Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okyajjukira?

Okyajjukira?

Ofubye okusoma magazini z’Omunaala gw’Omukuumi ze tufunye mu mwaka guno? Laba obanga osobola okuddamu ebibuuzo bino wammanga:

Tusaanidde kuyisa tutya Abakristaayo abaafukibwako amafuta?

Wadde nga tukwatibwako nnyo olw’okukkiriza kwabwe, tetubatwala ng’ab’ekitalo. Twewala ‘okubawaanawaana.’ (Yud. 16) Tetubabuuza bibuuzo bitatukwatako ebikwata ku ssuubi lyabwe.​—w20.01, lup. 29.

Kiki ekikukakasa nti Yakuwa akufaako kinnoomu?

Bayibuli egamba nti yakulaba nga tonnazaalibwa. Awulira okusaba kwo. Amanyi by’olowooza n’ebiri mu mutima gwo, era by’okola bimukwatako. (1 Byom. 28:9; Nge. 27:11) Ate era yakusembeza gy’ali.​—w20.02, lup. 12.

Ddi lwe tusaanidde okwogera na ddi lwe tutasaanidde kwogera?

Tubuulira abalala ebikwata ku Yakuwa. Tuwabula omuntu bwe tumulaba ng’akwata ekkubo ekkyamu. Abakadde bawabula abalala bwe kiba nga kyetaagisa. Tetubuulira balala bikwata ku mulimu gwaffe mu nsi gye gwawerebwa era tetubabuuza bikwata ku mulimu ogwo. Tetubuulira balala bintu birina kukuumibwa nga bya kyama.​—w20.03, lup. 20-21.

Njawulo ki eriwo wakati w’enzige ezoogerwako mu Yoweeri essuula 2 n’ezo ezoogerwako mu Okubikkulirwa essuula 9?

Yoweeri 2:20-29 walaga nti Katonda agoba enzige ezo era n’asuubiza okusasula ebyo bye zaayonoona. Oluvannyuma Katonda afuka omwoyo gwe. Obunnabbi obwo bwatuukirizibwa Babulooni bwe yalumba Isirayiri era n’oluvannyuma nga wayiseewo ekiseera. Okubikkulirwa 9:1-11 woogera ku Bakristaayo abaafukibwako amafuta ab’omu kiseera kyaffe abalinga enzige abalangirira emisango Katonda gy’asalidde ensi ya Sitaani, era ekyo ne kimalako emirembe abo abali mu nsi ya Sitaani.​—w20.04, lup. 3-6.

Leero ani kabaka ow’ebukiikakkono?

Ye Russia n’amawanga agagiwagira. Galina ebintu eby’amaanyi bye gakoze abantu ba Katonda, gaweze omulimu gw’okubuulira, era galaze nti galina obukyayi eri Abajulirwa ba Yakuwa. Kabaka ow’ebukiikakkono abadde avuganya ne kabaka ow’ebukiikaddyo.​—w20.05, lup. 13.

Engeri omwenda ezoogerwako mu Abaggalatiya 5:22, 23 ze zokka eziri mu “kibala eky’omwoyo”?

Nedda. Omwoyo omutukuvu gutusobozesa okwoleka n’engeri endala ennungi, gamba ng’obutuukirivu. (Bef. 5:8, 9)​—w20.06, lup. 17.

Kabi ki akali mu kussa ebintu ebikukwatako ku mikutu emigattabantu?

Ebintu by’ossaako biyinza okuleetera abalala okulowooza nti weewaana, era nti toli mwetoowaze.​—w20.07, lup. 6-7.

Kiki ababuulizi kye bayinza okuyigira ku bavubi abalina obumanyirivu?

Abavubi bavuba mu kitundu ne mu kiseera mwe bamanyi nti bajja kukwasa ebyennyanja bingi. Bakozesa eby’okuvubisa ebituufu. Era bagumira embeera ezitali zimu. Naffe tusaanidde okuba nga bo nga tukola omulimu gw’okubuulira.​—w20.09, lup. 5.

Tuyinza tutya okuyamba abayizi baffe aba Bayibuli okwongera okwagala Yakuwa?

Tusaanidde okubakubiriza okusoma Bayibuli buli lunaku n’okufumiitiriza ku bye basoma. Era tusaanidde okubayigiriza okusaba.​—w20.11, lup. 4.

‘Bonna abajja okufuulibwa abalamu mu Kristo’ be baani?​—1 Kol. 15:22.

Omutume Pawulo yali tagamba nti abantu bonna bandizuukiziddwa. Yali ayogera ku Bakristaayo abaafukibwako amafuta, abo “abaatukuzibwa mu Kristo Yesu.” (1 Kol. 1:2; 15:18)​—w20.12, lup. 5-6.

Kiki Abakristaayo abaafukibwako amafuta kye bajja okukola oluvannyuma ‘lw’okukyusibwa ng’okutemya n’okuzibula, ekkondeere erisembayo bwe linaavuga’?​—1 Kol. 15:51-53.

Bajja kukolera wamu ne Kristo okulunda abantu n’omuggo ogw’ekyuma. (Kub. 2:26, 27)​—w20.12, lup. 12-13.