Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 36

Abavubuka Batwale nga ba Muwendo

Abavubuka Batwale nga ba Muwendo

“Ekitiibwa ky’abavubuka ge maanyi gaabwe.”​—NGE. 20:29.

OLUYIMBA 88 Njigiriza Amakubo Go

OMULAMWA *

1. Bwe tugenda tukaddiwa, kiki kye tusaanidde okukola?

BWE tugenda tukaddiwa, tuyinza okutandika okweraliikirira nti tetugenda kubeera ba mugaso nnyo eri Yakuwa nga bwe twali edda. Wadde nga tetukyalina maanyi nga ge twalina edda, tusobola okukozesa amagezi n’obumanyirivu bye tufunye okuyamba abavubuka okukozesa obulungi obusobozi bwabwe n’okwenyigira mu mirimu egitali gimu mu kibiina. Tusaanidde okuba n’endowooza ng’ey’ow’oluganda omu eyagamba nti, “Bwe nnatandika okwolekagana n’ebizibu ebijjawo olw’okukaddiwa, nnasanyuka nnyo okuba nti waaliwo abavubuka abaalina ebisaanyizo okukola emirimu gye nnali nkola.”

2. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

2 Mu kitundu ekyaggwa twalaba engeri abavubuka gye basobola okuganyulwa bwe bakola omukwano ku abo abakaddiye. Mu kitundu kino tugenda kulaba engeri gamba ng’obwetoowaze, okumanya obusobozi bwo we bukoma, okusiima, n’okuba omugabi, gye bisobola okuyamba abo abakaddiye okukolera awamu n’abavubuka, ekintu ekiyinza okuviiramu ekibiina kyonna okuganyulwa.

BEERA MWETOOWAZE

3. Okusinziira ku Abafiripi 2:3, 4, obwetoowaze kye ki, era buyinza butya okuyamba Omukristaayo?

3 Abo abakuze mu myaka bwe baba ab’okuyamba abavubuka, balina okuba abeetoowaze. Omuntu omwetoowaze atwala abalala nti bamusinga. (Soma Abafiripi 2:3, 4.) Abo abakaddiye bwe baba abeetoowaze bakimanya nti waliwo engeri ezitali zimu ez’okukolamu ebintu, era nga tezikontana na Byawandiikibwa. N’olwekyo tebasuubira buli omu kukola bintu nga bo bwe babaddenga babikola. (Mub. 7:10) Wadde nga balina obumanyirivu bungi bwe basobola okukozesa okuyamba abavubuka, basaanidde okukimanya nti “embeera y’ensi eno ekyukakyuka” era nti balina okutuukana n’embeera eziba zizzeewo.​—1 Kol. 7:31.

Abo abakaddiye bakozesa obumanyirivu bwe balina okutendeka abalala (Laba akatundu 4-5) *

4. Abalabirizi abakyalira ebibiina, booleka batya endowooza efaananako ey’Abaleevi?

4 Abakaddiye abeetoowaze bakimanyi nti tebakyasobola kukola kinene mu buweereza nga bwe baakolanga edda. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku balabirizi abakyalira ebibiina. Bwe baweza emyaka 70, baweebwa obuweereza obulala. Ekyo kiyinza obutaba kyangu gye bali. Baagala nnyo okuweereza baganda baabwe. Baagala nnyo enkizo yaabwe ey’okukyalira ebibiina, era bawulira nti bandyagadde okugenda mu maaso n’obuweereza obwo. Naye bakimanyi nti kisingako okuba nti abo abakyali abato mu myaka be baba bakola omulimu ogwo. N’olwekyo booleka endowooza efaananako ey’Abaleevi mu Isirayiri ey’edda, abaalekeranga awo okukola emirimu egy’oku weema bwe baawezanga emyaka 50. Abaleevi abo beenyigiranga mu buweereza obulala obwabangawo, era ekyo kyabaleeteranga essanyu. Baakolanga n’obunyiikivu mu buweereza obulala bwe baabanga basobola okwenyigiramu, era baayambanga abo abaabanga bakyali abato mu myaka. (Kubal. 8:25, 26) Leero, wadde nga abo abaali abalabirizi abakyalira ebibiina tebakyaweereza bibiina bingi, ba mugaso nnyo eri ebibiina mwe bali.

5. Kiki ky’oyigidde ku Dan ne Katie?

5 Lowooza ku Dan eyaweereza ng’omulabirizi akyalira ebibiina okumala emyaka 23. Dan bwe yaweza emyaka 70, ye ne mukyala we Katie baasindikibwa okuweereza nga bapayoniya ab’enjawulo. Basobodde batya okutuukana n’embeera? Dan agamba nti kati alina eby’okukola bingi n’okusingawo! Alina obuvunaanyizibwa mu kibiina bw’alina okutuukiriza, ayamba ab’oluganda okutuukiriza ebisaanyizo by’okuba abaweereza mu kibiina, era atendeka abalala okubuulira mu bifo ebya lukale ne mu makomera. Bakkiriza bannaffe abakuze mu myaka, ka kibe nti muli mu buweereza obw’ekiseera kyonna oba nedda, waliwo bingi bye musobola okukola okuyamba abalala. Mu ngeri ki? Mufube okutuukana n’embeera, mweteerewo ebiruubirirwa, era musse ebirowoozo byammwe ku ebyo bye musobola okukola so si ku ebyo bye mutasobola kukola.

MANYA OBUSOBOZI BWO WE BUKOMA

6. Lwaki kya magezi okumanya obusobozi bwaffe we bukoma? Waayo ekyokulabirako.

6 Kikulu okumanya obusobozi bwaffe we bukoma. Bwe tumanya obusobozi bwaffe we bukoma, tuba tetusuubira kukola bintu bye tutasobola. Ekyo kituyamba okusigala nga tuli basanyufu, era tweyongera okukola n’obunyiikivu. Omuntu amanyi obusobozi bwe we bukoma, tuyinza okumugeraageranya ku muvuzi w’emmotoka ayambuka olusozi. Omuvuzi oyo kiba kimwetaagisa okukyusa ggiya n’assaamu eya wansi okusobola okwambuka olusozi olwo. Kyo kituufu nti emmotoka eyinza okukendeeza sipiidi, naye yeeyongera okugenda mu maaso. Mu ngeri y’emu, omuntu amanyi obusobozi bwe we bukoma, amanya ekiseera lwe kyetaagisa okuleka by’atakyasobola kukola ne yeeyongera okuweereza Yakuwa n’obunyiikivu n’okuweereza abalala.​—Baf. 4:5.

7. Baluzirayi yakiraga atya nti yali amanyi obusobozi bwe we bukoma?

7 Lowooza ku Baluzirayi. Yalina emyaka 80 Kabaka Dawudi we yamuyitira okugenda okubeera mu lubiri. Naye Baluzirayi teyakkiriza kugenda. Olw’okuba yali amanyi obusobozi bwe we bukoma, yagamba Dawudi atwalemu Kimamu eyali akyali omuto. (2 Sam. 19:35-37) Okufaananako Baluzirayi, ab’oluganda abakaddiye baleka abakyali abato mu myaka okukola ebyo bye baalinga bakola.

Kabaka Dawudi yakkiriza ekyo Katonda kye yasalawo nti mutabani we ye yali ow’okuzimba yeekaalu (Laba akatundu 8)

8. Kabaka Dawudi yakiraga atya nti yalina endowooza ennungi ku bikwata ku kuzimba yeekaalu?

8 Kabaka Dawudi naye yassaawo ekyokulabirako ekirungi ennyo. Yali ayagala nnyo okuzimbira Yakuwa ennyumba. Naye Yakuwa bwe yamugamba nti enkizo eyo yali agenda kugiwa mutabani we Sulemaani, Dawudi ekyo yakikkiriza era n’awagira n’omutima gwe gwonna enteekateeka y’okuzimba yeekaalu. (1 Byom. 17:4; 22:5) Dawudi teyakitwala nti ye yali asobola okukola obulungi omulimu ogwo okusinga mutabani we Sulemaani eyali ‘omuto era nga talina bumanyirivu.’ (1 Byom. 29:1) Dawudi yali akimanyi nti yeekaalu okusobola okuzimbibwa, tekyandisinzidde ku myaka oba ku bumanyirivu bw’abantu, wabula kyandisinzidde ku mikisa gya Yakuwa. Okufaananako Dawudi, abo abakaddiye beeyongera okuweereza n’obunyiikivu wadde ng’obuvunaanyizibwa bwabwe bukyuse. Bakimanyi nti Yakuwa awa emikisa abo abakyali abato mu myaka abakola emirimu bo gye baalinga bakola.

9. Ow’oluganda omu aweereza ku Kakiiko k’Ettabi yakiraga atya nti amanyi obusobozi bwe we bukoma?

9 Ne mu kiseera kyaffe, ow’oluganda ayitibwa Shigeo naye yakiraga nti amanyi obusobozi bwe we bukoma. Mu 1976, bwe yali nga wa myaka 30, yalondebwa okuweereza ku Kakiiko k’Ettabi. Mu 2004, yafuuka omukwanaganya w’Akakiiko k’Ettabi. Oluvannyuma yakiraba nti olw’okuba yali akaddiye yali takyasobola kutuukiriza bulungi buweereza bwe. Yasaba Yakuwa ku nsonga eyo, era n’afumiitiriza ku miganyulo egiri mu kuleka ow’oluganda akyali omuto okuba nga y’akola ng’omukwanaganya w’Akakiiko k’Ettabi. Wadde nga Shigeo takyaweereza ng’omukwanaganya w’Akakiiko k’Ettabi, akyaweereza n’obunyiikivu ku kakiiko ako. Nga bwe tulabye mu kyokulabirako kya Baluzirayi, Kabaka Dawudi, ne Shigeo, omuntu omwetoowaze era amanyi obusobozi bwe we bukoma, assa ebirowoozo bye ku ebyo abakyali abato bye bamanyi, so si ku ebyo bye batannayiga. Mu kifo ky’okuvuganya nabo, abatwala nga bakozi banne.​—Nge. 20:29.

BEERA MUNTU ASIIMA

10. Abo abakaddiye batwala batya abo abakyali abato mu myaka?

10 Abo abakaddiye batwala abo abakyali abato ng’ebirabo okuva eri Yakuwa, era basiima nnyo ebirabo ebyo. Basiima nnyo eky’okuba nti abo abakyali abato balina obusobozi era beetegefu okuweereza bakkiriza bannaabwe.

11. Ebyo ebiri mu Luusi 4:13-16 biraga bitya emiganyulo egiri mu kukkiriza obuyambi bw’abo abakyali abato mu myaka?

11 Nawomi ayogerwako mu Bayibuli naye yassaawo ekyokulabirako ekirungi. Yakkiriza obuyambi obwamuweebwa Luusi eyali akyali omuto mu myaka. Mu kusooka Nawomi yagamba muka mwana we Luusi addeyo eri abantu be. Naye Luusi bwe yakalambira n’agamba nti yali agenda naye e Besirekemu, Nawomi yakkiriza. (Luus. 1:7, 8, 18) Ekyo kyayamba nnyo abakazi abo bombi! (Soma Luusi 4:13-16.) Abo abakaddiye abeetoowaze bakoppa ekyokulabirako kya Nawomi.

12. Omutume Pawulo yakiraga atya nti yali asiima?

12 Omutume Pawulo yasiima nnyo obuyambi obwamuweebwanga. Ng’ekyokulabirako, yeebaza Abakristaayo ab’omu kibiina ky’e Firipi olw’ebintu bye baali bamuweerezza. (Baf. 4:16) Ate era yakiraga nti yali asiima engeri Timoseewo gye yamuyambangamu. (Baf. 2:19-22) Era Pawulo yeebaza Katonda olw’abo abajja okumuzzaamu amaanyi bwe yali ng’atwalibwa e Rooma nga musibe. (Bik. 28:15) Pawulo yalina amaanyi mangi era yatambula eŋŋendo empanvu okubuulira n’okuzzaamu ebibiina amaanyi. Wadde kiri kityo, yakkirizanga obuyambi obwamuweebwanga bakkiriza banne.

13. Bakkiriza bannaffe abakuze mu myaka bayinza batya okukiraga nti basiima abato mu myaka?

13 Baganda baffe ne bannyinaffe abakaddiye, musobola okulaga nti musiima abo abakyali abato mu myaka mu ngeri ezitali zimu. Bwe baba nga baagala okubayambako mu by’entambula, okugula ebintu, oba mu ngeri endala, mukkirize obuyambi bwe babawa. Obuyambi obwo mubutwale ng’emu ku ngeri Yakuwa gy’abalagamu nti abaagala. Ekyo kijja kubayamba okuba n’omukwano ogw’oku lusegere n’abo ababayamba. Mikwano gyammwe abo mubayambe okweyongera okukulaakulana mu by’omwoyo, era mubagambe nti musanyuka nnyo bwe mulaba ng’abato baluubirira enkizo ezitali zimu mu kibiina. Ate era mubanyumizeeko ebintu bye muyiseemu. Bwe mukola bwe mutyo, mujja kuba ‘mulaga Yakuwa nti musiima’ abato b’aleese mu kibiina.​—Bak. 3:15; Yok. 6:44; 1 Bas. 5:18.

BEERA MUGABI

14. Kabaka Dawudi yakiraga atya nti yali mugabi?

14 Waliwo engeri endala ennungi abo abakuze mu myaka gye basaanidde okukoppa ku Kabaka Dawudi, nga kuno kwe kuba abagabi. Dawudi yawaayo ssente nnyingi n’ebintu ebirala eby’omuwendo okusobola okuwagira omulimu gw’okuzimba yeekaalu. (1 Byom. 22:11-16; 29:3, 4) Ekyo yakikola wadde nga yeekaalu eyo yali egenda kutwalibwa nti Sulemaani ye yali agizimbye. Bwe tuba nga tetukyalina maanyi kwenyigira mu kuzimba bizimbe by’ekibiina, tusobola okweyongera okuwagira omulimu gw’okuzimba nga tubaako kye tuwaayo okusinziira ku busobozi bwaffe. Ate era tusobola okukozesa obumanyirivu bwe tulina okuyamba abato okutuukiriza obuweereza bwabwe.

15. Birabo ki eby’omuwendo omutume Pawulo bye yawa Timoseewo?

15 Lowooza ne ku kyokulabirako omutume Pawulo kye yassaawo mu kubeera omugabi. Yagamba Timoseewo okumwegattako mu mulimu gw’obuminsani, era Pawulo yayigiriza Timoseewo eyali akyali omuto, engeri y’okubuuliramu n’okuyigirizaamu. (Bik. 16:1-3) Okutendekebwa Pawulo kwe yawa Timoseewo kwasobozesa Timoseewo okuba omubuulizi, era omuyigiriza omulungi ow’amawulire amalungi. (1 Kol. 4:17) Timoseewo naye yakozesa enkola za Pawulo okutendeka abalala.

16. Lwaki ow’Oluganda Shigeo yatendeka abalala?

16 Abo abakulu mu myaka tebatya nti bwe banaatendeka abo abakyali abato okukola emirimu bo gye bakola, bajja kuba tebakyali ba mugaso eri ekibiina. Ng’ekyokulabirako, okumala emyaka, Shigeo eyayogeddwako emabega yatendekanga ab’oluganda abaali ku Kakiiko k’Ettabi abaali abato ku ye. Ekyo yakikola okusobola okulaba nti omulimu gw’Obwakabaka mu nsi mw’ali gugenda mu maaso. N’ekyavaamu, ekiseera bwe kyatuuka, waaliwo ow’oluganda eyali asobola okudda mu bigere bye okuweereza ng’omukwanaganya w’Akakiiko k’Ettabi. Shigeo yaakamala emyaka egisukka mu 45 ng’aweereza ku Kakiiko k’Ettabi era akozesa obumanyirivu bwe okutendeka ab’oluganda abakyali abato mu myaka. Mazima ddala bakkiriza bannaffe abalinga Shigeo ba mugaso nnyo eri abantu ba Katonda!

17. Nga bwe kiragibwa mu Lukka 6:38, kiki abo abakuze mu myaka kye basobola okuwa abalala?

17 Mmwe bakkiriza bannaffe abakaddiye, mukiraze nti okuweereza Yakuwa n’obwesigwa kye kintu ekisingayo obulungi mu bulamu bw’omuntu. Ekyokulabirako kye mutaddewo kituyambye okukiraba nti kikulu nnyo okuyiga emisingi gya Bayibuli n’okugikolerako mu bulamu bwaffe. Mwalaba era mumanyi bulungi engeri ebintu gye byali bikolebwamu emabega, kyokka era mufubye okutuukana n’embeera ezizze zikyuka. Nammwe abakaddiye abatannamala myaka mingi mu mazima, mulina bingi bye musobola okuwa abalala. Musobola okubabuulira ku ssanyu eriri mu kuyiga amazima ng’okaddiye. Abo abakyali abato bajja kunyumirwa nnyo okuwuliriza bye mubanyumiza, n’okuyiga ebimu ku bintu bye muyize. Bwe muba mukozesa ebyo bye muyize okutendeka abalala, muba mukiraga nti muli bagabi era Yakuwa abawa emikisa.​—Soma Lukka 6:38.

18. Abakaddiye n’abo abakyali abato, buli omu ayinza atya okuganyula munne?

18 Bakkiriza bannaffe abakaddiye, bwe mufuula abo abakyali abato mikwano gyammwe, mujja kuba muyambagana. (Bar. 1:12) Buli omu alina ekintu eky’omuwendo munne ky’atalina. Abo abakaddiye balina amagezi n’obumanyirivu bye bafunye emyaka bwe gizze giyitawo. Abakyali abato mu myaka balina amaanyi. Abo abakyali abato bwe bakolera wamu n’abo abakaddiye, kiviirako Kitaffe ow’omu ggulu okuweebwa ekitiibwa n’ettendo era kiganyula ekibiina kyonna.

OLUYIMBA 90 Tuzziŋŋanemu Amaanyi

^ lup. 5 Ebibiina byaffe birimu abavubuka bangi abafuba okuwagira ekibiina kya Yakuwa. Abo abakaddiye ka babe ba ggwanga ki oba nga baakulira mu mbeera ki, basobola okuyamba abavubuka abo okukozesa amaanyi gaabwe mu bujjuvu okuweereza Yakuwa.

^ lup. 55 EBIFAANANYI: Omulabirizi akyalira ebibiina bwe yaweza emyaka 70, ye ne mukyala we baasindikibwa mu buweereza obulala. Obumanyirivu bwe balina bubasobozesa okutendeka abalala mu kibiina kye balimu kati.