Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 37

“Nja Kukankanya Amawanga Gonna”

“Nja Kukankanya Amawanga Gonna”

“Nja kukankanya amawanga gonna, ebintu eby’omuwendo eby’amawanga gonna bijje.”​—KAG. 2:7.

OLUYIMBA 24 Mujje ku Lusozi lwa Yakuwa

OMULAMWA *

1-2. Kukankanya ki okw’akabonero okwayogerwako okwandibaddewo mu kiseera kyaffe?

“MU DDAKIIKA ntono, amaduuka n’ebizimbe ebikadde byatandika okumenyekamenyeka.” “Waaliwo okutya okw’amaanyi. . . . Abantu bangi baagamba nti ekyo kyamala eddakiika nga bbiri. Naye nze nnalaba ng’ekyatwala ekiseera ekiwanvu ennyo.” Ebyo bye bigambo ebyayogerwa abamu ku abo abaawonawo musisi bwe yayita mu Nepal mu 2015. Ekintu ng’ekyo eky’entiisa bwe kikutuukako, olwawo okukyerabira.

2 Kyokka mu kiseera kino waliwo okukankanya okw’enjawulo, okukankanya okutali mu kibuga kimu kyokka oba nsi emu yokka. Yakuwa akankanya amawanga gonna mu nsi, era kino abadde akikola okumala emyaka mingi. Kuno kwe kukankanya nnabbi Kaggayi kwe yayogerako. Yagamba nti: “Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba, ‘Omulundi omulala gumu​—mu kiseera kitono—​nja kukankanya eggulu n’ensi n’ennyanja n’olukalu.’”​—Kag. 2:6.

3. Okukankanya amawanga okwogerwako mu kitabo kya Kaggayi kwawukana kutya ku musisi owa bulijjo?

3 Okukankanya nnabbi Kaggayi kwe yayogerako tekuli ng’okwa musisi owa bulijjo ayonoona obwonoonyi ebintu. Mu kifo ky’ekyo, kuvaamu ebirungi. Yakuwa yagamba nti: “Nja kukankanya amawanga gonna, ebintu eby’omuwendo eby’amawanga gonna bijje mu nnyumba eno; era nja kujjuza ennyumba eno ekitiibwa.” (Kag. 2:7) Obunnabbi buno bwatuukirizibwa butya mu kiseera kya Kaggayi? Butuukirizibwa butya leero? Mu kitundu kino tugenda kuddamu ebibuuzo ebyo era tulabe n’engeri gye tuyinza okwenyigira mu mulimu gw’okukankanya amawanga leero.

OBUBAKA OBWALI BUZZAAMU AMAANYI MU KISEERA KYA KAGGAYI

4. Lwaki Yakuwa yatuma nnabbi Kaggayi eri abantu be?

4 Yakuwa yawa nnabbi Kaggayi omulimu ogwali omukulu ennyo. Lowooza ku ekyo ekyaliwo nga Yakuwa tannatuma nnabbi Kaggayi. Kaggayi ayinza okuba nga yali omu ku abo abaakomawo e Yerusaalemi okuva mu buwaŋŋanguse e Bababulooni mu 537 E.E.T. Bwe baatuuka e Yerusaalemi, baatandikirawo okuzimba omusingi gwa yeekaalu ya Yakuwa. (Ezer. 3:8, 10) Naye oluvannyuma lw’ekiseera kitono, abalabe baabwe baatandika okubaziyiza, ekyo ne kibamalamu amaanyi ne balekera awo okuzimba. (Ezer. 4:4; Kag. 1:1, 2) Bwe kityo, mu 520 E.E.T., Yakuwa yatuma nnabbi Kaggayi okubazzaamu amaanyi n’okubakubiriza okumaliriza okuzimba yeekaalu. *​—Ezer. 6:14, 15.

5. Lwaki obubaka bwa Kaggayi buteekwa okuba nga bwazzaamu abantu ba Katonda amaanyi?

5 Ekigendererwa ky’obubaka bwa Kaggayi kyali kya kunyweza okukkiriza kw’Abayudaaya. Nnabbi Kaggayi yagamba Abayudaaya abaali baweddemu amaanyi nti: “‘Mube bavumu era mukole, Yakuwa bw’agamba. Kubanga ndi wamu nammwe,’ Yakuwa ow’eggye bw’agamba.” (Kag. 2:4) Ebigambo “Yakuwa ow’eggye” biteekwa okuba nga byabazzaamu nnyo amaanyi. Yakuwa alina eggye ddene nnyo erya bamalayika ab’amaanyi. N’olwekyo Abayudaaya baalina okumwesiga okusobola okutuuka ku buwanguzi.

6. Biki ebyandivudde mu kukankanya nnabbi Kaggayi kwe yayogerako?

6 Yakuwa yatuma Kaggayi okugamba Abayudaaya nti yali agenda kukankanya amawanga gonna. Okwolesebwa okwo kwakakasa Abayudaaya abaali baweddemu amaanyi ne balekera awo okuzimba yeekaalu nti Yakuwa yali agenda kukankanya Buperusi, obwakabaka kirimaanyi obwali bufuga amawanga mu kiseera ekyo. Biki ebyandivudde mu kukankanya okwo? Ekisooka, abantu ba Katonda bandimalirizza okuzimba yeekaalu. Era oluvannyuma n’abantu abataali Bayudaaya bandibeegasseeko okusinziza Yakuwa mu yeekaalu eyo eyali egenda okuzzibwawo. Obubaka obwo nga buteekwa okuba nga bwazzaamu nnyo abantu ba Katonda amaanyi!​—Zek. 8:9.

OMULIMU OGUKANKANYA AMAWANGA LEERO

Weenyigira mu bujjuvu mu mulimu gw’okukankanya amawanga ogukolebwa leero? (Laba akatundu 7-8) *

7. Mulimu ki ogukankanya amawanga gwe twenyigiramu leero? Nnyonnyola.

7 Obunnabbi bwa Kaggayi butuukirizibwa butya leero? Ne leero Yakuwa akankanya amawanga gonna, era naffe twenyigira mu mulimu ogwo. Lowooza ku kino: Mu 1914, Yakuwa yafuula Yesu Kristo Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda. (Zab. 2:6) Okussibwawo kw’Obwakabaka obwo tegaali mawulire malungi eri abafuzi b’ensi. Ekyo kyali kitegeeza nti “ebiseera ebigereke eby’amawanga,” nga kino kye kiseera lwe wataaliwo bafuzi abakiikirira Yakuwa, byali bikomye. (Luk. 21:24) N’olw’ensonga eyo, abantu ba Yakuwa babaddenga boogera ku Bwakabaka bwa Katonda nti bwe bwokka obujja okumalawo ebizibu by’abantu, era ekyo babaddenga bakikola nnaddala okuva mu 1919. Okubuulira “amawulire gano amalungi ag’Obwakabaka” kukankanyizza ensi yonna.​—Mat. 24:14.

8. Okusinziira ku Zabbuli 2:1-3, amawanga agasinga obungi gatutte gatya obubaka bwe tubuulira?

8 Abantu batutte batya obubaka bwe tubabuulira? Abasinga obungi babugaanye. (Soma Zabbuli 2:1-3.) Amawanga gasunguwadde. Gagaanye okukkiriza Omufuzi Yakuwa gwe yassaawo. Obubaka bw’Obwakabaka bwe tubuulira tebabutwala ‘ng’amawulire amalungi.’ Mu butuufu, gavumenti ezimu zaawera n’omulimu gwaffe ogw’okubuulira! Wadde ng’abafuzi b’amawanga bangi bagamba nti baweereza Katonda, tebaagala kulekera awo kufuga. Nga bwe kyali mu kiseera kya Yesu, ne leero abafuzi balwanyisa Oyo Yakuwa gwe yafukako amafuta nga bayigganya abagoberezi be abeesigwa.​—Bik. 4:25-28.

9. Kakisa ki Yakuwa k’awadde amawanga?

9 Wadde ng’amawanga gagaanye okukkiriza obubaka bwe tubuulira, ye Yakuwa agatwala atya? Zabbuli 2:10-12 wagamba nti: “Kale kaakano mmwe bakabaka mube bagezi; mmwe abalamuzi b’ensi mukkirize okuwabulwa. Muweereze Yakuwa n’okutya musanyuke nga bwe mukankana. Muwe omwana ekitiibwa; bwe mutakola mutyo, Katonda ajja kusunguwala muzikirire muve mu kkubo, kubanga obusungu bwe bubuubuuka mangu. Balina essanyu abo bonna abamufuula ekiddukiro kyabwe.” Yakuwa awadde abo abamuziyiza akakisa okubaako kye bakolawo. Bakyasobola okukyusa endowooza yaabwe ne bakkiriza Obwakabaka bwa Yakuwa. Kyokka ekiseera ekisigaddeyo kitono ddala. Tuli “mu nnaku ez’enkomerero” ez’enteekateeka y’ebintu eno. (2 Tim. 3:1; Is. 61:2) Abantu beetaaga okumanya amazima mu bwangu basobole okusalawo okuweereza Yakuwa.

ABANTU ABAMU BAKKIRIZA AMAWULIRE AMALUNGI

10. Birungi ki ebivudde mu kukankanya amawanga okwogerwako mu Kaggayi 2:7-9?

10 Okukankanya amawanga Kaggayi kwe yayogerako kuvuddemu ebirungi eri abantu abamu. Yagamba nti oluvannyuma lw’okukankanya amawanga, ‘ebintu eby’omuwendo eby’amawanga gonna byandizze’ okusinza Yakuwa. * (Soma Kaggayi 2:7-9.) Isaaya ne Mikka nabo baayogera ku kintu kye kimu ekyandibaddewo “mu nnaku ez’enkomerero.”​—Is. 2:2-4, obugambo obuli wansi; Mi. 4:1, 2, obugambo obuli wansi.

11. Ow’oluganda omu bwe yayiga amazima agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda, yakola ki?

11 Lowooza ku ngeri ow’oluganda ayitibwa Ken aweerereza ku kitebe ekikulu eky’Abajulirwa ba Yakuwa gye yakwatibwako lwe yasooka okuwulira obubaka bw’Obwakabaka. Akyajjukira bulungi ekyaliwo emyaka 40 emabega. Agamba nti: “Lwe nnasooka okuwulira amazima agali mu Kigambo kya Katonda, nnasanyuka nnyo okukimanya nti tuli mu nnaku ez’enkomerero ez’enteekateeka y’ebintu eno. Nnakiraba nti okusobola okusiimibwa Katonda n’okufuna obulamu obutaggwaawo, nnalina okweyawula ku nsi ya Sitaani n’okusalawo okuweereza Yakuwa. Ekyo nnasaba Yakuwa annyambe okukikola mu bwangu. Nnasalawo okuwagira Obwakabaka bwa Katonda obutasobola kuggibwawo.”

12. Yeekaalu ya Yakuwa ey’eby’omwoyo ejjudde etya ekitiibwa mu nnaku zino ez’enkomerero?

12 Awatali kubuusabuusa, Yakuwa awadde abantu be emikisa mingi. Abantu abasinza Yakuwa beeyongedde nnyo mu nnaku zino ez’enkomerero. Mu 1914, abantu abaali basinza Yakuwa baali batono nnyo. Kati abaweereza ba Yakuwa basukka mu bukadde munaana, era buli mwaka abantu abalala bukadde na bukadde babeegattako ku mukolo gw’okujjukira okufa kwa Yesu. Mu ngeri eyo, oluggya olw’oku nsi olwa yeekaalu ya Yakuwa ey’eby’omwoyo, ng’eno ye nteekateeka ye ey’okusinza okulongoofu, lujjuziddwa “ebintu eby’omuwendo eby’amawanga gonna.” Ate era n’erinnya lya Yakuwa ligulumizibwa olw’enkyukakyuka abo abasalawo okuweereza Yakuwa ze bakola nga bambala omuntu omuggya.​—Bef. 4:22-24.

Abantu ba Katonda mu nsi yonna bakola n’essanyu omulimu gw’okubuulira abalala ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda (Laba akatundu 13)

13. Okweyongera kw’abantu abajja mu kibiina kya Yakuwa, kutuukirizza bunnabbi ki obulala? (Laba ekifaananyi ku ddiba.)

13 Ebyo ebibaddewo bituukirizza obunnabbi obulala, gamba ng’obwo obuli mu Isaaya essuula 60. Olunyiriri 22 lugamba nti: “Omutono alifuuka lukumi era oyo anyoomebwa alifuuka ggwanga ery’amaanyi. Nze Yakuwa, ndikyanguyaako mu kiseera kyakyo.” Olw’abantu abangi ennyo abajja mu kusinza okw’amazima, waliwo ebintu ebirala ebirungi ebibaddewo. Abantu abo bajja n’ebitone ebitali bimu era nga beetegefu okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira amawulire amalungi ‘ag’Obwakabaka bwa Katonda.’ N’ekivuddemu, abantu ba Yakuwa baganyuddwa mu bitone ebyo, Isaaya bye yayogerako ‘ng’amata g’amawanga.’ (Is. 60:5, 16) Nga tukolera wamu n’abasajja era n’abakazi abo ab’omuwendo, tubuulira mu nsi 240 era tukuba ebitabo mu nnimi ezisukka mu 1,000.

KINO KYE KISEERA EKY’OKUSALAWO

14. Kusalawo ki abantu kwe balina okukola kati?

14 Ng’okukankanya amawanga kukyagenda mu maaso mu nnaku zino ez’enkomerero, abantu balina okubaako kye basalawo. Banaasalawo okuwagira Obwakakaba bwa Katonda, oba baneesiga gavumentu z’abantu? Okwo kwe kusalawo okukulu buli omu kw’ayolekaganye nakwo. Wadde ng’abantu ba Yakuwa bagondera amateeka g’ensi mwe bali, basigala tebaliiko ludda lwe bawagira mu by’obufuzi by’ensi. (Bar. 13:1-7) Bakimanyi nti Obwakabaka bwa Katonda bwe bwokka obujja okumalawo ebizibu by’abantu. Obwakabaka obwo si bwa mu nsi muno.​—Yok. 18:36, 37.

15. Kugezesebwa ki kwe twolekaganye nakwo okwogerwako mu kitabo ky’Okubikkulirwa?

15 Ekitabo ky’Okubikkulirwa kiraga nti obwesigwa bw’abantu ba Katonda bwandigezeseddwa mu nnaku ez’enkomerero. Mu kugezesebwa okwo, abantu ba Yakuwa bandiyigganyiziddwa nnyo. Gavumenti z’amawanga zijja kugezaako okutuwaliriza okukola bye zaagala, era zijja kuyigganya nnyo abo abagaana okuziwagira. (Kub. 13:12, 15) Zijja ‘kuwaliriza abantu bonna, ab’ekitiibwa n’abatali ba kitiibwa, abagagga n’abaavu, ab’eddembe n’abaddu, okuteekebwako akabonero ku mukono gwabwe ogwa ddyo oba ku byenyi byabwe.’ (Kub. 13:16) Mu biseera eby’edda, abaddu baateekebwangako akabonero okulaga ani mukama waabwe. Mu ngeri y’emu, leero abantu bangi basuubira nti buli omu alina okubaako oludda lw’awagira. Baagala buli omu alage mu bigambo ne mu bikolwa nti aliko oludda lw’awagira mu by’obufuzi.

16. Lwaki kikulu nnyo okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa kati?

16 Tunakkiriza okuteekebwako akabonero ne tuwagira gavumenti z’abantu? Abo abanaagaana okuteekebwako akabonero bajja kwolekagana n’ebizibu ebitali bimu. Ekitabo ky’Okubikkulirwa era kigamba nti: “Waleme kubaawo ayinza okugula oba okutunda okuggyako ng’aliko akabonero.” (Kub. 13:17) Naye abantu ba Katonda bamanyi ekyo Katonda ky’ajja okukola abo abanaabaako akabonero akoogerwako mu Okubikkulirwa 14:9, 10. Mu kifo ky’okuba n’akabonero ako, buli omu ku bantu ba Katonda ajja kuwandiika ku mukono gwe nti, “Ndi wa Yakuwa.” (Is. 44:5) Kino kye kiseera okukakasa nti tuli beesigwa eri Yakuwa. Bwe tunaakola bwe tutyo, Yakuwa ajja kuba musanyufu okutuyita abantu be!

OKUKANKANYA AMAWANGA OKUSEMBAYO

17. Kiki kye tulina okumanya ku bugumiikiriza bwa Yakuwa?

17 Yakuwa ayolese obugumiikiriza obw’amaanyi mu nnaku zino ez’enkomerero. Tayagala muntu yenna kuzikirizibwa. (2 Peet. 3:9) Awadde buli omu akakisa okwenenya era n’okusalawo okumuweereza. Naye obugumiikiriza bwe buliko ekkomo. Abo abagaana okumugondera bajja kwesanga mu mbeera y’emu nga Falaawo gye yeesangamu mu kiseera kya Musa. Yakuwa yagamba Falaawo nti: “Nnandibadde nnagolola dda omukono gwange ne nkuleetera ggwe n’abantu bo ekirwadde, ne musaanawo mu nsi. Naye nkulese ng’okyali mulamu nsobole okukulaga amaanyi gange, era n’erinnya lyange lisobole okulangirirwa mu nsi yonna.” (Kuv. 9:15, 16) Amawanga gonna gajja kukimanya nti Yakuwa ye Katonda yekka ow’amazima. (Ezk. 38:23) Ekyo kinaabaawo kitya?

18. (a) Kunyeenyezebwa kwa ngeri ki okulala okwogerwako mu Kaggayi 2:6, 20-22? (b) Tumanya tutya nti ebigambo bya Kaggayi byandituukiriziddwa ne mu biseera eby’omu maaso?

18 Nga wayiseewo emyaka mingi oluvannyuma lwa Kaggayi okubaawo, omutume Pawulo yaluŋŋamizibwa okulaga nti ebigambo ebiri mu Kaggayi 2:6, 20-22 byandituukiriziddwa ne mu biseera eby’omu maaso. (Soma.) Pawulo yagamba nti: “Naye kaakano asuubizza nti: ‘Omulundi omulala gumu nja kukankanya ensi era nkankanye n’eggulu.’ Ebigambo ‘omulundi omulala gumu’ bitegeeza okuggibwawo kw’ebintu ebinyeenyezebwa, kwe kugamba, ebintu ebikoleddwa, olwo ebyo ebitanyeenyezebwa biryoke bisigalewo.” (Beb. 12:26, 27) Obutafaananako okunyeenyezebwa okwogerwako mu Kaggayi 2:7, okunyeenyezebwa kuno kujja kuviirako abo abalinga Falaawo, abagaana okukkiriza obufuzi bwa Yakuwa, okuzikirizibwa.

19. Kiki ekitajja kunyeenyezebwa, era ekyo tukimanya tutya?

19 Kiki ekitajja kunyeenyezebwa oba okuggibwawo? Pawulo yagattako nti: “Nga bwe mulaba nti tugenda kufuna Obwakabaka obutayinza kunyeenyezebwa, ka tweyongere okulagibwa ekisa eky’ensusso mwe tuyinza okuyitira okuweereza Katonda mu buweereza obutukuvu, nga tumutya era nga tumuwa ekitiibwa.” (Beb. 12:28) Oluvannyuma lw’okunyeenyezebwa kuno okusembayo, Obwakabaka bwa Katonda bwokka bwe bujja okusigalawo. Era bujja kubeerawo emirembe gyonna!​—Zab. 110:5, 6; Dan. 2:44.

20. Kiki abantu kye balina okusalawo, era tuyinza tutya okubayamba?

20 Ekiseera kiweddeyo. Abantu balina okusalawo obanga baneeyongera okuwagira enteekateeka eno ey’ebintu egenda okubaviirako okuzikirizibwa, oba banaakola Katonda by’ayagala basobole okufuna obulamu obutaggwaawo. (Beb. 12:25) Okuyitira mu mulimu gwaffe ogw’okubuulira, tusobola okuyamba abantu okusalawo ludda ki lwe banaawagira mu nsonga eno enkulu ennyo. Ka tweyongere okuyamba abantu abalala bangi okuwagira Obwakabaka bwa Katonda. Era ka tweyongere okulowooza ku bigambo bya Mukama waffe Yesu bino: “N’amawulire gano amalungi ag’Obwakabaka galibuulirwa mu nsi yonna okuba obujulirwa eri amawanga gonna, olwo enkomerero n’eryoka ejja.”​—Mat. 24:14.

OLUYIMBA 40 Mukama Wo y’Ani?

^ lup. 5 Mu kitundu kino tugenda kwogera ku kutegeera okupya okukwata ku Kaggayi 2:7. Ate era tugenda kulaba engeri gye tuyinza okwenyigira mu mulimu ogukankanya amawanga gonna. Era tugenda kulaba nti omulimu guno ogw’okukankanya amawanga abantu abamu bagusiima ate abalala tebagusiima.

^ lup. 4 Tukimanyi nti Kaggayi yatuukiriza ekyo Yakuwa kye yamutuma, kubanga yeekaalu yamalirizibwa okuzimbibwa mu 515 E.E.T.

^ lup. 10 Kuno kutegeera kupya. Ebiseera ebyayita twagambanga nti okukankanya amawanga si kwe kwaviirangako abantu ab’emitima emirungi okutandika okuweereza Yakuwa. Laba “Ebibuuzo Ebiva mu Basomi” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjuuni 1, 2006.

^ lup. 63 EBIFAANANYI: Kaggayi yakubiriza abantu ba Katonda okuba abanyiikivu basobole okumaliriza yeekaalu, era n’abantu ba Katonda leero babuulira amawulire amalungi n’obunyiikivu. Ow’oluganda ne mukyala we nga babuulira ku kukankanya amawanga okusembayo okunaatera okubaawo.