby’okukola bingi “mu mulimu gwa Mukama waffe.” (Soma 1 Abakkolinso 15:58.) Bwe tunyiikirira omulimu ogwo, tujja kuba n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi ennyo. Obulamu mu kiseera ekyo bujja kuba bulungi nnyo okusinga ekintu kyonna kye tuyinza okulowoozaako. Tujja kukiraba nti okufuba kwaffe tekwali kwa bwereere mu Mukama waffe.

OLUYIMBA 140 Obulamu Obutaggwaawo Butuuse!

^ lup. 5 Ekitundu eky’okubiri ekya 1 Abakkolinso essuula 15 kyogera ku kuzuukira naddala okw’Abakristaayo abaafukibwako amafuta. Naye ebyo Pawulo bye yawandiika bikwata ne ku b’endiga endala. Ekitundu kino kiraga engeri essuubi ery’okuzuukira gye likwata ku bulamu bwaffe n’engeri gye litusobozesa okwesunga ebiseera eby’omu maaso.

^ lup. 2 Ekitundu “Ebibuuzo Ebiva mu Basomi” mu magazini eno, kinnyonnyola ebigambo bya Pawulo ebiri mu 1 Abakkolinso 15:29.