Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okweyisa Obulungi Kye Kisobozesa Omuntu Okuba n’Ebiseera eby’Omu Maaso Ebirungi?

Okweyisa Obulungi Kye Kisobozesa Omuntu Okuba n’Ebiseera eby’Omu Maaso Ebirungi?

Okuviira ddala mu biseera eby’edda, abantu babadde n’endowooza egamba nti okweyisa obulungi kye kisobozesa omuntu okuba n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi. Ng’ekyokulabirako, abantu b’omu Asiya baali bakkiririza nnyo mu bigambo by’omusomesa omufirosoofo eyali ayitibwa Confucius (551-479 E.E.T.) eyagamba nti: “Ky’otayagala bakukole naawe tokikola balala.” *

EKINTU ABANTU BANGI KYE BAKOLA

Ne mu kiseera kino abantu bangi balowooza nti okweyisa obulungi kye kisobozesa omuntu okuba n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi. Bafuba okussa ekitiibwa mu bantu abalala, okuba n’empisa ennungi, okuba ab’obuvunaanyizibwa, n’okufuba okuba abeesimbu. Omukazi ayitibwa Linh, ow’omu Vietnam agamba nti: “Nnalowoozanga nti bwe nnandifubye okuba omwesigwa era omwesimbu, nnandibadde mu bulamu obulungi.”

Abamu bakola ebintu ebirungi olw’ebyo bye bayigirizibwa mu madiini gaabwe. Omusajja ayitibwa Hsu-Yun, abeera mu Taiwan agamba nti, “Nnayigirizibwa nti omuntu bw’aba nga yeeyisa bulungi, bw’afa agenda mu bulamu obweyagaza, ate bw’aba nga yeeyisa bubi bw’afa abonaabona.”

BIKI EBIVAAMU?

Kyo kituufu nti bwe tukolera abalala ebirungi tufuna emiganyulo mingi. Kyokka bangi abafuba okukolera abalala ebirungi bakizudde nti oluusi ebivaamu si bye baba basuubira. Omukazi ayitibwa Shiu Ping, abeera mu Hong Kong agamba nti: “Nnakiraba mu bulamu bwange nti abo abakolera abalala ebirungi oluusi tebafuna birungi. Nnafuba okufaayo ku b’omu maka gange n’okukola ebintu ebirungi. Naye omwami wange yandekawo nze ne mutabani wange, era obufumbo bwaffe bwasasika.”

Bangi bakirabye nti oluusi amadiini tegayamba bantu kweyisa bulungi. Omukazi abeera mu Japan ayitibwa Etsuko agamba nti, “Nnayingira eddiini emu era nga nze nkulira ekibiina ky’abavubuka. Kyokka nneewuunya nnyo okukiraba nti abantu abamu mu ddiini eyo baali beenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu, baali balwanira obukulu, era nga bakozesa bubi ssente ezaaweebwangayo.”

“Nnafuba okufaayo ku b’omu maka gange n’okukola ebintu ebirungi. Naye omwami wange yandekawo nze ne mutabani wange, era obufumbo bwaffe bwasasika.”​—SHIU PING, HONG KONG

Ate abantu abamu ababadde abanyiikivu mu ddiini baweddemu amaanyi bwe bakirabye nti bateganidde bwereere okukola ebintu ebirungi. Ekyo kye kyaliwo ku mukyala ayitibwa Van, abeera mu Vietnam. Agamba nti: “Buli lunaku nnagulanga ebibala, ebimuli, n’emmere, ne mbiwaayo eri bajjajja abaafa, nga nsuubira nti nnandifunye emikisa. Kyokka wadde nga nnakola ebintu ebyo byonna awamu n’obulombolombo obulala okumala emyaka mingi, omwami wange yafuna obulwadde obw’amaanyi ennyo; ate muwala wange eyali asomera mu nsi emu ey’ebweru n’afiira ku myaka emito ennyo.”

Bwe kiba nti okweyisa obulungi ku bw’akyo si kye kiviirako omuntu okuba n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi, kati olwo kiki ekiyinza okuyamba omuntu okuba n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi? Okusobola okuddamu ekibuuzo ekyo, twetaaga obulagirizi obwesigika, kwe kugamba, twetaaga okumanya wa we tusobola okuggya eby’okuddamu mu bibuuzo byaffe. Wa we tuyinza okuggya obulagirizi obwo?

^ lup. 2 Okumanya ebisingawo ku ebyo Confucias bye yayigiriza, laba ekitabo Mankind’s Search for God essuula 7, akatundu 31-35. Kyakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa era kiri ne ku mukutu, www.pr418.com.