Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Kiki Ekiyinza Okutuyamba Okuba n’Ebiseera eby’Omu Maaso Ebirungi?

Kiki Ekiyinza Okutuyamba Okuba n’Ebiseera eby’Omu Maaso Ebirungi?

Nga bwe tulabye mu bitundu ebivuddeko, abantu bafubye nnyo okulaba nga baba n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi, nga bassa obwesige bwabwe mu bintu gamba ng’amaanyi agatalabika, obuyigirize, obugagga, n’okweyisa obulungi. Naye okussa obwesige mu bintu ng’ebyo, kiba ng’okugezaako okugenda mu kifo ky’otomanyi ng’ogoberera mmaapu enkyamu. Ekyo kitegeeza nti tewali kiyinza kutuyamba kuba na biseera bya mu maaso birungi? Nedda!

OBULAGIRIZI OKUVA ERI OYO ASINGIRIDDE

Bwe tuba nga tulina bye tusalawo, tutera okwebuuza ku muntu atusingako obukulu era atusinga okumanya. Mu ngeri y’emu, tusobola okufuna obulagirizi obwesigika obukwata ku biseera eby’omu maaso okuva eri Oyo atusingira ewala obukulu n’amagezi. Obulagirizi obwo busangibwa mu kitabo ekiyitibwa Bayibuli, ekyatandika okuwandiikibwa emyaka nga 3,500 emabega.

Lwaki wandyesize Bayibuli? Kubanga eva eri Oyo abaddewo okumala emyaka mingi nnyo era asingayo okuba ow’amagezi. Ayogerwako ng’oyo “Abaddewo Okuva Edda n’Edda” era ng’abaddewo “okuva emirembe gyonna okutuusa emirembe gyonna.” (Danyeri 7:9; Zabbuli 90:2) Y’oyo “eyatonda eggulu, Katonda ow’amazima, eyatonda ensi.” (Isaaya 45:18) Atutegeeza nti erinnya lye ye Yakuwa.​—Zabbuli 83:18.

Olw’okuba Bayibuli yava eri Katonda eyatonda abantu bonna, eraga nti abantu ab’amawanga ag’enjawulo ne langi ez’enjawulo bonna benkanankana. Amagezi agagirimu gakola ekiseera kyonna era gaganyudde abantu okuva mu mawanga gonna. Evvuunuddwa mu nnimi nnyingi nnyo era n’ebunyisibwa okusinga ekitabo ekirala kyonna. * Ekyo kitegeeza nti abantu buli wamu basobola okugisoma era ne baganyulwa mu bulagirizi obugirimu. Ebyo bikwatagana n’ebigambo bino ebiri mu Bayibuli:

“Katonda tasosola, naye mu buli ggwanga omuntu amutya n’akola ekituufu amukkiriza.”​—EBIKOLWA 10:34, 35.

Ng’omuzadde ayagala abaana be bw’abawa obulagirizi, Yakuwa Katonda waffe ye Kitaffe atwagala era atuwa obulagirizi obulungi okuyitira mu Kigambo kye Bayibuli. (2 Timoseewo 3:16) Osobola okwesiga Ekigambo kye, kubanga ye yatutonda era amanyi ebisobola okutuleetera essanyu.

Kiki ky’osaanidde okukola okusobola okuba mu bulamu obwo obulungi obujja okubaawo mu biseera eby’omu maaso? Laba ekitundu ekiddako.

^ lup. 6 Okumanya ebisingawo ebikwata ku ngeri Bayibuli gy’evvuunuddwamu n’engeri gy’ebunyisiddwamu, genda ku www.pr418.com/lg wansi wa ENJIGIRIZA ZA BAYIBULI > EBYAFAAYO NE BAYIBULI.

^ lup. 16 Okumanya ebisingawo, laba essuula 9 mu katabo The Bible​—God’s Word or Man’s? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa. Kasangibwa ku www.pr418.com. Genda wansi wa LIBRARY > BOOKS & BROCHURES.