Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 7

Okutegeera Enteekateeka y’Obukulembeze mu Kibiina

Okutegeera Enteekateeka y’Obukulembeze mu Kibiina

‘Kristo gwe mutwe gw’ekibiina, era ye mulokozi w’omubiri guno.’​—BEF. 5:23.

OLUYIMBA 137 Abakyala Abeesigwa, Bannyinaffe Abakristaayo

OMULAMWA *

1. Emu ku nsonga lwaki abantu ba Yakuwa bali bumu y’eruwa?

TWENYUMIRIRIZA mu kubeera abamu ku bantu ba Yakuwa. Lwaki abantu ba Yakuwa tuli mu mirembe era tuli bumu? Emu ku nsonga eri nti ffenna tufuba okussa ekitiibwa mu nteekateeka y’obukulembeze Yakuwa gye yassaawo. Mu butuufu, gye tukoma okutegeera enteekateeka eyo gye tukoma okuba obumu.

2. Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu mu kitundu kino?

2 Mu kitundu kino tugenda kulaba enteekateeka y’obukulembeze mu kibiina. Ate era tugenda kulaba eby’okuddamu mu bibuuzo bino: Bannyinaffe balina kifo ki? Kituufu nti buli wa luganda mutwe gwa buli mwannyinaffe? Abakadde balina obuyinza bwe bumu ku b’oluganda ne bannyinaffe mu kibiina ng’omutwe gw’amaka bw’aba nabwo ku mukyala we n’abaana be? Ka tusooke tulabe engeri gye tusaanidde okutwalamu bannyinnaffe.

BANNYINAFFE TUSAANIDDE KUBATWALA TUTYA?

3. Tuyinza tutya okweyongera okusiima omulimu bannyinaffe gwe bakola?

3 Tusiima nnyo bannyinaffe abakola ennyo okulabirira ab’omu maka gaabwe, okubuulira amawulire amalungi, n’okuwagira ekibiina. Tusobola okweyongera okubasiima bwe twekenneenya engeri Yakuwa ne Yesu gye babatwalamu. Ate era tujja kuganyulwa mu kwekenneenya engeri omutume Pawulo gye yayisangamu abakazi.

4. Bayibuli ekiraga etya nti Yakuwa abakazi n’abasajja bonna abatwala nga ba muwendo?

4 Bayibuli ekiraga nti abakazi n’abasajja bonna Yakuwa abatwala nga ba muwendo. Ng’ekyokulabirako, eraga nti mu kyasa ekyasooka Yakuwa yawa omwoyo omutukuvu abakazi awamu n’abasajja, era n’abasobozesa okukola ebyamagero, gamba ng’okwogera ennimi ez’enjawulo. (Bik. 2:1-4, 15-18) Mu abo Yakuwa be yafukako omwoyo omutukuvu okufugira awamu ne Kristo mulimu abakazi n’abasajja. (Bag. 3:26-29) Era mu abo abajja okufuna obulamu obutaggwaawo ku nsi mulimu abakazi n’abasajja. (Kub. 7:9, 10, 13-15) Ate era abasajja n’abakazi bonna baaweebwa omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi n’okufuula abantu abayigirizwa. (Mat. 28:19, 20) Mu butuufu, ekitabo ky’Ebikolwa by’Abatume kyogera ku mulimu ogwakolebwa mwannyinaffe omu ayitibwa Pulisikira eyakolera awamu n’omwami we Akula okuyamba omusajja omu eyali omuyivu ayitibwa Apolo okutegeera obulungi amazima.​—Bik. 18:24-26.

5. Lukka 10:38, 39, 42, walaga watya endowooza Yesu gye yalina ku bakazi?

5 Yesu yalinga assaamu abakazi ekitiibwa. Teyali ng’Abafalisaayo abaali banyooma abakazi nga tebasobola na kwogera nabo mu lujjudde, wadde okwogera nabo ebintu ebikwata ku Byawandiikibwa. Ye bwe yabanga ayigiriza ebintu ebikulu eby’omwoyo yayigirizanga abakazi n’abasajja. * (Soma Lukka 10:38, 39, 42.) Ate era yakkirizanga abakazi okutambula naye ng’agenda okubuulira. (Luk. 8:1-3) Era yabawa n’enkizo ey’okubuulira abatume nti yali azuukiziddwa mu bafu.​—Yok. 20:16-18.

6. Omutume Pawulo yakiraga atya nti yali assa ekitiibwa mu bakazi?

6 Omutume Pawulo yajjukiza Timoseewo okussa ekitiibwa mu bakazi. Yamugamba okuyisa “abakazi abakulu nga bamaama” ate ‘abakazi abato nga bannyina.’ (1 Tim. 5:1, 2) Pawulo yakola kinene okuyamba Timoseewo okufuuka Omukristaayo omukulu mu by’omwoyo, naye yakiraga nti maama wa Timoseewo ne jjajjaawe be baasooka okuyigiriza Timoseewo “ebyawandiikibwa ebitukuvu.” (2 Tim. 1:5; 3:14, 15) Mu bbaluwa gye yawandiikira Abaruumi, Pawulo yalamusa bannyinaffe ng’amenya amannya gaabwe. Teyalaba bulabi mirimu bannyinaffe gye baali bakola, naye era yalaga nti yali agisiima.​—Bar. 16:1-4, 6, 12; Baf. 4:3.

7. Bibuuzo ki kati bye tugenda okwekenneenya?

7 Ng’obutundu obuvuddeko bwe bulaze, mu Byawandiikibwa tewali wonna walaga nti bannyinaffe ba wansi ku b’oluganda. Bannyinaffe abooleka okwagala era abagabi ba muwendo nnyo, era bayambako abakadde mu kuleetawo emirembe n’obumu mu kibiina. Naye waliwo ebibuuzo ebyetaaga okuddibwamu. Ng’ekyokulabirako, lwaki Yakuwa yeetaagisa bannyinnaffe okubikka ku mutwe mu mbeera ezimu? Okuva bwe kiri nti abasajja bokka be balondebwa okuba abakadde n’abaweereza mu kibiina, ekyo kiraga nti buli wa luganda mutwe gwa buli mwannyinaffe mu kibiina?

BULI WA LUGANDA MUTWE GWA BULI MWANNYINAFFE?

8. Okusinziira ku Abeefeso 5:23, buli wa luganda mutwe gwa buli mwannyinaffe? Nnyonnyola.

8 Eky’okuddamu kiri nti nedda. Ow’oluganda taba mutwe gwa buli mwannyinaffe mu kibiina; Kristo gwe mutwe gwa buli omu ali mu kibiina. (Soma Abeefeso 5:23.) Mu maka, omwami gwe mutwe gwa mukyala we. Omwana omulenzi omubatize taba mutwe gwa maama we. (Bef. 6:1, 2) Ate mu kibiina, obuyinza abakadde bwe balina ku bannyinaffe ne baganda baffe buliko ekkomo. (1 Bas. 5:12; Beb. 13:17) Bannyinaffe abatali bafumbo abatakyabeera na bazadde baabwe beeyongera okuwa bazadde baabwe n’abakadde ekitiibwa. Naye okufaananako abasajja mu kibiina, omutwe gwa bannyinaffe abo ye Yesu.

Abatali bafumbo abatakyabeera na bazadde baabwe Yesu gwe mutwe gwabwe (Laba akatundu 8)

9. Lwaki mu mbeera ezimu bannyinaffe kibeetaagisa okubikka ku mutwe?

9 Kyo kituufu nti Yakuwa yawa abasajja obuyinza okutwala obukulembeze mu kuyigiriza n’okusinza mu kibiina, era nga bo abakazi teyabawa buyinza obwo. (1 Tim. 2:12) Lwaki? Olw’ensonga y’emu lwaki yawa Yesu obuyinza okuba omutwe gw’omusajja, kwe kugamba, okukuuma ekibiina nga kitegeke bulungi. Mwannyinaffe bwe yeesanga mu mbeera ng’alina okukola ekintu ekirina okukolebwa ab’oluganda, Yakuwa amwetaagisa okubikka ku mutwe. * (1 Kol. 11:4-7) Yakuwa yeetaagisa bannyinaffe okukola ekyo si lwa kuba nti abafeebya, wabula okubawa akakisa okulaga nti bassa ekitiibwa mu nteekateeka y’obukulembeze gye yassaawo. Nga tulowooza ku nsonga ezo, kati ka twekenneenye eky’okuddamu mu kibuuzo kino: Obuyinza emitwe gy’amaka n’abakadde bwe balina bwenkana wa?

OBUYINZA BW’EMITWE GY’AMAKA N’ABAKADDE

10. Lwaki oluusi omukadde ayinza okwagala okuteerawo ab’omu kibiina amateeka?

10 Abakadde baagala nnyo Kristo, era baagala nnyo ‘n’endiga’ Yakuwa ne Yesu ze baabakwasa. (Yok. 21:15-17) Olw’okufaayo ennyo ku kibiina, omukadde ayinza okwetwala nga taata eri abo bonna abali mu kibiina. Ayinza okulowooza nti bwe kiba nti omutwe gw’amaka alina obuyinza okuteerawo ab’omu maka ge amateeka okubakuuma, omukadde naye asobola okussaawo amateeka okukuuma endiga za Katonda. Ate era waliwo ab’oluganda abamu ne bannyinnaffe ababa baagala abakadde okukola ng’omutwe gwabwe mu by’omwoyo nga babagamba okubasalirawo ku bintu ebitali bimu. Naye abakadde mu kibiina n’emitwe gy’amaka balina obuyinza bwe bumu?

Abakadde bafaayo ku byetaago eby’omwoyo eby’abo abali mu kibiina ne ku nneewulira zaabwe. Yakuwa yabawa obuvunaanyizibwa obw’okukuuma ekibiina nga kiyonjo (Laba akatundu 11-12)

11. Kufaanagana ki okuliwo wakati w’obuyinza emitwe gy’amaka bwe balina n’obwo abakadde bwe balina?

11 Omutume Pawulo yalaga okufaanagana okuliwo wakati w’obuyinza emitwe gy’amaka bwe balina n’obwo abakadde bwe balina. (1 Tim. 3:4, 5) Ng’ekyokulabirako, Yakuwa yeetaagisa ab’omu maka okugondera omutwe gw’amaka. (Bak. 3:20) Mu ngeri y’emu yeetaagisa ab’omu kibiina okugondera abakadde. Yakuwa asuubira emitwe gy’amaka n’abakadde okukakasa nti abo be balabirira baba balamu bulungi mu by’omwoyo. Ate era abakadde n’emitwe gy’amaka balina okufaayo ku nneewulira y’abo be balinako obuyinza. Ate era okufaananako emitwe gy’amaka abalungi, abakadde balina okukakasa nti abo be balabirira bayambibwa nga bafunye ebizibu. (Yak. 2:15-17) Yakuwa era asuubira abakadde n’emitwe gy’amaka okuyamba abalala okutambulira ku mitindo gye. Ate era abalabula ‘obutasukkanga bintu ebyawandiikibwa’ mu Bayibuli.​—1 Kol. 4:6.

Emitwe gy’amaka Yakuwa yabawa obuvunaanyizibwa okukulembera ab’omu maka gaabwe. Omutwe gw’amaka omulungi bw’aba ng’alina ky’agenda okusalawo yeebuuza ku mukyala we (Laba akatundu 13)

12-13. Nga bwe kiragibwa mu Abaruumi 7:2, njawulo ki eriwo wakati w’obuyinza emitwe gy’amaka bwe balina n’obwo abakadde bwe balina?

12 Kyokka waliwo n’enjawulo wakati w’obuyinza abakadde bwe balina n’obwo emitwe gy’amaka bwe balina. Ng’ekyokulabirako, obuyinza okukola ng’abalamuzi mu kibiina Yakuwa yabuwa bakadde so si mitwe gy’amaka. Yawa abakadde obuyinza okuggya mu kibiina aboonoonyi abateenenya.​—1 Kol. 5:11-13.

13 Ku luuyi olulala, Yakuwa alina obuyinza bwe yawa emitwe gy’amaka naye nga teyabuwa bakadde. Ng’ekyokulabirako, yawa emitwe gy’amaka obuyinza okuteerawo ab’omu maka gaabwe amateeka n’okukakasa nti bagagondera. (Soma Abaruumi 7:2.) Okugeza, omutwe gw’amaka y’alina obuyinza okusalawo essaawa abaana ze batalina kusussa nga tebannadda waka. Era y’alina obuyinza okukangavvula abaana be singa bagaana okugondera etteeka eryo. (Bef. 6:1) Kya lwatu nti omutwe gw’amaka omulungi yeebuuza ku mukyala we nga tannateerawo ba mu maka ge mateeka, kubanga ye ne mukyala we bali “omubiri gumu.” *​—Mat. 19:6.

SSA EKITIIBWA MU KRISTO OMUTWE GW’EKIBIINA

Yesu, ng’ali wansi wa Yakuwa, omutwe gwe, awa ekibiina Ekikristaayo obulagirizi (Laba akatundu 14)

14. (a) Okusinziira ku Makko 10:45, lwaki kituukirawo okuba nti Yakuwa yalonda Yesu okuba omutwe gw’ekibiina? (b) Akakiiko Akafuzi kalina buvunaanyizibwa ki? (Laba akasanduuko “ Obuvunaanyizibwa bw’Akakiiko Akafuzi.”)

14 Okuyitira mu kinunulo, Yakuwa yagula obulamu bwa buli omu ali kibiina. (Soma Makko 10:45; Bik. 20:28; 1 Kol. 15:21, 22) N’olwekyo kituukirawo okuba nti yalonda Yesu, eyawaayo obulamu bwe ng’ekinunulo, okuba omutwe gw’ekibiina. Eyo ye nsonga lwaki Yesu alina obuyinza okuteerawo abantu kinnoomu, amaka, n’ekibiina amateeka ge balina okugoberera n’okukakasa nti bagagondera. (Bag. 6:2) Naye Yesu akola ekisingawo ku kussaawo amateeka. Aliisa buli omu ku ffe era amufaako.​—Bef. 5:29.

15-16. Kiki ky’oyigira ku ebyo ebyayogerwa mwannyinaffe Marley n’ow’oluganda Benjamin?

15 Bannyinnaffe bakiraga nti bassa ekitiibwa mu Kristo nga bakolera ku bulagirizi obubaweebwa abasajja be yalonda okubalabirira. Bannyinnaffe bangi bakkiriziganya n’ebigambo ebyayogerwa mwannyinaffe Marley, abeera mu Amerika. Yagamba nti: “Ekifo kye nnina mu maka ne mu kibiina nkitwala nga kikulu. Buli kiseera nnina okufuba okulaba nga mba n’endowooza ennungi ku nteekateeka ey’obukulembeze Yakuwa gye yassaawo. Naye omwami wange n’ab’oluganda mu kibiina ekyo bakifudde kyangu gye ndi, kubanga banzisaamu ekitiibwa era balaga nti basiima bye nkola.”

16 Ab’oluganda balaga nti bategeera enteekateeka y’obukulembeze nga bassa ekitiibwa mu bannyinaffe. Ow’oluganda Benjamin, abeera mu Bungereza agamba nti: “Nnina bingi bye njigidde ku ebyo bannyinaffe bye baddamu mu nkuŋŋaana, ku ngeri gye beesomesaamu, ne ku ngeri gye bakolamu omulimu gw’okubuulira. Nkiraba nti omulimu gwe bakola gwa muwendo nnyo.”

17. Lwaki tusaanidde okussa ekitiibwa ku nteekateeka y’obukulembeze?

17 Bonna mu kibiina, abasajja, abakazi, emitwe gy’amaka, n’abakadde bwe bategeera era ne bassa ekitiibwa mu nteekateeka y’obukulembeze, ekibiina kibaamu emirembe. N’ekisinga obukulu, kireetera Yakuwa Kitaffe ow’omu ggulu ettendo.​—Zab. 150:6.

OLUYIMBA 123 Okugoberera Enteekateeka Katonda gy’Ataddewo

^ lup. 5 Bannyinnaffe balina kifo ki mu kibiina? Buli wa luganda mutwe gwa buli mwannyinaffe? Abakadde n’emitwe gy’amaka balina obuyinza bwe bumu? Mu kitundu kino tugenda kulaba engeri Bayibuli gy’eddamu ebibuuzo ebyo.

^ lup. 5 Laba akatundu 6 mu kitundu “Faayo ku Bakazi Abakristaayo,” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Ssebutemba 2020.

^ lup. 13 Okusobola okumanya ani asaanidde okusalawo kibiina ki ab’omu maka mwe banaakuŋŋaanira, laba akatundu 17-19 mu kitundu “Ssa Ekitiibwa mu Kifo Abalala Kye Balina mu Kibiina kya Yakuwa,” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Agusito 2020.

^ lup. 59 Okusobola okumanya ebisingawo ku nsonga eno laba akatabo ‘Mwekuumire Mu Kwagala Kwa Katonda,’ lup. 209-212.

^ lup. 64 Okumanya ebisingawo ku buvunaanyizibwa bw’Akakiiko Akafuzi, laba Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjulaayi 15, 2013, lup. 20-25.