Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 28

Weewale Okuvuganya—Leetawo Emirembe

Weewale Okuvuganya—Leetawo Emirembe

“Ka tulemenga okwetwala nti tuli ba kitalo, nga tuleetawo okuvuganya wakati mu ffe, era nga tukwatirwagana obuggya.”​—BAG. 5:26.

OLUYIMBA 101 Okukolera Awamu nga Tuli Bumu

OMULAMWA *

1. Bintu ki omuntu alina omwoyo gw’okuvuganya by’ayinza okukola?

MU NSI leero, abantu bangi beefaako bokka era balina omwoyo gw’okuvuganya. Munnabizineesi ayinza okusalawo okukola ebintu ebikosa abalala okusobola okusinga banne. Omuzannyi ayinza okuleeta obuvune ku munne mu bugenderevu olw’okuba ayagala okuwangula omuzannyo. Omuyizi ayagala okugenda ku yunivasite ennungi ayinza okubba ebigezo. Abakristaayo tukimanyi nti kikyamu okukola ebintu ng’ebyo, era bye bimu ku ‘bikolwa eby’omubiri.’ (Bag. 5:19-21) Kyokka, kyandiba nti abamu ku baweereza ba Yakuwa baleetawo omwoyo gw’okuvuganya nga tebakimanyi na kukimanya? Kikulu nnyo okulowooza ku kibuuzo ekyo kubanga omwoyo gw’okuvuganya gusobola okumalawo obumu mu kibiina.

2. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

2 Mu kitundu kino tugenda kulaba ezimu ku ngeri embi ezisobola okutuviirako okuleetawo omwoyo gw’okuvuganya mu kibiina. Ate era tugenda kulaba abamu ku bakazi n’abasajja aboogerwako mu Bayibuli abeewala okuba n’omwoyo gw’okuvuganya. Kati ka tusooke tulabe engeri gye tusobola okwekebera okulaba obanga tetulina mwoyo gwa kuvuganya.

WEEKEBERE

3. Bibuuzo ki bye tusaanidde okwebuuza?

3 Buli luvannyuma lwa kiseera tusaanidde okwekebera okulaba obanga tetulina mwoyo gwa kuvuganya. Tusaanidde okwebuuza: ‘Nneetwala nti ndi wa mugaso nga mmaze kwegeraageranya n’abalala ne ndaba nti mbasinga? Nkola n’obunyiikivu mu kibiina olw’okuba njagala okusinga abalala? Oba njagala bwagazi kuwa Yakuwa ekisingayo obulungi?’ Lwaki tusaanidde okwebuuza ebibuuzo ng’ebyo? Ka tulabe Bayibuli ky’egamba.

4. Lwaki tusaanidde okwewala okwegeraageranya n’abalala nga bwe kiragibwa mu Abaggalatiya 6:3, 4?

4 Bayibuli etukubiriza okwewala okwegeraageranya n’abalala. (Soma Abaggalatiya 6:3, 4.) Lwaki? Ku luuyi olumu, bwe tulowooza nti tusinga abalala, tuyinza okufuna amalala. Ate ku luuyi olulala, bwe twenyooma olw’okuba tulowooza nti abalala batusinga, kiyinza okutumalamu amaanyi. Endowooza ezo zombi si nnuŋŋamu. (Bar. 12:3) Mwannyinaffe ayitibwa Katerina, * abeera mu Buyonaani agamba nti: “Nneegeraageranyanga n’abalala be nnali ntwala nti balabika bulungi okunsinga, bakola bulungi mu buweereza okunsinga, era nti kibanguyira okukola emikwano. Ekyo kyanviirako okuwulira nti siri wa mugaso.” Tusaanidde okukijjukira nti Yakuwa okutusembeza gy’ali, teyasinziira ku kuba nti tulabika bulungi, tuli boogezi balungi, oba nti tuli ba ttutumu, wabula yatusembeza olw’okuba twali beetegefu okumwagala n’okuwuliriza Omwana we.​—Yok. 6:44; 1 Kol. 1:26-31.

5. Kiki ky’oyigidde ku w’oluganda Hyun?

5 Ate era tusaanidde okwebuuza, ‘Mmanyiddwa ng’omuntu aleetawo emirembe, oba atera okuba n’obutakkaanya n’abalala?’ Lowooza ku w’oluganda Hyun abeera mu South Korea. Yakwatirwanga obuggya ab’oluganda abamu abaalina enkizo mu kibiina. Agamba nti, “Nnanoonyanga ensobi mu b’oluganda abo, era sakkiriziganyanga n’ebyo bye baabanga basazeewo.” Biki ebyavaamu? Agamba nti, “Endowooza yange yaleetawo enjawukana mu ekibiina.” Abamu ku mikwano gya Hyun baamuyamba okulaba ekizibu kye yali alina. Hyun yakola enkyukakyuka ezaali zeetaagisa era kati aweereza ng’omukadde. Bwe tukiraba nti tuli bantu abalina omwoyo gw’okuvuganya so si abaleetawo emirembe, tusaanidde okubaako kye tukolawo.

WEEWALE OKWETWALA NTI OLI WA KITALO N’OKUBA N’OBUGGYA

6. Okusinziira ku Abaggalatiya 5:26, ngeri ki embi ezisobola okuleetera omuntu okuba n’omwoyo gw’okuvuganya?

6 Soma Abaggalatiya 5:26. Ngeri ki embi ezisobola okuleetera omuntu okuba n’omwoyo gw’okuvuganya? Emu ku zo kwe kwetwala okuba ow’ekitalo. Omuntu eyeetwala okuba nti wa kitalo aba n’amalala era aba yeefaako yekka. Engeri endala embi bwe buggya. Omuntu ow’obuggya aba yeegwanyiza ekyo omuntu omulala ky’alina, ate era aba tamwagaliza kuba nakyo. Obuggya buviirako omuntu okuba n’obukyayi. Tusaanidde okwewalira ddala engeri ezo embi!

7. Akabi akali mu kwetwala okuba ow’ekitalo n’okuba n’obuggya kayinza kugeraageranyizibwa ku ki?

7 Okwetwala okuba ow’ekitalo n’okuba n’obuggya biyinza okugeraageranyizibwa ku bukyafu obuyinza okuba mu mafuta g’ennyonyi. Ennyonyi eyinza okusobola okubuuka, naye oluvannyuma obukyafu obwo buyinza okuzibikira enseke ne kiviirako yingini okulemererwa, ennyonyi ne yeerindiggula ku ttaka. Mu ngeri y’emu, omuntu ayinza okuweereza Yakuwa okumala ekiseera. Naye bw’aba ng’alina amalala n’obuggya, kiyinza okumuviirako okugwa. (Nge. 16:18) Alekera awo okuweereza Yakuwa ne yeeretera obulumi era n’alumya n’abalala. Tuyinza tutya okwewala okwetwala okuba ab’ekitalo n’okuba n’obuggya?

8. Tuyinza tutya okwewala okwetwala okuba ab’ekitalo?

8 Tusobola okwewala okwetwala okuba ab’ekitalo nga tukolera ku kubuulirira omutume Pawulo kwe yawa Abafiripi. Yagamba nti: “Temukola kintu kyonna mu kuyomba, oba mu kwetwala ng’ab’ekitalo, wabula nga mukola ebintu byonna mu buwombeefu nga mukitwala nti abalala babasinga.” (Baf. 2:3) Bwe tukitwala nti abalala batusinga, tetujja kuvuganya n’abo abayinza okuba n’obusobozi obusinga ku bwaffe. Mu kifo ky’ekyo, tujja kuba basanyufu nti balina obusobozi obwo, nnaddala singa baba babukozesa okuweereza Yakuwa. Ate era baganda baffe abo abalina obusobozi obw’enjawulo bwe baba nga bakolera ku kubuulirira kwa Pawulo, bajja kuba basiima engeri ennungi ze tulina. N’ekinaavaamu, ffenna tujja kuba tuleetawo emirembe n’obumu mu kibiina.

9. Tuyinza tutya okwewala okukwatirwa abalala obuggya?

9 Tusobola okwewala okukwatirwa abalala obuggya nga tufuba okumanya obusobozi bwaffe we bukoma. Bwe tuba nga tumanyi obusobozi bwaffe we bukoma, tetujja kugezaako kulaga nti tusinga abalala. Mu kifo ky’ekyo, tujja kufuba okubaako bye tuyigira ku abo abalina bye batusingako. Ng’ekyokulabirako, ka tugambe nti ow’oluganda omu awa bulungi nnyo emboozi. Tuyinza okumwebuuzaako ku ngeri gy’ategekamu emboozi. Mwannyinaffe omu bw’aba nga mufumbi mulungi, tuyinza okumwebuuzaako atuwe ku magezi aganaatuyamba okuba abafumbi abalungi. Ate singa omuvubuka omu mu kibiina tayanguyirwa kukola mikwano, ayinza okwebuuza ku mulala ayanguyirwa okukola emikwano. Bwe tukola bwe tutyo, kituyamba okwewala okukwatirwa abalala obuggya ate n’okulongoosaamu we kyetaagisa.

YIGIRA KU BANTU ABAMU ABOOGERWAKO MU BAYIBULI

Olw’okuba Gidiyoni yali mwetoowaze, yakuuma emirembe wakati we n’Abeefulayimu (Laba akatundu 10-12)

10. Kusoomooza ki Gidiyoni kwe yayolekagana nakwo?

10 Lowooza ku ekyo ekyaliwo wakati wa Gidiyoni, eyali ow’omu kika kya Manase, n’abasajja ab’omu kika kya Efulayimu. Yakuwa yali ayambye Gidiyoni n’abasajja 300 okutuuka ku buwanguzi obw’amaanyi era nga bateekwa okuba nga baakyenyumiririzaamu nnyo. Abasajja ba Efulayimu baagenda okusisinkana Gidiyoni, naye tebaagenda kumwebaza wabula kumuyombesa. Kirabika baanyiiga olw’okuba Gidiyoni yali tabayise kumwegattako kulwanyisa balabe ba Katonda. Baafaayo nnyo ku kwagala abalala okuwa ekika kyabwe ekitiibwa, naye ne beerabira nti ekyali kisinga obukulu kwe kuba nti Gidiyoni yali alwaniridde erinnya lya Yakuwa n’abantu be.​—Balam. 8:1.

11. Kiki Gidiyoni kye yagamba abasajja ba Efulayimu?

11 Gidiyoni yagamba abasajja ba Efulayimu nti: “Kiki kye nkoze ekiyinza okugeraageranyizibwa ku kye mukoze?” Oluvannyuma yabajjukiza engeri Yakuwa gye yali abawaddemu emikisa. N’ekyavaamu, abasajja abo “bakkakkana.” (Balam. 8:2, 3) Gidiyoni yeetoowaza okusobola okukuuma emirembe mu bantu ba Katonda.

12. Kiki kye tuyigira ku Beefulayimu ne Gidiyoni?

12 Kiki kye tuyigira ku Beefulayimu ne Gidiyoni? Kye tuyigira ku Beefulayimu kiri nti, tetusaanidde kwagala nnyo balala kutuwa kitiibwa mu kifo ky’okukiwa Yakuwa. Emitwe gy’amaka n’abakadde nabo balina kye bayigira ku Gidiyoni. Singa omuntu anyiiga olw’ekyo kye tukoze, tusaanidde okwessa mu bigere bye. Ate era tusaanidde okwebaza omuntu oyo olw’ekintu ekirungi ky’aba akoze. Ekyo kitwetaagisa okuba abeetoowaze nnaddala singa omuntu oyo y’aba mu nsobi. Naye okuba mu mirembe ne baganda baffe kikulu nnyo okusinga okulaga nti ffe batuufu.

Olw’okuba Kaana yeesiga Yakuwa okutereeza ensonga, yaddamu okufuna emirembe (Laba akatundu 13-14)

13. Kizibu ki Kaana kye yayolekagana nakyo, era yakivvuunuka atya?

13 Ate lowooza ne ku Kaana. Yali yafumbirwa Omuleevi ayitibwa Erukaana eyali amwagala ennyo. Naye Erukaana yalina omukazi omulala eyali ayitibwa Penina. Erukaana yali ayagala nnyo Kaana okusinga Penina; kyokka, “Penina yalina abaana, naye Kaana teyalina baana.” Ekyo kyaviirako Penina ‘okumuyeeyanga ng’ayagala okumunyiiza.’ Ekyo kyakwata kitya ku Kaana? Kyamuyisa bubi nnyo! ‘Yakaabanga era n’alemwa n’okulya.’ (1 Sam. 1:2, 6, 7) Naye tewali kiraga nti Kaana yagezaako okwesasuza Penina. Mu kifo ky’ekyo, yeeyabiza Yakuwa nga mukakafu nti yandibaddeko ky’akolawo okutereeza ensonga. Penina yakyusaamu mu ngeri gye yali ayisaamu Kaana? Bayibuli tetubuulira. Naye tukimanyi nti Kaana yaddamu okuba n’emirembe ku mutima. ‘Yalekera awo okuba omunakuwavu.’​—1 Sam. 1:10, 18.

14. Kiki kye tuyigira ku Kaana?

14 Kiki kye tuyigira ku Kaana? Singa wabaawo omuntu agezaako okuvuganya naawe, kijjukire nti osobola okubaako ky’okolawo okutereeza embeera. Tokkiriza mbeera eyo naawe kukuleetera kuvuganya naye. Mu kifo ky’okumukola ekibi olw’okuba akukoze ekibi, gezaako okuleetawo emirembe wakati wammwe. (Bar. 12:17-21) Ne bw’atakyusaamu, ggwe ojja kuba n’emirembe ku mutima.

Olw’okuba Apolo ne Pawulo baali bakimanyi nti Yakuwa ye yali abawa emikisa mu buweereza bwabwe, buli omu teyakwatirwa munne buggya (Laba akatundu 15-18)

15. Biki Apolo ne Pawulo bye baali bafaanaganya?

15 Ate era lowooza ku ekyo kye tuyigira ku muyigirizwa Apolo ne ku mutume Pawulo. Abasajja abo bombi baali bamanyi bulungi Ebyawandiikibwa. Bombi baali bamanyifu era nga bayigiriza balungi. Era bombi baali bayambye abantu bangi okufuuka abayigirizwa. Naye tewali n’omu ku bo yakwatirwa munne buggya.

16. Apolo yali muntu wa ngeri ki?

16 Apolo yali ‘nzaalwa y’omu Alekizandiriya,’ ekibuga abantu gye baagendanga okufuna obuyigirize obulungi mu kyasa ekyasooka. Kirabika yali mwogezi mulungi era yali ‘amanyi bulungi Ebyawandiikibwa.’ (Bik. 18:24) Apolo bwe yali mu Kkolinso, abamu mu kibiina ekyo baakyoleka nti baali bamwagala okusinga ab’oluganda abalala, nga mw’otwalidde ne Pawulo. (1 Kol. 1:12, 13) Apolo ye yabaleetera okuba n’endowooza eyo eyali ereetawo enjawukana? Nedda. Mu butuufu, nga wayise ekiseera nga Apolo amaze okuva mu Kkolinso, Pawulo yamusaba okuddayo mu kibiina ekyo. (1 Kol. 16:12) Pawulo teyandigambye Apolo kuddayo mu kibiina ky’e Kkolinso singa yali akimanyi nti ye yali aleeseewo enjawukana. Kyeyoleka bulungi nti Apolo yakozesa bulungi obusobozi bwe okulangirira amawulire amalungi n’okunyweza baganda be. Ate era Apolo yali mwetoowaze. Ng’ekyokulabirako, tewali kiraga nti Apolo yanyiiga Akula ne Pulisikira bwe ‘baamunnyonnyola obulungi ekkubo lya Katonda.’​—Bik. 18:24-28.

17. Pawulo yaleetawo atya emirembe?

17 Omutume Pawulo yali amanyi bulungi omulimu omulungi Apolo gwe yakola. Naye Pawulo teyatya nti abantu bandirowoozezza nti Apolo yali amusinga. Okubuulirira Pawulo kwe yawa ab’omu kibiina ky’e Kkolinso kulaga nti yali mwetoowaze, yali amanyi obusobozi bwe we bukoma, era teyali mukakanyavu. Mu kifo ky’okusanyuka olw’abo abaali bagamba nti, “Nze ndi wa Pawulo,” ettendo lyonna yalizza eri Yakuwa Katonda ne Yesu Kristo.​—1 Kol. 3:3-6.

18. Okusinziira ku 1 Abakkolinso 4:6, 7, kiki kye tuyigira ku Apolo ne Pawulo?

18 Kiki kye tuyigira ku Apolo ne Pawulo? Tuyinza okuba nga tuweereza Yakuwa n’obunyiikivu era nga tuyambye abantu bangi okutuuka ku ddaala ery’okubatizibwa. Naye tusaanidde okukijjukira nti ekintu kyonna ekirungi kye tuba tutuuseeko, Yakuwa y’aba atuyambye okukituukako. Waliwo ekintu ekirala kye tuyigira ku Apolo ne Pawulo. Gye tukoma okuba n’obuvunaanyizibwa mu kibiina, gye tukoma okuba n’akakisa okuleetawo emirembe. Kitusanyusa nnyo abakadde n’abaweereza bwe baba nga bafuba okuleetawo emirembe n’obumu mu kibiina, ng’amagezi ge bawa bageesigamya ku Kigambo kya Katonda, era nga tebeenoonyeza bitiibwa, wabula nga bafuba okukoppa Kristo Yesu!​—Soma 1 Abakkolinso 4:6, 7.

19. Kiki buli omu ku ffe ky’asobola okukola? (Laba n’akasanduuko, “ Weewale Okuleetawo Omwoyo gw’Okuvuganya.”)

19 Buli omu ku ffe alina ekitone oba obusobozi obw’enjawulo Katonda bwe yamuwa. Tusaanidde okukozesa ekirabo ekyo “okuweereza abalala.” (1 Peet. 4:10) Tuyinza okuwulira nti kye tukola kitono nnyo. Naye ebintu ebitono bye tukola okuleetawo obumu, biyinza okugeraageranyizibwa ku wuzi ezigatta awamu ebitundu by’olugoye. Ka afube okwewala okuvuganya n’abalala, era ka tube bamalirivu okukola kyonna ekisoboka okuleetawo emirembe n’obumu mu kibiina.​—Bef. 4:3.

OLUYIMBA 80 “Mulegeeko Mulabe nti Yakuwa Mulungi”

^ lup. 5 Ng’enjatika entono bwe zisobola okunafuya ekintu eky’ebbumba, omwoyo gw’okuvuganya gusobola okunafuya ekibiina. Ekibiina bwe kitaba kinywevu era bwe kitaba bumu, tekisobola kuba kifo eky’emirembe eky’okusinzizaamu Katonda. Mu kitundu kino tugenda kulaba ensonga lwaki tusaanidde okwewala okuba n’omwoyo gw’okuvuganya era ne kye tusobola okukola okuleetawo emirembe mu kibiina.

^ lup. 4 Amannya gakyusiddwa.