Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBYAFAAYO

Twayiga Okukkiriza Okukola Buli Kimu Yakuwa ky’Atugamba Okukola

Twayiga Okukkiriza Okukola Buli Kimu Yakuwa ky’Atugamba Okukola

OLUVANNYUMA lw’omuyaga ogw’amaanyi, omugga gwakuluggusa ebitaka n’agayinja. Twali twagala tusomoke tutuuke ku ludda olulala, naye amazzi g’omugga gaali gasaanyizzaawo olutindo. Nze n’omwami wange Harvey awamu n’oyo eyali atutaputira olulimi Olwamisi twatya nnyo nga tetumanyi kya kukola. Twatandika okusomoka omugga ogwo ng’ab’oluganda abaali ku ludda olulala batutunuulidde era nga beeraliikirivu. Twavuga akamotoka kaffe akatono ne tukalinnyisa ku loole. Oluvannyuma, ng’emmotoka yaffe tesibiddwako miguwa oba njegere okugikuumira mu kifo ekimu, mpolampola loole yatandika okuyita mu mazzi ago. Wadde ng’ekitundu kye twalina okusomoka kyali kimpi, kyalabika ng’ekiwanvu ennyo. Naye kyaddaaki twamala ne tutuuka, era ekiseera ekyo kyonna twali tusaba Yakuwa. Ebyo byaliwo 1971. Twali Taiwan ku lubalama olw’ebuvanjuba, era twali wala nnyo okuva ewaffe. Ka mbabuulire ebitukwatako.

TUYIGA OKWAGALA YAKUWA

Bazadde ba Harvey baazaala abaana bana ab’obulenzi, era Harvey ye yali omwana omukulu. Bazadde ba Harvey baayiga amazima mu myaka gya 1930, eby’enfuna we byabeerera ebizibu ennyo mu Australia, era baali babeera mu kabuga akayitibwa Midland Junction. Harvey yayagala nnyo Yakuwa era yabatizibwa ng’alina emyaka 14. Mu kiseera kitono yayiga okukkiriza okukola buli mulimu ogwamuweebwanga mu kibiina. Lumu Harvey yagaana okusoma Omunaala gw’Omukuumi mu kibiina ng’alowooza nti yali tatuukiriza bisaanyizo. Naye ow’oluganda eyayogerako naye yamugamba nti, ‘Bwe bakuwa omulimu mu kibiina kya Yakuwa, baba bakiraba nti otuukiriza ebisaanyizo!’​—2 Kol. 3:5.

Nze ne maama ne muganda wange omukulu amazima twagayigira mu Bungereza. Mu kusooka taata yali tayagala Bajulirwa ba Yakuwa, naye oluvannyuma yafuuka Omujulirwa wa Yakuwa. Nnabatizibwa nga nnina emyaka mwenda wadde ng’ekyo taata yali takyagala. Nneeteerawo ekiruubirirwa eky’okuweereza nga payoniya, oluvannyuma nfuuke omuminsani. Naye taata yali tayagala mpeereze nga payoniya nga sinnaweza myaka 21. Kyokka nze saali mwetegefu kulindirira bbanga eryo lyonna. Bwe nnali wa myaka 16, taata yanzikiriza okugenda okubeera ne muganda wange eyali asengukidde mu Australia. Era bwe nnaweza emyaka 18 nnatandika okuweereza nga Payoniya.

Ku lunaku lwe twafumbiriganwa mu 1951

Mu Australia gye nnalabaganira ne Harvey. Ffembi twali twagala okuweereza ng’abaminsani. Twafumbiriganwa mu 1951. Oluvannyuma lw’okuweereza nga bapayoniya okumala emyaka ebiri, twasabibwa okutandika okukyalira ebibiina. Ekitundu kye twali tukyalira mu bugwanjuba bwa Australia kyali kinene nnyo, era twavuganga eŋŋendo empanvu nga tuyita mu bifo ekikalu era ebyesudde.

EKIROOTO KYAFFE KITUUKIRIRA

Ku matikkira ga Gireyaadi mu kisaawe kya Yankee mu 1955

Mu 1954, twayitibwa okugenda mu ssomero lya Gireyaadi ery’omulundi ogwa 25. Ekirooto kyaffe eky’okufuuka abaminsani kyali kinaatera okutuukirira! Twagendera ku mmeeri ne tutuuka mu New York era ne tutandika emisomo. Mu bye twalina okuyiga mwe mwali n’olulimi Olusipanisi, era nga luno lwazibuwalira nnyo Harvey kubanga yali tasobola kwatula nnukuta “r” mu ngeri gy’eyatulwamu mu lulimi olwo.

Bwe twali tusoma, abasomesa baatugamba nti abo abandyagadde okugenda okuweereza mu Japan beewandiise bayigirizibwe Olujapaani. Ffe twasalawo nti ka tuleke ekibiina kya Yakuwa kye kiba kitulondera aw’okugenda. Albert Schroeder, omu ku abo abaali batusomesa, bwe yakimanya nti twali tetwewandiisizza yatugamba nti: “Mweyongere okukirowoozaako.” Ne ku luno bwe tuteewandiisa, Ow’oluganda Schroeder yatugamba nti: “Nze n’abasomesa abalala tubawandiisizza. Mugezeeko okuyiga Olujapaani.” Harvey yayanguyirwa okwatula ebigambo by’olulimi olwo.

Twatuuka mu Japan 1955 era mu kiseera ekyo waaliyo ababuulizi 500 bokka. Harvey yalina emyaka 26, ate nze nnalina emyaka 24. Twasindikibwa okuweereza mu kibuga Kobe era twamalayo emyaka ena. Oluvannyuma twaddamu okuweebwa omulimu gw’okukyalira ebibiina era ebibiina bye twali tukyalira byali kumpi n’ekibuga Nagoya. Buli kintu kyali kitusanyusa nnyo mu buweereza baffe​—ab’oluganda, emmere, n’endabika y’ensi. Kyokka waayita ekiseera kitono ne tufuna akakisa akalala okukkiriza okukola ekyo Yakuwa kye yali atugamba okukola.

TUFUNA OKUSOOMOOZA MU BUWEEREZA OBUPYA

Harvey nange nga tuli wamu n’abaminsani abalala mu Kobe, Japan, mu 1957

Oluvannyuma lw’okumala emyaka esatu nga tukola omulimu gw’okukyalira ebibiina, ab’oluganda ku ttabi ly’e Japan baatubuuza obanga twali tusobola okugenda mu Taiwan okuweereza mu kitundu omuli abantu aboogera Olwamisi. Obwakyewaggula bwali bubaluseewo mu kitundu ekyo, era ow’oluganda amanyi obulungi Olujapaani yali yeetaagibwa okugenda okutereeza embeera eyo. * Twali tunyumirwa nnyo obuweereza bwaffe mu Japan, era tekyatwanguyira kukkiriza kugenda. Naye Harvey yali yayiga obutagaana mulimu gwonna gumuweebwa mu kibiina. Bwe kityo twakkiriza okugenda.

Twatuukayo mu Noovemba 1962. Mu Taiwan mwonna mwalimu ababuulizi 2,271, era abasinga obungi ku bo baali Baamisi. Naye twalina okusooka okuyiga Olukyayina. Twalina ekitabo kimu kyokka eky’Olukyayina n’omusomesa eyali tamanyi Lungereza, naye twayiga Olukyayina.

Bwe twali twakatuuka mu Taiwan, Harvey yalondebwa okuweereza ng’omuweereza w’ettabi. Olw’okuba ettabi lyali ttono, Harvey yali asobola okukola emirimu gye gyonna egy’omu ofiisi, ate era n’aweerereza wamu n’ab’oluganda Abaamisi okumala wiiki ssatu buli mwezi. Ate era ebiseera ebimu n’ebimu yaweerezanga ng’omulabirizi wa disitulikiti era ng’ekyo kyali kizingiramu okuwa emboozi ku nkuŋŋaana ennene. Harvey yandibadde asobola okuwa emboozi mu Lujapaani, era ab’oluganda Abaamisi bandibadde bamutegeera bulungi. Naye gavumenti yali yalagira nti enkuŋŋaana z’eddiini zirina kuba mu Lukyayina lwokka. N’olwekyo wadde nga Harvey yali tannayiga bulungi Lukyayina, yawa emboozi ze mu lulimi olwo ng’ow’oluganda omulala azitaputa mu Lwamisi.

Olw’okuba mu kiseera ekyo Taiwan yali efugibwa mateeka ga kinnamagye, ab’oluganda baalinanga okusooka kufuna olukusa okuba n’enkuŋŋaana ennene. Tekyabanga kyangu kufuna bbaluwa eziwa olukusa okufuna enkuŋŋaana ennene, era poliisi yalwangawo okuzigaba. Bwe twatuukanga mu wiiki y’olukuŋŋaana nga poliisi tennatuwa bbaluwa etukkiriza kuba nalwo, Harvey yatuulanga ku poliisi okutuusa lwe baatuwanga ebbaluwa ezo. Olw’okuba abapoliisi baali baswala omugwiira okubatuulirira, akakodyo ako kaakola.

OMULUNDI GWE NNASOOKA OKULINNYA OLUSOZI

Nga tusomoka omugga mu Taiwan okugenda okubuulira

Mu wiiki ze twamalanga nga tukola n’ab’oluganda twatambuliranga essaawa nnamba oba n’okusingawo nga tulinnya ensozi oba nga tuyita mu migga. Nzijukira omulundi gwe nnasooka okulinnya olusozi. Oluvannyuma lw’okulyayo akantu katono, twalinnya bbaasi ku ssaawa kkumi n’emu n’ekitundu ez’oku manya n’etutuusa mu kyalo ekimu ekyesudde. Twatambula ne tuyita mu mugga ogumu ogwali omugazi oluvannyuma ne tulinnya olusozi oluwanvu ennyo. Lwali luwanvu nnyo ne kiba nti ebigere by’ow’oluganda eyandi mu maaso kumpi byali bikoona ku kyenyi kyange.

Ku olwo ku makya Harvey yabuulirira wamu n’ab’oluganda ab’omu kitundu ekyo, ate nze ne mbuulira nzekka mu kaalo akamu akaalimu abantu aboogera Olujapaani. Ssaawa musanvu we zaatuukira nnali mpulira nga mpeddemu nnyo amaanyi olw’okuba nnali mmaze essaawa nnyingi nga sirina kye ndidde. Oluvannyuma nnasisinkana ne Harvey ng’asigadde yekka. Harvey yali alina b’awadde magazini ne bamuwaamu amagi g’enkoko asatu amabisi. Harvey yandaga engeri y’okulyamu amagi ago ng’ofumita akatuli erudda n’erudda n’onuuna, era ekyo kye nnakola wadde nga saawomerwa. Naye ani yali agenda okulya eggi ery’okusatu? Nze nnalirya okuva bwe kiri nti Harvey yali talina maanyi okusintula singa nnali nzirise olw’enjala.

OKUNAABIRA MU MBEERA ETALI YA BULIJJO

Ku lukuŋŋaana olumu olunene nnayolekagana n’embeera etali ya bulijjo. Twasula mu maka g’ow’oluganda omu eyali abeera okumpi n’Ekizimbe ky’Obwakabaka. Okuva bwe kiri nti okunaaba kutwalibwa nga kukulu nnyo mu Baamisi, mukyala w’ow’oluganda eyali akyalira ebibiina yatukolera enteekateeka tunaabe. Olw’okuba Harvey yali akyalina eby’okukola bingi, yaŋŋamba nti nze mba nsooka okunaaba. Mukyala w’ow’oluganda oyo yali ateeseteese bbaketi eyalimu amazzi agannyogoga, bbaketi eyalimu amazzi agookya, n’ebbenseni enjereere. Ekyanneewuunyisa, yali abitadde wabweru w’enju ng’ab’oluganda abaali bateekateeka olukuŋŋaana olunene ku Kizimbe ky’Obwakabaka basobola okulaba ekyali kigenda mu maaso. Nnamusaba anfunireyo ekintu ekyali kisobola okunsiikiriza! Yandeetera kaveera akaali katangaala. Nnalowooza ku ky’okugenda okunaabira emmanju w’enju, naye waaliyo embaata kabuzi era nga zaali nneetegefu okubojja oyo yenna azisemberera. Muli nnagamba nti: ‘Ab’oluganda bali mu keetalo tebajja kusobola kunneetegereza nga nnaaba, ate bwe siinaabe kijja kubayisa bubi. Kale ekibaawo kibeewo, ka nnaabe!’ Era bwe ntyo nnanaaba.

Nga twambadde engoye z’Abaamisi ez’ekinnansi

EBITABO BY’ABAAMISI

Harvey yakiraba nti ab’oluganda Abaamisi baali tebakulaakulana nnyo mu by’omwoyo olw’okuba bangi baali tebamanyi kusoma, era tebaalina bitabo mu lulimi lwabwe. Okuva bwe kiri nti olulimu Olwamisi lwali lutandise okuwandiikibwa mu nnukuta ez’Abarooma, kyali kya magezi okuyigiriza ab’oluganda okusoma olulimi lwabwe. Omulimu ogwo gwali munene nnyo naye oluvannyuma ab’oluganda baayiga okwesomera. Ebitabo byaffe byatandika okufulumizibwa mu Lwamisi mu myaka gya 1960, era mu 1968 Omunaala gw’Omukuumi gwatandika okukubibwa mu lulimi olwo.

Naye gavumenti yali teyagala tugabire bantu bitabo bitaali mu Lukyayina. Okusobola okwewala ebizibu, Omunaala gw’Omukuumi ogw’Olwamisi gwakubibwa mu ngeri ez’enjawulo. Ng’ekyokulabirako, okumala ekiseera, Omunaala gw’Omukuumi gwe twakozesanga gwabangamu ennimi bbiri, Olwamisi n’Olukyayina oluyitibwa Mandarini. Singa waabangawo omuntu eyali yeekengera ebitabo byaffe, kyali kisobola okutwalibwa nti twali tuyigiriza abantu b’omu kitundu ekyo Olukyayina. Okuva mu kiseera ekyo, ekibiina kya Yakuwa kikubye ebitabo bingi mu Lwamisi okuyamba abantu aboogera olulimi olwo okuyiga amazima.​—Bik. 10:34, 35.

EKISEERA EKY’OKULONGOOSA

Mu myaka gye 1960 ne 1970, ab’oluganda bangi Abaamisi baali tebatambulira ku mutindo gya Katonda. Okuva bwe kiri nti baali tebategeera bulungi misingi gya Bayibuli, abamu baali beenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu, abalala baali batamiivu oba nga bakozesa ebiragalalagala. Harvey yakyalira ebibiina bingi ng’afuba okuyamba ab’oluganda okutegeera engeri Yakuwa gye yali atunuuliramu ebintu ebyo. Ebintu bye nnayogeddeko ku ntandikwa byaliwo nga tugenda okukyalira ebimu ku bibiina ebyo.

Ab’oluganda abeetoowaze baali beetegefu okukola enkyukakyuka, naye eky’ennaku abalala bangi tebaali beetegefu kuzikola. Omuwendo gw’ababuulizi mu Taiwan gwakka nnyo, okuva ku babuulizi 2,450 okutuuka ku babuulizi nga 900 mu bbanga lya myaka 20. Ekyo kyali kimalamu nnyo amaanyi. Naye twali tukimanyi nti Yakuwa tasobola kuwa mikisa kibiina kitali kiyonjo. (2 Kol. 7:1) Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, emize emibi gyaggwamu mu kibiina era Yakuwa yakiwa emikisa ne kiba nti kati mu Taiwan eriyo ababuulizi abasukka mu 11,000.

Okuva mu myaka gya 1980 twalaba engeri embeera ey’eby’omwoyo mu bibiina ebyogera Olwamisi gye yagenda ng’erongooka, era kati Harvey yali asobola okuwaayo ebiseera bingi okuyamba abantu aboogera Olukyayina. Yafuna essanyu lingi mu kuyamba abaami ba bannyinaffe bangi okufuuka abaweereza ba Yakuwa. Nzijukira lumu yaŋŋamba nti yasanyuka nnyo omu ku baami abo bwe yasaba Yakuwa omulundi gwe ogusooka. Nange nnina essanyu olw’okuyamba abantu bangi okufuna enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa. Nnafuna n’essanyu okuweereza ku Beseri n’abaana b’omu ku bantu be nnayigiriza Bayibuli.

NFIIRWA MUNNANGE

Naye kati munnange sikyali naye. Oluvannyuma lw’okumala emyaka nga 59 mu bufumbo, mukwano gwange Harvey yafa kookolo nga Jjanwali 1, 2010. Yali amaze emyaka nga 60 mu buweereza obw’ekiseera kyonna! Nkyamusubwa nnyo. Naye ndi musanyufu nnyo okuba nti nnaweerereza wamu naye mu nsi bbiri ez’enjawulo! Twayiga okwogera ennimi bbiri enzibu ezoogerwa mu Asiya, ate Harvey ye yayiga n’okuziwandiika.

Emyaka mitono emabega Akakiiko Akafuzi kaasalawo nti olw’okuba nnali nkaddiye kyali kirungi nzireyo mu Australia. Muli nnasooka ne ŋŋamba nti ‘Saagala kuva mu Taiwan.’ Naye Harvey yanjigiriza okukkiriza buli kimu ekibiina kya Yakuwa kye kiŋŋamba. Bwe kityo nnakkiriza okugenda, era oluvannyuma nnakiraba nti kyali kya magezi okuddayo mu Australia.

Ndi musanyufu okukozesa Olujapaani n’Olukyayina okulambuza abantu ku Beseri

Leero mpeerereza ku ofiisi y’ettabi lya Australasia mu nnaku za wiiki, ate ku wiikendi mpeerereza wamu n’ab’oluganda mu kibiina kye nkuŋŋaaniramu. Ku Beseri nfuna essanyu okukozesa Olujapaani n’Olukyayina lwe nnayiga okulambuza abantu. Naye nneesunga nnyo ekiseera eky’okuzuukira, nga nkimanyi nti Harvey, eyayiga okukkiriza okukola buli kimu Yakuwa ky’amugamba, Yakuwa akyamujjukira.​—Yok. 5:28, 29.

^ lup. 14 Wadde ng’Olukyayina lwe lulimi olutongole olwogerwa mu Taiwan mu kiseera kino, okumala emyaka mingi Olujapaani lwe lwali olulimi olutongole. N’olwekyo abantu bangi mu Taiwan baali boogera Lujapaani.