Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 33

Funa Essanyu mu Ebyo by’Osobola Okukola mu Buweereza Bwo

Funa Essanyu mu Ebyo by’Osobola Okukola mu Buweereza Bwo

“Okusanyusibwa ebintu amaaso bye galabako kisinga okwegomba ebintu by’otayinza kufuna.”​—MUB. 6:9.

OLUYIMBA 111 Ebituleetera Essanyu

OMULAMWA *

1. Biki bangi bye bakola okusobola okugaziya ku buweereza bwabwe eri Yakuwa?

 TULINA bingi eby’okukola ng’enkomerero y’enteekateeka y’ebintu eno egenda esembera. (Mat. 24:14; Luk. 10:2; 1 Peet. 5:2) Fenna twagala okukola kyonna kye tusobola mu buweereza bwaffe eri Yakuwa. Bangi bongedde ku biseera bye bamala mu mulimu gw’okubuulira. Abalala balina ekiruubirirwa eky’okuweereza nga bapayoniya. Ate abalala balina ekiruubirirwa eky’okuweereza ku Beseri oba okuyambako mu kuzimba ebizimbe ebikozesebwa mu kusinza okw’amazima. Ab’oluganda abalala bangi bafuba okutuukiriza ebisaanyizo ebinaabayamba okusobola okuweereza ng’abaweereza mu kibiina oba abakadde. (1 Tim. 3:1, 8) Nga Yakuwa ateekwa okuba nga musanyufu nnyo okulaba nga abaweereza be balina omwoyo ng’ogwo ogw’okwefiiriza!​—Zab. 110:3; Is. 6:8.

2. Oluusi tuyinza kuwulira tutya bwe tuba nga tetusobola kutuuka ku biruubirirwa ebimu eby’omwoyo?

2 Kyokka tuyinza okuwulira nga tuweddemu amaanyi, singa ekiseera kiwanvu kiyitawo nga tetunnatuuka ku bimu ku biruubirirwa byaffe eby’omwoyo. Oba tuyinza okuwulira nga tuweddemu amaanyi singa tetusobola kufuna nkizo ezimu olw’obukadde oba olw’embeera endala. (Nge. 13:12) Bwe kityo bwe kiri eri mwannyinaffe Melissa. * Yandyagadde okuweereza ku Beseri oba okugenda mu Ssomero ly’Ababuulizi b’Enjiri y’Obwakabaka, naye agamba nti: “Nnasussa mu myaka egyetaagibwa okusobola okufuna enkizo ezo. Kati okufuna enkizo ezo nkiwulira ng’ekirooto obulooto. Ekyo oluusi kindeetera okuwulira nga mpeddemu amaanyi.”

3. Abamu nga tebannaweebwa nkizo ezimu, biki bye bayinza okwetaaga okukola okusobola okutuukiriza ebisaanyizo?

3 Ab’oluganda abamu abavubuka bayinza okuba nga balamu bulungi naye nga beetaaga okukulaakulanya engeri ezimu ez’Ekikristaayo okusobola okuweebwa enkizo endala. Ku luuyi olumu, bayinza okuba nga bagezi, nga banguwa okusalawo, era nga banyiikivu; kyokka nga ku luuyi olulala, bayinza okuba nga beetaaga okuyiga okuba bagumiikiriza, okuba abeegendereza, n’okuwa abalala ekitiibwa. Bw’ofuba okukulaakulanya engeri ezeetaagisa, oyinza okufuna enkizo mu kiseera w’obadde togisuubirira. Lowooza ku Nick. Bwe yali wa myaka 20, yawulira bubi bw’ataalondebwa kuba muweereza mu kibiina. Yagamba nti: “Muli nnalowooza nti ndiko ekikyamu.” Naye Nick teyaggwamu maanyi. Yeeyongera okuweereza n’obunyiikivu mu kibiina ne mu mulimu gw’okubuulira. Kati Nick aweereza ku Kakiiko k’Ettabi.

4. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

4 Muli owulira ng’oweddemu amaanyi olw’okuba tonnatuuka ku kiruubirirwa ekimu eky’eby’omwoyo? Bwe kiba bwe kityo, saba Yakuwa omutegeeze bw’owulira. (Zab. 37:5-7) Ate era, oyinza okusaba ab’oluganda abakulu mu by’omwoyo bakuwe ku magezi ku ngeri gy’osobola okulongoosa mu buweereza bwo, era ofube okukolera ku magezi ge banaakuwa. Bw’onookola bw’otyo, oyinza okutuuka ku kiruubirirwa kyo. Naye okufaananako Melissa ayogeddwako waggulu, embeera gy’olimu eyinza obutakusobozesa kufuna nkizo gy’oyagala. Bwe kiba bwe kityo, oyinza otya okusigala ng’oli musanyufu? Okusobola okuddamu ekibuuzo ekyo, mu kitundu kino tugenda kulaba (1) ekisobola okukuyamba okufuna essanyu, (2) engeri gy’oyinza okwongera ku ssanyu lyo, (3) ebiruubirirwa by’osobola okweteerawo ebisobola okukuyamba okweyongera okuba omusanyufu.

EKISOBOLA OKUKUYAMBA OKUFUNA ESSANYU

5. Okusobola okuba abasanyufu, ebirowoozo tusaanidde kubissa ku ki? (Omubuulizi 6:9)

5 Omubuulizi 6:9, watulaga ekisobola okutuyamba okufuna essanyu. (Soma.) Omuntu omumativu n’ebyo “amaaso bye galabako” aba musanyufu k’abe ng’ali mu mbeera ki. Ku luuyi olulala, omuntu eyeegomba ebintu by’atayinza kufuna taba musanyufu. Ekyo kituyigiriza ki? Okusobola okuba abasanyufu, ebirowoozo tusaanidde kubissa ku ebyo bye tusobola okukola, mu kifo ky’okubimalira ku ebyo bye tutasobola kutuukako.

6. Lugero ki lwe tugenda okulaba era biki bye tugenda okuluyigamu?

6 Ddala kisoboka okuba abamativu n’ebyo bye tulina? Abantu abamu balowooza nti ekyo tekisoboka okuva bwe kiri nti twatondebwa nga twagala okukola ebintu ebipya. Naye kisobokera ddala okuba abamativu n’ebyo “amaaso bye galabako.” Ekyo kisoboka kitya? Okusobola okuddamu ekibuuzo ekyo, ka twetegereze olugero lwa Yesu olukwata ku ttalanta, oluli mu Matayo 25:14-30. Lujja kutuyamba okulaba engeri gye tusobola okuba abasanyufu n’okwongera ku ssanyu lye tulina.

ENGERI GY’OYINZA OKWONGERA KU SSANYU LYO

7. Mu bufunze, yogera ku lugero lwa Yesu olukwata ku ttalanta.

7 Mu lugero lwa Yesu, omusajja bwe yali anaatera okugenda ku lugendo, yayita abaddu be basatu buli omu n’amuwa ttalanta ez’okukozesa okusuubula. * Omusajja oyo yali amanyi obusobozi bwa buli omu ku baddu be. Bwe kityo, asooka yamuwa ttalanta ttaano, ow’okubiri n’amuwa ttalanta bbiri, ate ow’okusatu n’amuwa ttalanta emu. Abaddu ababiri abaasooka baakola n’obunyiikivu ne bafuna amagoba mu ttalanta ezaabaweebwa. Kyokka omuddu ow’okusatu, teyakozesa ssente ezaamuweebwa era mukama we yamugoba.

8. Lwaki omuddu eyasooka ayinza okuba nga yasanyuka nnyo?

8 Omuddu eyasooka ayinza okuba nga yasanyuka nnyo okuba nti mukama we yamuwa ttalanta ttaano. Ssente ezo zaali nnyingi nnyo, era ekyo kyalaga nti mukama we yali amwesiga nnyo! Naye ate omuddu ow’okubiri? Oboolyawo yandiweddemu amaanyi olw’okuba ye teyaweebwa ttalanta ezenkana n’ez’omuddu eyasooka. Naye kiki kye yakola?

Kiki kye tuyigira ku muddu ow’okubiri ayogerwako mu lugero lwa Yesu? (1) Mukama we yamuwa ttalanta bbiri. (2) Yakola nnyo n’afunira mukama we amagoba. (3) Yafuna amagoba agenkana ttalanta mukama we ze yamuwa (Laba akatundu 9-11)

9. Okusinziira ku Matayo 25:22, 23, biki Yesu by’ataayogera ku muddu ow’okubiri?

9 Soma Matayo 25:22, 23. Yesu teyagamba nti omuddu ow’okubiri yanyiiga olw’okuba yali afunye ttalanta bbiri zokka. Ate era, Yesu teyalaga nti omuddu oyo yeemulugunya ng’agamba nti: ‘Zino zokka ze bampadde? Nange nnina obusobozi bwe bumu ng’obw’oli afunye ttalanta ettaano! Mukama wange bw’aba nga tasiima bye nkola, nja kukweka ttalanta zino ŋŋende nneekolera ebyange.’

10. Omuddu ow’okubiri yakozesa atya ttalanta ze?

10 Okufaananako omuddu eyasooka, omuddu ow’okubiri obuvunaanyizibwa obwamuweebwa yabutwala nga bukulu nnyo, era yaweereza mukama we n’obunyiikivu. Yafuna amagoba agenkana ne ttalanta ezaamuweebwa. Olw’okuba yali munyiikivu, mukama we yamuwa empeera. Ng’oggyeeko okumwebaza, mukama we yamuwa n’obuvunaanyizibwa obulala!

11. Tusobola tutya okwongera ku ssanyu lyaffe?

11 Mu ngeri y’emu, naffe tusobola okwongera ku ssanyu lyaffe nga tukola n’obunyiikivu mu buweereza bwaffe eri Yakuwa. ‘Weemalire’ ku mulimu gw’okubuulira era weenyigire mu mirimu egitali gimu egikolebwa mu kibiina kyo. (Bik. 18:5; Beb. 10:24, 25) Weetegekerenga bulungi enkuŋŋaana osobole okuddamu mu ngeri ezzaamu abalala amaanyi. Buli kitundu ky’oba oweereddwa okukolako mu lukuŋŋaana olwa wakati mu wiiki kitwale nga kikulu era kitegeke bulungi. Bw’obaako ekintu ky’oweereddwa okukola mu kibiina, fuba okukikola mu budde era beera muntu eyeesigika. Ekintu kyonna ky’oba oweereddwa okukola tokitwala nti si kikulu era nti teweetaaga kukiwa budde. Fuba okweyongera okufuna obumanyirivu mu ekyo ekiba kikuweereddwa okukola. (Nge. 22:29) Bw’onooba omunyiikivu, enkolagana yo ne Yakuwa ejja kweyongera okunywera era ojja kweyongera okuba omusanyufu. (Bag. 6:4) Era kijja kukwanguyira okusanyukira awamu n’abalala nga bafunye enkizo gye wandyagadde okufuna.​—Bar. 12:15; Bag. 5:26.

12. Kiki ekyayamba Melissa ne Nick okweyongera okuba abasanyufu?

12 Jjukira mwannyinaffe Melissa gwe twayogeddeko, eyandyagadde okuweereza ku Beseri oba okugenda mu Ssomero ly’Ababuulizi b’Enjiri y’Obwakabaka. Wadde nga tasobola kutuuka ku biruubirirwa ebyo, agamba nti: “Nkola kyonna kye nsobola okutuukiriza obuweereza bwange nga payoniya era nfuba okwenyigira mu ngeri ezitali zimu ez’okubuulira. Kino kindeetedde essanyu lingi.” Ate ye Nick yakola ki bw’ataalondebwa kuba muweereza mu kiseera kye yali asuubiriramu? Agamba nti: “Ebirowoozo nnabissa ku nkizo ze nnalina mu kiseera ekyo, gamba ng’okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira, n’okwetegekera obulungi enkuŋŋaana n’okuzeenyigiramu. Ate era nnasaba okugenda okuweereza ku Beseri ne bampita omwaka ogwaddako.”

13. Kiki ekinaavaamu bw’oneeyongera okuweereza Yakuwa n’obunyiikivu? (Omubuulizi 2:24)

13 Bw’onookola n’obunyiikivu mu buweereza bw’olimu kati, onoofuna enkizo endala mu biseera eby’omu maaso? Ekyo kiyinza okubaawo nga bwe kyali ku Nick. Naye bwe kitabaawo, nga bwe kyali ku Melissa, ojja kuba musanyufu era mumativu bw’oneeyongera okuweereza Yakuwa n’obunyiikivu. (Soma Omubuulizi 2:24.) Ate era ojja kufuna essanyu lingi olw’okukimanya nti osanyusa Mukama Waffe, Yesu Kristo.

EBIRUUBIRIRWA EBISOBOLA OKUTUYAMBA OKWEYONGERA OKUBA ABASANYUFU

14. Kiki kye tusaanidde okujjukira, bwe tuba nga tulina ebiruubirirwa bye twagala okutuukako mu buweereza bwaffe eri Yakuwa?

14 Okumalira ebirowoozo byaffe ku ebyo bye tusobola okukola kati kitegeeza nti tetusaanidde kulowooza ku ngeri gye tuyinza kugaziya ku buweereza bwaffe eri Yakuwa? Si bwe kiri. Tusaanidde okweteerawo ebiruubirirwa ebinaatuyamba okukola obulungi omulimu gw’okubuulira, era n’okuyamba baganda baffe ne bannyinaffe. Bwe tuba abeetoowaze era ne tufuba okuyamba abalala mu kifo ky’okumalira ebirowoozo byaffe ku biruubirirwa bye tutannaba kutuukako, tuganyulwa nnyo.​—Nge. 11:2; Bik. 20:35.

15. Biruubirirwa ki by’osobola okweteerawo ebisobola okukuyamba okweyongera okuba omusanyfu?

15 Biruubirirwa ki by’oyinza okweteerawo? Saba Yakuwa akuyambe okumanya ebiruubirirwa by’osobola okutuukako. (Nge. 16:3; Yak. 1:5) Oboolyawo oyinza okweteerawo ebimu ku biruubirirwa ebyogeddwako mu  katundu akaasoose, gamba ng’okuweereza nga payoniya omuwagizi oba payoniya owa bulijjo, okuweereza ku Beseri, oba okuyambako mu mulimu gw’okuzimba. Oba oyinza okuba ng’osobola okuyiga olulimi olulala n’obuulira abantu aboogera olulimi olwo oba n’ogenda okubuulira mu kitundu ekirala. Osobola okumanya ebizingirwamu ng’osoma essuula 10 ey’akatabo Tutegekeddwa Okukola Yakuwa by’Ayagala, era ng’oyogera n’abakadde ab’omu kibiina kyo. * Bw’ofuba okutuuka ku biruubirirwa ebyo, n’abalala bajja kukiraba nti okulaakulana mu by’omwoyo, era ojja kweyongera okufuna essanyu.

16. Kiki ky’osobola okukola bwe kiba nti mu kiseera kino tosobola kutuuka ku kiruubirirwa ekimu?

16 Watya singa ku biruubirirwa ebyo ebyogeddwako waggulu, tewali ky’osobola kutuukako mu kiseera kino? Osobola okulowooza ku kiruubirirwa ekirala ky’osobola okutuukako. Lowooza ku biruubirirwa bino wammanga.

Biruubirirwa ki by’osobola okutuukako? (Laba akatundu 17) *

17. Okusinziira ku 1 Timoseewo 4:13, 15, biki ebisobola okuyamba ow’oluganda okuba omuyigiriza omulungi?

17 Soma 1 Timoseewo 4:13, 15. Bw’oba ng’oli wa luganda mubatize, osobola okweteerawo ekiruubirirwa eky’okuba omwogezi omulungi era omuyigiriza omulungi. Kubanga bw’onoofuba okuba omusomi omulungi, omwogezi omulungi, era omuyigiriza omulungi, abalala bajja kuganyulwa nnyo. Weeteerewo ekiruubirirwa eky’okusoma n’okussa mu nkola buli ssomo eriri mu brocuwa, Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza. Soma buli ssomo ng’oli waka, weegezeemu enfunda n’enfunda, era okolerenga ku magezi g’onooba oyize ng’owa emboozi zo. Saba obuyambi okuva eri omukadde akola ng’omuwabuzi oba abakadde abalala “abakola ennyo mu kwogera ne mu kuyigiriza.” * (1 Tim. 5:17) Ng’oggyeeko okussa mu nkola ebyo by’oyiga mu brocuwa, era fuba okuyiga engeri gy’oyinza okuyambamu abo abakuwuliriza okunyweza okukkiriza kwabwe n’okukolera ku ebyo bye bayiga. Bw’onookola bw’otyo, ojja kweyongera okuba omusanyufu, era nabo bajja kuba basanyufu.

Biruubirirwa ki by’osobola okutuukako? (Laba akatundu 18) *

18. Biki ebinaatuyamba okutuuka ku biruubirirwa bye tweteerawo mu mulimu gw’okubuulira?

18 Ffenna twaweebwa enkizo ey’okubuulira n’okufuula abantu abayigirizwa. (Mat. 28:19, 20; Bar. 10:14) Wandyagadde okukuguka mu ngeri gy’okolamu omulimu guno omukulu ennyo? Bw’oba osoma brocuwa Okuyigiriza, weeteerewo ebiruubirirwa ebinaakuyamba okussa mu nkola ebyo by’onooba oyize mu brocuwa eyo. Osobola okufuna amagezi amalala aganaakuyamba mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe ne mu vidiyo eziragibwa mu lukuŋŋaana olwa wakati mu wiiki. Gezaako okussa mu nkola amagezi agatali gamu agaweebwa, olabe aganaasinga okukukolera. Bw’onossa mu nkola amagezi ago, ojja kufuna obumanyirivu mu mulimu gw’okubuulira, era ekyo kijja kukuyamba okweyongera okufuna essanyu.​—2 Tim. 4:5.

Biruubirirwa ki by’osobola okutuukako? (Laba akatundu 19) *

19. Oyinza otya okukulaakulanya engeri ez’Ekikristaayo?

19 Ng’olowooza ku biruubirirwa eby’omwoyo by’osobola okweteerawo, teweerabira ekisinga obukulu, nga kwe kukulaakulanya engeri ez’Ekikristaayo. (Bag. 5:22, 23; Bak. 3:12; 2 Peet. 1:5-8) Ekyo oyinza kukikola otya? Ka tugambe nti oyagala okuba n’okukkiriza okunywevu. Oyinza okusoma ebitundu ebifulumira mu bitabo byaffe ebiwa amagezi ku ngeri gy’osobola okunywezaamu okukkiriza kwo. Ate era ojja kuganyulwa nnyo bw’onoolaba vidiyo eziri ku JW Broadcasting® eziraga baganda baffe ne bannyinaffe aboolese okukkiriza okw’amaanyi, wadde nga boolekagana n’ebizibu. Oluvannyuma lowooza ku ngeri gy’oyinza okubakoppamu.

20. Biki bye tusobola okukola okusobola okwongera ku ssanyu lyaffe n’obutaggwaamu maanyi?

20 Awatali kubuusabuusa, ffenna twandyagadde okukola ekisingawo mu buweereza bwaffe eri Yakuwa. Mu nsi empya, tujja kusobola okumuweereza mu bujjuvu. Ng’ekiseera ekyo tekinnatuuka, bwe tukola kyonna kye tusobola okuweereza Yakuwa mu kiseera kino, kijja kutuyamba okweyongera okuba abasanyufu n’obutaggwaamu maanyi. N’ekisinga obukulu, tujja kugulumiza Yakuwa, ‘Katonda waffe omusanyufu.’ (1 Tim. 1:11) Ka tweyongere okufuna essanyu mu ebyo bye tusobola okukola mu buweereza bwaffe!

OLUYIMBA 82 “Ekitangaala Kyammwe Kyakirenga Abantu”

^ lup. 5 Twagala nnyo Yakuwa, era twagala okukola kyonna kye tusobola mu buweereza bwaffe gy’ali. Eyo ye nsonga lwaki bangi tufuba okwongera ku biseera bye tumala mu mulimu gw’okubuulira, oba tuluubirira enkizo endala mu kibiina. Naye watya singa wadde nga tufubye nnyo, tetusobola kutuuka ku biruubirirwa ebimu eby’omwoyo? Tuyinza tutya okusigala nga tuweereza Yakuwa n’obunyiikivu era n’okusigala nga tuli basanyufu? Olugero lwa Yesu olukwata ku ttalanta lutuyamba okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo.

^ lup. 2 Amannya agamu gakyusiddwa.

^ lup. 7 EBIGAMBO EBINNYONNYOLWA: Ttalanta yali yenkana ssente omuntu ze yakoleranga okumala emyaka nga 20.

^ lup. 15 Ab’oluganda ababatize bakubirizibwa okufuba okutuukiriza ebisaanyizo basobole okufuuka abaweereza oba abakadde. Okumanya ebisaanyizo bye balina okutuukiriza, laba essuula 5 ne 6 ez’akatabo Tutegekeddwa Okukola Yakuwa by’Ayagala.

^ lup. 17 EBIGAMBO EBINNYONNYOLWA: Omuwabuzi ye mukadde eyalondebwa okuwabula mu kyama abakadde n’abaweereza ababa baweereddwa ekitundu kyonna eky’okuyigiriza mu kibiina.

^ lup. 64 EBIFAANANYI: Okusobola okutuuka ku kiruubirirwa kye eky’okuba omuyigiriza omulungi, ow’oluganda anoonyereza mu bitabo byaffe.

^ lup. 66 EBIFAANANYI: Oluvannyuma lw’okweteerawo ekiruubirirwa eky’okubuulira embagirawo, mwannyinaffe awa oyo amuweerezza eby’okulya akapapula akalagirira abantu ku mukutu gwaffe.

^ lup. 68 EBIFAANANYI: Ng’afuba okwoleka engeri ez’Ekikristaayo, mwannyinaffe atwalidde muganda we ekirabo.