Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Buli Omu Ayagala Okuba n’Ebiseera eby’Omu Maaso Ebirungi

Buli Omu Ayagala Okuba n’Ebiseera eby’Omu Maaso Ebirungi

Oyagala kuba mu bulamu bwa ngeri ki mu biseera eby’omu maaso? Okufaananako abantu abasinga obungi, oteekwa okuba ng’oyagala ggwe n’ab’omu maka go mube bulungi mu biseera eby’omu maaso, nga muli basanyufu, nga muli balamu bulungi, era nga muli mu mirembe.

Kyokka bangi babuusabuusa obanga ebiseera byabwe eby’omu maaso binaaba birungi. Balabye ebizibu eby’amaanyi ebigwaawo obugwi, gamba ng’ekirwadde kya COVID-19 ekikosezza ennyo abantu, ekigootaanyizza eby’enfuna, era ekisse abantu bangi. N’ekivuddemu, bangi batya nti ebiseera byabwe eby’omu maaso tebijja kuba birungi.

Olw’okuba tebamanyi biseera byabwe eby’omu maaso bwe binaaba, abantu bafubye nnyo okunoonya ebinaabayamba okuba n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi. Abamu bakozesa amaanyi agatali ga bulijjo okumanya ebinaabatuukako mu maaso. Ate abalala baluubirira obuyigirize obwa waggulu n’eby’obugagga nga balowooza nti bye bijja okubayamba. Abalala balowooza nti okweyisa obulungi kye kijja okubayamba okuba obulungi mu biseera eby’omu maaso.

Ku ebyo byonna ebyogeddwako, waliwo ekisobola okukuyamba okuba n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi? Ekyo okusobola okukimanya, ka tufune eby’okuddamu mu bibuuzo bino wammanga:

  • Ebiseera byo eby’omu maaso byesigamye ku ki?

  • Obuyigirize obwa waggulu ne ssente binaakuyamba okuba n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi?

  • Okweyisa obulungi kye kisobozesa omuntu okuba n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi?

  • Wa w’osobola okuggya amagezi aganaakuyamba okuba n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi?

Ebibuuzo ebyo bigenda kuddibwamu mu katabo kano.