Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 35

Bakkiriza Bannaffe Abakaddiye Batwale nga ba Muwendo

Bakkiriza Bannaffe Abakaddiye Batwale nga ba Muwendo

“Envi ngule erabika obulungi.”​—NGE. 16:31.

OLUYIMBA 138 Abalina Envi ba Kitiibwa

OMULAMWA *

1-2. (a) Okusinziira ku Engero 16:31, tusaanidde kutwala tutya bakkiriza bannaffe abakaddiye? (b) Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu mu kitundu kino?

MU SSAZA erimu mu Amerika eriyo ekifo eky’obulambuzi ekirimu amayinja ag’omuwendo agayitibwa alimaasi. Amayinja ago tegaatemebwa wadde okuwawulwa. Abantu abamu abagenda mu kifo ekyo tebamanyi nti amayinja ago ga muwendo nnyo, era bagayitako buyisi.

2 Mu ngeri emu, bakkiriza bannaffe abakaddiye balinga amayinja ago; ba muwendo nnyo. Ekigambo kya Katonda kigeraageranya envi zaabwe ku ngule. (Soma Engero 16:31; 20:29) Kyokka kyangu nnyo obutabatwala nti ba muwendo. Abo abakyali abato abakimanyi nti bakkiriza bannaffe abakaddiye ba muwendo, babafunako ekintu eky’omuwendo ennyo okusinga eby’obugagga. Mu kitundu kino tugenda kuddamu ebibuuzo bino bisatu: Lwaki bakkiriza bannaffe abakaddiye Yakuwa abatwala nga ba muwendo? Balina kifo ki mu nteekateeka ya Yakuwa? Kiki kye tusobola okukola okusobola okuganyulwa mu bujjuvu mu kyokulabirako kyabwe?

ENSONGA LWAKI BAKKIRIZA BANNAFFE ABAKADDIYE YAKUWA ABATWALA NGA BA MUWENDO

Bakkiriza bannaffe abeesigwa abakaddiye ba muwendo eri Yakuwa n’eri abantu be (Laba akatundu 3)

3. Okusinziira ku Zabbuli 92:12-15, lwaki bakkiriza bannaffe abakaddiye ba muwendo nnyo eri Yakuwa?

3 Bakkiriza bannaffe abakaddiye ba muwendo nnyo eri Yakuwa. Atunuulira ekyo kye bali munda, era amanyi engeri zaabwe ennungi ate era azisiima. Abakaddiye bwe bagabanako n’abato ku magezi ge bafunye mu kiseera kye bamaze nga baweereza, Yakuwa asanyuka nnyo. (Yob. 12:12; Nge. 1:1-4) Ate era Yakuwa abasiima nnyo olw’obugumiikiriza bwabwe. (Mal. 3:16) Bazze boolekagana n’ebizibu ebitali bimu; kyokka okukkiriza kwabwe kusigadde kunywevu. Essuubi lye balina erikwata ku biseera eby’omu maaso linywevu nnyo n’okusinga bwe lyali nga baakayiga amazima. Yakuwa abaagala nnyo olw’okuba bakyeyongera okulangirira erinnya lye “ne mu myaka egy’obukadde.”​—Soma Zabbuli 92:12-15.

4. Kiki ekisobola okuzzaamu amaanyi bakkiriza bannaffe abakaddiye?

4 Bw’oba ng’okaddiye, ba mukakafu nti Yakuwa ajjukira ebyo byonna by’ozze okola ng’omuweereza. (Beb. 6:10) Ozze obuulira n’obunyiikivu, era ekyo kisanyusa nnyo Kitaffe ow’omu ggulu. Ogumidde ebizibu, ng’ebimu ku byo bya maanyi nnyo, onyweredde ku mitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu, otuukirizza obuvunaanyizibwa obw’amaanyi, era otendese abalala. Okoze kyonna ky’osobola okutambulira awamu n’ekibiina kya Yakuwa. Okubirizza abalala okuyingira mu buweereza obw’ekiseera kyonna era obawagidde. Yakuwa akwagala nnyo olw’okuba omwesigwa gy’ali. Asuubiza nti: “talyabulira abo abeesigwa gy’ali”! (Zab. 37:28) Ate era akugamba nti: “N’okutuusa lw’olifuna envi, nja kukuwaniriranga.” (Is. 46:4) N’olwekyo tokitwala nti olw’okuba okaddiye, tokyali wa mugaso nnyo mu kibiina kya Yakuwa. Mazima ddala okyali wa mugaso nnyo!

ABAKADDIYE BALINA EKIFO MU KIBIINA KYA YAKUWA

5. Kiki bakkiriza bannaffe abakaddiye kye basaanidde okujjukira?

5 Bakkiriza bannaffe abakaddiye balina bingi bye basobola okukola. Wadde nga bayinza okuba nga tebakyalina maanyi nga ge baalina edda, balina obumanyirivu bungi. Yakuwa asobola okweyongera okubakozesa mu ngeri ezitali zimu, nga bwe tugenda okulaba mu byokulabirako by’abaweereza be abaaliwo edda n’ab’omu kiseera kino.

6-7. Waayo ebyokulabirako okuva mu Bayibuli eby’abaweereza ba Yakuwa abaaweebwa emikisa olw’okumuweereza n’obwesigwa ne mu myaka gyabwe egy’obukadde.

6 Bayibuli eyogera ku baweereza ba Yakuwa abaamuweereza n’obunyiikivu ne mu myaka gyabwe egy’obukadde. Ng’ekyokulabirako, Musa yalina emyaka nga 80 we yatandikira okuweereza nga nnabbi wa Yakuwa n’okukulembera eggwanga lya Isirayiri. Nnabbi Danyeri ne bwe yali ng’asussa emyaka 90, Yakuwa yali akyamukozesa ng’omwogezi we. Omutume Yokaana naye kirabika yali asussa emyaka 90 we yaluŋŋamizibwa okuwandiika ekitabo ky’Okubikkulirwa.

7 Waliwo abaweereza ba Yakuwa abalala abaali batamanyiddwa nnyo, era bayinza okuba nga baali babuusibwa amaaso. Wadde kyali kityo, Yakuwa yali abalaba era yabawa emikisa olw’obwesigwa bwabwe. Ng’ekyokulabirako, Simiyoni omusajja eyali ‘omutuukirivu era ng’atya Katonda,’ ayogerwako kitono nnyo mu Bayibuli; naye Yakuwa yali amumanyi era yamuwa enkizo ey’okulaba Yesu nga muwere n’okwogera obunnabbi obwali bukwata ku mwana oyo ne maama we. (Luk. 2:22, 25-35) Ate lowooza ku nnamwandu Ana eyali nnabbi. Wadde nga yalina emyaka 84, “teyayosanga kugenda mu yeekaalu.” Yakuwa yamuwa emikisa olw’obutayosa kugendanga mu nkuŋŋaana era yamusobozesa okulaba omwana Yesu. Simiyoni ne Ana bombi baali ba muwendo nnyo eri Yakuwa.​—Luk. 2:36-38.

Mwannyinaffe Didur, kati asussa emyaka 80, naye akyeyongera okuweereza n’obwesigwa (Laba akatundu 8)

8-9. Biki bannamwandu bye bakola mu kibiina kya Yakuwa?

8 Mu kiseera kyaffe, waliwo abaweereza ba Yakuwa bangi abakaddiye abateereddewo abato ekyokulabirako ekirungi. Lowooza ku mwannyinaffe Lois Didur. Yalina emyaka 21 gyokka we yatandikira okuweereza nga payoniya ow’enjawulo mu Canada. Oluvannyuma, ye n’omwami we John baamala emyaka mingi nga bakola omulimu gw’okukyalira ebibiina. Oluvannyuma baaweereza ku Beseri y’omu Canada okumala emyaka egisukka mu 20. Lois bwe yali nga wa myaka 58, ye n’omwami we John baasabibwa okugenda okuweereza mu Ukraine. Kiki kye baakola? Baagamba nti baali tebasobola kugenda kuweereza mu nsi ndala olw’okuba baali bakaddiye? Nedda! Bakkiriza okugenda okuweereza mu nsi eyo, era John yalondebwa okuweereza ku Kakiiko k’Ettabi. Oluvannyuma lwa John okufa nga baakamalayo emyaka musanvu, Lois yasalawo okusigala ng’aweereza mu nsi eyo. Kati alina emyaka 81, era akyeyongera okuweereza n’obunyiikivu ku Beseri y’omu Ukraine. Ab’oluganda ku Beseri bamwagala nnyo.

9 Bannamwandu nga Lois bayinza okuba ng’abalala tebakyabalaba nnyo nga bwe kyali ng’abaami baabwe bakyali balamu. Wadde kiri kityo, bakyali ba muwendo nnyo. Yakuwa asiima nnyo bannyinaffe abaawagira abaami baabwe mu buweereza okumala emyaka mingi, era nga na kati bakyeyongera okumuweereza n’obwesigwa. (1 Tim. 5:3) Bazzaamu nnyo amaanyi bakkiriza bannaabwe abakyali abato.

10. Kyakulabirako ki ekirungi ow’Oluganda Tony ky’ataddewo?

10 Bakkiriza bannaffe abakaddiye bangi ababeera mu bifo awalabirirwa bannamukadde nabo ba muwendo nnyo. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku w’oluganda Tony kati abeera mu kimu ku bifo ebyo. Yabatizibwa mu Pennsylvania, Amerika, mu Agusito 1942 ng’alina emyaka 20. Waayita ekiseera kitono n’asibibwa mu kkomera gye yamala emyaka ebiri n’ekitundu olw’okugaana okwenyigira mu by’obufuzi. Ye ne mukyala we Hilda baayamba abaana baabwe ababiri okufuuka abaweereza ba Yakuwa. Emyaka bwe gyagenda giyitawo, Tony yaweereza mu bibiina bisatu ng’omulabirizi akubiriza akakiiko k’abakadde (kati ayitibwa omukwanaganya w’akakiiko k’abakadde) era ng’omulabizi w’enkuŋŋaana ennene. Yakubirizanga enkuŋŋaana era yasomesa abantu Bayibuli mu kkomera erimu. Kati Tony alina emyaka 98 naye akyeyongera okuweereza. Akola kyonna ky’asobola okuweereza Yakuwa n’okukolera awamu n’ekibiina kye!

11. Tuyinza tutya okukiraga nti bakkiriza bannaffe ababeera mu bifo awalabirirwa bannamukadde tubatwala nga ba muwendo?

11 Tuyinza tutya okulaga nti tussa ekitiibwa mu bakkiriza bannaffe abakaddiye ababeera mu bifo awalabirirwa bannamukadde? Abakadde basaanidde okukakasa nti bakkiriza bannaffe abo beenyigira mu nteekateeka z’ekibiina okusinziira ku busobozi bwabwe. Era ffenna kinnoomu tusaanidde okukiraga nti tubafaako nga tubakyalirako, oba nga tunyumyako nabo nga tukozesa enkola ya videoconferencing. Ate era tusaanidde okufaayo ennyo ku bannamukadde abalabirirwa mu bifo ebiri ewala ennyo okuva awali ekibiina kyabwe. Tetusaanidde kulagajjalira baganda baffe abo. Abamu bayinza obutanguyirwa kwogera bibakwatako. Naye tuganyulwa nnyo singa tubabuuza ebibuuzo era ne tuwuliriza bulungi nga batubuulira engeri gye bafunye essanyu nga baweereza Yakuwa.

12. Baluganda ba ngeri ki abayinza kuba mu kibiina kyaffe?

12 Ne mu kibiina kyaffe muyinza okubaamu bakkiriza bannaffe abakaddiye abataddewo ekyokulabirako ekirungi ennyo. Mwannyinaffe ayitibwa Harriette yaweereza Yakuwa n’obwesigwa okumala emyaka mingi mu kibiina ekyali mu kitundu mwe yali abeera, mu ssaza lya New Jersey, Amerika. Oluvannyuma yagenda mu kitundu ekirala okubeera ne muwala we. Ab’oluganda mu kibiina ekipya gye yali agenze baawaayo ekiseera okumumanya, era baakizuula nti yali wa muwendo nnyo. Yabazzaamu nnyo amaanyi bwe yabanyumiza engeri gye yakolangamu omulimu gw’okubuulira nga yaakayiga amazima awo nga mu 1925. Mu kiseera ekyo bwe yabanga agenda okubuulira, yatambulanga n’akasenya ke; kubanga yalinga asuubira okukwatibwa essaawa yonna. Mu butuufu, mu 1933 yakwatibwa emirundu ebiri, era ku buli mulundi yamala wiiki nnamba mu kkomera. Mu biseera ebyo ng’akwatiddwa, omwami we ataali Mujulirwa wa Yakuwa ye yasigala alabirira abaana baabwe abasatu abaali bakyali abato. Mazima ddala bakkiriza bannaffe abakaddiye abalinga Harriette, tusaanidde okubatwala nga ba muwendo!

13. Kiki kye tuyize ku kifo bakkiriza bannaffe abakaddiye kye balina mu kibiina kya Yakuwa?

13 Bakkiriza bannaffe abakaddiye ba muwendo nnyo eri Yakuwa n’eri ekibiina kye. Balabye engeri Yakuwa gy’azze awaamu ekibiina kye omukisa, n’engeri gy’azze abawaamu emikisa. Balina bingi bye bayigidde ku nsobi ze bazze bakola. Batwale ‘ng’ensibuko y’amagezi,’ era bayigireko. (Nge. 18:4) Bw’owaayo ekiseera okubamanya, okukkiriza kwo kujja kweyongera okunywera era ojja kubaako by’obayigirako!

GANYULWA MU BUJJUVU MU KYOKULABIRAKO BAKKIRIZA BANNAFFE ABAKADDIYE KYE BASSAAWO

Nga Erisa bwe yaganyulwa mu kubeera ne Eriya, ab’oluganda ne bannyinaffe baganyulwa nnyo mu ebyo abo abamaze ekiseera ekiwanvu nga baweereza Yakuwa bye babanyumiza (Laba akatundu 14-15)

14. Ekyamateeka 32:7, wakubiriza ki abato?

14 Waayo ebiseera okunyumyako n’abakaddiye. (Soma Ekyamateeka 32:7.) Kyo kituufu nti bayinza okuba nga tebakyalaba bulungi, tebakyasobola kwanguwa, tebakyasobola kwogera bulungi, naye mu mutima bakyali bato era bakoze “erinnya eddungi” eri Yakuwa. (Mub. 7:1) Jjukiranga ensonga lwaki Yakuwa abatwala nga ba muwendo. Weeyongere okubassaamu ekitiibwa. Beera nga Erisa eyagaana okuva awali Eriya ku lunaku lwe baasembayo okubeera bombi. Emirundi esatu, Erisa yagamba Eriya nti: “Sijja kukuvaako.”​—2 Bassek. 2:2, 4, 6.

15. Bibuuzo ki bye tuyinza okubuuza bakkiriza bannaffe abakaddiye?

15 Laga nti ofaayo ku bakkiriza bannaffe abakaddiye ng’obaako ebibuuzo by’obabuuza. (Nge. 1:5; 20:5; 1 Tim. 5:1, 2) Babuuze ebibuuzo nga bino: “Bwe wali okyali muto, kiki ekyakukakasa nti wali ozudde amazima?” “Ebyo by’oyiseemu bikuyambye bitya okweyongera okusemberera Yakuwa?” “Kiki ekikuyambye okusigala ng’oli musanyufu ng’oweereza Yakuwa?” (1 Tim. 6:6-8) Bwe baba bakunyumiza bawulirize bulungi.

16. Mukkiriza munnaffe akaddiye n’oyo akyali omuto baganyulwa batya mu kunyumyako awamu?

16 Mukkiriza munnaffe akaddiye bw’anyumya ne mukkiriza munne akyali omuto, bombi baganyulwa. (Bar. 1:12) Omuto yeeyongera okusiima engeri Yakuwa gy’alabiriramu abaweereza be abeesigwa, ate oyo akaddiye awulira nti ayagalibwa. Abo abakaddiye banyumirwa okwogera ku ngeri Yakuwa gy’abawaddemu emikisa.

17. Lwaki tugamba nti bakkiriza bannaffe abakaddiye abeesigwa beeyongera kuba balungi buli mwaka oguyitawo?

17 Omuntu bw’agenda akula, emirundi mingi obulungi obw’okungulu bugenda buggwaawo. Naye abo abasigala nga beesigwa eri Yakuwa beeyongera okuba abalungi gy’ali buli mwaka oguyitawo. (1 Bas. 1:2, 3) Lwaki kiri bwe kityo? Kubanga emyaka bwe gigenda giyitawo, bakkiriza omwoyo gwa Yakuwa okubatendeka ne gubayamba okukulaakulanya engeri ennungi. Gye tunaakoma okumanya bakkiriza bannaffe abakaddiye, okubawa ekitiibwa, n’okubayigirako, gye tujja okukoma okubatwala nti ba muwendo nnyo!

18. Kiki kye tujja okulaba mu kitundu ekiddako?

18 Ekibiina kyeyongera okunywera, Abakristaayo abato bwe batwala abakaddiye nti ba muwendo, era n’abakaddiye bwe batwala abato nti ba muwendo. Mu kitundu ekiddako tujja kulaba engeri abo abakaddiye gye bayinza okukiragamu nti batwala abato nti ba muwendo.

OLUYIMBA 144 Kuumira Amaaso Go ku Mpeera!

^ lup. 5 Bakkiriza bannaffe abakaddiye balinga eby’obugagga eby’omuwendo. Ekitundu kino kigenda kutuyamba okweyongera okubasiima, era n’okuganyulwa mu bujjuvu mu magezi gaabwe ne mu bumanyirivu bwe balina. Ate era kigenda kuyamba abo abakaddiye okukiraba nti ba muwendo nnyo mu kibiina kya Yakuwa.