Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Engero 24:16 wagamba nti: “Omutuukirivu ayinza okugwa emirundi musanvu, naye addamu n’ayimuka.” Ekyawandiikibwa kino kyogera ku muntu akola ekibi enfunda n’enfunda Katonda n’amusonyiwa?

Olunyiriri olwo ekyo si kye lutegeeza. Lwogera ku muntu afuna ebizibu eby’omuddiriŋŋanwa, naye n’asobola okubigumira.

Lowooza ku lunyiriri olwo n’eziruliraanye. Zigamba nti: “Toba ng’omuntu omubi n’oteega okumenya ennyumba y’omutuukirivu; tosaanyaawo kifo ky’abeeramu. Omutuukirivu ayinza okugwa emirundi musanvu, naye addamu n’ayimuka, naye omubi yeesittala ng’afunye ekizibu. Omulabe wo bw’agwa, tosanyukanga, era bwe yeesittala, omutima gwo tegujaganyanga.”​—Nge. 24:15-17.

Abamu bagamba nti olunyiriri 16 lwogera ku muntu akola ekibi, naye ne yeenenya n’addamu okufuna enkolagana ennungi ne Katonda. Abakulu b’amadiini babiri ab’omu Bungereza baagamba nti, “ababuulizi bangi ab’edda n’ab’omu kiseera kyaffe, bwe batyo bwe bannyonnyola olunyiriri 16.” Abakulu b’amadiini abo era baagamba nti, ennyinnyonnyola ng’eyo eba eraga nti, “omuntu omulungi asobola okukola ebibi eby’amaanyi, naye n’asigala ng’ayagala Katonda era nga ne Katonda amwagala, kasita yeenenya.” Endowooza ng’eyo esobola okusanyusa omuntu aba tayagala kulwanyisa kibi. Ayinza okulowooza nti ne bw’akola ekibi enfunda n’enfunda, Katonda ajja kumusonyiwa.

Naye olunyiriri 16, ekyo si kye lutegeeza.

Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekyavvuunulwa “okugwa” mu lunyiriri 16 ne 17 kisobola okukozesebwa mu ngeri ezitali zimu. Kisobola okutegeeza okugwa okwa bulijjo. Ng’ekyokulabirako, ente egwa ku kkubo, omuntu awanuka ku nnyumba n’agwa, ejjinja ligwa wansi. (Ma. 22:4, 8; Am. 9:9) Ate era ekigambo ekyo kisobola okukozesebwa mu ngeri ey’akabonero, gamba nga mu nnyiriri zino ezigamba nti: “Yakuwa bw’asanyukira amakubo g’omuntu, amulaga bw’alina okutambula. Ne bw’aneesittala tajja kugwa wansi, kubanga Yakuwa amukwata ku mukono n’amuwanirira.”​—Zab. 37:23, 24; Nge. 11:5; 13:17; 17:20.

Naye lowooza ku kino Profesa ayitibwa Edward H. Plumptre kye yagamba: “Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekyavvuunulwa [“okugwa”] tekirina we kikozesebwa okutegeeza omuntu akola ekibi.” N’olwekyo, omwekenneenya wa Bayibuli omulala annyonnyola bw’ati olunyiriri 16: “Kuba kumala biseera okuyisa obubi abantu ba Katonda, kubanga bulijjo batuuka ku buwanguzi​—naye si bwe kiri eri ababi!”

N’olwekyo, “okugwa” okwogerwako mu Engero 24:16 tekutegeeza ‘kugwa’ mu kibi, wabula kutegeeza okufuna ebizibu eby’omuddiriŋŋanwa. Mu nsi ya Sitaani eno embi, omuntu omutuukirivu asobola okulwala oba asobola okufuna ebizibu ebirala. Ayinza n’okuyigganyizibwa ennyo gavumenti. Naye asigala yeesiga Katonda nti ajja kumuyamba era nti ajja kumuwanirira ng’ayolekagana n’ebizibu ebyo. Lowooza ku mirundi emeka ‘gy’olabye ng’ebintu bigendera bulungi abaweereza ba Katonda!’ Lwaki kiri kityo? Bayibuli etugamba nti: “Yakuwa awanirira abo bonna abagwa, era ayimusa abo abakutamye.”​—Zab. 41:1-3; 145:14-19.

“Omutuukirivu” tasanyuka olw’okuba abalala boolekagana n’ebizibu. Naye aba mugumu olw’okuba aba akimanyi nti, “abo abatya Katonda ow’amazima binaabagenderanga bulungi, olw’okuba bamutya.”​—Mub. 8:11-13; Yob. 31:3-6; Zab. 27:5, 6.