Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 24

Osobola Okuva mu Mitego gya Sitaani!

Osobola Okuva mu Mitego gya Sitaani!

‘Va mu mutego gw’Omulyolyomi.’​—2 TIM. 2:26.

OLUYIMBA 36 Tukuuma Emitima Gyaffe

OMULAMWA *

1. Lwaki tuyinza okugeraageranya Sitaani ku muyizzi?

OMUYIZZI aba n’ekigendererwa kimu, okukwasa oba okutta ensolo. Asobola okukozesa emitego egy’enjawulo okukwasa ensolo eyo. (Yob. 18:8-10) Omuyizzi ayinza atya okuleetera ensolo okugwa mu mutego gwe? Asooka ne yeetegereza ensolo eyo. Etera kugenda wa? Kiki ky’esinga okwagala? Mutego ki gw’ayinza okukozesa okugikwasa nga tekisuubira? Sitaani afaananako omuyizzi oyo. Atwetegereza. Yeetegereza wa gye tutera okulaga ne bye tusinga okwagala. Era atega omutego gw’alowooza nti gusobola okutukwasa nga tetukisuubira. Wadde kiri kityo, Bayibuli egamba nti bwe tugwa mu mutego gwa Sitaani tusobola okuguvaamu. Kyokka era etulaga engeri gye tuyinza okwewalira ddala emitego gya Sitaani, tuleme kugigwamu.

Amalala n’omululu gye gimu ku mitego Sitaani gy’asinze okukozesa okukwasa abantu (Laba akatundu 2) *

2. Emitego ebiri Sitaani gy’akozesa ennyo okukwasa abantu gye giruwa?

2 Egimu ku mitego Sitaani gy’asinga okukozesa okukwasa abantu ge malala n’omululu. * Sitaani amaze emyaka nkumi na nkumi ng’akozesa emitego egyo. Alinga omutezi w’ebinyonyi abisendasenda okugwa mu mutego gwe. (Zab. 91:3) Naye tusobola okwewala okugwa mu mitego gya Sitaani. Lwaki? Kubanga Yakuwa atulaze obukodyo Sitaani bw’akozesa.​—2 Kol. 2:11.

Tusobola okuyigira ku byokulabirako by’abo aboogerwako mu Bayibuli, ne twewala oba ne tuva mu mitego gya Sitaani (Laba akatundu 3) *

3. Lwaki Yakuwa yateeka ebyokulabirako ebitali bimu mu Bayibuli?

3 Engeri emu Yakuwa gy’atulabula ku mululu n’amalala, kwe kutubuulira ebyo ebyatuuka ku bamu ku baweereza be tusobole okwewala okukola ensobi ze baakola. Tujja kukyetegereza nti Sitaani yasobola n’okukwasa abamu ku baweereza ba Katonda abakulu mu by’omwoyo. Ekyo kitegeeza nti tetusobola kwewala mitego gya Sitaani? Nedda. Yakuwa yateeka ebyokulabirako ebyo mu Bayibuli “okutulabula.” (1 Kol. 10:11) Akimanyi nti tusobola okuyigira ku byokulabirako ebyo ne tusobola okwewala oba okuva mu mitego gy’Omulyolyomi.

AMALALA

Laba akatundu 4

4. Kiki ekiyinza okututuukako singa tufuna amalala?

4 Sitaani yagala tufune amalala. Akimanyi nti singa tufuna amalala, tujja kubeera nga ye tufiirwe ekirabo eky’obulamu obutaggwaawo. (Nge. 16:18) Eyo ye nsonga lwaki omutume Pawulo yagamba nti singa omuntu afuna amalala “asalirwa omusango ogwasalirwa Omulyolyomi.” (1 Tim. 3:6, 7) Ekyo kisobola okutuuka ku buli omu, k’abe nga mupya mu mazima oba ng’amaze emyaka mingi ng’aweereza Yakuwa.

5. Nga bwe kiragibwa mu Omubuulizi 7:16, 20, omuntu ayinza atya okwoleka amalala?

5 Omuntu ow’amalala aba yeerowoozaako yekka. Naddala mu biseera nga tulina ebizibu, Sitaani agezaako okutuleetera okwerowoozaako ffekka mu kifo ky’okulowooza ku Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, waliwo eyakuwaayiriza? Oba waliwo eyakuyisa mu ngeri etali ya bwenkanya? Mu mbeera ng’eyo, Sitaani aba ayagala onyiigire Yakuwa oba bakkiriza banno. Ate era Sitaani aba ayagala ogezeeko okugonjoola ekizibu ekyo mu magezi go, mu kifo ky’okukolera ku bulagirizi Yakuwa bw’atuwa mu Kigambo kye.​—Soma Omubuulizi 7:16, 20.

6. Kiki ky’oyigira ku mwannyinaffe abeera mu Netherlands?

6 Lowooza ku mwannyinaffe abeera mu Netherlands eyanyiiga olw’obutali butuukirivu bwa bakkiriza banne. Yawulira ng’embeera eyo takyasobola kugigumiikiriza. Agamba nti: “Nnawulira nga sikyagya mu kibiina ekyo era nga sisobola kusonyiwa bakkiriza bannange abo. Nnagamba omwami wange nti tukyuse ekibiina.” Mu kiseera ekyo, mwannyinaffe oyo yalaba programu ya Maaki 2016 ku JW Broadcasting®. Mu programu eyo, mwalimu amagezi ku ngeri y’okukwatamu obutali butuukirivu bw’abalala. Mwannyinaffe oyo agamba nti: “Nnakiraba nti mu kifo ky’okumalira ebirowoozo ku butali butuukirivu bwa bakkiriza bannange, nnalina okuba omwetoowaze nneekebere mu bwesimbu nkole ku nsobi zange. Programu eyo yannyamba okumalira ebirowoozo byange ku Yakuwa n’obufuzi bwe.” Kiki ky’oyigira ku mwannyinaffe oyo? Bw’ofuna ebizibu, ebirowoozo byo bimalire ku Yakuwa. Musabe akuyambe okutunuulira abalala nga bw’abatunuulira. Kitaawo ow’omu ggulu alaba ensobi zaabwe, naye mwetegefu okubasonyiwa. Ayagala naawe obasonyiwe.​—1 Yok. 4:20.

Laba akatundu 7

7. Kiki ekyatuuka ku Kabaka Uzziya?

7 Amalala gaaleetera Kabaka Uzziya owa Yuda obutawuliriza kuwabulwa era gaamuleetera okwetulinkiriza. Uzziya alina ebintu bingi bye yasobola okukola. Yawangula entalo nnyingi, yazimba ebibuga bingi, era yalina amalimiro mangi. Bayibuli egamba nti: “Katonda ow’amazima yamuwa emikisa.” (2 Byom. 26:3-7, 10) “Kyokka olwafuna amaanyi, n’afuna amalala mu mutima ne yeereetera emitawaana.” Yakuwa yali yagamba nti bakabona bokka be baalina okwotereza obubaani ku yeekaalu. Naye Kabaka Uzziya yeetulinkiriza n’agenda mu yeekaalu okwotereza obubaani. Ekyo tekyasanyusa Yakuwa, era yakuba omusajja oyo ow’amalala ebigenge. Uzziya yasigala nga mugenge okutuukira ddala lwe yafa.​—2 Byom. 26:16-21.

8. Okusinziira ku 1 Abakkolinso 4:6, 7, tuyinza tutya okwewala okuba ab’amalala?

8 Amalala gasobola okutuleetera okugwa mu mutego gwe gumu ng’ogwo Uzziya gwe yagwamu? Lowooza ku w’oluganda José. Ebintu byali bimutambulira bulungi mu bizineesi era ng’aweereza ng’omukadde mu kibiina. Yawanga emboozi ku nkuŋŋaana ennene era abalabirizi abakyalira ebibiina baamwebuuzangako. José agamba nti: “Nnassa nnyo obwesige mu busobozi bwange ne mu bumanyirivu bwe nnalina. Nnali sikyakolera ku bulagirizi bwa Yakuwa. Nnali ndowooza nti ndi munywevu nnyo era nnalekera awo okuwuliriza okulabula n’okuwabulwa okuva eri Yakuwa.” José yakola ekibi eky’amaanyi era n’agobebwa mu kibiina. Naye nga wayise emyaka, yakomezebwawo mu kibiina. Agamba nti: “Yakuwa anjigirizza nti ekikulu si ze nkizo ze tuba tulina, wabula kwe kukola ebyo by’atugamba okukola.” Ka bulijjo tukijjukire nti ebitone byonna bye tulina n’enkizo zonna ze tulina mu kibiina biva eri Yakuwa. (Soma 1 Abakkolinso 4:6, 7.) Bwe tuba ab’amalala, Yakuwa tajja kutukozesa.

OMULULU

Laba akatundu 9

9. Omululu gwaleetera Sitaani ne Kaawa kukola ki?

9 Bwe tulowooza ku mululu, kitujjukiza Sitaani Omulyolyomi. Olw’okuba yali malayika wa Yakuwa, Sitaani ateekwa okuba nga yalina enkizo nnyingi. Naye yali ayagala ekisingawo. Yali ayagala asinzibwe ate nga Yakuwa yekka y’agwanidde okusinzibwa. Olw’okuba Sitaani ayagala tube nga ye, agezaako okutuleetera obutaba bamativu n’ebyo bye tulina. Ekyo yasooka kukikola ku Kaawa. Yakuwa Katonda ow’okwagala, yawa Kaawa n’omwami we eby’okulya bingi ebirungi. Yabagamba nti baali basobola okulya “ku buli muti ogw’omu lusuku,” okuggyako omuti gumu gwokka. (Lub. 2:16) Kyokka Sitaani yaleetera Kaawa okulowooza nti yali yeetaaga okulya ku muti ogwo ogumu gwokka ogwali gubagaaniddwa. Kaawa yalemererwa okusiima ebyo bye yalina; yali ayagala ekisingawo. Tumanyi ekyavaamu. Kaawa yakola ekibi era oluvannyuma yafa.​—Lub. 3:6, 19.

Laba akatundu 10

10. Omululu gwaleetera Kabaka Dawudi kukola ki?

10 Omululu gwaleetera Kabaka Dawudi okwerabira ebyo byonna Yakuwa bye yali amuwadde, nga muno mwe mwali eby’obugagga, ettutumu, n’okuwangula abalabe be. Dawudi yagamba nti yali asiima ebyo byonna Yakuwa bye yali amukoledde era yagamba nti byali ‘bisusse obungi, nga tebimalikayo!’ (Zab. 40:5) Naye lumu Dawudi yeerabira ebyo byonna Yakuwa bye yali amukoledde. Yalekera awo okuba omumativu, era yayagala ekisingawo. Wadde nga Dawudi yalina abakazi bangi, yeegwanyiza mukazi wa munne. Yeegomba Basuseba, mukazi wa Uliya Omukiiti. Dawudi yeerowoozaako yekka ne yeegatta ne Basuseba, era Basuseba n’afuna olubuto. Okugatta ku ekyo, Dawudi yakola n’enteekateeka Uliya attibwe! (2 Sam. 11:2-15) Naye ddala kiki Dawudi kye yali alowooza? Yali alowooza nti Yakuwa talaba? Wadde nga Dawudi yali aweerezza Yakuwa n’obwesigwa okumala ebbanga ddene, yakkiriza omululu okumuleetera okukola ekibi era ekyo kyamuviiramu emitawaana mingi. Naye ekirungi kiri nti, oluvannyuma lw’ekiseera, Dawudi yakkiriza ensobi ye era ne yeenenya. Kiteekwa okuba nga kyamusanyusa nnyo Yakuwa bwe yamusonyiwa!​—2 Sam. 12:7-13.

11. Okusinziira ku Abeefeso 5:3, 4, kiki ekisobola okutuyamba okwewala omululu?

11 Kiki kye tuyigira ku Dawudi? Tuyiga nti tusobola okwewala omululu singa tusigala nga tusiima ebyo Yakuwa by’atukoledde. (Soma Abeefeso 5:3, 4.) Tulina okuba abamativu n’ebyo bye tulina. Bwe tuba tusomesa abantu Bayibuli, tubakubiriza buli lunaku okubaako ekintu ekimu kye balowoozaako Yakuwa ky’abakoledde era bamwebaze. Ekyo omuntu bw’akikola buli lunaku, wiiki w’eggwerako, aba ayogedde ku bintu eby’enjawulo musanvu by’aba yeebazizza Yakuwa mu kusaba. (1 Bas. 5:18) Naawe okola kye kimu? Bw’ofumiitiriza ku ebyo byonna Yakuwa by’akukoledde, kijja kukuyamba okusiima by’olina. Era bw’oba ng’osiima ebintu by’olina, oba mumativu. Bw’oba omumativu, tosobola kufuna mululu.

Laba akatundu 12

12. Kiki omululu kye gwaleetera Yuda Isukalyoti okukola?

12 Olw’okuba Yuda yalina omululu, yakola ekibi eky’amaanyi ennyo bwe yalyamu Yesu olukwe. Naye mu kusooka Yuda teyali bw’atyo. (Luk. 6:13, 16) Yesu yamulonda okuba omutume. Yuda ateekwa okuba nga yali yeesigika, kubanga Yesu yamukwasa obuvunaanyizibwa obw’okukuuma akasanduuko omwaterekebwanga ssente. Yesu n’abatume baakozesanga ssente ezo okukola ku nsaasaanya yaabwe nga babuulira. Ssente ezo zisobola okugeraageranyizibwa ku ssente ze tuwaayo okuwagira omulimu gw’okubuulira mu nsi yonna leero. Naye ekiseera kyatuuka Yuda n’atandika okubba ssente ezo, wadde nga yali awulidde Yesu enfunda n’enfunda ng’alabula abantu ku kwewala omululu. (Mak. 7:22, 23; Luk. 11:39; 12:15) Yuda teyafaayo ku kulabula okwo.

13. Ddi Yuda lwe yatandika okukyoleka nti yalina omululu?

13 Omululu gwa Yuda gwatandika okweyoleka mu kiseera nga Yesu anaatera okuttibwa. Yesu n’abayigirizwa be, awamu ne Maliyamu ne Maliza baali bakyadde mu maka ga Simooni omugenge. Bwe baali balya, Maliyamu yasituka n’addira amafuta ag’omuwendo omungi n’agafuka ku mutwe gwa Yesu. Ekyo tekyasanyusa Yuda n’abayigirizwa abalala. Abayigirizwa abalala bo bayinza okuba nga baali bawulira nti amafuta ago ganditundiddwa, ssente ne zikozesebwa mu mulimu gw’okubuulira. Naye ekiruubirirwa kya Yuda kyo kyali kya njawulo. “Yali mubbi,” era yali ayagala ssente ezo ziteekebwe mu kasanduuko azibbe. Era olw’okuba Yuda yali afunye omululu, yalyamu Yesu olukwe asobole okufuna ssente.​—Yok. 12:2-6; Mat. 26:6-16; Luk. 22:3-6.

14. Ow’oluganda omu ne mukyala we baakolera batya ku ebyo ebiri mu Lukka 16:13?

14 Yesu yajjukiza abagoberezi be ekintu kino ekikulu: “Temusobola kuba baddu ba Katonda na ba Byabugagga.” (Soma Lukka 16:13.) Ekyo kituufu ne leero. Lowooza ku ngeri ow’oluganda omu ne mukyala we ababeera mu Romania gye baakolera ku bigambo bya Yesu ebyo. Baaweebwa omulimu ogusasula ssente ennyingi mu nsi emu eyakulaakulana. Bagamba nti: “Twalina ebbanja ddene mu bbanka, n’olwekyo mu kusooka twalowooza nti omulimu ogwo gwali mukisa okuva eri Yakuwa.” Naye waaliwo obuzibu. Omulimu ogwo gwandibadde gutaataaganya obuweereza bwabwe eri Yakuwa. Oluvannyuma lw’okusoma ekitundu ekirina omutwe “Kuuma Obwesigwa ng’Olina Omutima Oguli Awamu” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Agusito 15, 2008, baasalawo obutakola mulimu ogwo. Bagamba nti: “Singa twagenda mu nsi endala olw’okwagala okufuna ssente ezisingawo, enkolagana yaffe ne Yakuwa twandibadde tugitadde mu kifo eky’okubiri. Twali tukimanyi bulungi nti bwe twandigenze okukola omulimu ogwo, enkolagana yaffe ne Yakuwa yandibadde enafuwa.” Ow’oluganda oyo ne mukyala we tebakkiriza mulimu ogwo. Kiki ekyaddirira? Ow’oluganda yafuna omulimu mu nsi yaabwe ogwali gusobola okubayamba okukola ku byetaago byabwe. Mukyala we agamba nti: “Omukono gwa Yakuwa si mumpi; bulijjo alabirira abaweereza be.” Ow’oluganda oyo ne mukyala we basanyufu okuba nti baalondawo Yakuwa okuba Mukama waabwe, mu kifo kya ssente.

WEEWALE EMITEGO GYA SITAANI

15. Lwaki tusobola okuba abakakafu nti tusobola okuva mu mitego gya Sitaani?

15 Watya singa tukizuula nti tulina amalala oba omululu? Tusobola okuva mu mitego egyo! Pawulo yagamba nti abo Omulyolyomi ‘b’akwasizza nga balamu’ basobola okuva mu mutego gwe. (2 Tim. 2:26) Ekyo ne Dawudi kye yakola. Yawuliriza Nasani, ne yeenenya mu bwesimbu, era n’atereeza enkolagana ye ne Yakuwa. Tetusaanidde kukyerabira nti Yakuwa wa maanyi okusinga Sitaani. N’olwekyo, bwe tukkiriza Yakuwa okutuyamba, tusobola okuva mu mutego gwonna Sitaani gw’aba atuteze.

16. Kiki ekinaatuyamba okwewala emitego gya Sitaani?

16 Kya lwatu nti mu kifo ky’okusooka okulinda okugwa mu mitego gya Sitaani tulyoke tugiveemu, kiba kya magezi okugyewalira ddala. Katonda asobola okutuyamba okugyewala. Tetusaanidde kulowooza nti ffe tetusobola kufuna malala oba mululu! N’abamu ku abo abamaze emyaka mingi nga baweereza Yakuwa bafunye amalala oba omululu. N’olwekyo saba Yakuwa buli lunaku akuyambe okulaba obanga otandise okufuna engeri ezo embi. (Zab. 139:23, 24) Tokkiriza kuba na ngeri ezo!

17. Kiki ekinaatera okutuuka ku mulabe waffe Sitaani?

17 Sitaani amaze emyaka mingi ng’ayigga abantu. Naye mu kiseera ekitali kya wala, ajja kusibibwa era oluvannyuma ajja kuzikirizibwa. (Kub. 20:1-3, 10) Twesunga nnyo ekiseera ekyo. Nga bwe tulindirira ekiseera ekyo, weeyongere okwewala emitego gya Sitaani. Fuba nnyo okwewala amalala n’omululu. Ba mumalirivu ‘okuziyiza Omulyolyomi, naye ajja kukudduka.’​—Yak. 4:7.

OLUYIMBA 127 Oyagala Mbeere Muntu wa Ngeri Ki

^ lup. 5 Sitaani alinga omuyizzi omukugu. Agezaako okutukwasa, ka tube nga tumaze bbanga ki nga tuweereza Yakuwa. Mu kitundu kino, tugenda kulaba engeri Sitaani gy’agezaako okukozesa amalala n’omululu okwonoona enkolagana yaffe ne Katonda. Ate era tugenda kulabayo abantu abamu abaagwa mu mutego gw’amalala n’omululu era tulabe engeri gye tuyinza okwewalamu emitego egyo.

^ lup. 2 EBIGAMBO EBINNYONNYOLWA: Ekitundu kino kigenda kwogera ku malala, kwe kugamba, omuntu okwetwala nti asinga abalala, ne ku mululu, nga kuno kwe kwagala ennyo ssente, obuyinza, okwegatta, n’ebirala ebiringa ebyo.

^ lup. 53 EBIFAANANYI: Ow’oluganda ayoleka amalala n’agaana okukkiriza obulagirizi. Mwannyinaffe alina ebintu ebingi akyayagala okufuna ebirala.

^ lup. 55 EBIFAANANYI: Omu ku bamalayika ba Katonda ne Kabaka Uzziya, baafuna amalala. Omululu gwe gwaleetera Kaawa okulya ku kibala ekyagaanibwa, Dawudi okwenda ku Basuseba, ne Yuda okubba ssente.