Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 12

Okwagala Kutuyamba Okugumira Obukyayi

Okwagala Kutuyamba Okugumira Obukyayi

“Ebintu bino mbibalagira, musobole okuba nga mwagalana. Ensi bw’ebakyawanga, mukimanye nti yasooka kukyawa nze nga tennakyawa mmwe.”​—YOK. 15:17, 18.

OLUYIMBA 129 Tujja Kweyongera Okugumiikiriza

OMULAMWA *

1. Okusinziira ku Matayo 24:9, lwaki tekyanditwewuunyisizza ensi bw’etukyawa?

YAKUWA yatutonda nga tulina okulaga abalala okwagala era nga twagala okwagalibwa abalala. N’olwekyo, bwe wabaawo omuntu atukyawa, tuwulira bubi era tuyinza n’okuwulira nga tutidde. Ng’ekyokulabirako, mwannyinaffe ayitibwa Georgina abeera mu Bulaaya agamba nti: “Bwe nnali wa myaka 14, maama wange yankyawa olw’okuba nnali mpeereza Yakuwa. Nnawulira nga njabuliddwa era nnatandika n’okubuusabuusa obanga ddala ndi muntu mulungi.” * Ow’oluganda ayitibwa Danylo agamba nti: “Abasirikale bwe bankuba, ne banvuma, era ne bagamba okuntuusaako akabi olw’okuba ndi Mujulirwa wa Yakuwa, nnawulira nga ntidde era nga mpeebuddwa.” Abantu bwe batukyawa kituluma naye tekitwewuunyisa. Yesu yagamba nti twandibadde tukyayibwa.​—Soma Matayo 24:9.

2-3. Lwaki abagoberezi ba Yesu bakyayibwa?

2 Ensi ekyawa abagoberezi ba Yesu. Lwaki? Kubanga okufaananako Yesu, ‘si ba nsi.’ (Yok. 15:17-19) Wadde nga tussa ekitiibwa mu gavumenti z’abantu, tetukkiriza kuzisinza oba okusinza obubonero obuzikiikirira. Tusinza Yakuwa yekka. Tukimanyi nti Yakuwa y’alina okufuga abantu; naye Sitaani n’ezzadde lye ekyo bakiwakanya. (Lub. 3:1-5, 15) Tubuulira abantu nti Obwakabaka bwa Katonda bwe bwokka obujja okugonjoola ebizibu by’abantu era nti mu kiseera ekitali kya wala bujja kusaanyaawo abo bonna ababuwakanya. (Dan. 2:44; Kub. 19:19-21) Obubaka obwo mawulire malungi eri abantu abawombeefu, naye mawulire mabi eri abantu ababi.​—Zab. 37:10, 11.

3 Ate era tukyayibwa olw’okuba tutambulira ku mitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu. Emitindo egyo gyawukana ku mitindo gy’empisa ensi gy’egoberera. Ng’ekyokulabirako, abantu bangi bakitwala nti si kikyamu okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu ebifaananako ebyo ebyaviirako Katonda okuzikiriza Sodomu ne Ggomola! (Yud. 7) Olw’okuba tunywerera ku mitindo gya Bayibuli ne twewala ebikolwa ng’ebyo, abantu abangi batujerega era bagamba nti twefuula batuukirivu nnyo!​—1 Peet. 4:3, 4.

4. Ngeri ki ezituyamba okuba abanywevu ng’abantu batukyaye?

4 Kiki ekisobola okutuyamba okuguma abantu bwe batukyawa oba bwe batuvuma? Tulina okuba n’okukkiriza okunywevu nti Yakuwa ajja kutuyamba. Okufaananako engabo, okukkiriza kwaffe kusobola “okuzikiza obusaale bwonna obw’omuliro obw’omubi.” (Bef. 6:16) Naye ng’oggyeeko okukkiriza, waliwo ekirala kye twetaaga. Twetaaga okuba n’okwagala. Lwaki? Kubanga okwagala “tekunyiiga.” Kugumira ebintu byonna ebirumya. (1 Kol. 13:4-7, 13) Kati ka tulabe engeri okwagala kwe tulina eri Yakuwa, eri bakkiriza bannaffe, n’eri abalabe baffe gye kutuyamba okugumira obukyayi.

OKWAGALA KWE TULINA ERI YAKUWA KUTUYAMBA OKUGUMIRA OBUKYAYI

5. Okwagala Yesu kw’alina eri Kitaawe kwamuyamba kutya okunywera?

5 Mu kiro ekyasembayo abalabe be balyoke bamutte, Yesu yagamba abagoberezi be abeesigwa nti: ‘Njagala Kitange, n’olwekyo nkola nga Kitange bwe yandagira.’ (Yok. 14:31) Okwagala Yesu kw’alina eri Kitaawe kwamuyamba okunywera n’asobola okugumira ebizibu bye yayolekagana nabyo. Naffe okwagala kwe tulina eri Yakuwa kusobola okutuyamba okugumira ebizibu.

6. Okusinziira ku Abaruumi 5:3-5, abaweereza ba Yakuwa batwala batya obukyayi ensi bw’eboolekeza?

6 Okuva edda n’edda okwagala abaweereza ba Yakuwa kwe balina gy’ali kubadde kubayamba okugumira okuyigganyizibwa. Ng’ekyokulabirako, kkooti y’Abayudaaya ey’oku ntikko bwe yalagira abatume okulekera awo okubuulira, okwagala kwe baalina eri Katonda kwabaleetera ‘okugondera Katonda so si bantu.’ (Bik. 5:29; 1 Yok. 5:3) Okwagala ng’okwo kunyweza ne baganda baffe leero abayigganyizibwa gavumenti ez’amaanyi era enkambwe. Mu kifo ky’okuggwaamu amaanyi, tugitwala nga nkizo okugumira obukyayi ensi bw’erina gye tuli.​—Bik. 5:41; soma Abaruumi 5:3-5.

7. Tusaanidde kweyisa tutya ng’ab’eŋŋanda zaffe batuyigganya?

7 Oboolyawo okumu ku kugezesebwa okusingayo okuba okw’amaanyi kwe twolekagana nakwo kuva eri ab’eŋŋanda zaffe. Bwe tukiraga nti twagala okutandika okuweereza Yakuwa, abamu ku b’eŋŋanda zaffe bayinza okulowooza nti tubuzaabuziddwa. Abalala bayinza okulowooza nti tuguddemu akazoole. (Geraageranya ne Makko 3:21.) Bayinza n’okutuyigganya ennyo. Ekyo bwe kibaawo tekisaanidde kutwewuunyisa. Yesu yagamba nti: “Abalabe b’omuntu banaabanga ba mu nnyumba ye.” (Mat. 10:36) Kya lwatu nti ab’eŋŋanda zaffe ka babe nga batuyisa batya, ffe tetusaanidde kubayisa nga balabe baffe. Okwagala kwe tulina eri Yakuwa bwe kugenda kweyongera, n’okwagala kwe tulina eri bantu bannaffe nakwo kweyongera. (Mat. 22:37-39) Naye tetusobola n’omulundi n’ogumu kusambajja mitindo gya Bayibuli olw’okuba twagala okusanyusa abantu.

Tuyinza okubonaabona okumala ekiseera. Naye bulijjo Yakuwa abaawo okutubudaabuda n’okutuzzaamu amaanyi (Laba akatundu 8-10)

8-9. Kiki ekyayamba mwannyinaffe omu okusigala nga munywevu wadde nga yali ayigannyizibwa nnyo?

8 Georgina ayogeddwako waggulu yasobola okusigala nga munywevu wadde nga maama we yamuyigganya nnyo. Agamba nti: “Nze ne maama wange twatandika okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa. Naye oluvannyuma lw’emyezi mukaaga bwe nnali njagala okutandika kugendanga mu nkuŋŋaana, endowooza ya maama wange yakyuka nnyo. Nnakizuula nti yali akolagana ne bakyewaggula, era yakozesanga endowooza zaabwe ng’ayogera nange. Ate era yanvumanga, yansikanga enviiri, yantuganga, era yakasukanga ebitabo byange. Bwe nnaweza emyaka 15, nnabatizibwa. Maama wange yagezaako okunnemesa okuweereza Yakuwa bwe yantwala mu maka agamu okubeera n’abavubuka abamu ku bo abaali bakozesa ebiragalalagala era nga bakola n’ebikolobero. Okuyigganyizibwa kuba kuzibu nnyo okugumira naddala bwe kuba nga kuva eri omuntu alina okukwagala era okukulabirira.”

9 Kiki ekyayamba Georgina kugumira embeera eyo? Agamba nti: “Olunaku maama wange lwe yanneefuulira, nnali nnaakamaliriza okusoma Bayibuli yonna. Nnali mukakafu nti nnali nzudde amazima era nnalina enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa. Nnamusabanga emirundi mingi era yaddangamu essaala zange. Bwe nnali mbeera mu maka ago, muganda wange omu yampita ewuwe era twasomeranga wamu Bayibuli. Ate era buli lwe nnagendanga mu nkuŋŋaana, baganda bange ne bannyinaze banzizangamu nnyo amaanyi. Bansembezanga. Nnakirabira ddala nti Yakuwa asinga abalabe baffe amaanyi ka babe b’ani.”

10. Bwesige ki bwe tulina mu Yakuwa Katonda waffe?

10 Omutume Pawulo yagamba nti tewali kintu kiyinza “kutwawukanya ku kwagala kwa Katonda okuli mu Kristo Yesu Mukama waffe.” (Bar. 8:38, 39) Wadde ng’oluusi tuyinza okubonaabona, bulijjo Yakuwa abaawo okutubudaabuda n’okutuzzaamu amaanyi. Era ng’ekyokulabirako kya Georgina bwe kiraze, Yakuwa era atuyamba ng’ayitira mu bakkiriza bannaffe.

OKWAGALA KWE TULINA ERI BAKKIRIZA BANNAFFE KUTUYAMBA OKUGUMIRA OBUKYAYI

11. Okwagala Yesu kwe yayogerako mu Yokaana 15:12, 13 kwandiyambye kutya abayigirizwa be? Waayo ekyokulabirako.

11 Mu kiro ekyasembayo amale attibwe, Yesu yajjukiza abayigirizwa be okwagalana. (Soma Yokaana 15:12, 13.) Yali akimanyi nti okwagala okw’okwefiiriza kwandibayambye okusigala nga bali bumu n’okugumira obukyayi bw’ensi. Lowooza ki kibiina ky’e Ssessalonika. Okuviira ddala lwe kyatandikibwawo, abaakirimu baayigganyizibwa. Naye ab’oluganda ne bannyinaffe abo baasigala beesigwa era nga booleka okwagala. (1 Bas. 1:3, 6, 7) Pawulo yabakubiriza okweyongera okulaga okwagala ku “kigero ekisingawo.” (1 Bas. 4:9, 10) Okwagala kwandibaleetedde okubudaabuda abennyamivu n’okuyamba abanafu. (1 Bas. 5:14) Baakolera ku kubuulirira kwa Pawulo okwo kubanga mu bbaluwa ye ey’okubiri eyawandiikibwa nga wayise omwaka nga gumu, Pawulo yagamba nti: “Okwagala buli omu kw’alina eri munne kweyongera.” (2 Bas. 1:3-5) Okwagala kwe baalina kwabayamba okugumira ebizibu n’okuyigganyizibwa.

Okwagala kwe tulina ng’Abakristaayo kutuyamba okugumira obukyayi (Laba akatundu 12) *

12. Mu kiseera ky’olutalo, bakkiriza bannaffe mu nsi emu baalagaŋŋana batya okwagala?

12 Lowooza ku Danylo eyayogeddwako waggulu, awamu ne mukyala we. Olutalo bwe lwabalukawo mu kitundu mwe baali babeera, beeyongera okubangawo mu nkuŋŋaana, okubuulira nga bwe basobola, n’okugabana emmere n’ab’oluganda abalala. Lumu Danylo yatuukirirwa abasirikale abaalina emmundu. Agamba nti: “Baŋŋamba nneegaane enzikiriza yange. Bwe nnagaana bankuba era baakuba amasasi agaayita waggulu ku mutwe gwange. Bwe baali tebannagenda, baŋŋamba nti baali bagenda kudda bakwate mukazi wange. Naye mu bwangu bakkiriza bannaffe baatulinnyisa eggaali y’omukka ne tugenda mu kibuga ekirala. Siryerabira kwagala bakkiriza bannaffe abo kwe baatulaga. Bwe twatuuka mu kibuga ekirala, ab’oluganda abaaliyo baatuwa emmere, bannyamba okufuna omulimu, n’ennyumba! Ekyo kyatusobozesa okubudamya bakkiriza bannaffe abalala abaali badduka olutalo.” Ebyokulabirako ng’ebyo biraga nti okwagala kwe tulagaŋŋana ng’Abakristaayo kutuyamba okugumira obukyayi.

OKWAGALA ABALABE BAFFE KITUYAMBA OKUGUMIRA OBUKYAYI

13. Omwoyo omutukuvu gutuyamba gutya okusigala nga tuweereza Yakuwa abantu ne bwe baba nga tebatwagala?

13 Yesu yagamba abagoberezi be okwagala abalabe baabwe. (Mat. 5:44, 45) Naye ekyo kyangu? Nedda! Kyokka olw’obuyambi bw’omwoyo omutukuvu tusobola okwagala abalabe baffe. Ebimu ku ebyo ebiri mu kibala ky’omwoyo omutukuvu kwe kwagala, obugumiikiriza, ekisa, obukkakkamu, n’okwefuga. (Bag. 5:22, 23) Engeri ezo zituyamba okugumira obukyayi. Bangi ku abo abaali bayigganya abantu ba Katonda baakyusa endowooza yaabwe oluvannyuma lw’okulaba abaami baabwe, bakyala baabwe, abaana baabwe, oba baliraanwa baabwe abaweereza Yakuwa nga booleka engeri ezo. Mu butuufu n’abamu ku bo baafuuka bakkiriza bannaffe. N’olwekyo, bwe kiba nga kikuzibuwalira okwagala abo abaakukyawa olw’okuba oweereza Yakuwa, saba Yakuwa akuwe omwoyo gwe omutukuvu. (Luk. 11:13) Era ba mukakafu nti okugondera Katonda bulijjo kye kisingayo obulungi.​—Nge. 3:5-7.

14-15. Abaruumi 12:17-21 waayamba watya Yasmeen okulaga omwami we okwagala wadde nga yali amuyigganya nnyo?

14 Lowooza ku Yasmeen abeera mu nsi emu eya Buwalabu. Bwe yafuuka Omujulirwa wa Yakuwa, omwami we yali alowooza nti abuzaabuziddwa era yagezaako okumulemesa okuweereza Katonda. Yamuvuma era n’agamba ab’eŋŋanda zaabwe, n’omukulu w’eddiini omu, n’omusamize omu okumutiisatiisa n’okumulumiriza nti yali ayagala kwonoona bufumbo bwabwe. Era lumu omwami we yajja ku Kizimbe ky’Obwakabaka n’aleekaanira ab’oluganda nga bw’abavuma ng’olukuŋŋaana lugenda mu maaso! Emirundi mingi Yasmeen yakaabanga olw’okuba yali ayisibwa bubi.

15 Yasmeen bwe yajjanga mu nkuŋŋaana, ab’oluganda baamubudaabudanga era baamugumyanga. Abakadde baamukubiriza okukolera ku magezi agali mu Abaruumi 12:17-21. (Soma.) Yasmeen agamba nti: “Tekyali kyangu, naye nnasaba Yakuwa okunnyamba era ne nfuba okukolera ku ekyo Bayibuli ky’egamba. Omwami wange bwe yakyafuwazanga effumbiro mu bugenderevu okunnumya, nnaliyonjanga. Bwe yanvumanga nnamuddangamu mu bukkakkamu. Era bwe yalwalanga nnamulabiriranga bulungi.”

Bwe tulaga abo abatuyigganya okwagala, bayinza okukyusa endowooza yaabwe (Laba akatundu 16-17) *

16-17. Kiki ky’oyigidde ku Yasmeen?

16 Yasmeen yafuna emikisa olw’okulaga omwami we okwagala. Agamba nti: “Omwami wange yeeyongera okunneesiga kubanga yali akimanyi nti bulijjo njogera mazima. Yatandika okumpulirizanga obulungi nga twogera ku by’eddiini era yakkiriza okuzzaawo emirimbe awaka. Kati anjagaliza okugenda mu nkuŋŋaana era bwe mba ŋŋenda aŋŋamba nzinyumirwe. Embeera y’amaka gaffe erongoose nnyo era tulina emirembe. Kati kye nsaba kwe kuba nti omwami wange anneegattako mu kusinza Yakuwa.”

17 Ekyokulabirako kya Yasmeen kiraga nti okwagala “kugumira ebintu byonna, . . . kusuubira ebintu byonna, kugumiikiriza ebintu byonna.” (1 Kol. 13:4, 7) Obukyayi buyinza okuba obw’amaanyi ennyo era buleeta obulumi bungi, naye okwagala kubusingira wala amaanyi. Okwagala kukyusa emitima gy’abantu, era kuleetera Yakuwa essanyu. Naye abalabe baffe ne bwe beeyongera okutukyawa tusobola okuba abasanyufu. Tutya?

TUSOBOLA OKUBA ABASANYUFU WADDE NGA TUKYAYIDDWA

18. Lwaki tusobola okuba abasanyufu wadde nga tukyayiddwa?

18 Yesu yagamba nti: “Mulina essanyu abantu bwe banaabakyawanga.” (Luk. 6:22) Tetwagala kukyayibwa. Tetunyumirwa kuyigganyizibwa olw’enzikiriza yaffe. Kati olwo lwaki tusobola okuba abasanyufu nga tukyayiddwa? Lowooza ku nsonga ssatu. Esooka, bwe tugumiikiriza Katonda atusiima. (1 Peet. 4:13, 14) Ey’okubiri, okukkiriza kwaffe kweyongera okunywera. (1 Peet. 1:7) Ey’okusatu, tujja kufuna ekirabo ssemalabo eky’obulamu obutaggwaawo.​—Bar. 2:6, 7.

19. Lwaki abatume baali basanyufu oluvannyuma lw’okukubibwa?

19 Bwe waali wayise ekiseera kitono nga Yesu amaze okuzuukizibwa, abatume baafuna essanyu lye yayogerako. Oluvannyuma lw’abalabe baabwe okubakuba n’okubalagira okulekera awo okubuulira, abatume baasanyuka nnyo. Lwaki? “Olw’okuba Katonda yali abawadde enkizo okuweebuulwa olw’erinnya lya Yesu.” (Bik. 5:40-42) Okwagala kwe baalina eri Mukama waabwe kwali kwa maanyi nnyo okusinga okutya okukyayibwa abalabe baabwe. Okwagala okwo baakulaga nga “beeyongera” okubuulira amawulire amalungi. Bangi ku baganda baffe leero beeyongera okuweereza Yakuwa n’obwesigwa wadde nga boolekagana n’ebizibu eby’amaanyi. Bakimanyi nti Yakuwa tasobola kwerabira mulimu gwabwe n’okwagala kwe balaga erinnya lye.​—Beb. 6:10.

20. Kiki kye tujja okulaba mu kitundu ekiddako?

20 Ng’ensi ya Sitaani ekyaliwo, ensi ejja kweyongera okutukyawa. (Yok. 15:19) Naye tetusaanidde kutya. Nga bwe tujja okulaba mu kitundu ekiddako, Yakuwa anyweza abaweereza be abeesigwa era abakuuma. (2 Bas. 3:3) N’olwekyo, ka tweyongere okwagala Yakuwa, okwagala bakkiriza bannaffe, n’okwagala abalabe baffe. Bwe tukola tutyo, tujja kisigala nga tuli bumu, nga tuli banywevu mu by’omwoyo, tujja kuleetera Yakuwa ettendo, era tujja kukiraga nti okwagala kwa maanyi okusinga obukyayi.

OLUYIMBA 106 Okukulaakulanya Okwagala

^ lup. 5 Mu kitundu kino tugenda kulaba engeri okwagala kwe tulina eri Yakuwa, eri bakkiriza bannaffe, n’eri abalabe baffe gye kutuyamba okugumira obukyayi ensi bw’erina gye tuli. Ate era tugenda kulaba ensonga lwaki Yesu yagamba nti tusobola okuba abasanyufu wadde nga tukyayiddwa.

^ lup. 1 Amannya gakyusiddwa.

^ lup. 58 EBIFAANANYI: Oluvannyuma lw’abasirikale okutiisatiisa Danylo, ab’oluganda baamuyamba ye ne mukyala we okugenda mu kitundu ekirala. Era ne gye baagenda baayanirizibwa bulungi.

^ lup. 60 EBIFAANANYI: Omwami wa Yasmeen yamuyigganya, naye abakadde baawa Yasmeen amagezi amalungi. Yasmeen yeeyongera okweyisa obulungi, era yalabirira omwami we nga mulwadde.