Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 34

Tuyinza Tutya ‘Okulega’ ku Bulungi bwa Yakuwa?

Tuyinza Tutya ‘Okulega’ ku Bulungi bwa Yakuwa?

“Mulegeeko mulabe nti Yakuwa mulungi; alina essanyu oyo addukira gy’ali.”​—ZAB. 34:8.

OLUYIMBA 117 Okwoleka Obulungi

OMULAMWA *

1-2. Okusinziira ku Zabbuli 34:8, tuyinza tutya okumanya obulungi bwa Yakuwa?

KUBA akafaananyi nga bakuwadde emmere gy’otalyangako. Osobola okubaako by’omanya ku mmere eyo ng’ogitunulako, ng’owunyigiriza akawoowo kaayo, ng’omanya ebirungo ebigiteekeddwamu, oba ng’obuuza abalala abaali baliddeko ku mmere eyo. Kyokka engeri yokka gy’oyinza okumanyaamu obanga emmere eyo eneekuwoomera, kwe kugiregako.

2 Tusobola okubaako bye tuyiga ebikwata ku bulungi bwa Yakuwa nga tusoma Bayibuli n’ebitabo ebikubibwa omuddu omwesigwa, era nga tuwuliriza abalala aboogera ku mikisa Yakuwa gy’abawadde. Naye tujja kutegeerera ddala obulungi bwa Yakuwa nga ffe kennyini ‘tulezeeko’ ku bulungi bwe. (Soma Zabbuli 34:8.) Ka tulabeyo engeri emu gye tusobola okukikolamu. Ka tugambe nti twagala okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna, naye okusobola okutuuka ku kiruubirirwa ekyo, tulina okubaako ebintu ebimu bye twefiiriza. Oboolyawo emirundi mingi tusomye ekisuubizo kya Yesu ekigamba nti bwe tukulembeza Obwakabaka, Yakuwa ajja kutuwa bye twetaaga. Naye nga ffe kennyini tetulabangako ngeri Yakuwa gy’atuukirizaamu ekisuubizo ekyo mu bulamu bwaffe. (Mat. 6:33) Wadde kiri kityo, nga tukkiririza mu kisuubizo kya Yesu ekyo, tukendeeza ku nsaasaanya yaffe, tufuna omulimu ogutatutwalira budde bungi, ne twemalira ku buweereza bwaffe. Bwe tukola bwe tutyo, tulaba engeri Yakuwa gy’atulabiriramu. Mu ngeri eyo, ffe kennyini tuba ‘tuleze’ ku bulungi bwa Yakuwa.

3. Okusinziira ku Zabbuli 16:1, 2, baani Yakuwa b’akolera ebirungi?

3 Yakuwa “mulungi eri bonna,” nga mw’otwalidde n’abo abatamumanyi. (Zab. 145:9; Mat. 5:45) Naye okusingira ddala, abo abamwagala era ne bamuweereza n’omutima gwabwe gwonna, abakolera ebirungi bingi. (Soma Zabbuli 16:1, 2.) Ka tulabeyo ebimu ku bintu ebirungi Yakuwa by’atukoledde.

4. Yakuwa ayoleka atya obulungi bwe eri abo abaakatandika okumusemberera?

4 Buli lwe tukolera ku ebyo Yakuwa by’atuyigiriza, tulaba engeri gye tuganyulwamu. Bwe tweyongera okuyiga ebimukwatako n’okumwagala, yatuyamba okwewala endowooza n’ebikolwa ebitamusanyusa. (Bak. 1:21) Ate era bwe twewaayo eri Yakuwa era ne tubatizibwa, tweyongera okulaba obulungi bwe mu ngeri esingawo olw’okuba yatusobozesa okufuna omuntu ow’omunda omulungi n’enkolagana ey’oku lusegere naye.​—1 Peet. 3:21.

5. Tulaba tutya obulungi bwa Yakuwa nga tukola omulimu gw’okubuulira?

5 Tweyongedde okulaba obulungi bwa Yakuwa nga tukola omulimu gw’okubuulira. Oli muntu wa nsonyi? Bangi ku baweereza ba Yakuwa bwe batyo bwe bali. Oboolyawo bwe wali tonnafuuka muweereza wa Yakuwa, oyinza okuba nga wali toyinza na kukiteebereza nti osobola okukonkona ku luggi lw’omuntu gw’otomanyi n’omubuulira ebikwata ku Bayibuli. Kyokka kati, ekyo okikola obutayosa. Ate era Yakuwa akuyambye okunyumirwa omulimu gw’okubuulira! Akuyamba okusigala ng’oli mukkakkamu ng’osanze omuntu akukambuwalidde. Era akuyamba okujjukira ebyawandiikibwa eby’okusomera omuntu aba asiimya obubaka bwaffe. Era akuwa amaanyi ne weeyongera okubuulira wadde ng’osanze abantu abatayagala kuwuliriza.​—Yer. 20:7-9.

6. Okutendekebwa Yakuwa kw’atuwa kulaga kutya obulungi bwe?

6 Yakuwa era atulaze obulungi bwe ng’atutendeka tusobole okukola obulungi omulimu gw’okubuulira. (Yok. 6:45) Mu nkuŋŋaana zaffe eza wakati mu wiiki, tuwuliriza ebyokulabirako ebiba bitegekeddwa obulungi, era ne tukubirizibwa okukozesa amagezi agaba gatuweereddwa nga tubuulira. Mu kusooka tuyinza okutya okukozesa enkola empya eba etuweereddwa, naye bwe tugikozesa, tuyinza okukiraba nti esikiriza abantu bangi mu kitundu kye tubuuliramu. Ate era mu nkuŋŋaana z’ekibiina ne mu nkuŋŋaana ennene, tukubirizibwa okwenyigira mu nkola ez’okubuulira, oboolyawo ze tubadde tutakozesangako. Naye bwe tukolera ku magezi agaba gatuweereddwa, tuwa Yakuwa ky’asinziirako okutuwa emikisa. Kati ka tulabe emikisa egivaamu bwe tufuba okuwa Yakuwa ekisingayo obulungi mu buweereza bwaffe ka tube mu mbeera ki. Oluvannyuma tujja kulaba engeri ezitali zimu ze tusobola okugaziyaamu obuweereza bwaffe.

YAKUWA AWA OMUKISA ABO ABAMWESIGA

7. Mikisa ki gye tufuna bwe tugaziya ku buweereza bwaffe eri Yakuwa?

7 Tweyongera okusemberera Yakuwa. Lowooza ku w’oluganda ayitibwa Samuel, * aweereza ng’omukadde mu kibiina ekimu mu Colombia. Ye ne mukyala we baali baweereza nga bapayoniya mu kibiina kyabwe, naye baayagala okugaziya ku buweereza bwabwe nga bagenda okuweerereza mu kibiina ekirala awaali obwetaavu obusingako. Okusobola okutuuka ku kiruubirirwa ekyo, baalina okubaako bye beefiiriza. Samuel agamba nti: “Twakolera ku magezi agali mu Matayo 6:33 ne tulekera awo okugula ebintu bye twali tuteetaaga. Naye ekyasinga okutuzibuwalira kwe kuleka ennyumba yaffe. Yali yazimbibwa mu ngeri gye twagala era nga teriiko bbanja lyonna.” Kyokka bwe baagenda mu kibiina ekirala, baakiraba nti ssente ze baali beetaaga okweyimirizaawo zaali ntono nnyo bw’ozigeraageranya ku ezo ze baakozesanga. Samuel agamba nti: “Tulaba engeri Yakuwa gy’atuwaamu emikisa era n’engeri gy’addamu essaala zaffe. Tulabye ng’enkolagana yaffe ne Yakuwa yeeyongedde okunywera era atulaze okwagala mu ngeri gye twali tutasuubira.” Naawe osobola okugaziya ku buweereza bwo? Bwe kiba bwe kityo, beera mukakafu nti enkolagana yo ne Yakuwa ejja kweyongera okunywera era ajja kukulabirira.​—Zab. 18:25.

8. Ebyo Ivan ne Viktoria bye baayogera tubiyigirako ki?

8 Tufuna essanyu mu buweereza bwaffe. Lowooza ku ebyo ow’oluganda Ivan ne mukyala we Viktoria, abaweereza nga bapayoniya mu Kyrgyzstan bye bagamba. Beewala okuba n’ebintu ebingi basobole okuweereza wonna awali obwetaavu nga mw’otwalidde ne mu mulimu gw’okuzimba. Ivan agamba nti: “Twakolanga n’amaanyi gaffe gonna wonna we twabanga tusindikiddwa okuzimba. Wadde nga ku nkomerero y’olunaku twabanga tukooye nnyo, twawuliranga essanyu olw’okuba twabanga tukozesezza amaanyi gaffe mu mulimu gw’Obwabakabaka. Emikwano gye twafuna nagyo gyatuleetera essanyu lingi.”​—Mak. 10:29, 30.

9. Mwannyinaffe alina ebizibu by’ayolekagana nabyo asobodde atya okugaziya ku buweereza bwe eri Yakuwa, era biki ebivuddemu?

9 Tusobola okufuna essanyu mu kuweereza Yakuwa wadde nga tulina ebizibu bye twolekagana nabyo. Mwannyinaffe ayitibwa Mirreh, akaddiye era nnamwandu abeera mu bugwanjuba bwa Afirika, yawummula omulimu gw’obusawo n’atandika okuweereza nga payoniya owa bulijjo. Mwannyinaffe oyo alina obulwadde obumuleetera okulumizibwa mu nnyingo era asobola okumala essaawa emu yokka ng’abuulira nnyumba ku nnyumba. Naye asobola okumala essaawa eziwerako ng’abuulira mu bifo ebya lukale. Alina abantu bangi ab’okuddiŋŋana n’abayizi ba Bayibuli, era abamu abasomeseza ku ssimu. Kiki ekyakubiriza mwannyinaffe Mirreh okwagala okukola ekisingawo mu buweereza bwe eri Yakuwa? Agamba nti: “Njagala nnyo Yakuwa ne Yesu Kristo. Era nsaba nnyo Yakuwa annyambe okukola kyonna kye nsobola mu buweereza bwange.”​—Mat. 22:36, 37.

10. Okusinziira ku 1 Peetero 5:10, kiki Yakuwa ky’akolera abo abagaziya ku buweereza bwabwe gy’ali?

10 Yakuwa yeeyongera okututendeka. Kenny, aweereza nga payoniya mu Mauritius, ekyo yakiraba nga kituufu. Bwe yayiga amazima, yava yunivasite n’abatizibwa era n’ayingira obuweereza obw’ekiseera kyonna. Agamba nti, “Nfuba okukolera ku bigambo bya nnabbi Isaaya eyagamba nti: ‘Nzuuno! Ntuma!’” (Is. 6:8) Kenny akoze ku projekiti nnyingi ez’okuzimba, era ayambyeko mu kuvvuunula ebitabo ebyesigamiziddwa ku Bayibuli mu lulimi lwe. Kenny agamba nti: “Nnafuna okutendekebwa kwe nnali nneetaaga okusobola okukola obulungi emirimu egyabanga gimpeereddwa.” Kyokka teyakoma ku kufuna bufunyi bumanyirivu mu ngeri y’okukolamu emirimu. Agattako nti, “Okutendekebwa okwo kwannyamba okumanya obusobozi bwange we bukoma, era n’engeri ze nneetaaga okukulaakulanya okusobola okuba omuweereza wa Yakuwa omulungi.” (Soma 1 Peetero 5:10.) Oboolyawo naawe olina enkyukakyuka z’osobola okukola, Yakuwa asobole okwongera okukutendeka.

Ow’oluganda ne mukyala we babuulira mu kitundu awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako; mwannyinaffe akyali omuvubuka ayambako mu kuzimba Ekizimbe ky’Obwakabaka; ow’oluganda ne mukyala we abakaddiye babuulira nga bakozesa essimu. Bonna bafuna essanyu mu buweereza bwabwe (Laba akatundu 11)

11. Bannyinaffe mu South Korea baakola ki okusobola okwenyigira mu bujjuvu mu buweereza, era biki ebyavaamu? (Laba ekifaananyi ku ddiba.)

11 N’ababuulizi abalina obumanyirivu basobola okuganyulwa mu kutendekebwa Yakuwa kw’atuwa, bwe bafuba okukozesa enkola empya ez’okubuulira. Mu kiseera ky’ekirwadde kya COVID-19, abakadde b’omu kibiina ekimu mu South Korea baawandiika nti: “Ababuulizi abamu abaali balowooza nti tebasobola kwenyigira mu buweereza olw’ekirwadde, kati basobola okubwenyigiramu nga bakozesa enkola eya videoconferencing. Bannyinaffe basatu abali mu myaka 80 baayiga okukozesa enkola eyo, era kati beenyigira mu kubuulira kumpi buli lunaku.” (Zab. 92:14, 15) Naawe osobola okugaziya ku buweereza bwo osobole okweyongera okulaba obulungi bwa Yakuwa? Kati ka tulabe ebimu ku bintu by’osobola okukola okusobola okutuuka ku kiruubirirwa ekyo.

EBINAAKUYAMBA OKUGAZIYA KU BUWEEREZA BWO

12. Kiki Yakuwa ky’asuubiza abo abamwesiga?

12 Weesige Yakuwa. Yakuwa asuubiza okutuwa emikisa mingi bwe tumwesiga era ne tumuwa ekisingayo obulungi. (Mal. 3:10) Mwannyinaffe ayitibwa Fabiola abeera mu Colombia yalaba ekisuubizo ekyo nga kituukirira ku ye. Yayagala okutandika okuweereza nga payoniya owa bulijjo amangu ddala nga yaakabatizibwa. Kyokka, omulimu gwe yali akola gwe gwali gubayimirizaawo; ye, omwami we, n’abaana baabwe abasatu. Ekiseera kye eky’okuwummula bwe kyatuuka, yasaba nnyo Yakuwa amuyambe. Agamba nti: “Kitera okutwala ekiseera kiwanvu okukola ku bya pensoni, naye eyange nnatandika okugifuna mu mwezi gumu gwokka oluvannyuma lw’okuteekayo okusaba kwange. Kyali nga kyamagero gyendi!” Oluvannyuma lw’emyezi ebiri, yatandika okuweereza nga payoniya owa bulijjo. Kati ali mu myaka 70 era amaze emyaka egisukka mu 20 ng’aweereza nga payoniya owa bulijjo. Era ayambye abantu munaana okutuuka ku kubatizibwa. Agamba nti: “Wadde ng’ebiseera ebimu mpulira nga ndi munafu, Yakuwa annyamba bulijjo okutuukiriza obuweereza bwange.”

Ibulayimu ne Saala, Yakobo, ne bakabona abaasomoka Omugga Yoludaani, baalaga batya nti baali beesiga Yakuwa? (Laba akatundu 13)

13-14. Byakulabirako ki ebisobola okutuyamba okwesiga Yakuwa ne tusobola okugaziya ku buweereza bwaffe?

13 Baako by’oyigira ku abo abeesiga Yakuwa. Bayibuli erimu ebyokulabirako by’abantu bangi abaaweereza Yakuwa n’omutima gwabwe gwonna. Emirundi mingi abaweereza ba Yakuwa abo baasooka kubaako kye bakolawo, Yakuwa n’alyoka abawa emikisa. Ng’ekyokulabirako, Ibulayimu yamala kusimbula okuva mu maka ge okugenda Yakuwa gye yali amugambye, “wadde nga yali tamanyi gy’alaga,” Yakuwa n’alyoka amuwa emikisa. (Beb. 11:8) Yakobo yamala kumeggana ne malayika, n’alyoka aweebwa omukisa. (Lub. 32:24-30) Eggwanga lya Isirayiri bwe lyali linaatera okuyigira Ensi Ensuubize, bakabona baamala kulinnya mu mazzi g’Omugga Yoludaani abantu ne balyoka basobola okusomoka.​—Yos. 3:14-16.

14 Ate era tusobola okuganyulwa mu byokulabirako by’abaweereza ba Yakuwa ab’omu kiseera kino, abeesize Yakuwa ne basobola okugaziya ku buweereza bwabwe. Ng’ekyokulabirako, Ow’oluganda Payton ne mukyala we Diana, baanyumirwanga nnyo okusoma ku b’oluganda ne bannyinaffe abaagaziya ku buweereza bwabwe eri Yakuwa, gamba ng’abo aboogerwako mu kitundu “Beewaayo Kyeyagalire.” * Payton agamba nti: “Bwe twasomanga ku byokulabirako ebyo, twabanga ng’abatunuulira omuntu awoomerwa emmere gy’alya. Gye twakoma okusoma ebitundu ebyo, gye twakoma okwagala ‘okulegako tulabe nti Yakuwa mulungi.’” Oluvannyuma Payton ne Diana baagenda okuweereza mu kitundu awaali obwetaavu obusingako. Naawe wasoma ku bitundu ebyo? Era walaba ku vidiyo, Witnessing in Isolated Territory​—Australia ne Witnessing in Isolated Territory​—Ireland eziri ku jw.org? Ebintu ebyo bisobola okukuyamba okulaba engeri gy’oyinza okugaziya ku buweereza bwo.

15. Emikwano emirungi giyinza kutuyamba gitya?

15 Londa emikwano emirungi. Kisobola okukwanguyira okulya ku mmere gy’otalyangako singa obeera n’abo abagiwoomerwa. Mu ngeri y’emu, singa abo abakulembeza obuweereza bwabwe eri Yakuwa be tufuula mikwano gyaffe, naffe kijja kutwanguyira okugaziya ku buweereza bwaffe gy’ali. Ow’oluganda Kent ne mukyala we Veronica ekyo kye baakola. Kent agamba nti: “Mikwano gyaffe n’ab’eŋŋanda zaffe baatukubiriza okuyigiriza obuweereza obw’ekiseera kyonna. Abo abakulembeza Obwakabaka bwe twabafuula mikwano gyaffe, naffe twawulira nga twagala okuyigira obuweereza obw’ekisera kyonna.” Kent ne Veronica kati baweereza nga bapayoniya ab’enjawulo mu Serbia.

16. Nga bwe kiragibwa mu lugero lwa Yesu oluli mu Lukka 12:16-21, lwaki tusaanidde okuba abeetegefu okwefiiriza?

16 Baako bye weefiiriza osobole okuweereza Yakuwa mu ngeri esingako. Tekitwetaagisa kwefiiriza byonna bye tulina okusobola okusanyusa Yakuwa. (Mub. 5:19, 20) Kyokka bwe tutakola kisingawo mu buweereza bwaffe eri Yakuwa olw’okuba tetwagala kubaako bye twefiiriza, tuyinza okuba ng’omusajja ayogerwako mu lugero lwa Yesu eyeekuŋŋaanyiza eby’obugagga, naye n’atafaayo kumanya bikwata ku Katonda. (Soma Lukka 12:16-21.) Ow’oluganda Christian, abeera mu Bufalansa agamba nti, “Nnali siwaayo budde bumala kuweereza Yakuwa na kubeerako na ba mu maka gange.” Ye ne mukyala we baasalawo okuweereza nga bapayoniya. Naye okusobola okutuuka ku kiruubirirwa ekyo, baalina okuleka emirimu gye baali bakola. Okusobola okweyimirizaawo, baatandikawo omulimu gw’okuyonja era ne bayiga okuba abamativu n’ekitono kye baali bafuna mu mulimu ogwo. Balina engeri yonna gye baaganyulwamu? Christian agamba nti, “Kati tunyumirwa obuweereza bwaffe, era kitusanyusa nnyo okulaba ng’abayizi baffe aba Bayibuli n’abo be tuddiŋŋana bayiga ebikwata ku Yakuwa.”

17. Kiki ekiyinza okutulemesa okugezaako ekintu ekipya mu buweereza bwaffe?

17 Beera mwetegefu okugezaako enkola empya ez’okubuulira. (Bik. 17:16, 17; 20:20, 21) Mwannyinaffe ayitibwa Shirley, aweereza nga payoniya mu Amerika, yalina okukyusa mu ngeri gye yali abuuliramu mu kiseera kya COVID-19. Mu kusooka yali atya okubuulira ng’akozesa essimu. Naye bwe yafuna okutendekebwa ng’omulabirizi w’ekitundu abakyalidde, yatandika okubuulira obutayosa ng’akozesa essimu. Agamba nti: “Mu kusooka tekyali kyangu, naye kati nnyumirwa nnyo. Kati tubuulira abantu bangi okusinga abo be twabuuliranga nga tubuulira nnyumba ku nnyumba!”

18. Kiki ekisobola okutuyamba okuvvuunuka okusoomooza kwe twolekagana nakwo nga tufuba okugaziya obuweereza bwaffe?

18 Weeteerewo ekiruubirirwa era ofube okukituukako. Bwe tufuna ebisoomooza, tusaba Yakuwa atuyambe era tukola kyonna ekisobola okusobola okubivvuunuka. (Nge. 3:21) Sonia, aweereza nga payoniya owa bulijjo mu kibiina ekimu ekikozesa olulimi Olulomani mu Bulaaya agamba nti: “Mpandiika ebiruubirirwa byange ku lupapula ne nduteeka mu kifo we nsobola okululabira. Ate era ku mmeeza yange nninako ekifaananyi ekiraga amasaŋŋanzira enguudo bbiri we zisisinkanira. Buli lwe mbaako kye njagala okusalawo, ntunula ku masaŋŋanzira ago ne nneebuuza obanga kye ŋŋenda okusalawo kinannyamba okutuuka ku biruubirirwa byange.” Sonia afuba okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku bizibu by’ayolekagana nabyo. Agamba nti: “Buli kizibu kye njolekagana nakyo nnina okusalawo obanga kinaaba ng’ekisenge ekinziyiza okutuuka ku biruubirirwa byange, oba ng’olutindo olunnyamba okubituukako.”

19. Kiki kye tusaanidde okumalirira okukola?

19 Yakuwa atuwa emikisa mingi. Tusobola okukraga nti tusiima ebyo by’atukolera, nga tukola kyonna kye tusobola okumutendereza. (Beb. 13:15) Ekyo kiyinza okuzingiramu okulaba engeri ez’enjawulo ze tuyinza okugaziyaamu obuweereza bwaffe tusobole okufuna emikisa emirala. N’olwekyo, ka buli lunaku tulabe engeri gye tusobola ‘okulegako tulabe nti Yakuwa mulungi.’ Bwe tunaakola bwe tutyo, tujja kuba nga Yesu eyagamba nti: “Emmere yange kwe kukola oyo eyantuma by’ayagala n’okumaliriza omulimu gwe.”​—Yok. 4:34.

OLUYIMBA 80 “Mulegeeko Mulabe nti Yakuwa Mulungi”

^ lup. 5 Ebintu byonna ebirungi biva eri Yakuwa. Abantu bonna abawa ebirungi, nga mw’otwalidde n’abantu ababi. Naye okusingira ddala, ayagala nnyo okukolera abaweereza be abeesigwa ebintu ebirungi. Mu kitundu kino, tugenda kulaba engeri Yakuwa gy’akolera abaweereza be ebintu ebirungi. Ate era tugenda kulaba engeri ey’enjawulo Yakuwa gy’akoleramu ebintu ebirungi abo abagaziya ku buweereza bwabwe gy’ali.

^ lup. 7 Amannya agamu gakyusiddwa.

^ lup. 14 Ebitundu ebyo, ebyafulumiranga mu Omunaala gw’Omukuumi kati biri ku jw.org. Genda ku EBITUKWATAKO > EBYOKULABIRAKO > OKUTUUKA KU BIRUUBIRIRWA EBY’EBY’OMWOYO.