Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Kiki omutume Pawulo kye yali ategeeza bwe yagamba nti: “Okuyitira mu mateeka nnafa eri amateeka”?​—Bag. 2:19.

Pawulo yagamba nti: “Okuyitira mu mateeka nnafa eri amateeka nsobole okubeera omulamu eri Katonda.”​—Bag. 2:19.

Ekyo Pawulo kye yayogera kyali kikwatagana n’ensonga enkulu gye yali ayagala Abakristaayo ab’omu bibiina by’essaza lya Rooma erya Ggalatiya bategeere. Abakristaayo abamu mu bibiina ebyo baali batwalirizibwa abayigiriza ab’obulimba. Abayigiriza abo baali bagamba nti omuntu okusobola okulokolebwa yalina okukwata Amateeka ga Musa, nnaddala etteeka ery’okukomolebwa. Naye Pawulo yali ekimanyi nti Katonda yali takyetaagisa baweereza be kukomolebwa. Yannyonnyola mu ngeri etegeerekeka obulungi, n’akiraga nti enjigiriza ezo zaali za bulimba, era yanyweza okukkiriza Abakristaayo abo kwe baalina mu ssaddaaka Yesu Kristo gye yawaayo.​—Bag. 2:4; 5:2.

Bayibuli ekyoleka bulungi nti omuntu bw’afa aba talina kintu kyonna ky’amanyi era ebintu byonna ebiba bimwetoolodde biba tebikyamukwatako. (Mub. 9:5) Pawulo bwe yagamba nti: “okuyitira mu mateeka nnafa,” yali ategeeza nti Amateeka ga Musa gali tegakyamulinako buyinza. Mu kifo ky’ekyo, Pawulo yali mukakafu nti yali ‘mulamu eri Katonda’ olw’okukkiriza kwe yalina mu kinunulo.

Enkyukakyuka eyo mu bulamu bwa Pawulo yajjawo “okuyitira mu mateeka.” Mu ngeri ki? Yali yaakamala okukiraga nti “omuntu ayitibwa mutuukirivu si lwa kutuukiriza ebyo amateeka bye galagira naye olw’okukkiririza mu Yesu Kristo.” (Bag. 2:16) Kyo kituufu nti amateeka galina ekintu ekikulu kye gaali gakoze. Pawulo yagamba Abaggalatiya nti: “Gaagattibwako okwoleka ebyonoono, okutuusa ezzadde eryaweebwa ekisuubizo lwe lyandizze.” (Bag. 3:19) Amateeka gaakyoleka bulungi nti abantu abatatuukiridde baali tebasobola kukwata Mateeka mu ngeri etuukiridde, era nti baali beetaaga ssaddaaka ey’enkomeredde etuukiridde. N’olwekyo, Amateeka gaatuusa abantu ku ‘zzadde,’ ng’ono ye Kristo. Katonda yali asobola okutwala omuntu nti mutuukirivu olw’okukkiririza mu Yesu Kristo. (Bag. 3:24) Pawulo yatwalibwa okuba omutuukirivu olw’okuba okuyitira mu Mateeka yakkiririza mu Yesu. N’olwekyo Pawulo ‘yafa okuyitira mu mateeka’ era ‘n’afuuka mulamu eri Katonda.’ Amateeka gaali tegakyamulinako buyinza wabula Katonda.

Pawulo yalaga ekintu ekyo kye kimu mu bbaluwa gye yawandiikira Abaruumi. Yagamba nti: “Baganda bange, okuyitira mu mubiri gwa Kristo nammwe mwafa ku bikwata ku Mateeka. . . . Tusumuluddwa okuva mu Mateeka, kubanga twafa ku bikwata ku ekyo ekyali kitukugira.” (Bar. 7:4, 6) Mu nnyiriri ezo ne mu Abaggalatiya 2:19, Pawulo yali tayogera ku kufa ng’omwonoonyi eyali alemereddwa okukwata Amateeka. Mu kifo ky’ekyo, yali ayogera ku kusumululwa. Amateeka gaali tegakyamulinako buyinza awamu n’abalala abaali nga ye. Okukkiririza mu kinunulo kya Kristo kwali kubafudde ba ddembe.