Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 29

Sanyuka olw’Ebyo by’Okola!

Sanyuka olw’Ebyo by’Okola!

‘Buli omu abe ne ky’asinziirako okwenyumiriza ku lulwe, nga teyeegeraageranyizza na muntu mulala.’​—BAG. 6:4.

OLUYIMBA 34 Okutambulira mu Bugolokofu

OMULAMWA *

1. Lwaki Yakuwa tatugeraageranya na balala?

YAKUWA ayagala nnyo ebintu eby’ebika eby’enjawulo. Ekyo kyeyolekera bulungi mu bintu bye yatonda, nga mw’otwalidde naffe abantu. Buli omu ku ffe wa njawulo ku mulala. Eyo ye nsonga lwaki Yakuwa tatugeraageranya na balala. Akebera omutima gwo, kwe kugamba, ekyo ky’oli munda. (1 Sam. 16:7) Ate era alowooza ne ku busobozi bwo, obunafu bwo, n’embeera gye wakuliramu. Era takusuubira kukola kisukka ku busobozi bwo. Tusaanidde okukoppa Yakuwa nga twetwala nga bw’atutwala. Ekyo kijja kutuyamba okuba ‘n’endowooza ennuŋŋamu,’ nga tetwetwala nti tuli ba waggulu era nga tetwenyooma.​—Bar. 12:3.

2. Lwaki si kirungi okwegeraageranya n’abalala?

2 Kyo kituufu nti tusobola okubaako bye tuyigira ku w’oluganda oba mwannyinaffe akola obulungi mu buweereza. (Beb. 13:7) Ekyo kisobola okutuyamba okulaba engeri gye tuyinza okulongoosa mu buweereza bwaffe. (Baf. 3:17) Naye waliwo enjawulo wakati w’okukoppa ekyokulabirako ekirungi eky’omuntu omulala n’okwegeraageranya naye. Bwe weegeraageranya n’omuntu omulala kiyinza okukuleetera okumukwatirwa obuggya, okuggwaamu amaanyi, oba okuwulira nti toli wa mugaso. Nga bwe twalaba mu kitundu ekyayita, okwegeraageranya n’abalala mu kibiina kiyinza okwonoona enkolagana yaffe ne Yakuwa. Eyo ye nsonga lwaki Yakuwa atukubiriza nti: “Buli omu akebere ebyo by’akola, awo ajja kuba ne ky’asinziirako okwenyumiriza ku lulwe, nga teyeegeraageranyizza na muntu mulala.”​—Bag. 6:4.

3. Kukulaakulana ki kw’otuuseeko mu by’omwoyo okukuleetera essanyu?

3 Yakuwa ayagala osanyuke olw’okukulaakulana kw’otuuseeko ng’omuweereza. Ng’ekyokulabirako, bw’oba nga wabatizibwa, osaanidde okusanyuka olw’okutuuka ku kiruubirirwa ekyo! Wasalawo ku lulwo okubatizibwa. Okwagala kw’olina eri Katonda kwe kwakuleetera okusalawo bw’otyo. Lowooza ku ngeri gye weeyongedde okukulaakulana okuva lwe wabatizibwa. Ng’ekyokulabirako, weeyongedde okwagala okusoma Bayibuli n’okwesomesa? Essaala zo zeeyongedde okuba ez’amakulu era nga ziviira ddala ku mutima? (Zab. 141:2) Weeyongedde okwanguyirwa okutandika okunyumya n’abantu mu buweereza era n’okukozesa obulungi ebyo bye tukozesa okuyigiriza abantu Bayibuli? Bw’oba ng’olina amaka, Yakuwa akuyambye okweyongera okuba omwami, omukyala, oba omuzadde omulungi? Osobola okusanyuka olw’okukulaakulana kw’otuuseeko mu bintu ng’ebyo.

4. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

4 Tusobola okuyamba abalala okusanyuka olw’okukulaakulana kwe baba batuuseeko mu by’omwoyo. Ate era tusobola okubayamba obuteegeraageranya na balala. Mu kitundu kino tugenda kulaba engeri abazadde gye basobola okuyambamu abaana baabwe, engeri abafumbo gye basobola okuyambaganamu, n’engeri abakadde n’abalala mu kibiina gye basobola okuyambamu bakkiriza bannaabwe. Ate era tugenda kulaba emisingi gya Bayibuli egisobola okutuyamba okweteerawo ebiruubirirwa bye tusobola okutuukako okusinziira ku busobozi bwaffe ne ku mbeera yaffe.

EBYO ABAZADDE N’ABAFUMBO BYE BASOBOLA OKUKOLA

Abazadde, mukirage nti musiima buli mwana olw’ebirungi by’akola (Laba akatundu 5-6) *

5. Okusinziira ku Abeefeso 6:4, kiki abazadde kye basaanidde okwewala?

5 Abazadde tebasaanidde kugeraageranya mwana omu ku mulala oba okusuubira omwana okukola ekisukka ku busobozi bwe. Bwe bakola bwe batyo, kiyinza okumalamu abaana baabwe amaanyi. (Soma Abeefeso 6:4.) Mwannyinaffe ayitibwa Sachiko * agamba nti: “Abasomesa baali bansuubira okuba nga nze nsinga bayizi bannange mu kibiina. Ate ne maama wange yali ansuubira okukola obulungi ku ssomero nsobole okuwa obujulirwa omusomesa wange ne taata wange atali Mujulirwa wa Yakuwa. Mu butuufu yali ansuubira kufuna kikumi ku kikumi mu bigezo, ekintu kye nnalaba nga tekisoboka. Wadde nga nnamala okusoma emyaka mingi emabega, oluusi nneebuuza obanga Yakuwa ansiima, ne bwe mba nga mmuwadde ekisingayo obulungi.”

6. Kiki abazadde kye basobola okuyigira ku ebyo ebiri mu Zabbuli 131:1, 2?

6 Abazadde balina kye basobola okuyigira ku ebyo ebiri mu Zabbuli 131:1, 2. (Soma.) Kabaka Dawudi yagamba nti yali ‘taluubirira bintu bikulu,’ oba ebintu ebyali bisusse ku busobozi bwe. Olw’okuba yali mwetoowaze era ng’amanyi obusobozi bwe we bukoma, kyamuyamba okuba ‘omukkakkamu.’ Biki abazadde bye basobola okuyigira ku ebyo Dawudi bye yayogera? Abazadde bwe baba abeetoowaze era nga bamanyi obusobozi bwabwe we bukoma, tebajja kusuubira kukola bisukka ku busobozi bwabwe oba okusuubira abaana bwabwe okukola ebyo ebisukka ku busobozi bwabwe. Abazadde basobola okuyamba omwana waabwe okuwulira nti wa mugaso nga bamanya ebyo by’asobola okukola obulungi n’ebyo by’atasobola kukola bulungi era ne bamuyamba okweteerawo ebiruubirirwa by’asobola okutuukako. Mwannyinaffe ayitibwa Marina agamba nti: “Maama wange teyangeraageranyanga ne bannyinaze abasatu oba n’abaana abalala. Yanjigiriza nti buli omu alina ebitone bya njawulo era nti buli omu Yakuwa amutwala nga wa muwendo. Ekyo kyannyamba nnyo, era seegeraageranya na balala.”

7-8. Omwami ayinza atya okukiraga nti assaamu mukyala we ekitiibwa?

7 Omwami Omukristaayo asaanidde okussaamu mukyala we ekitiibwa. (1 Peet. 3:7) Ekyo kizingiramu okumufaako n’okumutwala nga wa muwendo. Tamusuubira kukola bisukka ku busobozi bwe, era tamugeraageranya na bakazi balala. Omwami bw’ageraageranya mukyala we n’abakazi abalala, biki ebiyinza okuvaamu? Omwami wa mwannyinaffe Rosa atali Mujulirwa wa Yakuwa atera okumugeraageranya n’abakazi abalala. Ebigambo by’ayogera ebitali bya kisa biviiriddeko Rosa okwenyooma. Rosa agamba nti: “Buli kiseera nneetaaga okukakasibwa nti Yakuwa antwala nga ndi wa muwendo.” Naye omwami Omukristaayo asaanidde okussaamu mukyala we ekitiibwa. Bw’atakola bw’atyo, kyonoona enkolagana ye ne mukyala we era ne Yakuwa. *

8 Omwami assaamu mukyala we ekitiibwa amutendereza, amukakasa nti amwagala, era amusiima. (Nge. 31:28) Ekyo omwami wa Katerina eyayogerwa mu kitundu ekyayita ky’akola okusobola okumuyamba obuteenyooma. Katerina bwe yali akyali muto, maama we yamufeebyanga era yateranga okumugeraageranya n’abawala abalala nga mw’otwalidde ne mikwano gye. N’ekyavaamu, Katerina yatandika okwegeraageranyanga n’abalala, n’oluvannyuma lw’okuyiga amazima. Kyokka omwami we Omukristaayo amuyambye okwewala okwegeraageranya n’abalala era n’okweraba nti wa mugaso. Katerina agamba nti: “Omwami wange anjagala nnyo, ansiima olw’ebirungi bye nkola, era ansabira. Ate era anzijukiza engeri za Yakuwa ennungi era annyamba okutereeza endowooza yange.”

EBYO ABAKADDE N’ABALALA BYE BASOBOLA OKUKOLA

9-10. Abakadde baayamba batya mwannyinaffe omu okulekera awo okwegeraageranya n’abalala?

9 Abakadde bayinza batya okuyamba abo abeegeraageranya n’abalala? Lowooza ku mwannyinaffe ayitibwa Hanuni ataateranga kusiimibwa ng’akyali muto. Agamba nti: “Nnalina ensonyi era nnalowoozanga nti abaana abalala bansinga. Nnatandika okwegeraageranya n’abalala nga nkyali muto.” N’oluvannyuma lw’okuyiga amazima, Hanuni yasigala yeegeraageranya n’abalala. Ekyo kyamuleetera okuwulira nti si wa mugaso mu kibiina. Naye kati aweereza nga payoniya era musanyufu. Kiki ekyamuyamba okukyusa endowooza ye?

10 Hanuni agamba nti abakadde be baamuyamba. Baakiraga nti baali bamwesiga era baamusiimanga olw’okuweereza Yakuwa n’obwesigwa. Agamba nti: “Emirundi egiwerako, abakadde bansaba okubaako baganda bange be nzizaamu amaanyi. Ekyo kyandeetera okuwulira nti ndi wa mugaso mu kibiina. Nzijukira abakadde lwe banneebaza olw’okuzzaamu abamu ku baganda bange abato amaanyi. Oluvannyuma bansomera 1 Abassessalonika 1:2, 3. Ekyawandiikibwa ekyo kyankwatako nnyo! Abakadde abo bannyamba nnyo, era kati nkiraba nti ndi wa mugaso mu kibiina kya Yakuwa.”

11. Nga bwe kiragibwa mu Isaaya 57:15, tuyinza tutya okuyamba ‘abanaku n’abanyigirizibwa’?

11 Soma Isaaya 57:15. Yakuwa afaayo nnyo ku ‘banaku n’abanyigirizibwa.’ Ffenna, so si bakadde bokka, tusobola okuzzaamu bakkiriza bannaffe ng’abo amaanyi. Engeri emu gye tusobola okubazzaamu amaanyi kwe kulaga nti tubafaako. Yakuwa ayagala tubayambe okukiraba nti abaagala nnyo. (Nge. 19:17) Ate era tusobola okuyamba bakkiriza bannaffe nga tuba beetoowaze era nga tumanya obusobozi bwaffe we bukoma. Tetwagala kwetwala nti tuli ba waggulu ku balala, kubanga ekyo kisobola okubaleetera okutukwatirwa obuggya. Mu kifo ky’ekyo, tusaanidde okukozesa obusobozi bwaffe n’okumanya kwe tulina okuzzaamu abalala amaanyi.​—1 Peet. 4:10, 11.

Abayigirizwa ba Yesu baayanguyirwanga nnyo okukolagana naye kubanga Yesu yali teyeetwala kuba wa waggulu. Yanyumirwanga nnyo okubeerangako awamu ne mikwano gye (Laba akatundu 12)

12. Lwaki abantu aba bulijjo baayagalanga nnyo okubeera awali Yesu? (Laba ekifaananyi ku ddiba.)

12 Tusobola okubaako bingi bye tuyiga ku ngeri y’okuyisaamu abalala bwe twetegereza engeri Yesu gye yayisangamu abagoberezi be. Wadde nga Yesu y’asinga abantu bonna abaali babaddewo ku nsi, yali “muteefu era muwombeefu mu mutima.” (Mat. 11:28-30) Teyeeraga olw’amagezi amangi ge yalina n’olw’okumanya ebintu ebingi. Bwe yalinga ayigiriza, yakozesanga ebigambo ebyangu n’ebyokulabirako ebyakwatanga ku mitima gy’abantu aba bulijjo. (Luk. 10:21) Obutafaananako bakulembeze ba madiini abaali ab’amalala, Yesu teyaleetera bantu kuwulira nti si ba mugaso eri Katonda. (Yok. 6:37) Mu kifo ky’ekyo, yawanga abantu aba bulijjo ekitiibwa.

13. Engeri Yesu gye yayisangamu Abayigirizwa be eraga etya nti wa kisa era nti alina okwagala?

13 Engeri Yesu gye yayisangamu abayigirizwa be eraga nti wa kisa era nti alina okwagala. Yali akimanyi nti baalina obusobozi bwa njawulo era nti baakulira mu mbeera za njawulo. N’olwekyo, bonna baali tebasobola kukola bintu bye bimu oba okutuukiriza obuweereza bwabwe mu ngeri y’emu. Naye yasiima buli omu ku bo olw’okuweereza n’omutima gwe gwonna. Ekyo kyeyolekera mu lugero lwe yagera olukwata ku ttalanta. Mu lugero olwo, mukama w’abaddu yawa buli omu ku baddu be obuvunaanyizibwa “okusinziira ku busobozi bwe.” Omu ku baddu ababiri abaali abanyiikivu, yafuna amagoba mangi okusinga munne. Naye mukama waabwe bombi yabeebaza ng’akozesa ebigambo bye bimu. Buli omu yamugamba nti: “Weebale nnyo omuddu omulungi era omwesigwa!”​—Mat. 25:14-23.

14. Tuyinza tutya okukoppa engeri Yesu gye yayisangamu abalala?

14 Yesu atuyisa mu ngeri ey’ekisa era ey’okwagala. Akimanyi nti tulina obusobozi bwa njawulo era nti n’embeera zaffe zaawukana. Era asiima nnyo bwe tukola kyonna kye tusobola okuweereza Yakuwa. Naffe tusaanidde okumukoppa. Tetusaanidde kuleetera mukkiriza munnaffe kuwulira nti si wa mugaso oba okuswala olw’okuba tasobola kukola bingi ng’abalala bwe bakola. Mu kifo ky’ekyo, ka tufube okukozesa buli kakisa ke tufuna okusiima bakkiriza bannaffe olw’okukola kyonna kye basobola okuweereza Yakuwa.

WEETEEREWO EBIRUUBIRIRWA BY’OSOBOLA OKUTUUKAKO

Funa essanyu eriva mu kweteerawo ebiruubirirwa by’osobola okutuukako (Laba akatundu 15-16) *

15-16. Mwannyinaffe omu yaganyulwa atya olw’okweteerawo ebiruubirirwa by’asobola okutuukako?

15 Bwe tweteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo, kituyamba okuba abasanyufu n’okuba n’obulamu obw’amakulu. Kyokka tusaanidde okweteerawo ebiruubirirwa okusinziiira ku busobozi bwaffe ne ku mbeera yaffe, so si kusinziira ku ebyo abalala bye baba beeteereddewo. Bwe tweteerawo ebiruubirirwa nga twegeraageranya n’abalala, kisobola okutuviirako okuggweebwako essanyu n’okuggwaamu amaanyi. (Luk. 14:28) Lowooza ku mwannyinaffe ayitibwa Midori aweereza nga payoniya.

16 Midori bwe yali akyali muto, taata we atali Mujulirwa wa Yakuwa yamufeebyanga ng’amugeraageranya ne baganda be era ne bayizi banne. Midori agamba nti: “Nnawulira nga siri wa mugaso.” Naye Midori bwe yagenda akula, yatandika okuwulira nti wa mugaso. Agamba nti: “Nnasomanga Bayibuli buli lunaku nsobole okufuna emirembe mu mutima, era nnawuliranga nti Yakuwa anjagala.” Ate era yeeteerawo ebiruubirirwa bye yali asobola okutuukako, era yasabanga Yakuwa amuyambe okubituukako. N’ekyavaamu, Midori yafuna essanyu olw’ebyo bye yali akola mu buweereza bwe.

WEEYONGERE OKUWA YAKUWA EKISINGAYO OBULUNGI

17. Tuyinza tutya ‘okweyongera okufuulibwa abaggya mu ndowooza yaffe,’ era biki ebinaavaamu?

17 Kiyinza okututwalira ekiseera okukyusa endowooza yaffe n’engeri gye twetwalamu. Eyo ye nsonga lwaki Yakuwa atukubiriza nti: “Mulina okweyongera okufuulibwa abaggya mu ndowooza yammwe.” (Bef. 4:23, 24) Ekyo okusobola okukikola, tulina okusaba, okwesomesa Ekigambo kya Katonda, n’okufumiitiriza. Nnyiikira okukola ebintu ebyo, era saba Yakuwa akuwe amaanyi okubikola. Omwoyo gwe omutukuvu gujja kukuyamba okulekera awo okwegeraageranya n’abalala. Ate era, singa ofuna engeri embi gamba ng’amalala oba obuggya, Yakuwa ajja kukuyamba okweggyamu engeri ezo mu bwangu.

18. Ebigambo ebiri mu 2 Ebyomumirembe 6:29, 30 biyinza bitya okutuzzaamu amaanyi?

18 Soma 2 Ebyomumirembe 6:29, 30. Yakuwa amanyi ekiri mu mitima gyaffe. Ate era akimanyi nti kitwetaagisa okufuba ennyo okusobola okulwanyisa omwoyo gw’ensi n’okulwanyisa obutali butuukirivu bwaffe. Yakuwa bw’atulaba nga tufuba okulwanyisa ebintu ng’ebyo, yeeyongera okutwagala.

19. Kyakulabirako ki Yakuwa ky’akozesa okutulaga engeri gy’atutwalamu?

19 Okusobola okulaga engeri gy’atutwalamu, Yakuwa akozesa ekyokulabirako eky’enkolagana ebaawo wakati wa maama n’omwana we. (Is. 49:15) Lowooza ku maama ayitibwa Rachel. Agamba nti: “Muwala wange Stephanie yazaalibwa tannatuuka. We nnamuzaalira yali mutono nnyo. Naye omwezi ogwasooka gwe yamala mu ddwaliro nga bamubisse, omusawo yanzikiriza okumusitulangako buli lunaku. Ekyo kyandeetera okumwagala ennyo. Kati alina emyaka mukaaga, era mutono nnyo bw’omugeraageranya n’abaana abalala ab’emyaka gye. Naye mmwagala nnyo olw’okuba yayita mu bugubi okusobola okuba omulamu, era andeetedde essanyu lingi.” Nga kizzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti Yakuwa atwagala mu ngeri y’emu bw’alaba nga tufuba okumuweereza n’omutima gwaffe gwonna!

20. Ng’omuweereza wa Yakuwa eyeewaayo gy’ali, biki ebyandikuleetedde essanyu?

20 Olw’okuba oli muweereza wa Yakuwa, oli omu ku b’omu maka ge era oli wa muwendo nnyo gy’ali. Yakuwa teyakusembeza gy’ali olw’okuba wali osinga abantu abalala. Yakusembeza gy’ali olw’okuba bwe yatunula mu mutima gwo yalaba ng’oli muwombeefu, era ng’oli mwetegefu okuyigirizibwa n’okukola enkyukakyuka. (Zab. 25:9) Ba mukakafu nti bw’okola kyonna ky’osobola okumuweereza, asiima. Obugumiikiriza bw’oyoleka n’obwesigwa bwo biraga nti olina “omutima omulungi.” (Luk. 8:15) N’olwekyo weeyongere okuwa Yakuwa ekisingayo obulungi. Awo ojja kuba ne ky’osinziirako ‘okwenyumiriza ku lulwo.’

OLUYIMBA 38 Ajja Kukuwa Amaanyi

^ lup. 5 Yakuwa tatugeraageranya na balala. Kyokka abamu ku ffe tuyinza okwegeraageranya n’abalala era ekyo ne kituleetera okwenyooma. Mu kitundu kino tugenda kulaba ensonga lwaki kya kabi okwegeraageranya n’abalala. Ate era tugenda kulaba engeri gye tuyinza okuyambamu ab’omu maka gaffe n’abalala mu kibiina okwetwala nga Yakuwa bw’abatwala.

^ lup. 5 Amannya agamu gakyusiddwa.

^ lup. 7 Wadde ng’obutundu buno bwogedde ku baami, amagezi agalimu gakwata ne ku bakyala.

^ lup. 58 EBIFAANANYI: Nga bali mu kusinza kw’amaka, abazadde basiima buli mwana olw’ekyo ky’akoze mu kuzimba eryato lya Nuuwa.

^ lup. 62 EBIFAANANYI: Omuzadde ali obwannamunigina era alina omwana omuto, akola enteekateeka okusobola okuweereza nga payoniya omuwagizi, era musanyufu olw’okutuuka ku kiruubirirwa kye.