Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ddala Katonda Awulira Essaala Zo?

Ddala Katonda Awulira Essaala Zo?

Bw’osaba, olowooza Katonda aba akuwuliriza?

BAYIBULI KY’EGAMBA

  • Katonda akuwuliriza. Bayibuli egamba nti: “Yakuwa ali kumpi n’abo bonna abamukoowoola, abo bonna abamukoowoola mu mazima. . . . Awulira okuwanjaga kwabwe.”​—Zabbuli 145:18, 19.

  • Katonda ayagala omusabe. Bayibuli egamba nti: “Mu buli nsonga yonna mutegeezenga Katonda bye mwetaaga, nga musabanga, nga mwegayiriranga, era nga mwebazanga.”​—Abafiripi 4:6.

  • Katonda akufaako. Katonda amanyi byonna ebitweraliikiriza n’ebizibu bye tulina, era ayagala okutuyamba. Bayibuli egamba nti, ‘mumukwase byonna ebibeeraliikiriza kubanga abafaako.’​—1 Peetero 5:7.