Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 31

Oli Mwetegefu Okulindirira Yakuwa?

Oli Mwetegefu Okulindirira Yakuwa?

“Nnaalindiriranga.”​—MI. 7:7.

OLUYIMBA 128 Okugumiikiriza Okutuusa ku Nkomerero

OMULAMWA *

1-2. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

OWULIRA otya singa wabaawo ekintu ky’osuubira okufuna naye ne kitatuuka mu kiseera mw’okisuubirira? Owulira ng’oweddemu amaanyi? Engero 13:12 wagamba nti: “Ekisuubirwa bwe kirwawo okutuuka, omutima gulwala.” Naye watya singa okimanyako nti waliwo ensonga ennungi lwaki ekintu ekyo tekizze mu kiseera w’okisuubirira? Mu mbeera eyo ogumiikiriza era obeera mwetegefu okulindirira.

2 Mu kitundu kino, tugenda kulaba emisingi gya Bayibuli egisobola okutuyamba okuba abagumiikiriza. (Mi. 7:7) Ate era tugenda kulabayo embeera za mirundi ebiri mwe twetaagira okulindirira Yakuwa okubaako ky’akolawo. Oluvannyuma, tugenda kulaba emikisa abo abalindirira Yakuwa gye bajja okufuna.

EMISINGI GYA BAYIBULI EGITUYAMBA OKUYIGA OKUBA BAGUMIIKIRIZA

3. Omusingi oguli mu Engero 13:11 gutuyigiriza ki?

3 Engero 13:11 watulaga obukulu bw’okuba abagumiikiriza. Wagamba nti: “Eby’obugagga ebifunibwa amangu biggwaawo mangu, naye eby’obugagga omuntu by’afuna empolampola byeyongera okwala.” Kiki kye tuyiga mu lunyiriri olwo? Kya magezi okukola ebintu empolampola n’obugumiikiriza.

4. Omusingi oguli mu Engero 4:18 gutuyigiriza ki?

4 Engero 4:18 wagamba nti: “Ekkubo ly’abatuukirivu liringa ekitangaala ekibaawo ng’obudde bwakakya ekigenda kyeyongerayongera okutuusa obudde lwe butangaalira ddala.” Ebigambo ebyo biraga engeri Yakuwa gy’abikkuliramu abantu ekigendererwa kye empolampola. Naye olunyiriri olwo era lusobola okutuyamba okumanya engeri Omukristaayo gy’akulaakulanamu mu by’omwoyo. Okukulaakulana mu by’omwoyo kubaawo mpolampola. Bwe tufuba okwesomesa era ne tukolera ku kubuulirira kwe tufuna okuyitira mu Kigambo kya Katonda ne mu kibiina kye, mpolampola tugenda tukulaakulanya engeri ng’eza Kristo. Ate era tweyongera okumanya Katonda. Lowooza ku kyokulabirako Yesu kye yakozesa okulaga ensonga eyo.

Ng’ekimera bwe kikula empolampola, n’omuntu awuliriza obubaka bw’Obwakabaka era n’abukkiriza akula mpolampola mu by’omwoyo (Laba akatundu 5)

5. Kyakulabirako ki Yesu kye yakozesa okulaga nti omuntu kimutwalira ekiseera okukola enkyukakyuka?

5 Yesu yakozesa ekyokulabirako okulaga engeri obubaka bw’Obwakabaka bwe tubuulira gye bulinga ensigo emera n’ekula mpolampola mu mutima gw’omuntu. Yagamba nti: “Ensigo zimera ne zikula, naye [omusizi] tamanya ngeri ekyo gye kibaawo. Ettaka likuza mpolampola ebimera ne bibala; ebikoola bye bisooka, ne kuddako ebirimba ebito, ate oluvannyuma ne kuddako ebirimba ebirimu empeke ezikuze obulungi.” (Mak. 4:27, 28) Kiki Yesu kye yali ategeeza? Yali alaga nti ng’ekimera bwe kikula empolampola, n’omuntu akkiriza obubaka bw’Obwakabaka akula mpolampola mu by’omwoyo. Ng’ekyokulabirako, abayizi baffe aba Bayibuli bwe bagenda bafuna enkolagana ne Yakuwa, tutandika okulaba enkyukakyuka ze bakola. (Bef. 4:22-24) Naye tusaanidde okukijjukira nti Yakuwa y’akuza ensigo.​—1 Kol. 3:7.

6-7. Kiki kye tuyigira ku ngeri Yakuwa gye yatondamu ensi?

6 Mu byonna Yakuwa by’akola, awaayo ekiseera ekimala okusobola okumaliriza omulimu gwe. Ekyo akikola olw’okuweesa erinnya lye ekitiibwa n’olw’okuganyula abalala. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ngeri gye yateekateekamu ensi ng’ayita mu mitendera.

7 Bayibuli eraga nti Yakuwa bwe yali atonda ensi, yasalawo “ebipimo byayo,” yassaawo “emisingi gyayo,” era yassaawo ‘n’ejjinja lyayo ery’oku nsonda.’ (Yob. 38:5, 6) Ate era yawaayo ekiseera okufumiitiriza ku mirimu gye. (Lub. 1:10, 12) Lowooza ku ngeri bamalayika gye baawuliramu bwe baalabanga ebintu ebipya Yakuwa bye yabanga atonze. Nga bateekwa okuba nga baakwatibwako nnyo! Bayibuli eraga nti lumu ‘baaleekaana olw’essanyu.’ (Yob. 38:7) Ekyo kituyigiriza ki? Yakuwa kyamutwalira emyaka nkumi na nkumi okumaliriza okutonda ebintu, naye bwe yatunuulira ebintu byonna bye yali atonze n’obwegendereza, yagamba nti “birungi nnyo.”​—Lub. 1:31.

8. Kiki kye tugenda okulaba?

8 Nga bwe tulabye mu byokulabirako ebyo waggulu, Ekigambo kya Katonda kirimu emisingi mingi egiraga obukulu bw’okugumiikiriza. Kati ka tulabeyo embeera za mirundi ebiri mwe twetaagira okulindirira Yakuwa.

DDI LWE TWETAAGA OKULINDIRIRA YAKUWA?

9. Mbeera ki emu mwe twetaagira okulindirira Yakuwa?

9 Kiyinza okutwetaagisa okulindirira Yakuwa okuddamu essaala zaffe. Bwe tusaba Yakuwa okutuwa amaanyi okwaŋŋanga ekizibu ekimu oba okutuyamba okuvvuunuka obunafu obumu, tuyinza okuwulira nti Yakuwa aluddewo okuwulira essaala yaffe. Lwaki essaala ezimu Yakuwa taziddamu mangu?

10. Lwaki kitwetaagisa okulindirira Yakuwa okuddamu essaala zaffe?

10 Yakuwa awuliriza n’obwegendereza essaala zaffe. (Zab. 65:2) Essaala ze tusaba mu bwesimbu azitwala ng’obukakafu obulaga nti tulina okukkiriza. (Beb. 11:6) Bwe tusaba Yakuwa atuyambe okukola ebimusanyusa, ayagala okukiraba nti tuli bamalirivu okukola by’ayagala. (1 Yok. 3:22) N’olwekyo bwe tuba nga tufuba okuvvuunuka omuze ogumu oba obunafu obumu, kiyinza okutwetaagisa okuba abagumiikiriza n’okufuba okukolera ku kusaba kwaffe. Yesu yalaga nti ezimu ku ssaala zaffe ziyinza obutaddibwamu mangu. Yagamba nti: “Musabenga, muliweebwa; munoonyenga, mulizuula; mukonkonenga, muliggulirwawo. Kubanga buli asaba aweebwa, buli anoonya azuula, na buli akonkona aggulirwawo.” (Mat. 7:7, 8) Bwe tukolera ku kubuulirira okwo ne “tunyiikira okusaba,” tuba bakakafu nti Kitaffe ow’omu ggulu awulira essaala zaffe era nti ajja kuziddamu.​—Bak. 4:2.

Bwe tuba tulindirira Yakuwa, tweyongera okumusaba nga tuli bakakafu nti ajja kuddamu essaala zaffe (Laba akatundu 11) *

11. Ebiri mu Abebbulaniya 4:16 bituzzaamu bitya amaanyi bwe tuba nga tuwulira nti essaala zaffe ziruddewo okuddibwamu?

11 Wadde nga Yakuwa ayinza okulabika ng’aluddewo okuddamu essaala zaffe, aziddamu ‘mu kiseera ekituufu.’ (Soma Abebbulaniya 4:16.) Eyo ye nsonga lwaki tetusaanidde kunenya Yakuwa singa ekintu tekibaawo mu kiseera we tukisuubirira. Ng’ekyokulabirako, bangi bamaze emyaka mingi nga basaba Katonda aleete Obwakabaka bwe buggyewo enteekateeka ya Sitaani eno. Ne Yesu kennyini yatugamba okusaba Obwakabaka obwo bujje. (Mat. 6:10) Naye tekiba kya magezi omuntu okuleka okukkiriza kwe okunafuwa olw’okuba enkomerero teyajja mu kiseera abantu we baali bagisuubirira! (Kaab. 2:3; Mat. 24:44) Kya magezi okweyongera okulindirira Yakuwa nga tumwesiga nti ajja kuddamu okusaba kwaffe. Enkomerero ejja kujja mu kiseera ekituufu, kubanga Yakuwa yassaawo dda “olunaku” lw’enejjirako. Era buli omu ajja kukiraba nti olwo lwe lunaku olutuufu.​—Mat. 24:36; 2 Peet. 3:15.

Kiki kye tuyigira ku Yusufu bwe kituuka ku kugumiikiriza? (Laba akatundu 12-14)

12. Okusingira ddala ddi lwe kiyinza okutubeerera ekizibu okuba abagumiikiriza?

12 Kiyinza okwetaagisa ekiseera okulindirira obwenkanya okubaawo. Emirungi mingi abantu bayisa bubi abantu ab’ekikula ekirala, aba langi endala, ab’eggwanga eddala, oba ab’ensi endala. Abantu abamu abaliko obulemu basosolwa. Abaweereza ba Yakuwa bangi bayisibwa bubi olw’ebyo bye bakkiririzaamu ebyesigamiziddwa ku Bayibuli. Bwe tuyisibwa mu ngeri ng’eyo, tusaanidde okujjukira ebigambo bya Yesu. Yagamba nti: “Oyo agumiikiriza okutuuka ku nkomerero y’alirokolebwa.” (Mat. 24:13) Naye watya singa tukimanyaako nti omuntu omu mu kibiina akoze ekibi eky’amaanyi? Abakadde bwe bamala okutegeezebwa ensonga eyo, tunaagireka mu mikono gyabwe ne tulindirira n’obugumiikiriza nga tubeesiga nti bajja kugikwata mu ngeri entuufu? Biki ebiyinza okuzingirwamu?

13. Kiki Yakuwa ky’ayagala abakadde okukola nga waliwo omuntu akoze ekibi eky’amaanyi?

13 Abakadde bwe bakimanya nti omuntu omu mu kibiina akoze ekibi eky’amaanyi, basaba Yakuwa abawe “amagezi agava waggulu” basobole okutunuulira ensonga eyo nga Yakuwa naye bw’agitunuulira. (Yak. 3:17) Baba n’ekigendererwa ‘eky’okukomyawo omwonoonyi okuva mu kkubo lye ekkyamu’ bwe kiba kisoboka. (Yak. 5:19, 20) Ate era baba baagala okukola kyonna ekisoboka okukuuma ekibiina n’okubudaabuda abo ababa bayisiddwa obubi. (2 Kol. 1:3, 4) Abakadde bwe baba bakola ku nsonga ezikwata ku kibi eky’amaanyi, balina okusooka okumanya byonna ebizingirwamu era ekyo kiyinza okutwala ekiseera. Oluvannyuma basaba Yakuwa era ne bakozesa Ebyawandiikibwa okukangavvula omwonoonyi “ku kigero ekisaanira.” (Yer. 30:11) Wadde ng’abakadde tebalwawo kukola ku nsonga, kyokka era tebanguyiriza kusalawo. Abakadde bwe bakwata obulungi ensonga, ekibiina kyonna kiganyulwa. Kyokka ensonga ne bwe zikwatibwa obulungi, omuntu atalina musango aba ayisiddwa obubi ayinza okusigala ng’alumwa. Ekyo bwe kibaawo, kiki ekiyinza okukolebwa okukendeeza obulumi?

14. Kyakulabirako ki okuva mu Bayibuli ekisobola okukuyamba okugumiikiriza nga mukkiriza munno akuyisizza bubi?

14 Waliwo omuntu eyali akuyisizza obubi ennyo, oboolyawo nga na muweereza wa Yakuwa? Mu Kigambo kya Katonda mulimu ebyokulabirako ebirungi ebituyamba okuyiga okulindirira Yakuwa okutereeza ensonga. Ng’ekyokulabirako, wadde nga baganda ba Yusufu baamuyisa bubi nnyo, Yusufu teyakkiriza ebyo bye baamukola kumuleetera kusiba kiruyi. Mu kifo ky’ekyo, yasigala aweereza Yakuwa n’obwesigwa era Yakuwa yamuwa emikisa olw’okugumiikiriza. (Lub. 39:21) Ekiseera bwe kyayitawo, Yusufu yasobola okusonyiwa abo abaamuyisa obubi, era Yakuwa yamuwa emikisa. (Lub. 45:5) Okufaananako Yusufu, naffe bwe tuleka ensonga mu mikono gya Yakuwa era ne tweyongera okunyweza enkolagana yaffe naye, tubudaabudibwa.​—Zab. 7:17; 73:28.

15. Kiki ekyayamba mwannyinaffe obutanyiiga ng’ayisiddwa bubi?

15 Kya lwatu nti ebintu ebibi abalala bye batukola biyinza obutaba bya maanyi ng’ebyo bye baakola Yusufu, naye okuyisibwa obubi okw’engeri yonna kuleeta obulumi. Omuntu omulala bw’atuyisa obubi, k’abe nga tasinza Yakuwa, tuganyulwa nnyo bwe tukolera ku misingi gya Bayibuli. (Baf. 2:3, 4) Lowooza ku mwannyinaffe omu. Kyamuluma nnyo bwe yakimanya nti omu ku bakozi banne yali amwogerako ebintu ebitali bituufu. Mu kifo ky’okwanguwa okunyiiga, mwannyinaffe oyo yafumiitiriza ku kyokulabirako kya Yesu. Yesu bwe yavumibwa, ye teyavuma. (1 Peet. 2:21, 23) Ekyo mwannyinaffe bwe yakifumiitirizaako, yasalawo okubuusa amaaso ekyo mukozi munne kye yali amukoze. Oluvannyuma yakimanya nti mukozi munne yalina obulwadde obw’amaanyi era nti yali mweraliikirivu. Mwannyinaffe oyo muli yagamba nti oboolyawo mukozi munne teyakigenderera kumulumya. Mwannyinaffe oyo yafuna essanyu lingi olw’okuba yagumiikiriza ng’ayisibwa bubi, era yafuna emirembe.

16. Kiki ekiyinza okukubudaabuda bw’oba ng’olina obulumi olw’okuyisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya? (1 Peetero 3:12)

16 Bw’oba ng’olina obulumi olw’okuyisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya oba olw’ensonga endala, kijjukire nti Yakuwa aba kumpi n’abo “abalina omutima ogumenyese.” (Zab. 34:18) Akwagala nnyo olw’okuba omugumiikiriza n’olw’okumutikka omugugu gwo. (Zab. 55:22) Ye mulamuzi w’ensi yonna era alaba buli kimu. (Soma 1 Peetero 3:12.) Bw’oba ng’olina ebizibu eby’amaanyi by’otasobola kugonjoola, kijjukire nti kikulu nnyo okulindirira Yakuwa okubaako ky’akolawo.

EMIKISA EMINGI ABO ABALINDIRIRA YAKUWA GYE BAJJA OKUFUNA

17. Okusinziira ku Isaaya 30:18, kiki Yakuwa ky’atusuubiza?

17 Mu kiseera ekitali kya wala, Kitaffe ow’omu ggulu ajja kutuwa emikisa mingi okuyitira mu Bwakabaka bwe. Isaaya 30:18 wagamba nti: “Yakuwa alindirira n’obugumiikiriza okubalaga ekisa, era aliyimuka okubasaasira. Kubanga Yakuwa Katonda wa bwenkanya. Balina essanyu abo bonna abamulindirira.” Abo abalindirira Yakuwa bajja kufuna emikisa mingi mu kiseera kino ne mu nsi empya.

18. Mikisa ki gye twesunga?

18 Abantu ba Katonda bwe banaatuuka mu nsi empya, tebajja kuddamu kwolekagana n’ebintu ebibeeraliikiriza oba ebizibu ebirala bye boolekagana nabyo leero. Tewajja kuddamu kubaawo butali bwenkanya na bulumi. (Kub. 21:4) Tekijja kutwetaagisa kuddamu kulindirira kufuna bye twetaaga, kubanga tujja kuba nabyo mu bungi. (Zab. 72:16; Is. 54:13) Ekyo nga kijja kuba kiseera kirungi nnyo!

19. Lwaki Yakuwa atuteekateeka mu kiseera kino?

19 Mu kiseera kino, buli lwe tuvvuunuka omuze omubi, era buli lwe tukulaakulanya engeri ennungi, Yakuwa aba atuteekateeka okuba abantu abanaafugibwa Obwakabaka bwe. Toggwaamu maanyi, era tolekera awo kuweereza Yakuwa. Obulamu bujja kuba bulungi nnyo mu biseera eby’omu maaso! N’olwekyo, ka tweyongera okulindirira Yakuwa n’obugumiikiriza okutuusa lw’anaamaliriza omulimu gwe!

OLUYIMBA 118 “Twongere Okukkiriza”

^ lup. 5 Wali owuliddeko omuweereza wa Yakuwa omu amaze emyaka mingi mu mazima ng’agamba nti, ‘Nnali sisuubira nti nnandikaddiye ng’enkomerero tennajja? Olw’okuba tuli mu biseera ebizibu ennyo, twagala nnyo okulaba nga Yakuwa azikiriza enteekateeka ya Sitaani eno. Naye tulina okuyiga okuba abagumiikiriza. Mu kitundu kino tugenda kulaba emisingi gya Bayibuli egisobola okutuyamba okuba abagumiikiriza. Ate era, tugenda kulabayo embeera za mirundi ebiri mwe tuteekeddwa okulindirira Yakuwa. Oluvannyuma tujja kulaba emikisa abo abalindirira n’obugumiikiriza gye bajja okufuna.

^ lup. 56 EBIFAANANYI: Okuviira ddala mu buto, mwannyinaffe abaddenga asaba Yakuwa obutayosa. Bwe yali akyali muto, bazadde be baamuyigiriza engeri y’okusabamu. Bwe yayingira emyaka gy’obutiini, yatandika okuweereza nga payoniya, era emirundi mingi yasabanga Yakuwa amuyambe okutuukiriza obulungi obuweereza bwe. Nga wayise emyaka, omwami wa mwannyinaffe oyo bwe yali nga mulwadde nnyo, mwannyinaffe yeegayiriranga Yakuwa amuwe amaanyi okugumira ekizibu ekyo. Leero mwannyinaffe oyo nnamwandu, naye akyanyiikirira okusaba nga mukakafu nti Kitaawe ow’omu ggulu ajja kuddamu essaala ze nga bw’abaddenga aziddamu.